LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 9/15 lup. 8-12
  • Emirembe mu Myaka Olukumi, n’Okweyongerayo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emirembe mu Myaka Olukumi, n’Okweyongerayo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘BALIZIMBA ENNYUMBA ERA BALISIMBA ENSUKU Z’EMIZABBIBU’
  • “OMUSEGE N’OMWANA GW’ENDIGA BINAALIIRANGA WAMU”
  • “ALISANGULA BULI ZZIGA”
  • ‘BONNA ABALI MU NTAANA BALIVAAMU’
  • KATONDA AJJA KUBA “BYONNA ERI BULI OMU”
  • Obwakabaka “Obutalizikirizibwa Emirembe Gyonna”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Obwakabaka Bwa Katonda Kye Bunaakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Ensi Empya ey’Ekitalo Ekoleddwa Katonda
    Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
  • Obwakabaka bwa Katonda—Obufuzi bw’Ensi Obuppya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 9/15 lup. 8-12

Emirembe mu Myaka Olukumi, n’Okweyongerayo

“Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.”—1 KOL. 15:28.

OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?

Onoowulira otya ng’ebyo ebiri mu byawandiikibwa bino bituukiridde?

  • Mikka 4:4

  • Isaaya 11:6-9

  • Yokaana 5:28, 29

1. Kiki ‘ab’ekibiina ekinene’ kye basuubira mu biseera eby’omu maaso?

LOWOOZA ku mikisa abantu gye bayinza okufuna singa okumala emyaka lukumi bafugibwa gavumenti ey’amaanyi era ng’ekulemberwa omufuzi ow’ekisa era omwenkanya. ‘Ab’ekibiina ekinene,’ abanaawonawo mu “kibonyoobonyo ekinene” ekigenda okukomya enteekateeka eno ey’ebintu, bajja kufugibwa gavumenti ng’eyo.—Kub. 7:9, 14.

2. Emyaka 6,000 abantu gye bamaze nga beefuga givuddemu ki?

2 Abantu bamaze emyaka nga 6,000 nga beefuga. Ekyo kireetedde olulyo lw’omuntu ennaku n’okubonaabona. Edda ennyo, Bayibuli yagamba nti: “Wabaawo ekiseera omuntu omu bw’abeera n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.” (Mub. 8:9) Embeera eri etya mu nsi leero? Ng’oggyeko entalo n’obwegugungo, waliwo n’ebizibu ebirala, gamba ng’obwavu, endwadde, okwonoonebwa kw’obutonde, n’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde. Abakungu ba gavumenti bangi bagamba nti wajja kubaawo akatyabaga ak’amaanyi singa abantu tebalekera awo kwonoona nsi.

3. Biki ebinaabaawo mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi?

3 Kabaka Yesu Kristo bw’anaaba afuga ensi ng’ali wamu n’abaafukibwako amafuta 144,000, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ebizibu byonna abantu bye balina era butereeze ensi. Mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, ekisuubizo kya Yakuwa Katonda kino kijja kutuukirira: “Ntonda eggulu eriggya n’ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.” (Is. 65:17) Bintu ki eby’ekitalo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Obunnabbi bwa Bayibuli busobola okutuyamba okutegeera ebintu ebyo, wadde nga tebinnaba kulabika.​—2 Kol. 4:18.

‘BALIZIMBA ENNYUMBA ERA BALISIMBA ENSUKU Z’EMIZABBIBU’

4. Bwe kituuka ku by’ensula, abantu bali mu mbeera ki leero?

4 Buli muntu yandyagadde okuba n’ennyumba eyiye ku bubwe. Kyokka, leero abantu abasinga obungi amayumba ge basulamu si malungi. Ebibuga birimu abantu bangi era abasinga obungi ku bo babeera mu bifo omuli obuyumba obw’omugotteko. Abantu abasinga obungi tebakirowoozanganako nti basobola okuba n’ennyumba eyaabwe ku bwabwe.

5, 6. (a) Obunnabbi obuli mu Isaaya 65:21 ne Mikka 4:4 bunaatuukirizibwa butya? (b) Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna emikisa egyo?

