Oluyimba 73
Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima
1. Okwagala kusibuka
Munda ddala mu mutima;
Kutuleetera ’kufaayo
Ku baganda baffe.
Bwe tubeera n’okwagala
Tetulemwa kukwoleka;
Ekisa ng’ekya Katonda,
Tujja kukiraga.
Ka tufengayo ddala,
Kw’abo abali mu bwetaavu,
Twoleke obulungi
Eri abantu bonna.
Tuwa ’balala ’kitiibwa;
Era tubalumirirwa.
Tetukuliriza nsobi.
Tubeerenga beesigwa,
Tukuumenga obumu.
2. Bwe tubeera n’okwagala,
Tetujja kunyiiga mangu;
Tujja kussa obwesige
Mu baganda baffe.
Twekolera emikwano;
Tuwaŋŋana ekitiibwa.
Tukuŋŋaana ne bannaffe,
Okwezza obuggya.
Ffenna ffenna tusobya;
Oluusi tulumya ’balala.
Twagalenga nnyo bonna
Katonda b’ayagala.
Tujja kubeeranga bantu,
Abazimba abalala.
Yolekanga okwagala,
Gulumiza Yakuwa;
Koppa okwagala kwe.
(Era laba 1 Peet. 2:17; 3:8; 4:8; 1 Yok. 3:11.)