-
A7-A Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Ebyaliwo nga Yesu Tannatandika Buweereza BweBayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
A7-A
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi
Ebintu nga Bwe Byagenda Biddiriŋŋana mu Njiri Ennya
Ku buli kipande kuliko mmaapu eraga eŋŋendo za Yesu n’ebifo bye yatuukamu ng’abuulira. Obusaale obuli ku mmaapu tebulaga makubo gennyini mwe yayita wabula bulaga engeri gye yatambulamu. Ennukuta “a.” etegeeza “awo nga mu.”
Ebyaliwo nga Yesu Tannatandika Buweereza Bwe
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
3 E.E.T.
Yerusaalemi, yeekaalu
Malayika Gabulyeri abuulira Zekkaliya ku kuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza
a. 2 E.E.T.
Nazaaleesi; Buyudaaya
Malayika Gabulyeri abuulira Maliyamu ku kuzaalibwa kwa Yesu; Maliyamu akyalira Erizabeesi
2 E.E.T.
Ebitundu bya Buyudaaya eby’ensozi
Yokaana Omubatiza azaalibwa n’atuumibwa erinnya; Zekkaliya ayogera obunnabbi; Yokaana wa kubeera mu ddungu
2 E.E.T., a. Okit. 1
Besirekemu
Yesu azaalibwa; “Kigambo yafuuka omuntu”
Okumpi ne Besirekemu; Besirekemu
Malayika alangirira amawulire amalungi eri abasumba; bamalayika batendereza Katonda; abasumba bagenda okulaba omwana
Besirekemu; Yerusaalemi
Yesu akomolebwa (ku lunaku 8); bazadde be bamutwala mu yeekaalu (oluvannyuma lw’ennaku 40)
1 E.E.T. oba 1 E.E.
Yerusaalemi; Besirekemu; Misiri; Nazaaleesi
Abalaguzisa emmunyeenye; Yesu ne bazadde be baddukira e Misiri; Kerode atta abaana ab’obulenzi; bakomawo okuva e Misiri ne babeera e Nazaaleesi
12 E.E., Okuyitako
Yerusaalemi
Yesu nga wa myaka 12 abuuza abayigiriza ebibuuzo mu yeekaalu
Nazaaleesi
Addayo e Nazaaleesi; yeeyongera okugondera bazadde be; ayiga okubajja; Maliyamu azaala abalenzi abalala bana, n’abawala (Mat 13:55, 56; Mak 6:3)
29, ku ntandikwa
Eddungu, Omugga Yoludaani
Yokaana Omubatiza atandika obuweereza bwe
-
-
A7-B Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Yesu Atandika Obuweereza BweBayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
A7-B
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Yesu Atandika Obuweereza Bwe
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
29, nga gunaatera okuggwako
Omugga Yoludaani, oboolyawo e Bessaniya oba okumpi nakyo emitala wa Yoludaani
Yesu abatizibwa era afukibwako amafuta; Yakuwa alangirira nti Yesu Mwana we era nti amusiima
Eddungu ly’e Buyudaaya
Akemebwa Omulyolyomi
Bessaniya emitala wa Yoludaani
Yokaana Omubatiza ayita Yesu Omwana gw’Endiga owa Katonda; abayigirizwa ba Yesu abasooka
Kaana eky’e Ggaliraaya; Kaperunawumu
Ekyamagero ekisooka, afuula amazzi omwenge; agenda e Kaperunawumu
30, Okuyitako
Yerusaalemi
Alongoosa yeekaalu
Ayogera ne Nikodemu
Buyudaaya; Enoni
Agenda mu bitundu by’e Buyudaaya, abayigirizwa be babatiza; Yokaana ayogera ebisembayo ku Yesu
Tiberiyo; Buyudaaya
Yokaana asibibwa; Yesu agenda e Ggaliraaya
Sukali, mu Samaliya
Ng’agenda e Ggaliraaya, ayigiriza Abasamaliya
Eddungu ly’e Buyudaaya
-
-
A7-C Obuweereza bwa Yesu mu Ggaliraaya (Ekitundu 1)Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
A7-C
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Obuweereza bwa Yesu mu Ggaliraaya (Ekitundu 1)
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
30
Ggaliraaya
Yesu gy’asookera okulangirira nti “Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde”
Kaana; Nazaaleesi; Kaperunawumu
Awonya mutabani w’omukungu; asoma mu Isaaya; agenda e Kaperunawumu
Ennyanja y’e Ggaliraaya, okumpi ne Kaperunawumu
Ayita: Simooni ne Andereya, Yakobo ne Yokaana
Kaperunawumu
Awonya nnyina wa muka Peetero n’abalala
Ggaliraaya
Abuulira mu Ggaliraaya, ng’ali n’abayigirizwa bana
Awonya omugenge; ekibiina kimugoberera
Kaperunawumu
Awonya omuntu eyasannyalala
Ayita Matayo; alya n’abasolooza omusolo; abuuzibwa ebikwata ku kusiiba
Buyudaaya
Abuulira mu makuŋŋaaniro
31, Okuyitako
Yerusaalemi
Awonya omusajja omulwadde e Besuzasa; Abayudaaya baagala okumutta
Ava e Yerusaalemi (?)