5 Mu Bwakabaka bwa Katonda buli muntu ajja kuba n’ennyumba eyiye ku bubwe. Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu.” (Is. 65:21) Ate era waliwo n’emikisa emirala abantu gye bajja okufuna. Leero, abantu abamu balina amayumba agaabwe ku bwabwe, era abamu balina amayumba amanene ddala. Wadde kiri kityo, abamu ku bo beeraliikirira nti bayinza okufiirwa amayumba gaabwe ng’eby’enfuna bigootaanye oba beeraliikirira nti ababbi bayinza okubayingirira. Kyokka mu Bwakabaka bwa Katonda, tewali n’omu ajja kweraliikirira bintu ng’ebyo! Nnabbi Mikka yawandiika nti: “Balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga.”​—Mi. 4:4.

6 Bwe tuba twagala okubeera mu Bwakabaka bwa Katonda, kiki kye tulina okukola? Kya lwatu nti buli omu ku ffe yandyagadde okuba n’ennyumba ennungi. Naye okwagala okuba n’ennyumba ennungi mu kiseera kino tekisaanidde kutuleetera kuggwa mu mabanja. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku bisuubizo bya Katonda. Yesu yagamba nti: “Ebibe birina we bisula n’ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Luk. 9:58) Yesu yali asobola okwezimbira oba okwegulira ennyumba esingayo okuba ennungi. Naye ekyo teyakikola. Lwaki? Kubanga yali tayagala kukola kintu kyonna ekyali kiyinza okumulemesa okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwe. Naffe tusobola okukoppa ekyokulabirako kye nga twewala omwoyo gw’okwagala ebintu, ekintu ekiyinza okutuleetera okweraliikirira ekisukkiridde.​—Mat. 6:33, 34.

“OMUSEGE N’OMWANA GW’ENDIGA BINAALIIRANGA WAMU”

7. Buyinza ki Katonda bwe yawa abantu ku bisolo?

7 Yakuwa bwe yali atonda ebintu ku nsi, abantu be yasembayo okutonda. Yabuulira omukozi we omukulu, Omwana we omubereberye, ensonga lwaki yali agenda kutonda abantu. Yamugamba nti: “Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe; bafugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu n’ente n’ensi yonna na buli ekyewalula ku nsi.” (Lub. 1:26) Bwe kityo, Katonda yawa Adamu ne Kaawa, n’abantu abalala bonna abandizaaliddwa, obuyinza okufuga ebisolo n’okubirabirira.

8. Kiki abantu kye beetegerezza ku nsolo?

8 Ddala abantu basobola okufuga ebisolo byonna era ne wabaawo emirembe wakati waabwe nabyo? Ebisolo eby’awaka, gamba ng’embwa ne kkapa, bikolagana bulungi n’abantu. Ate kiri kitya ku nsolo ez’omu nsiko? Alipoota emu egamba nti: “Bannasayansi abeekenneenyezza ensolo ez’omu nsiko bakizudde nti ensolo zisobola okwoleka enneewulira.” Ensolo oluusi zitya oba zikambuwala bwe wabaawo ekizikanze. Naye zisobola okwoleka omukwano? Alipoota eyo egattako nti: “Ensolo zooleka omukwano naddala bwe ziba zirabirira obwana bwazo.”

9. Bwe kituuka ku nsolo, nkyukakyuka ki ezinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

9 N’olwekyo tekyewuunyisa Bayibuli bw’egamba nti wajja kubaawo emirembe wakati w’abantu n’ensolo. (Soma Isaaya 11:6-9; 65:25.) Lwaki? Kijjukire nti Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baava mu lyato oluvannyuma lw’Amataba, Yakuwa yabagamba nti: “Ekitiibwa kyammwe n’entiisa yammwe binaabanga ku buli nsolo ey’ensi.” Ensolo okutya abantu ne zibadduka, kyandiziyambye okwewala okuttibwa. (Lub. 9:2, 3) Olowooza Yakuwa tasobola kukendeeza ku kutya ensolo kwe zirina eri abantu, ekyo ne kizisobozesa okuba mu mirembe n’abantu nga bwe yali ayagala kibe? (Kos. 2:18) Ng’abantu abanaabeera ku nsi mu kiseera ekyo bajja kunyumirwa obulamu!

“ALISANGULA BULI ZZIGA”

10. Kiki ekireetera abantu okukulukusa amaziga?

10 Sulemaani bwe yalaba ebintu ebibi ebyali bikolebwa era nga n’abantu bangi banyigirizibwa, yagamba nti: “Laba, amaziga g’abo abajoogebwa, so nga tebalina [ababudaabuda].” (Mub. 4:1) Ne leero embeera bw’etyo bw’eri, si na kindi mbi nnyo n’okusingawo. Ani ku ffe atakulukusangako ku maziga olw’ensonga emu oba endala? Kituufu nti ebiseera ebimu tukulukusa amaziga olw’essanyu. Kyokka ebiseera ebisinga obungi, tukulukusa amaziga nga waliwo ekituleetedde ennaku.

