ESSOMO 8
Lwaki Katonda Akyaleseewo Ebintu Ebibi n’Okubonaabona?
1. Ebikolwa ebibi byatandika bitya?
Katonda alese abantu okufugira ekiseera ekiwanvu okulaga nti tebasobola kumalawo bizibu ku nsi
Ebikolwa ebibi byatandika ku nsi Sitaani lwe yasooka okwogera eby’obulimba. Mu kusooka, Sitaani yali malayika mulungi, naye “teyanywerera mu mazima.” (Yokaana 8:44) Yayagala bamusinze so nga Katonda yekka y’agwanidde okusinzibwa. N’ekyaddirira, yalimbalimba Kaawa, n’amuleetera okumugondera mu kifo ky’okugondera Katonda. Adamu yeegatta ku Kaawa mu kujeemera Katonda. Ekyo Adamu kye yasalawo okukola kyaviirako abantu okubonaabona n’okufa.—Soma Olubereberye 3:1-6, 19.
Sitaani bwe yasendasenda Kaawa okujeemera Katonda, eyo ye yali entandikwa y’okujeemera obufuzi bwa Katonda. Abantu abasinga obungi beegasse ku Sitaani mu kuwakanya obufuzi bwa Katonda. Bwe kityo, Sitaani yafuuka “omufuzi w’ensi.”—Soma Yokaana 14:30; 1 Yokaana 5:19.
2. Katonda bye yatonda byaliko ekikyamu kyonna?
Buli kimu Katonda kye yatonda tekyaliko kikyamu kyonna. Abantu ne bamalayika Katonda be yatonda baali basobola okumugondera. (Ekyamateeka 32:4, 5) Katonda yatutonda nga tulina eddembe okusalawo okukola ekirungi oba ekibi. Eddembe eryo lituwa akakisa okulaga nti twagala Katonda.—Soma Yakobo 1:13-15; 1 Yokaana 5:3.
3. Lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona?
Lwaki Yakuwa akyaleseewo abo abajeemera obufuzi bwe? Akyabaleseewo okulaga nti obufuzi bwe bwokka bwe busobola okufuga abantu mu ngeri ematiza. (Omubuulizi 7:29; 8:9) Era ekyo kyeyolese bulungi mu myaka 6,000 abantu gye bamaze nga beefuga. Abafuzi b’ensi balemereddwa okumalawo entalo, obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya, n’endwadde.— Soma Yeremiya 10:23; Abaruumi 9:17.
Obutafaananako bufuzi bw’abantu, obufuzi bwa Katonda buganyula abo ababukkiriza. (Isaaya 48:17, 18) Yakuwa anaatera okuggyawo obufuzi bw’abantu bwonna. Abo bokka abakkiriza okufugibwa Katonda be bajja okubeera ku nsi.—Isaaya 11:9.—Soma Danyeri 2:44.
Laba vidiyo Lwaki Katonda Akyaleseewo Okubonaabona?
4. Obugumiikiriza bwa Katonda butusobozesa kukola ki?
Sitaani yagamba nti abantu baweereza Yakuwa olw’okuba balina kye bamufunako. Wandyagadde okulaga nti ekyo si kituufu? Osobola okukiraga kubanga obugumiikiriza bwa Katonda butusobozesa okukyoleka obanga twagala kufugibwa Katonda oba bantu. Ekyo kye tuba tusazeewo kyeyolekera mu ngeri gye tweyisaamu.—Soma Yobu 1:8-12; Engero 27:11.
5. Tuyinza tutya okulaga nti Katonda ye Mufuzi waffe?
Kye tusalawo kiraga obanga twagala Katonda abe Mufuzi waffe
Tukiraga nti Katonda ye Mufuzi waffe bwe tusalawo okuba mu ddiini ey’amazima egoberera Ekigambo kya Katonda Bayibuli. (Yokaana 4:23) Tulaga nti tetwagala kufugibwa Sitaani nga twewala eby’obufuzi n’entalo, nga Yesu bwe yakola.—Soma Yokaana 17:14.
Sitaani akozesa obuyinza bwe okutumbula ebikolwa eby’obuseegu n’emize emirala. Bwe twewala ebintu ng’ebyo, abamu ku mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe bayinza okutusekerera n’okutuyigganya. (1 Peetero 4:3, 4) N’olwekyo tulina okusalawo kye tunaakola. Tunaakolagana n’abantu abaagala Katonda? Tunaagondera amateeka Katonda g’atuwa olw’obulungi bwaffe? Bwe tukola tutyo, tulaga nti Sitaani yalimba bwe yagamba nti tewali n’omu asobola okugondera Katonda ng’ali mu buzibu.—Soma 1 Abakkolinso 6:9, 10; 15:33.
Olw’okuba Katonda ayagala nnyo abantu, ajja kuggyawo ebintu ebibi n’okubonaabona. Abo abakkiriza ekyo bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna.—Soma Yokaana 3:16.