LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Amazima Agali mu Bayibuli Gaddamu Gatya Okutegeerwa?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
    • ESSOMO 3

      Amazima Agali mu Bayibuli Gaddamu Gatya Okutegeerwa?

      Akabinja k’abasajja nga basoma Bayibuli mu myaka gya 1870

      Abayizi ba Bayibuli mu 1870

      Omusajja ng’asoma Watchtower eyasooka okukubibwa

      Watchtower eyasooka okukubibwa mu 1879

      Omukazi ng’akutte Watchtower ne Awake!

      Watchtower nga bw’efaanana leero

      Bayibuli yakiraga nti oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, mu Bakristaayo ab’amazima mwandivuddemu abayigiriza eby’obulimba ne banyoolanyoola amazima agali mu Bayibuli. (Ebikolwa 20:29, 30) Ekyo kyennyini kye kyaliwo. Abayigiriza abo ab’obulimba baagattika enjigiriza za Yesu n’enjigiriza ez’ekikaafiiri, era mu ngeri eyo Obukristaayo obw’obulimba ne butandika. (2 Timoseewo 4:3, 4) Tuyinza tutya okuba abakakafu nti leero tutegeerera ddala ekyo Bayibuli ky’eyigiriza?

      Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’abikkula amazima. Yakuwa yakiraga nti mu ‘kiseera eky’enkomerero okumanya okutuufu kwandyeyongedde.’ (Danyeri 12:4) Mu 1870, abantu abatonotono abaali banoonya amazima baakiraba nti enjigiriza z’amadiini nnyingi zaali tezeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Bwe batyo baatandika okunoonyereza basobole okutegeera ekituufu kyennyini Bayibuli ky’eyigiriza, era Yakuwa yabayamba ne bategeera Ebyawandiikibwa.

      Abantu abeesimbu beekenneenya Bayibuli. Nga beekenneenya Ebyawandiikibwa, Abayizi ba Bayibuli baagoberera enkola gye tukyakozesa n’okutuusa leero. Baafunangayo ensonga emu ne bagikubaganyaako ebirowoozo. Bwe waabangawo ekitundu mu Bayibuli ekyabanga kibazibuwalidde okutegeera, baanoonyanga ebyawandiikibwa ebirala ebisobola okubayamba okukitegeera. Bye baazuulanga bwe byabanga bikwatagana n’Ebyawandiikibwa ebirala, baabissanga mu buwandiike. Enkola eyo yabasobozesa okuzuula amazima agakwata ku linnya lya Katonda n’Obwakabaka bwe. Baasobola n’okutegeera ekigendererwa kya Katonda eri abantu n’ensi, embeera y’abafu, n’essuubi ly’okuzuukira. Bye baazuula byabayamba okwekutula ku njigiriza nnyingi ez’obulimba awamu ne ku bikolwa Katonda by’akyawa.​—Yokaana 8:31, 32.

      Mu 1879 Abayizi ba Bayibuli baakiraba nti ekiseera kyali kituuse amazima gamanyisibwe buli wamu. N’olwekyo, mu mwaka ogwo baatandika okukuba magazini eyitibwa The Watchtower Announcing Jehovah’s Kingdom, ekyakubibwa n’okutuusa leero. Mu kiseera kino tubuulira abantu amazima agali mu Bayibuli mu nsi 240 era mu nnimi ezisukka mu 750. Amazima agali mu Bayibuli tegabunangako mu bifo bingi nga bwe kiri leero!

      • Kiki ekyatuuka ku mazima agali mu Bayibuli oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu?

      • Kiki ekyatusobozesa okuddamu okutegeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda?

  • Lwaki Twafulumya Bayibuli Eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
    • ESSOMO 4

      Lwaki Twafulumya Bayibuli Eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya?