Abayigirizwa banoga ebirimba ku Ssabbiiti; Yesu “Mukama wa Ssabbiiti”
Ggaliraaya; Ennyanja y’e Ggaliraaya
Awonya omukono gw’omusajja ku Ssabbiiti; ekibiina kimugoberera; awonya n’abalala bangi
Lsz. okumpi ne Kaperunawumu
Alonda abatume 12
Okumpi ne Kaperunawumu
Okubuulira kwe okw’Oku Lusozi
Kaperunawumu
Awonya omuweereza w’omusirikale
Nayini
Azuukiza mutabani wa nnamwandu
Tiberiya; Ggaliraaya (Nayini oba okumpi nakyo)
Yokaana asindika abayigirizwa eri Yesu; amazima gabikkulirwa abaana abato; ekikoligo ekyangu
Ggaliraaya (Nayini oba okumpi nawo)
Omukazi omwonoonyi afuka amafuta ku bigere bya Yesu; olugero lw’ababanjibwa
Ggaliraaya
Abuulira mu Ggaliraaya, ng’ali ne 12
Agoba dayimooni; ekibi ekitasonyiyibwa
Tawa kabonero okuggyako aka Yona
Maama we ne baganda be bajja; abayigirizwa be abayita ab’eŋŋanda ze
-
-
A7-D Mmaapu eraga obuweereza bwa Yesu mu Ggaliraaya (Ekitundu 2)Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
A7-D
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Obuweereza bwa Yesu mu Ggaliraaya (Ekitundu 2)
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
31 oba 32
Ebitundu by’e Kaperunawumu
Yesu agera engero z’Obwakabaka
Ennyanja y’e Ggaliraaya
Akkakkanya omuyaga
Ebitundu by’e Gadala
Asindika dayimooni mu mbizzi
Oboolyawo e Kaperunawumu
Awonya omukazi ekikulukuto ky’omusaayi; azuukiza muwala wa Yayiro
Kaperunawumu (?)
Awonya abazibe n’omusajja atayogera
Nazaaleesi
Ab’omu kitundu kye era tebamukkiriza
Ggaliraaya
Abuulira mu Ggaliraaya omulundi ogw’okusatu; asindika abatume okubuulira
Tiberiya
Kerode atemako Yokaana Omubatiza omutwe; asoberwa ng’awulidde ebikwata ku Yesu
32, ng’Okuyitako kunaatera okutuuka (Yok 6:4)
Kaperunawumu (?); Ebuvanjuba w’Ennyanja y’e Ggaliraaya
Abatume bakomawo nga bava okubuulira; Yesu aliisa abasajja 5,000
Ebuvanjuba w’Ennyanja y’e Ggaliraaya; Genesaleeti
Abantu bagezaako okufuula Yesu kabaka; atambulira ku nnyanja; awonya bangi
Kaperunawumu
Agamba nti ye “mmere ey’obulamu”; bangi beesittala ne bamwabulira
32, oluvannyuma lw’Okuyitako
Oboolyawo e Kaperunawumu
Ayanika obulombolombo bw’abantu
Foyiniikiya; Dekapoli
Awonya muwala w’omukazi; aliisa abasajja 4,000
Magadani
Tawa kabonero okuggyako aka Yona
-
-
A7-E Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi Obuweereza bwe mu Ggaliraaya (Ekitundu 3) ne mu BuyudaayaBayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
A7-E
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Obuweereza bwa Yesu mu Ggaliraaya (Ekitundu 3) ne mu Buyudaaya
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
32, oluvannyuma lw’Okuyitako
Ennyanja y’e Ggaliraaya; Besusayida
Mu lyato ng’agenda e Besusayida, alabula ku kizimbulukusa ky’Abafalisaayo; awonya omusajja omuzibe
Ebitundu by’e Kayisaaliya Firipi
Ebisumuluzo by’Obwakabaka; ayogera ku kufa kwe n’okuzuukira
Oboolyawo ku Lsz. Kerumooni
Afuusibwa; Yakuwa ayogera
Mu bitundu bya Kayisaliya ekya Firipo
Awonya omulenzi eyaliko dayimooni
Ggaliraaya
Addamu okwogera ku kufa kwe
