LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • fg essomo 13 kib. 1-4
  • Kiki Ekinaatuuka ku Madiini?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Ekinaatuuka ku Madiini?
  • Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Similar Material
  • Engeri Amadiini ag’Obulimba Gye Galeeta Ekivume ku Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Weewale Okusinza okw’Obulimba!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Enkomerero Y’eddiini Ez’obulimba Eri Kumpi!
    Enkomerero Y’eddiini Ez’obulimba Eri Kumpi!
  • Okusinza Katonda kw’Asiima
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
fg essomo 13 kib. 1-4

ESSOMO 13

Kiki Ekinaatuuka ku Madiini?

1. Amadiini gonna malungi?

Omusajja asoma Bayibuli

Mu madiini gonna mulimu abantu abeesimbu. Kirungi okukimanya nti Katonda amanyi abantu ng’abo era abafaako. Naye eky’ennaku, amadiini gakoze ebibi bingi nnyo. (2 Abakkolinso 4:3, 4; 11:13-15) Okusinziira ku ebyo ebifulumira mu mikutu gy’amawulire, amadiini agamu geenyigira mu bikolwa eby’obutujju, mu kittabantu, ne mu ntalo, gatulugunya abaana era n’abakulembeze baago bakwata abaana abato. Ekyo nga kinakuwaza nnyo abantu abeesimbu abakkiririza mu Katonda!​—Soma Matayo 24:3-5, 11, 12.

Eddiini ey’amazima egulumiza Katonda naye amadiini ag’obulimba tegamuweesa kitiibwa. Amadiini ag’obulimba gayigiriza ebintu ebiteesigamiziddwa ku Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, gayigiriza eby’obulimba ku Katonda ne ku mbeera y’abafu. Naye Yakuwa ayagala abantu bamanye amazima agamukwatako.​—Soma Omubuulizi 9:10; 1 Timoseewo 2:3-5.

2. Kiki ekinaatuuka ku madiini?

Katonda tasanyukira madiini agagamba nti gamwagala naye nga mu butuufu gaagala nsi ya Sitaani. (Yakobo 4:4) Ekigambo kya Katonda kiyita amadiini gonna ag’obulimba “Babulooni Ekinene.” Amadiini gonna ag’obulimba gaasibuka mu kibuga Babulooni eky’edda oluvannyuma lw’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuzikiriza amadiini gonna agabuzaabuza abantu era agabanyigiriza.​—Soma Okubikkulirwa 17:1, 2, 5, 16, 17; 18:8.

Kyokka Yakuwa teyeerabidde bantu abeesimbu abali mu madiini ag’obulimba mu nsi yonna. Ayambye abantu ng’abo okujja mu kibiina kye ng’abayigiriza amazima.​—Soma Mikka 4:2, 5.

3. Kiki abantu abeesimbu kye basaanidde okukola?

Abantu nga banyumyamu oluvannyuma lw’enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo

Eddiini ey’amazima egatta wamu abantu

Yakuwa afaayo ku bantu abaagala okumanya ekituufu n’ekirungi. Abakubiriza bave mu madiini ag’obulimba. Abantu abaagala Katonda baba beetegefu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okumusanyusa.​—Soma Okubikkulirwa 18:4.

Mu kyasa ekyasooka, abantu abeesimbu baasanyuka nnyo abatume bwe baababuulira amawulire amalungi. Yakuwa yabayamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe ne kibayamba okuba n’obulamu obulina ekigendererwa. Baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kubanga bakkiriza amawulire amalungi ne bakulembeza mu bulamu bwabwe ebyo Yakuwa by’ayagala.​—Soma 1 Abassessalonika 1:8, 9; 2:13.

Abakyuka ne bava mu madiini ag’obulimba Yakuwa abaaniriza mu ddiini ey’amazima. Bw’onootandika okusinza Yakuwa, ojja kufuuka mukwano gwe, ojja kwegatta ku bantu abamusinza era abooleka okwagala, era ojja kufuna obulamu obutaggwaawo.​—Soma Makko 10:29, 30; 2 Abakkolinso 6:17, 18.

4. Katonda anaaleeta atya essanyu mu nsi yonna?

Amadiini ag’obulimba ganaatera okuzikirizibwa, era ago mawulire malungi. Tegajja kuddamu kunyigiriza bantu mu nsi yonna. Tegajja kuddamu kubuzaabuza bantu na kubaawulayawulamu. Buli omu ajja kuba asinza Katonda omu yekka ow’amazima.​—Soma Okubikkulirwa 18:20, 21; 21:3, 4.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 15 ne 16 mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share