LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Onooganyulwa Otya ng’Ozze mu Nkuŋŋaana Zaffe?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
    • ESSOMO 5

      Onooganyulwa Otya ng’Ozze mu Nkuŋŋaana Zaffe?

      Abajulirwa ba Yakuwa nga bali ku Kizimbe ky’Obwakabaka mu Argentina

      Argentina

      Olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Sierra Leone

      Sierra Leone

      Olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Belgium

      Belgium

      Olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Malaysia

      Malaysia

      Abantu bangi balekedde awo okugenda mu masinzizo olw’okuba tebafunayo bulagirizi bwonna mu by’omwoyo wadde okubudaabudibwa. Kati olwo lwaki wandigenze mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa? Onooganyulwa?

      Ojja kufuna essanyu olw’okubeera mu bantu abaagalana era abafaayo ku balala. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakuŋŋaaniranga mu bibiina eby’enjawulo okusinza Katonda, okwekenneenya Ebyawandiikibwa, n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Abebbulaniya 10:24, 25) Bwe baakuŋŋaananga ne baganda baabwe ab’eby’omwoyo baawuliranga essanyu kubanga baabanga bali wamu n’abantu ababaagala. (2 Abassessalonika 1:3; 3 Yokaana 14) Enkuŋŋaana zaffe nazo bwe zityo bwe ziba, era tufuna essanyu nga bo lye baafunanga.

      Ojja kutegeera emiganyulo egiri mu kutambuliza obulamu bwo ku misingi gya Bayibuli. Nga bwe kyali mu kiseera Bayibuli we yawandiikirwa, ne leero abasajja, abakazi, n’abaana bakuŋŋaana wamu. Bwe tuba mu nkuŋŋaana, abo abalina ebisaanyizo batuyamba okulaba engeri gye tusobola okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Bayibuli. (Ekyamateeka 31:12; Nekkemiya 8:8) Ffenna ababeerawo mu nkuŋŋaana tusobola okwenyigira mu kuyimba ne mu kukubaganya ebirowoozo, bwe tutyo ne twoleka essuubi lye tulina.​—Abebbulaniya 10:23.

      Okukkiriza kwo mu Katonda kujja kunywera. Omutume Pawulo yawandiikira ekimu ku bibiina eby’omu kiseera kye nti: “Njagala nnyo okubalaba, . . . musobole okunzizaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwammwe nange nsobole okubazzaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwange.” (Abaruumi 1:11, 12) Bwe tukuŋŋaana ne bakkiriza bannaffe, okukkiriza kwaffe kunywezebwa era tweyongera okuba abamalirivu okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Bayibuli.

      Lwaki tojja mu lukuŋŋaana lwaffe olunaddako ggwe kennyini ne weerabirako ku bintu ebyo? Tujja kusanyuka nnyo okukulaba. Mu nkuŋŋaana zaffe tewabaayo kusolooza ssente.

      • Enkuŋŋaana zaffe zifaananako zitya ez’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka?

      • Tuganyulwa tutya bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana?

      MANYA EBISINGAWO

      Bw’oba wandyagadde okulaba Ekizimbe ky’Obwakabaka bwe kifaanana munda, saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akutwaleyo akulambuze.

  • Okubeerako Awamu ne Bakristaayo Bannaffe Kituganyula Kitya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
    • ESSOMO 6

      Okubeerako Awamu ne Bakristaayo Bannaffe Kituganyula Kitya?

      Abajulirwa ba Yakuwa nga banyumyako ne bannaabwe

      Madagascar

      Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’ayambako Mukristaayo munne

      Norway

      Abakadde mu kibiina nga bakyaliddeko mukkiriza munnaabwe

      Lebanon

      Abajulirwa ba Yakuwa nga beesanyusaamu

      Italy

      Ne bwe kiba nga kitwetaagisa kuyita mu kibira, era embeera y’obudde ne bw’eba mbi etya, tetwosa kugenda mu nkuŋŋaana. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okukuŋŋaana ne bannaabwe wadde nga baba n’ebizibu, era wadde ng’oluusi baba bakooye?

      Tuyambagana. Ng’ayogera ku ekyo kye tulina okukola nga tukuŋŋaanye n’abalala, omutume Pawulo yagamba nti: “Buli omu ku ffe alowoozenga ku munne.” (Abebbulaniya 10:24) Ebigambo by’omutume Pawulo ebyo biraga nti tulina okufuba okumanya bannaffe, era bitukubiriza okufaayo ku balala. Bwe twogerako ne Bakristaayo bannaffe, tuyinza okukizuula nti abamu basobodde okuvvuunuka ebizibu ebifaananako ebyo bye tulina, era nti basobola okutuyamba okubivvuunuka.

