LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jl essomo 1
  • Abajulirwa ba Yakuwa Bantu ba Ngeri Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abajulirwa ba Yakuwa Bantu ba Ngeri Ki?
  • Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Similar Material
  • Obukulu bw’Okuba n’Empisa
    Zuukuka!—2019
  • 7 Empisa
    Zuukuka!—2018
  • Wa w’Oyinza Okuzuula Obulagirizi Obutuufu mu by’Omwoyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Abajulirwa ba Yakuwa Bakristaayo ab’Amazima?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
jl essomo 1

ESSOMO 1

Abajulirwa ba Yakuwa Bantu ba Ngeri Ki?

Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa mu Denmark

Denmark

Abajulirwa ba Yakuwa mu Taiwan

Taiwan

Abajulirwa ba Yakuwa mu Venezuela

Venezuela

Abajulirwa ba Yakuwa mu India

India

Abajulirwa ba Yakuwa bameka b’omanyi? Abamu ku ffe tuyinza okuba nga tuli baliraanwa bo, nga tukola naawe, oba nga tusoma naawe. Oba tuyinza okuba nga twali tukubaganyizzaako naawe ebirowoozo ku Bayibuli. Naye ddala ffe baani, era lwaki twogerako n’abalala ku nzikiriza zaffe?

Tetwawukana nnyo ku bantu balala. Tuli bantu ab’embeera z’obulamu ez’enjawulo. Abamu ku ffe baali mu ddiini ndala, ate abalala baali tebakkiririza mu Katonda. Naye nga tetunnafuuka Bajulirwa ba Yakuwa, ffenna twasooka kwekenneenya Bayibuli by’eyigiriza. (Ebikolwa 17:11) Twakiraba nti bye twali tuyiga mu Bayibuli byali bituufu, era ne tusalawo ku lwaffe okuweereza Katonda.

Okuyiga Bayibuli kituganyula. Okufaananako abantu abalala naffe tufuna ebizibu era tulina obunafu. Naye obulamu bwaffe bulongoose nnyo olw’okussa mu nkola Bayibuli by’eyigiriza. (Zabbuli 128:1, 2) Eyo y’emu ku nsonga lwaki tubuulirako abalala ebintu ebirungi bye tuyize mu Bayibuli.

Obulamu bwaffe tubutambuliza ku mitindo gya Katonda. Bye tuyiga mu Bayibuli bituyamba okuba n’obulamu obulungi era n’okuwa abalala ekitiibwa. Ate era bitusobozesa okuba abantu abeesigwa era ab’ekisa. Bituyamba okuba abantu ab’omugaso mu bitundu gye tubeera. Biyamba amaka gaffe okuba obumu era bitusobozesa okuba abantu ab’empisa. Olw’okuba tuli bakakafu nti “Katonda tasosola,” ffenna twagalana wadde nga tuva mu nsi za njawulo, era tetukkiriza bya bufuzi oba enjawukana mu mawanga kutwawulayawulamu. Wadde ng’embeera z’obulamu bwaffe ziringa ez’abantu abalala, ng’ekibiina tuli bantu ba njawulo nnyo.​—Ebikolwa 4:13; 10:34, 35.

  • Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye bafaanaganya n’abantu abalala?

  • Abajulirwa ba Yakuwa baganyuddwa batya mu bye bayiga mu Bayibuli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share