Oluyimba 62
Mukama Waffe y’Ani?
Printed Edition
	1. Mukama wo y’ani?
Ani ggwe gw’ogondera?
Oyo gw’ovunnamira y’aba
Mukama wo gw’oweereza.
Abaami babiri
Tebajja kugabana
Kwagala kw’omutima gwo gwonna.
Tojja kubasanyusa.
2. Katonda wo y’ani?
Ani kati gw’osinza?
Ow’amazima ali omu;
Londawo gw’onooweereza.
Kayisaali w’ensi,
Ggwe gw’oneemalirako
Oba Katonda ow’amazima
Ng’okola by’ayagala?
3. Nze nfugibwa ani?
Nze ŋŋondera Yakuwa.
Kitange oyo ’w’omu ggulu.
Nja kukola bye nneeyama.
Nze nnagulibwa ye.
Nja kumunywererako.
Nnanunulwa kufa kw’Omwana we.
Ka mmutende bulijjo.
(Era laba Yos. 24:15; Zab. 116:14, 18; 2 Tim. 2:19.)