Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
APULI 2-8
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 26
“Okuyitako n’Ekijjukizo—Bye Bifaanaganya ne Bye Bitafaanaganya”
nwtsty ekifaananyi
Embaga ey’Okuyitako
Ku mbaga ey’Okuyitako kwabangako bino: omwana gw’endiga omwokye (tewali ggumba na limu eryamenyebwanga) (1); omugaati ogutali muzimbulukuse (2); n’enva endiirwa ezikaawa (3). (Kuv 12:5, 8; Kbl 9:11) Enva endiirwa ezikaawa zajjukizanga Abayisirayiri ennaku gye baalimu nga baddu e Misiri. Yesu yakozesa omugaati ogutaali muzimbulukuse ng’akabonero akakiikirira omubiri gwe ogwali gutuukiridde. (Mat 26:26) Omutume Pawulo yayita Yesu “omwana gwaffe ogw’endiga ogw’Okuyitako.” (1Ko 5:7) Ekyasa ekyasooka we kyatuukira, envinnyo (4) nayo yali ekozesebwa ku kijjulo eky’oku mbaga ey’Okuyitako. Yesu yakozesa envinnyo ng’akabonero akakiikirira omusaayi gwe ogwali gugenda okuyiibwa ng’ekiweebwayo.—Mat 26:27, 28.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 26:26
gukiikirira: Ekigambo ky’Oluyonaani e·stinʹ kitegeeza “okukiikirira.” Abatume baali bamanyi bulungi ekigambo ekyo kye kitegeeza, kubanga omubiri gwa Yesu gwaliwo awo ng’era bwe waaliwo omugaati ogutali muzimbulukuse gwe baali banaatera okulya. N’olwekyo, omugaati si gwe gwali omubiri gwa Yesu. Ate era ekigambo kye kimu eky’Oluyonaani kikozesebwa mu Mat 12:7, era nga mu Bayibuli nnyingi kirina amakulu g’okukiikirira.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 26:28
omusaayi gwange . . . ogw’endagaano: Ssaddaaka ya Yesu ye yatongoza endagaano empya Yakuwa gye yakola n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Beb 8:10) Yesu wano yakozesa ebigambo bye bimu ng’ebyo Musa bye yakozesa ng’akola ng’omutabaganya, bwe yali atongoza Endagaano y’Amateeka Yakuwa gye yakalo n’Abayisirayiri ku Lusozi Sinaayi. (Kuv 24:8; Beb 9:19-21) Ng’omusaayi gw’ente ennume n’embuzi bwe gwasobozesa endagaano y’Amateeka Katonda gye yakola n’eggwanga lya Isirayiri okutandika okukola, n’omusaayi gwa Yesu gwandisobozesezza endagaano empya Yakuwa gye yandikoze ne Isirayiri ow’omwoyo okutandika okukola. Endagaano empya yatandika okukola ku Pentekooti 33 E.E.—Beb 9:14, 15.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 26:17
Ku lunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse: Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse yatandikanga nga Nisaani 15, nga lwe lunaku olwaddiriranga olw’Embaga ey’Okuyitako (Nisaani 14), era yamalanga ennaku musanvu. (Laba Ebyong. B15.) Kyokka mu biseera bya Yesu, embaga ey’Okuyitako yakwataganyizibwanga nnyo n’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne kiba nti ebiseera ebimu ennaku zonna omunaana nga mw’otwalidde ne Nisaani 14, zaatwalibwanga “ng’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse.” (Luk 22:1) Wano ebigambo “Olunaku olusooka” biyinza okuvvuunulwa nti “Olunaku oluddirirwa.” N’olwekyo okusinziira ku Luyonaani olwasooka, n’enkola y’Abayudaaya mu kiseera ekyo, kisoboka okuba ng’abatume baabuuza Yesu aw’okumutegekera embaga ey’Okuyitako nga Nisaani 13. Nga Nisaani 13, mu budde obw’emisana, abatume baateekateeka embaga ey’Okuyitako eyakwatibwa ‘ng’obudde buwungeera’ ku ntandikwa ya Nisaani 14.—Mak 14:16, 17.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 26:39
nzigyaako ekikopo kino: Mu Bayibuli, “ekikopo” kitera okukozesebwa okukiikirira ekyo Katonda ky’ayagala, oba ekyo “ky’asaliddewo” omuntu. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 20:22.) Awatali kubuusabuusa, Yesu yakwatibwako nnyo bwe yalowooza ku ngeri okufa kwe ng’omuntu eyali asaliddwa omusango ogw’okuvvoola era ng’omumenyi w’amateeka gye kwandireese ekivume ku Katonda. N’olwekyo, yasaba nti “ekikopo” ekyo kimuggibweko.
