LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ia lup. 205-208
  • Okufundikira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufundikira
  • Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Similar Material
  • “Twongere Okukkiriza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Kirage nti Okkiririza mu Bisuubizo bya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Okukkiriza—Engeri Etuyamba Okuba Abanywevu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Ddala Okkiririza mu Mawulire Amalungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Koppa Okukkiriza Kwabwe
ia lup. 205-208

Okufundikira

“Mukoppe ekyokulabirako ky’abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.”​—ABEBBULANIYA 6:12.

1, 2. Lwaki kikulu nnyo kati okunyweza okukkiriza kwaffe? Waayo ekyokulabirako.

OKUKKIRIZA ngeri nnungi nnyo gye tulina okuba nayo. Bwe tuba tetulina kukkiriza, twetaaga okukufuna mu bwangu. Ate bwe tuba nga tukulina, tulina okukukuuma n’okukunyweza. Lwaki?

2 Kuba akafaananyi ng’otambulira mu ddungu eddene era nga weetaaga amazzi. Bw’ogafuna, oba olina okugatereka obulungi gasobole okukumazaako olugendo. Ng’amazzi bwe gataba mangu ga kufuna mu ddungu, n’okukkiriza kwa kkekwa nnyo mu nsi gye tulimu leero. N’olwekyo tulina okufuba ennyo okunyweza okukkiriza kwaffe kuleme kunafuwa ne kusaanawo. Nga bwe tutasobola kuba balamu awatali mazzi era tetusobola kuba balamu mu by’omwoyo nga tetulina kukkiriza.​—Bar. 1: 17.

3. Kiki Yakuwa ky’atuwadde ekisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe, era bintu ki ebibiri bye tutasaanidde kwerabira?

3 Yakuwa akimanyi nti okukkiriza tukwetaaga nnyo kati, ate era akimanyi nti si kyangu n’akamu ennaku zino omuntu okukuuma okukkiriza kwe nga kunywevu. Eyo ye nsonga lwaki atuwadde ebyokulabirako bye tusobola okukoppa. Yakuwa yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika nti: “Mukoppe ekyokulabirako ky’abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.” (Beb. 6:12) Era eyo ye nsonga lwaki ekibiina kya Yakuwa kitukubiriza okufuba okukoppa abasajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi be tusomyeko mu kitabo kino. Kati olwo kiki kye tusaanidde okukola kati? Ka tujjukire ebintu bino bibiri: (1) Tulina okunyweza okukkiriza kwaffe; (2) tulina okulowoozanga ku ssuubi lyaffe.

4. Kiki Sitaani ky’akoze okunafuya okukkiriza kwaffe, era lwaki tetwandirowoozezza nti tetusobola kukuuma kukkiriza kwaffe nga kunywevu?

4 Nyweza okukkiriza kwo. Sitaani ayagala okusaanyaawo okukkiriza kwaffe. Ataddewo embeera nnyingi ezisobola okunafuya okukkiriza kwaffe ne kusaanawo. Wa maanyi nnyo okutusinga. Naye kino kyandituleetedde okuwulira nti tetusobola kukuuma kukkiriza kwaffe nga kunywevu? Nedda! Yakuwa, ye Mukwano gwaffe asingayo era ayagala nnyo abo bonna abafuba okuba n’okukkiriza okunywevu. Ng’ali ku ludda lwaffe, tusobola okuziyiza Omulyolyomi n’atuuka n’okutudduka! (Yak. 4:7) Tusobola okumuziyiza nga buli lunaku tuwaayo akaseera okunyweza okukkiriza kwaffe. Kino tuyinza kukikola tutya?

5. Kiki ekyasobozesa abasajja n’abakazi abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli okuba n’okukkiriza okw’amaanyi? Nnyonnyola.

5 Nga bwe tulabye, abasajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi aboogerwako mu Bayibuli tebaazaalibwa nakwo. Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwe gwabayamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. (Bag. 5:22, 23) Baasabanga Yakuwa anyweze okukkiriza kwabwe. Naffe ka tusabenga Yakuwa bulijjo, nga tukimanyi nti awa omwoyo gwe abo abagumusaba era ne bakolera ku ssaala zaabwe. (Luk. 11:13) Waliwo ekirala kye tuyinza okukola?

6. Tuyinza tutya okuganyulwa mu ebyo bye tusoma ku bantu abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli?

6 Mu kitabo kino twogedde ku bantu batono nnyo abayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Naye waliwo n’abalala bangi! (Soma Abebbulaniya 11:32) Tusaanidde okwongera okusoma ebikwata ku bantu abo. Singa Bayibuli tugisoma lukwakwayo, okukkiriza kwaffe tekujja kunywera. Okusobola okuganyulwa mu ebyo bye tusoma, tusaanidde okuwaayo ekiseera okunoonyereza ku bantu abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli. Bwe tukijjukira nti abasajja n’abakazi abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli nabo baali tebatuukiridde ‘nga ffe,’ tweyongera okukiraba nti tusobola bulungi okubakoppa. (Yak. 5:17) Bwe twessa mu bigere byabwe, tusobola okuteebereza engeri gye bandiyisiddwamu nga boolekaganye n’ebizibu bye tulina.