      Enkolagana yaffe n’abalala yeeyongera okunywera. Abo be tuba nabo mu nkuŋŋaana tebalinga bantu be tulabako obulabi obw’olumu; abantu abo mikwano gyaffe egya nnamaddala. Oluusi n’oluusi tufuna ebiseera ne twesanyusaamu nga tuli wamu nabo. Ekyo kivaamu miganyulo ki? Tumanya engeri za baganda baffe ennungi era ekyo kituleetera okweyongera okubaagala. Baganda baffe abo bwe bafuna ebizibu, tubayamba awatali kulonzalonza kwonna olw’okuba tubaagala nnyo. (Engero 17:17) Bwe tutabaako n’omu gwe tuboola mu kibiina kiba kiraga nti ‘tufaayo ku bannaffe.’​—1 Abakkolinso 12:25, 26.

      Tukukubiriza okole omukwano n’abo abakola Katonda by’ayagala. Emikwano ng’egyo emirungi ojja kugifuna mu Bajulirwa ba Yakuwa. Tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kukola mukwano na bantu ba Yakuwa.

      • Okunyumyako n’abalala nga tuzze mu nkuŋŋaana kituganyula kitya?

      • Ddi lwe wandyagadde okujja mu nkuŋŋaana osobole okumanya ab’oluganda abali mu kibiina kyaffe?

  • Enkuŋŋaana Zaffe Ziba Zitya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
    • ESSOMO 7

      Enkuŋŋaana Zaffe Ziba Zitya?

      Olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa mu New Zealand

      New Zealand

      Olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Japan

      Japan

      Omujulirwa omuto ng’asoma Bayibuli mu Uganda

      Uganda

      Abajulirwa babiri nga bawa ekyokulabirako mu Lithuania

      Lithuania

      Enkuŋŋaana z’Abakristaayo abaasooka zaabangamu okuyimba, okusaba, n’okusoma Ebyawandiikibwa awamu n’okubikubaganyaako ebirowoozo. (1 Abakkolinso 14:26) Enkuŋŋaana zaffe nazo ziba bwe zityo.

      Ebiyigirizibwa biva mu Bayibuli era bituyamba mu bulamu obwa bulijjo. Buli wiikendi ebibiina byonna biwuliriza Okwogera okw’eddakiika 30 okunnyonnyola engeri Ebyawandiikibwa gye bisobola okutuyamba mu bulamu bwaffe, era ne kye byogera ku biseera bye tulimu. Ffenna tukubirizibwa okugoberera mu Bayibuli zaffe ng’Ebyawandiikibwa bisomebwa. Ng’okwogera okwo kuwedde, wabaawo Okusoma “Omunaala gw’Omukuumi” okutwala essaawa emu, era ng’ab’oluganda bonna mu kibiina basobola okwenyigira mu kukubaganya ebirowoozo ku kitundu ekiba kisomebwa mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi. Bye tusoma mu kitundu ekyo bituyamba okugoberera obulagirizi obuli mu Bayibuli. Buli wiiki ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 110,000 okwetooloola ensi yonna bisoma ekitundu kye kimu mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi.

      Enkuŋŋaana zituyamba okuyigiriza obulungi. Ne wakati mu wiiki tuba n’olukuŋŋaana oluyitibwa Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo nʼObuweereza Bwaffe, era lubaamu ebitundu bisatu. Olukuŋŋaana luno lwesigamiziddwa ku biba mu katabo, Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe ke tufuna buli mwezi. Ekitundu ekisooka eky’olukuŋŋaana luno, Ekigambo kya Katonda kya Bugagga, kituyamba okutegeera obulungi essuula za Bayibuli eziba zisomeddwa buli omu mu kibiina wiiki eyo. Ekitundu ekiddako, Buulira n’Obunyiikivu, kibaamu okulaga ebyokulabirako ebiraga engeri y’okukubaganyaamu ebirowoozo n’abantu ku Bayibuli. Wabaawo omuwabuzi atuyamba okwongera okulongoosa mu ngeri gye tusomamu ne gye twogeramu n’abantu. (1 Timoseewo 4:13) Ekitundu ekisembayo, Obulamu bw’Ekikristaayo, kiraga engeri gye tuyinza okussa mu nkola emisingi gya Bayibuli. Kibaamu okubuuza ebibuuzo n’okuddamu, era ekyo kituyamba okweyongera okutegeera Bayibuli.

      Bw’onojja mu nkuŋŋaana zaffe ojja kukiraba nti Bayibuli ennyonnyolwa bulungi nnyo era ojja kuyiga ebintu bingi.​—Isaaya 54:13.

      • Biki by’osuubira okuwulira ng’ozze mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa?

      • Ku nkuŋŋaana zaffe ezibaawo buli wiiki, luliwa lwe wandyagadde okusooka okujjamu?

      MANYA EBISINGAWO

      Yita mu ebyo ebinaakubaganyizibwako ebirowoozo mu nkuŋŋaana ezinaabaawo mu maaso awo. Weetegereze ebyo by’onooyiga mu Bayibuli ebinaakuyamba mu bulamu bwo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share