APULI 9-15
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 27-28
“Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa—Lwaki, Tubasange Wa, era Tukikole Tutya?”
‘Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa’
Yesu alina obuyinza ku kibiina kye, ate era okuva mu 1914 abadde afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda obwassibwawo. (Abakkolosaayi 1:13; Okubikkulirwa 11:15) Ye malayika omukulu era olw’ensonga eyo, akulembera eggye ly’obukadde n’obukadde bwa bamalayika mu ggulu. ( 1 Abassessalonika 4: 16; 1 Peetero 3: 22; Okubikkulirwa 19:14-16) Kitaawe amuwadde obuyinza ‘okuggyawo obufuzi bwonna, amaanyi gonna, n’obuyinza bwonna,’ ebitawagira misingi gya butuukirivu. (1 Abakkolinso 15:24-26; Abeefeso 1:20-23) Obuyinza bwa Yesu tebukoma ku bantu bokka abalamu, naye era ‘mulamuzi ow’abalamu n’abafu,’ era Katonda amuwadde n’obuyinza okuzuukiza abafu. (Ebikolwa 10:42; Yokaana 5:26-28) Mazima ddala, ekiragiro ekiva ew’Omuntu aweereddwa obuyinza obungi bwe butyo, kisaanidde okutwalibwa nga kikulu nnyo. N’olwekyo, tugondera ekiragiro kya Yesu ‘eky’okufuula abantu abayigirizwa’ kyeyagalire.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 28:19
mufuule abantu . . . abayigirizwa: Ekigambo ky’Oluyonaani ma·the·teuʹo kisobola okuvvuunulwa nti “yigiriza,” ng’ekigenderewa kya kufuula omuntu omuyizi oba omuyigirizwa. (Geraageranya Mat 13:52, we kivvuunulwa nti “bw’ayigirizibwa.”) Ebigambo “nga mubabatiza” ne “nga mubayigiriza,” biraga ebizingirwa mu ‘kufuula abantu abayigirizwa.’
abantu b’omu mawanga gonna: Ebigambo ebyo bwe bivvuunulwa obutereevu okuva mu Luyonaani bisoma nti “amawanga gonna,” naye ebigambo ebiriraanyeewo biraga nti Yesu yali ayogera ku bantu kinnoomu ab’omu mawanga gonna. Ekiragiro ky’okuyigiriza “abantu ab’omu mawanga gonna” kyali kipya. Ebyawandiikibwa biraga nti Yesu bwe yali tannatandika buweereza bwe, ab’Amawanga abaabanga baagala okusinza Yakuwa baalinanga okugenda mu Isirayiri. (1Sk 8:41-43) Naye wano Yesu yalagira abayigirizwa be okugenda okubuulira abantu ab’amawanga amalala, ekiraga nti omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa gwandibunye mu nsi yonna.—Mat 10:1, 5-7; Kub 7:9; laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 24:14.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 28:20
nga mubayigiriza: Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okuyigiriza” kizingiramu okuwa obulagirizi, okunnyonnyola, n’okuwa obukakafu. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 3:1; 4:23.) Okuyigiriza abantu okukwata ebintu byonna Yesu bye yalagira tekyandikoleddwa mulundi gumu; kyandizingiddemu okubayigiriza bye yayigiriza, okubikolerako, n’okugoberera ekyokulabirako kye.—Yok 13:17; Bef 4:21; 1Pe 2:21.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 27:51
olutimbe: Luno lwali lugoye olutoneetone olwali lwawulamu Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu mu yeekaalu. Okusinziira ku biwandiiko by’Ekiyudaaya, olutimbe olwo lwali lwa mita 18 (ffuuti 60) obuwanvu, mita 9 (ffuuti 30) obugazi, era omubiri gwalwo gwali guweza sentimita 7.4 (inci 2.9) obunene. Olutimbe bwe lwayulikamu emirundi ebiri, Yakuwa yali ayoleka obusungu bwe eri abo abatta omwana we, naye era kyali kiraga nti ekkubo eriyingira mu kifo ekitukuvu eky’omu ggulu lyali ligguddwawo.—Beb 10:19, 20; laba Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu.