Kaperunawumu
Asasula omusolo ng’akozesa ssente okuva mu kyennyanja
Asinga obukulu mu Bwakabaka; olugero olw’endiga eyabula n’olw’omuddu atasonyiwa
Ggaliraaya-Samaliya
Ng’agenda e Yerusaalemi, agamba abayigirizwa okuleka byonna ku lw’Obwakabaka
Obuweereza bwa Yesu mu Buyudaaya
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
32, Embaga y’Ensiisira
Yerusaalemi
Ayigiriza ku Mbaga; abasirikale batumibwa okumukwata
Agamba nti “Nze kitangaala ky’ensi”; awonya omusajja omuzibe
Oboolyawo mu Buyudaaya
Asindika 70; bakomawo basanyufu
Buyudaaya; Bessaniya
Olugero lw’Omusamaliya omulungi; Yesu akyalira Maliyamu ne Maliza
Oboolyawo mu Buyudaaya
Addamu okuyigiriza essaala ey’okulabirako; olugero lw’omuntu atakoowa
Agoba dayimooni ng’akozesa engalo ya Katonda; era tawa kabonero okuggyako aka Yona
Alya n’Omufalisaayo; anenya Abafalisaayo bannanfuusi
Olugero lw’omugagga atali wa magezi n’olw’omuwanika omwesigwa
Awonya omukazi ku Ssabbiiti eyali yagongobala; olugero lw’akasigo ka kalidaali n’olw’ekizimbulukusa
32, Embaga ey’Okuzza Obuggya
Yerusaalemi
Olugero lw’omusumba omulungi n’endiga; Abayudaaya bagezaako okumukuba amayinja; agenda e Bessaniya
-
-
A7-F Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi Yesu Obuweereza bwe Ebuvanjuba wa YoludaaniBayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
A7-F
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Obuweereza bwa Yesu Ebuvanjuba wa Yoludaani
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
32, oluvannyuma lw’Embaga ey’Okuzza Obuggya
Bessaniya emitala wa Yoludaani
Agenda Yokaana gye yali abatiriza; bangi bakkiririza mu Yesu
Pereya
Ayigiriza mu bibuga ne mu bubuga, ng’agenda e Yerusaalemi
Akubiriza abantu okuyingira mu mulyango omufunda; anakuwalira Yerusaalemi
Oboolyawo e Pereya
Ayigiriza ku bwetoowaze; engero: ebifo eby’oku mwanjo n’abaayitibwa ne beekwasa obusongasonga
Ebizingirwa mu kuba omuyigirizwa
Engero: endiga eyabula, ssente ezaabula, omwana omujaajaamya
Engero: omuwanika omubi, omugagga ne Lazaalo
Ayigiriza ku kwesittala, okusonyiwa, n’okukkiriza
Bessaniya
Lazaalo afa era n’azuukizibwa
Yerusaalemi; Efulayimu
Olukwe okutta Yesu; avaayo n’agenda
Samaliya; Ggaliraaya
Awonya abagenge ekkumi; ayogera ku ngeri Obwakabaka gye bunajja
Samaliya oba Ggaliraaya
Engero: nnamwandu atakoowa, Omufalisaayo n’oyo asolooza omusolo
Pereya
Ebikwata ku bufumbo n’okugoba abakazi
Awa abaana omukisa
Omusajja omugagga amubuuza ekibuuzo; olugero lw’abakozi mu nnimiro y’emizabbibu abaweebwa empeera y’emu
Oboolyawo mu Pereya
Ayogera ku kufa kwe omulundi ogw’okusatu
Yakobo ne Yokaana basaba ebifo mu Bwakabaka
Yeriko
Ayita mu kibuga, awonya abazibe babiri; akyalira Zaakayo; olugero lwa mina ekkumi
-
-
A7-G Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi Yesu Amaliriza Obuweereza Bwe mu Yerusaalemi (Ekitundu 1)Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
A7-G
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Yesu Amaliriza Obuweereza Bwe mu Yerusaalemi (Ekitundu 1)
