Semberera Katonda
‘Oliba n’Okwegomba’
KIRUMA okulaba omwagalwa wo ng’abonaabona era oluvannyuma n’afa. Ekyo kituleetera ennaku ey’amaanyi. Wadde kiri kityo, kitubuudaabuda okukimanya nti Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda, ategeera obulumi bwe tuba nabwo. N’ekisinga obukulu kiri nti, yeesunga okukozesa amaanyi ge ng’omuyinza w’ebintu byonna okuzuukiza abafu. Weetegereze essuubi eriri mu bigambo bya Yobu ebisangibwa mu Yobu 14:13-15.
Lowooza ku mbeera eyaliwo. Yobu omusajja ow’okukkiriza okunywevu, ayolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi—omuli okufiirwa eby’obugagga bye, abaana be b’ayagala ennyo, n’obulwadde obw’amaanyi. Ng’ali mu nnaku ey’amaanyi, akoowoola Katonda ng’agamba nti: “Singa onkwese mu magombe!” (Olunyiriri 13) Yobu alaba nti okugenda emagombe kijja kumusobozesa okufuna obuweerero. Ng’ali magombe ng’eky’obugagga Katonda ky’akwese, ajja kuba takyabonaabona era nga takyalumwa.a
Yobu anaabeera mu magombe emirembe gyonna? Yobu akimanyi nti si bwe kiri. Yeeyongera okusaba ng’agamba nti: “Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n’onjijukira!” Yobu mukakafu nti tajja kubeera magombe lubeerera era nti Yakuwa tajja kumwerabira. Yobu ageraageranya ekiseera kye yandimaze mu magombe ku nnaku “ez’olutabaalo”—ekiseera kye yandimaze ng’alindirira. Okutuusa ddi? Yobu agamba nti: “Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze.” (Olunyiriri 14) Okuteebwa okwo kitegeeza okuva emagombe—mu ngeri endala, okuzuukizibwa okuva mu bafu!
Lwaki Yobu mukakafu nti ajja kuzuukizibwa? Kubanga amanyi enneewulira Omutonzi waffe ow’okwagala gy’alina ku baweereza be abeesigwa abaafa. Yobu agamba nti: “Wandimpise, nange nandikuyitabye: Wandibadde n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.” (Olunyiriri 15) Yobu akiraga nti ye kennyini mulimu gw’emikono gya Katonda. Omuwi w’Obulamu, eyasobozesa Yobu okutondebwa mu lubuto lwa nnyina asobola okumuzuukiza.—Yobu 10:8, 9; 31:15.
Ebigambo bya Yobu birina kye bituyigiriza ku Yakuwa: Alina enkolagana ey’enjawulo n’abantu abalinga Yobu, abeeteeka mu mikono gye nga bakkiriza ababumbe bafuuke abasiimibwa mu maaso ge. (Isaaya 64:8) Yakuwa atwala abaweereza be abeesigwa nga ba muwendo. Abantu abeesigwa abaafa ‘yeegomba’ okubazuukiza. Omwekenneenya omu agamba nti ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa okwegomba “kye kimu ku bigambo ebisingayo okwoleka enneewulira omuntu gy’aba nayo ng’ayagala okukola ekintu.” Yee, Yakuwa takoma ku kujjukira bujjukizi baweereza be wabula yeegomba n’okubazuukiza.
Kizzaamu amaanyi okulaba nti mu kitabo kya Yobu—ekimu ku bitabo bya Bayibuli ebyasooka okuwandiikibwa—Yakuwa yabikkula ekigendererwa kye eky’okuzuukiza abafu.b Ayagala oddemu okubeera awamu n’abaagalwa bo abaafa. Essuubi eryo likusobozesa okugumira ennaku gy’oba nayo ng’ofiiriddwa. Lwaki tofuba kuyiga bisingawo ebikwata ku Katonda ono ow’okwagala n’engeri gy’ayinza okukubumba obeere omu kw’abo abanaabeerawo okulaba ng’atuukiriza ekigendererwa kye?
[Obugambo obuli wansi]
a Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ‘okukweka’ Yobu kye yakozesa, kisobola okutegeeza ‘okuteeka eky’obugagga eky’omuwendo mu kifo awali obukuumi.’ Ekitabo ekirala kiraga nti ekigambo ekyo kiyinza okutegeeza, ‘okukukurira eky’obugagga.’
b Bw’oba nga wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku ssuubi Bayibuli ly’ewa ery’okuzuukiza abantu babeere abalamu mu nsi empya, laba essuula 7 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.