yeekaalu: Ekigambo ky’Oluyonaani, na·osʹ kitegeeza ekitundu eky’omu makkati ga yeekaalu ekyalimu Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 28:7
mutegeeze abayigirizwa be nti yazuukiziddwa: Abakyala bano be baasooka okutegeezebwa nti Yesu yali azuukidde, era be baasooka okutumibwa okugenda okubuulira abayigirizwa ba Yesu abalala. (Mat 28:2, 5, 7) Okusinziira ku bulombolombo bw’Abayudaaya obwali buteesigamiziddwa ku byawandiikibwa, abakazi tebakkirizibwanga kuwa bujulizi mu kkooti. Kyokka ye malayika wa Yakuwa yawa abakazi abo ekitiibwa ng’abawa omulimu oguleeta essanyu.
APULI 16-22
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 1-2
“Osonyiyiddwa Ebibi Byo”
“Osonyiyiddwa Ebibi Byo”
Yesu aba ali mu nnyumba ayigiriza, abasajja bana baleeta omusajja eyasannyalala nga bamusitulidde ku katanda. Baagala Yesu awonye mukwano gwabwe, naye ‘tebasobola kumutuusa Yesu w’ali’ olw’okuba abantu bangi. (Makko 2:4) Ekyo kiteekwa okuba nga kibamazeemu amaanyi. Basalawo okulinnya ku kasolya k’ennyumba ne bakawummulamu ekituli. Oluvannyuma bayisaamu akatanda okugalamidde omusajja eyasannyalala ne katuuka Yesu w’ali.
Olowooza Yesu abanyiigira olw’ekyo kye bakoze? Nedda. Yeewuunya nnyo olw’okukkiriza kwe boolese era agamba omusajja eyasannyalala nti: “Osonyiyiddwa ebibi byo.” (Matayo 9:2) Naye ddala Yesu asobola okusonyiwa ebibi? Abawandiisi n’Abafalisaayo beemulugunya olw’ekyo Yesu ky’ayogedde nga bagamba nti: “Lwaki omusajja ono ayogera bw’atyo? Avvoola. Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda yekka?”—Makko 2:7.
Yesu bw’ategeera kye balowooza, abagamba nti: “Lwaki mulowooza ebintu bino mu mitima gyammwe? Kiki ekisinga obwangu, okugamba omusajja ono eyasannyalala nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti ‘Yimuka ositule akatanda ko otambule’?” (Makko 2:8, 9) Yesu asobola okusonyiwa ebibi by’omusajja oyo, ng’asinziira ku ssaddaaka gy’anaatera okuwaayo.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 2:9
Kiki ekisinga obwangu: Kyandibadde kyangu omuntu okugamba nti asobola okusonyiwa ebibi, kubanga ekyo tekyandyetaagisizza bujulizi bulabibwako obulaga nti asobola okukikola. Naye okugamba eyasannyalala nti, Yimuka . . . otambule kyandyetaagisizza okukola ekyamagero, ekyandiraze abalala nti Yesu alina obuyinza okusonyiwa ebibi. Ekyamagero ekyo Yesu kye yakola n’ebiri mu Is 33:24 biraga nti tulwala olw’okuba twasikira ekibi.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 1:11
eddoboozi ne liva mu ggulu: Guno gwe mulundi ogwasooka ku egyo esatu egiragibwa bitabo by’Enjiri, nga Yakuwa ayogera butereevu n’abantu.—Laba awannyonnyolerwa ebikwata ku Mak 9:7; Yok 12:28.