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
33, Nisaani 8
Bessaniya
Yesu atuuka ng’ebulayo ennaku mukaaga Okuyitako kutuuke
Nisaani 9
Bessaniya
Maliyamu afuka amafuta ku mutwe gwa Yesu
Bessaniya-Besufaage-Yerusaalemi
Ayingira Yerusaalemi mu kitiibwa, yeebagala endogoyi
Nisaani 10
Bessaniya-Yerusaalemi
Akolimira omutiini; addamu okulongoosa yeekaalu
Yerusaalemi
Bakabona abakulu n’abawandiisi bakola olukwe okutta Yesu
Yakuwa ayogera; Yesu ayogera ku kufa kwe; obutakkiriza bw’Abayudaaya butuukiriza obunnabbi bwa Isaaya
Nisaani 11
Bessaniya-Yerusaalemi
Essomo ku mutiini ogwakala
Yerusaalemi, yeekaalu
Bawakanya obuyinza bwe; olugero lw’abaana ababiri
Engero: abalimi abatemu, embaga y’obugole
Addamu ebibuuzo ebikwata ku Katonda ne Kayisaali, ku kuzuukira, ku tteeka erisingayo obukulu
Abuuza obanga Kristo mwana wa Dawudi
Agamba nti zisanze abawandiisi n’Abafalisaayo
Yeetegereza nnamwandu awaayo ssente
Olusozi olw’Emizeyituuni
Ayogera ku kubeerawo kwe
Engero: abawala ekkumi embeerera, ttalanta, endiga n’embuzi
Nisaani 12
Yerusaalemi
Bakola olukwe okumutta
Yuda ateekateeka okumulyamu olukwe
Nisaani 13 (Olwokuna olweggulo)
Kumpi ne Yerusaalemi ne mu Yerusaalemi
Ateekateeka okukwata Okuyitako okusembayo
Nisaani 14
Yerusaalemi
Akwata Okuyitako n’abatume
Anaaza abatume ebigere
-
-
A7-H Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi Yesu Amaliriza Obuweereza Bwe mu Yerusaalemi (Ekitundu 2)Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
A7-H
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Yesu Amaliriza Obuweereza Bwe mu Yerusaalemi (Ekitundu 2)
EKISEERA
EKIFO
EKYALIWO
MATAYO
MAKKO
LUKKA
YOKAANA
Nisaani 14
Yerusaalemi
Yesu akiraga nti Yuda agenda kumulyamu olukwe era amulagira okugenda
Atandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe (1Ko 11:23-25)
Agamba nti Peetero agenda kumwegaana era nti n’abatume bandisaasaanye
Asuubiza omuyambi; ayogera ku muzabbibu ogw’amazima; awa etteeka ku kwagala; essaala gy’asembayo okusaba n’abatume
Gesusemane
Awulira ennaku ey’amaanyi; aliibwamu olukwe era akwatibwa
Yerusaalemi
Anaasi amubuuza ebibuuzo; awozesebwa Kayaafa, Olukiiko Olukulu; Peetero amwegaana
Yuda yeetuga (Bik 1:18, 19)
Atwalibwa eri Piraato, eri Kerode, era azzibwayo eri Piraato
Piraato ayagala okumuta naye Abayudaaya basaba ate Balabba; asalirwa ogw’okuttibwa ng’akomererwa
(a. 9:00 ez’olweggulo, Olwokutaano)
Ggologoosa
Afiira ku muti ogw’okubonaabona
Yerusaalemi
Omulambo gwe guggibwa ku muti ne guteekebwa mu ntaana
Nisaani 15
Yerusaalemi
Bakabona n’Abafalisaayo bafuna abakuumi okukuuma entaana
Nisaani 16
Yerusaalemi n’emiriraano; Emawo
Yesu azuukiziddwa; alabikira abayigirizwa emirundi etaano
Oluvannyuma lwa Nisaani 16
Yerusaalemi; Ggaliraaya
Alabikira abayigirizwa (1Ko 15:5-7; Bik 1:3-8); abawa ebiragiro; abalagira okufuula abantu abayigirizwa
Iyari 25
Olusozi olw’Emizeyituuni, okumpi ne Bessaniya
Alinnya mu ggulu, oluvannyuma lw’ennaku 40 ng’azuukidde (Bik 1:9-12)
-