7-9. (a) Abasajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi aboogerwako mu Bayibuli bandiwulidde batya nga babagambye okusinza Yakuwa nga bwe tukola leero? (b) Lwaki okukkiriza kwaffe tusaanidde okukwoleka mu bikolwa?

7 Ate era okukkiriza kwaffe tusaanidde okukwoleka mu bikolwa, kubanga “okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.” (Yak. 2:26) Lowooza ku ssanyu abasajja n’abakazi be twogeddeko lye bandifunye nga basabiddwa okukola ebyo Yakuwa by’atwetaaza leero!

8 Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu yandiwulidde atya nga bamugambye nti mu kifo ky’okusinza Yakuwa ng’ali ku byoto eby’amayinja eby’omu ddungu, agende asinzize wamu n’abaweereza ba Yakuwa abalala abali mu Bizimbe by’Obwakabaka ebirabika obulungi oba mu nkuŋŋaana ennene, gye bannyonnyolera mu bujjuvu ebisuubizo bye yalengerera ‘ewala’? (Soma Abebbulaniya 11:13) Ate Eriya yandiwulidde atya singa baamugamba nti omulimu gwe gwali gwa kubuulira mawulire agabudaabuda era agawa abantu essuubi, so si kusaanyaawo bannabbi ba Bbaali abaaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa kabaka omubi? Ddala abasajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi abaaliwo edda tebandisanyuse nnyo okuweereza Yakuwa mu ngeri gye tumuweerezaamu leero?

9 Kale ka tufubenga bulijjo okwoleka okukkiriza kwaffe mu bikolwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba tukoppa abasajja n’abakazi abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi aboogerwako mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. Era nga bwe kyogerwako mu Nnyanjula, tujja kwongera okubaagala babeere ddala mikwano gyaffe.

10. Ssanyu ki lye tuliba nalyo mu nsi empya?

10 Lowoozanga ku ssuubi lyo. Essuubi Katonda lye yawa abasajja n’abakazi abeesigwa abaaliwo edda lyanyweza okukkiriza kwabwe. Naawe essuubi ly’olina linywezezza okukkiriza kwo? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ssanyu lye tuliba nalyo okulaba abaweereza ba Katonda abo abeesigwa nga bazuukiziddwa. (Soma Ebikolwa 24:15.) Biki bye wandyagadde okubabuuza?

11, 12. Ng’oli mu nsi empya, biki by’olyagala okubuuza (a) Abbeeri? (b) Nuuwa? (c) Ibulayimu? (d) Luusi? (e) Abbigayiri? (f) Eseza?

11 Bw’olisisinkana Abbeeri, olimubuuza bazadde be bwe baali bafaanana? Oba olimubuuza nti: “Wayogerako ne bakerubi abaali baziyiza omuntu yenna okuyingira mu Adeni? Bakuddamu ng’oyogedde nabo?” Ate Nuuwa, olimubuuza ki? Oboolyawo olimubuuza ebibuuzo nga bino: “Watyanga Abanefuli? Walabirira otya ebisolo ebyo byonna ng’oli mu lyato?” Bw’olisisinkana Ibulayimu, olimubuuza nti: “Seemu wamulabako? Ani yakuyigiriza ebikwata ku Yakuwa? Kyali kyangu okuva e Uli?”

12 Era lowooza ku bibuuzo by’oyinza okubuuza abakazi abeesigwa abaaliwo edda nga bazuukidde. “Luusi, kiki ekyakuleetera okutandika okusinza Yakuwa?” “Abbigayiri, watya okutegeeza Nabbali engeri gye wali oyambyemu Dawudi?” “Eseza, biki ebyaddirira ng’ebyo ebikwogerwako ggwe ne Moluddekaayi mu Bayibuli biwedde?”

13. (a) Bibuuzo ki abalizuukizibwa bye bayinza okukubuuza? (b) Owulira otya bw’olowooza ku kubeera awamu n’abaweereza ba Katonda ab’edda?

13 Kya lwatu, n’abantu abo bayinza okuba nga baliba n’ebibuuzo bingi eby’okukubuuza. Nga kiribasanyusa nnyo okubategeeza ebyaliwo mu nnaku ez’oluvannyuma n’engeri Yakuwa gye yawa abantu be emikisa mu kiseera ekyo ekizibu ennyo! Awatali kubuusabuusa, bajja kukwatibwako nnyo bwe balimanya engeri Yakuwa gye yatuukirizaamu ebisuubizo bye byonna. Mu kiseera ekyo, kijja kuba tekikyatwetaagisa kuteebereza ebikwata ku bantu abo aboogerwako mu Bayibuli. Tujja kuba nabo mu Lusuku lwa Katonda! N’olwekyo weeyongere okuyiga ebikwata ku bantu abo obafuule mikwano gyo. Weeyongere okukoppa okukkiriza kwabwe. Weesunge okuweereza Yakuwa emirembe gyonna ng’oli wamu nabo!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share