OLUYIMBA 137
Abakyala Abeesigwa, Bannyinaffe Abakristaayo
Printed Edition
	- 1. Saala, Eseza, Luusi n’abalala— - Baali bakyala beesigwa nnyo ddala. - Baalaga nti baagala nnyo Katonda. - Yakuwa yasiima ’bakyala abo; - N’abalala bangi yabasiima - Abaayoleka okukkiriza ng’okwo. 
- 2. Obwesigwa, obuvumu, n’ekisa— - ’Ngeri ezaagalwa abantu ffenna. - Abakyala abo baazoolekanga. - Baali kyakulabirako kirungi; - Ne bannyinaffe ababakoppa - Musiimibwa era ’ssanyu lyammwe lingi. 
- 3. Abawala n’abakyala ’bakulu, - Abakola ebyo ebigwanira, - Abawulize era ’beetoowaza, - Mwagala okusiimibwa Katonda; - Era Yakuwa k’abakuumenga, - Nga mukakasa nti ’mpeera yammwe ejja. 
(Laba ne Baf. 4:3; 1 Tim. 2:9, 10; 1 Peet. 3:4, 5.)