Oluyimba 32
Ba Munywevu, Tosagaasagana!
Printed Edition
1. Mu nsi emitawaana mingi nnyo.
N’abantu beeraliikirivu nnyo.
Ffe tuleme kusagaasagana,
Tuweereze Katonda.
(CHORUS)
Ffenna tube banywevu;
Ensi tugyesambenga,
Tukuumire ddala obugolokofu.
2. Mu nsi eno ebikemo bingi.
Twekuume ’birowoozo ebibi.
Bwe tunaanywerera ku Katonda,
Ajja kutuyinzisa.
(CHORUS)
Ffenna tube banywevu;
Ensi tugyesambenga,
Tukuumire ddala obugolokofu.
3. Ffenna ka tusinzenga Katonda.
Tunyiikire okumuweereza.
Yo enjiri tugibuulirenga.
Enkomerero ejja.
(CHORUS)
Ffenna tube banywevu;
Ensi tugyesambenga,
Tukuumire ddala obugolokofu.
(Era laba Luk. 21:9; 1 Peet. 4:7.)