11. Kyakulabirako ki eky’abantu abaakaaba amaziga aboogerwako mu Bayibuli ekisinga okukukwatako?

11 Lowooza ku byokulabirako ebingi eby’abantu aboogerwako mu Bayibuli abaakaaba. Saala bwe yafa nga wa myaka 127, ‘Ibulayimu yamukungubagira era n’amukaabira amaziga.’ (Lub. 23:1, 2) Nawomi bwe yali asiibula baka batabani be, baayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba amaziga. (Luus. 1:9, 14) Kabaka Keezeekiya bwe yalwala ennyo era nga kirabika nti yali takyasobola kuwona, yasaba Katonda era “n’akaaba nnyo amaziga.” Ekyo kyaleetera Yakuwa okumuwonya. (2 Bassek. 20:1-5) Ate era ffenna tukwatibwako nnyo bwe tusoma ku ekyo ekyaliwo nga Peetero yeegaanye Yesu. Bwe yawulira enkoko ng’ekookolima, Peetero ‘yafuluma ebweru n’akaaba nnyo.’​—Mat. 26:75.

12. Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bunaaleetera butya abantu obuweerero?

12 Olw’okuba abantu balina ebizibu bingi, beetaaga okubudaabudibwa n’okufuna obuweerero. Ekyo kyennyini kye kijja okubaawo mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.” (Kub. 21:4) Ng’oggyeko okuggyawo okukungubaga, okukaba, n’obulumi, Katonda asuubizza n’okuggyawo okufa. Ekyo anaakikola atya?

‘BONNA ABALI MU NTAANA BALIVAAMU’

13. Okuva Adamu lwe yayonoona, okufa kukutte kutya ku bantu?

13 Okuva Adamu lwe yayonoona, okufa kubadde kufuga abantu nga kabaka. Okufa mulabe abantu gwe batasobola kulwanyisa ne bawangula. Tewali muntu yenna atatuukiridde asobola kusimatukka kufa. Okufa kuleetedde abantu ennaku ey’amaanyi. (Bar. 5:12, 14) Mu butuufu, “olw’okutya okufa” abantu bukadde na bukadde ‘bateekebwa mu buddu obulamu bwabwe bwonna.’​—Beb. 2:15.

14. Kiki ekinaabaawo ng’okufa kuggiddwawo?

14 Bayibuli eyogera ku kiseera okufa lwe kuliggibwawo. Egamba nti: “Omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.” (1 Kol. 15:26) Ekyo kijja kuganyula abantu ba biti bibiri. ‘Ab’ekibiina ekinene,’ abaliwo leero, bajja kusobola okuwonawo bayingire mu nsi empya nga balina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. Obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaafa, bajja kuzuukizibwa. Lowooza ku ssanyu erinaabaawo ng’ab’ekibiina ekinene baaniriza abantu abanaaba bazuukiziddwa! Okusoma ebyawandiikibwa ebyogera ku bantu abaazuukizibwa kisobola okutuyamba okutegeera ekyo ekinaabaawo ng’abafu bazuukidde.​—Soma Makko 5:38-42; Lukka 7:11-17.

15. Onoowulira otya okulaba abaagalwa bo abaafa nga bazuukidde?

15 Lowooza ku bigambo “ne basanyuka nnyo” era “ne batandika okugulumiza Katonda.” Singa waliwo ng’abantu abo bazuukizibwa, oteekwa okuba nga naawe wandisanyuse nnyo. Tewali kubuusabuusa nti tujja kusanyuka nnyo okulaba abaagalwa baffe abaafa nga bazuukiziddwa. Yesu yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.” (Yok. 5:28, 29) Tewali n’omu ku ffe eyali alabye ku muntu azuukira; okulaba abantu nga bazuukizibwa kye kimu ku ‘bintu ebitalabika’ ebijja okutusanyusa ennyo.

KATONDA AJJA KUBA “BYONNA ERI BULI OMU”

16. (a) Lwaki tusaanidde okwogera n’ebbugumu ku mikisa egitannaba kulabika? (b) Kiki Pawulo kye yayogera okusobola okuzzaamu amaanyi Abakristaayo abaali mu Kkolinso?

