LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • sn oluyimba 88
  • Katonda Yabasigira Abaana

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Yabasigira Abaana
  • Muyimbire Yakuwa
  • Similar Material
  • Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva Eri Katonda
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Osobola Okwesiga Bakkiriza Banno
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Obwesige Bwetaagisa Okusobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Abasumba Birabo
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
See More
Muyimbire Yakuwa
sn oluyimba 88

Oluyimba 88

Katonda Yabasigira Abaana

Printed Edition

(Zabbuli 127:3-5)

1. Omwami ne mukyala we

Oluzaala omwana bwe bati,

Baba bakwasiddwa ekintu,

Ekitali kyabwe bokka.

Kirabo kuva wa Yakuwa;

Ye nsibuko y’obulamu bwonna.

Ye y’alagirira ’bazadde

Ne bamanya eky’okukola.

(CHORUS)

Kye musigiddwa kitukuvu;

Bulamu obw’omuwendo.

Omwana mumuyigirize

’Biragiro bya Katonda.

2. Katonda by’abalagira—

Tebivanga ku mitima gyammwe.

Mubitegeezenga abaana;

Mukitwale nga kikulu.

Mubyogere nga mutambula,

Bwe mutuula ne bwe muyimuka.

Balibijjukira gye bujja,

Balyoke bafune ’mikisa.

(CHORUS)

Kye musigiddwa kitukuvu;

Bulamu obw’omuwendo.

Omwana mumuyigirize

’Biragiro bya Katonda.

(Era laba Ma. 6:6, 7; Bef. 6:4; 1 Tim. 4:16.)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share