      Ekyuma ekyakubanga ebitabo
      Ow’oluganda ng’afulumya Enkyusa ey’Ensi Empya eyasookera ddala
      Abantu nga batunuulira Enkyusa ey’Ensi Empya eyʼEbyawandiikibwa Ebitukuvu mu Congo (Kinshasa)

      Congo (Kinshasa)

      Enkyusa ey’Ensi Empya eyʼEbyawandiikibwa Ebitukuvu ng’efulumizibwa mu Rwanda

      Rwanda

      Ekitundutundu ky’omuzingo gwa Symmachus ogw’omu kyasa eky’okusatu oba eky’okuna E.E., ekirimu erinnya lya Katonda

      Ekitundutundu ky’omuzingo gwa Symmachus ogw’omu kyasa eky’okusatu oba eky’okuna E.E., ekiriko erinnya lya Katonda mu Zabbuli 69:31.

      Okumala emyaka mingi Abajulirwa ba Yakuwa baakozesanga, baakubanga, era baagabiranga abantu enkyusa za Bayibuli ez’enjawulo. Kyokka oluvannyuma twakiraba nti kyali kyetaagisa okufulumya enkyusa ya Bayibuli esobola okuyamba abantu ‘okutegeerera ddala amazima,’ era nga kino Katonda ky’ayagaliza buli muntu. (1 Timoseewo 2:3, 4) N’olwekyo, mu 1950 twatandika okufulumya New World Translation (Enkyusa ey’Ensi Empya) mu bitundutundu. Enkyusa ya Bayibuli eyo evvuunuddwa n’obwegendereza mu nnimi ezisukka mu 130.

      Bayibuli ennyangu okutegeera yali yeetaagisa. Ennimi zikyuka oluvannyuma lw’ekiseera, era enkyusa za Bayibuli nnyingi zirimu ebigambo ebitategeerekeka oba ebitakyakozesebwa. Ate era waliwo ebiwandiiko eby’edda ennyo ebyesigika ebizuuliddwa ebituyambye okweyongera okutegeera obulungi Olwebbulaniya, Olulamayiki, n’Oluyonaani, nga mu kusooka ze nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa.

      Enkyusa ya Bayibuli etakyusa mu kigambo kya Katonda yali yeetaagisa. Abavvuunula Bayibuli balina okuvvuunula ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa nga bwe kyali mu biwandiiko ebyasooka, mu kifo ky’okukola nga bo bwe balowooza. Kyokka enkyusa za Bayibuli ezisinga obungi teziriimu linnya lya Katonda, Yakuwa.

      Enkyusa ya Bayibuli egulumiza oyo eyagiwandiisa yali yeetaagisa. (2 Samwiri 23:2) Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi ekyo wammanga, mu biwandiiko bya Bayibuli ebisingayo okuba ebikadde mulimu erinnya lya Yakuwa, era lirimu emirundi nga 7,000. Mu Enkyusa ey’Ensi Empya erinnya lino liziddwa buli we lirina okubeera. (Zabbuli 83:18) Okunoonyereza okwakolebwa okumala emyaka mingi kwasobozesa okuvvuunula enkyusa ya Bayibuli eyo ennyangu okutegeera era eggyayo obulungi amakulu. K’obe ng’olina Enkyusa ey’Ensi Empya mu lulimi lwo oba nedda, tukukubiriza okuba n’enteekateeka ey’okusoma Ekigambo kya Yakuwa buli lunaku.​—Yoswa 1:8; Zabbuli 1:2, 3.

      • Lwaki twakiraba nti enkyusa endala eya Bayibuli yali yeetaagisa?

      • Buli ayagala okutegeera Katonda by’ayagala alina kuba na nteekateeka ki?

      MANYA EBISINGAWO

      Soma ennyanjula ey’Enkyusa ey’Ensi Empya, era oddemu ekibuuzo kino: “Abo abaali ku kakiiko akavvuunula enkyusa eno baatwala batya obuvunaanyizibwa obw’okuvvuunula Bayibuli?” Bw’omala, geraageranya engeri ebyawandiikibwa bino wammanga gye byavvuunulwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya n’engeri gye byavvuunulwa mu nkyusa ya Bayibuli endala yonna gy’olina: Matayo 5:3; 11:12; Lukka 23:43; Ebikolwa 2:34; 20:28; Abaruumi 13:1; 1 Abakkolinso 7:36-38; 11:24.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share