Oluyimba 72
Okukulaakulanya Okwagala
Printed Edition
1. Ffe tusaba Katonda waffe,
Twoleke engeri ze zonna;
Naye ng’esinga obukulu
Ye ngeri ye ey’okwagala.
Bwe tuba n’ebitone bingi,
’Watali kwagala; bya busa.
Katwolekenga okwagala;
Tujja kusanyusa Katonda.
2. ’Magezi gokka tegamala,
Nga tuyigiriza abantu.
Tusaanidde okubaagala,
Nga tubayamba okuyiga.
’Kwagala kugumiikiriza,
Kwetikka emigugu gyonna.
N’olwekyo kijjukirenga nti,
’Kwagala tekulemererwa.
(Era laba Yok. 21:17; 1 Kol. 13:13; Bag. 6:2.)