16 Abo abasigala nga beesigwa eri Yakuwa mu biseera bino ebizibu bajja kufuna emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso. Wadde ng’emikisa egyo teginnalabika, okugirowoozaako kijja kutuyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu ebisinga obukulu n’obutawugulwa bintu ebiri mu nteekateeka eno ey’ebintu. (Luk. 21:34; 1 Tim. 6:17-19) N’olwekyo, ka tufube okwogera n’ebbugumu ku ssuubi lyaffe ery’ekitalo nga tuli mu kusinza kwaffe okw’amaka, nga tunyumya ne bakkiriza bannaffe, oba nga tunyumya n’abayizi baffe aba Bayibuli n’abantu abalala abaagala okuyiga amazima. Ekyo kijja kutuyamba okukuumira essuubi eryo mu birowoozo byaffe. Ekyo kyennyini omutume Pawulo kye yakola okusobola okuzzaamu Bakristaayo banne amaanyi. Ebyo bye yayogera byabayamba okulowooza ku bintu ebijja okubaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Fumiitiriza ku makulu g’ebigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 15:24, 25, 28.​—Soma.

17, 18. (a) Mu ngeri ki Yakuwa gye yali “byonna eri buli omu” ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu? (b) Kiki Yesu ky’ajja okukola okusobola okuzzaawo emirembe n’obumu?

17 Ku nkomerero y’emyaka olukumi ‘Katonda ajja kubeera byonna eri buli omu.’ Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Lowooza ku mbeera bwe yali mu lusuku Adeni Adamu ne Kaawa bwe baali bakyali ba mu maka ga Katonda agali obumu era agali mu mirembe. Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna, yali afuga butereevu ebitonde bye byonna, bamalayika n’abantu. Baali basobola okwogera naye butereevu, okumusinza, era n’okufuna emikisa gye. Mu kiseera ekyo, Katonda yali “byonna eri buli omu.”

18 Enkolagana eyo ennungi yayonooneka Sitaani bwe yaleetera abantu abaasooka okujeemera Yakuwa. Kyokka okuva mu 1914, Obwakabaka bwa Masiya bubadde buliko ebintu bye bukola mu kuyamba okuzzaawo enkolagana eyo. (Bef. 1:9, 10) Mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, ebintu eby’ekitalo ebitannaba kulabika bijja kutuukirira. Oluvannyuma ‘enkomerero,’ kwe kugamba, enkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi ejja kutuuka. Kiki ekinaabaawo oluvannyuma lw’emyaka olukumi? Wadde nga Yesu yaweebwa “obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi,” tayagala kweddiza kifo kya Yakuwa. Olw’okuba mwetoowaze, ajja kuwaayo “obwakabaka eri Katonda era Kitaawe.” Ajja kukozesa ekifo kye eky’enjawulo n’obuyinza bwe ‘okuweesa Katonda ekitiibwa.’​—Mat. 28:18; Baf. 2:9-11.

19, 20. (a) Abo bonna abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda banaalaga batya nti bakkirizza obufuzi bwa Yakuwa? (b) Mikisa ki egy’ekitalo gye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso?

19 Mu kiseera ekyo, abantu abanaaba bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda bajja kuba batuukiridde. Bajja kukoppa ekyokulabirako kya Yesu. Olw’okuba bajja kuba bawombeefu bajja kukkiriza obufuzi bwa Yakuwa. Ekyo bajja kukiraga nga basigala beesigwa eri Yakuwa mu kugezesebwa okusembayo. (Kub. 20:7-10) Oluvannyuma, abajeemu bonna, ka babe bamalayika oba bantu, bajja kuzikirizibwa. Ng’ekiseera ekyo kijja kuba kya ssanyu nnyo! Abo bonna abanaaba mu maka ga Yakuwa, mu ggulu ne ku nsi, bajja kumutendereza. Mu kiseera ekyo, Yakuwa ajja kuba “byonna eri buli omu.”​—Soma Zabbuli 99:1-3.

20 Okulowooza ku mikisa egy’ekitalo Obwakabaka bwa Katonda gye bunaaleeta, kinaakukubiriza okwemalira ku kukola Katonda by’ayagala? Kinaakukubiriza okwewala okuwugulibwa ebintu ebiri mu nsi ya Sitaani? Kinaakukubiriza okuba omumalirivu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’okubunywererako? Mu byonna by’okola kirage nti omaliridde okuwagira obufuzi bwa Yakuwa emirembe gyonna. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba omu ku abo abanaabeera mu mirembe era abanaafuna emikisa emingi, si kumala myaka lukumi gyokka, naye emirembe n’emirembe!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share