LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 2
    • Yesu agaana ebikemo bya Sitaani

      Biki Bye Tuyiga Mu Bayibuli?

      Sitaani y’ani oba kye ki?

      WANDIZZEEMU NTI Sitaani . . .

      • Kitonde kya mwoyo?

      • Kye kibi ekiba mu muntu?

      • Kye kirowoozo ekibi ekiba mu mutima gw’omuntu?

      BAYIBULI KY’EGAMBA

      Sitaani yayogera ne Yesu era ‘yamukema.’ (Matayo 4:1-4) N’olwekyo, Sitaani si kirowoozo bulowoozo ekibi ekiba mu mutima gw’omuntu wabula kitonde eky’omwoyo ekibi.

      BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?

      • Mu kusooka Sitaani yali malayika mulungi naye “teyanywerera mu mazima.” (Yokaana 8:44) Yafuuka mulimba era n’ajeemera Katonda.

      • Waaliwo bamalayika abeegatta ku Sitaani.​—Okubikkulirwa 12:9.

      • Sitaani abuzaabuzizza abantu bangi n’abaleetera n’okulowooza nti taliiyo.​—2 Abakkolinso 4:4.

      Sitaani alina obuyinza ku bantu?

      ABAMU BAGAMBA NTI tekisoboka Sitaani okuba n’obuyinza ku bantu, kyokka abalala batya nnyo dayimooni. Ggwe olowooza otya?

      BAYIBULI KY’EGAMBA

      “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) Sitaani alina obuyinza bungi, naye si ku bantu bonna.

      BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?

      • Sitaani akozesa obulimba okusobola okubuzaabuza abantu.​—2 Abakkolinso 11:14.

      • Dayimooni oluusi zibonyaabonya abantu.​—Matayo 12:22.

      • Katonda asobola okukuyamba n’osobola ‘okuziyiza’ Omulyolyomi.​—Yokaana 4:7.

      Okumanya ebisingawo, laba essuula 10 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

      Osobola n’okukafuna ku www.pr418.com/lg

  • Ebirala Bisange ku Mukutu Gwaffe
    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 2
    • Ebirala Bisange ku Mukutu Gwaffe

      EBIBUUZO EBIRALA BAYIBULI BY’EDDAMU

      Ddala Yesu Yafiira ku Musaalaba?

      (Kiri mu Lungereza. Genda ku ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > EBIBUUZO BAYIBULI BY’EDDAMU)

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share