Oluyimba 113
Tusiima Ekigambo kya Katonda
Printed Edition
1. Yakuwa Kitaffe, nga twesiimye nnyo
’Kuba nti tulina Ekigambo kyo!
Abawandiisi baakyo, ggwe wabaluŋŋamya.
Kituyigiriza; kituluŋŋamya.
2. Byonna ebirimu bitukwatako.
Kuba baali nga ffe bannabbi abo.
Tuguma bwe tuyiga ebibakwatako.
Tuddaabirizibwa Ekigambo kyo.
3. Kirina amaanyi mangi nnyo ddala,
Yee, kituukira ddala ku mutima.
Kitwoleka kye tuli ne bye twettanira.
Kiwa amagezi; kituwabula.
(Era laba Zab. 119:16, 162; 2 Tim. 3:16; Yak. 5:17; 2 Peet. 1:21.)