ESSUULA 8
Badduka Omufuzi Omubi
YESU NE BAZADDE BE BADDUKIRA E MISIRI
YUSUFU N’AB’OMU MAKA GE BAGENDA E NAZAALEESI
Yusufu azuukusa Maliyamu ng’alina obubaka obukulu bw’ayagala okumubuulira. Malayika wa Yakuwa amulabikidde mu kirooto, n’amugamba nti: “Golokoka otwale omwana ne nnyina muddukire e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo kubanga Kerode anaatera okunoonya omwana okumutta.”—Matayo 2:13.
Mu kiro ekyo kyennyini, Yusufu, Maliyamu, n’omwana waabwe bava we babadde babeera. Ekyo bakikola mu bwangu ddala, kubanga Kerode amaze okukitegeera nti abalaguzisa emmunyeenye bazzeeyo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala. Yali abalagidde okuddayo gy’ali bamubuulire ebikwata ku Yesu. Naye ekyo tebakikoze. Kerode asunguwala nnyo. Nga mumalirivu okutta Yesu, Kerode ayisa ekiragiro okutta abaana bonna ab’obulenzi mu Besirekemu ne mu bitundu ebiriraanyeewo, ab’emyaka ebiri n’okukka wansi. Emyaka egyo agisalawo ng’asinziira ku ebyo abalaguzisa emmunyeenye abaava Ebuvanjuba bye baamugamba.
Okutta abaana ab’obulenzi kikolwa kya bukambwe nnyo! Tetumanyi baana bameka abattibwa, naye emiranga n’ebiwoobe bamaama abafiiriddwako abaana baabwe bye bakuba bituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli nnabbi wa Katonda, Yeremiya, bwe yawa.—Yeremiya 31:15.
Mu kiseera kino, Yusufu n’ab’omu maka ge bali mu Misiri gye baddukira, era babeera eyo okumala ekiseera. Lumu malayika wa Yakuwa addamu okulabikira Yusufu mu kirooto. Malayika oyo amugamba nti: “Golokoka otwale omwana ne nnyina mu Isirayiri kubanga abaali banoonya obulamu bw’omwana baafa.” (Matayo 2:20) Kati, Yusufu akiraba nga ye n’ab’omu maka ge basobola okuddayo ku butaka. Ekyo kituukiriza obunnabbi obulala obuli mu Bayibuli obugamba nti Katonda yandiyise Omwana we okuva e Misiri.—Koseya 11:1.
Yusufu ayinza okuba ng’ayagala ye n’ab’omu maka ge babeere mu Buyudaaya, oboolyawo okumpi n’ekibuga Besirekemu, gye baali babeera nga tebannaddukira Misiri. Naye akitegeerako nti omwana wa Kerode ayitibwa Alukerawo ye kabaka wa Buyudaaya, ate nga naye mubi. Ne ku mulundi guno, malayika wa Katonda alabula Yusufu ng’ayitira mu kirooto. Bwe kityo, Yusufu n’ab’omu maka ge beeyongerayo ebukiikakkono ne basalawo okubeera mu kibuga ky’e Nazaaleesi ekisangibwa mu kitundu ky’e Ggaliraaya, ekitundu ekiri ewala okuva awali entabiro y’okusinza kw’eddiini y’Ekiyudaaya. Eyo Yesu gy’akulira, era ekyo kituukiriza obunnabbi buno: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”—Matayo 2:23.