Ggwe Mwana wange: Ng’ekitonde eky’omwoyo, Yesu yali Mwana wa Katonda. (Yok 3:16) Okuva Yesu lwe yazaalibwa ng’omuntu, yali “Mwana wa Katonda” nga Adamu bwe yali ng’atuukiridde. (Luk 1:35; 3:38) Naye kirabika ebigambo bya Katonda ebyo birina amakulu agasingako. Katonda okwogera ebigambo ebyo era n’okufuka omwoyo omutukuvu ku Yesu, yakyoleka nti Yesu yali azaaliddwa ng’Omwana we ow’Omwoyo, kwe kugamba, yali ‘azaaliddwa omulundi ogw’okubiri’ ng’alina essuubi ery’okuddayo mu ggulu aweereze nga Kabaka era Kabona Asinga Obukulu.—Yok 3:3-6; 6:51; geraageranya Luk 1:31-33; Beb 2:17; 5:1, 4-10; 7:1-3.
nkusanyukira: Oba “nkusiima.” Ekigambo kye kimu kisangibwa ne mu Mat 12:18, awajuliza obunnabbi obuli mu Is 42:1 obukwata ku Masiya eyasuubizibwa, oba Kristo. Katonda okufuka omwoyo omutukuvu ku Yesu n’okumuyita Omwana we, bwali bujulizi obw’enkukunala obulaga nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 3:17; 12:18.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 2:28
Mukama wa Ssabbiiti: Yesu yagamba nti ye Mukama wa Ssabbiiti (Mat 12:8; Luk 6:5), ekiraga nti ne ku Ssabbiiti yali asobola okukolerako emirimu Kitaawe gye yamuwa. (Geraageranya Yok 5:19; 10:37, 38.) Yesu yakola ebimu ku byamagero ku Ssabbiiti, nga mw’otwalidde n’okuwonya abalwadde. (Luk 13:10-13; Yok 5:5-9; 9:1-14) Kino kyali kisonga ku buweerero abantu bwe bajja okufuna wansi w’Obwakabaka bwe, obujja okubeera ng’ekiwummulo kya ssabbiiti.—Beb 10:1.
APULI 23-29
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 3-4
“Okuwonya ku Ssabbiiti”
Kiki Ekikkirizibwa Okukolebwa ku Ssabbiiti?
Ku Ssabbiiti endala, Yesu agenda mu kkuŋŋaaniro era nga kirabika lya mu Ggaliraaya. Asangamu omusajja alina omukono ogukaze. (Lukka 6:6) Abawandiisi n’Abafalisaayo beekaliriza Yesu. Lwaki? Booleka ekyo ekiri mu mitima gyabwe nga bamubuuza nti: “Kikkirizibwa okuwonya omuntu ku Ssabbiiti?”—Matayo 12:10.
Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya balowooza nti tekikkirizibwa kuwonya ku Ssabbiiti okuggyako ng’obulamu buli mu kabi. Ng’ekyokulabirako, bakitwala nti ku Ssabbiiti tekikkirizibwa kuyunga ggumba eriba limenyese oba okusiba ekigere oba omukono oguba gunuuse, mbu olw’okuba obulamu bw’omuntu tebuba mu kabi. N’olwekyo abawandiisi n’Abafalisaayo babuuza Yesu ekibuuzo si lwa kuba nti bafaayo nnyo ku musajja oyo abonaabona, wabula olw’okuba baagala kufuna kye banaasinziirako okuvunaana Yesu.
Kiki Ekikkirizibwa Okukolebwa ku Ssabbiiti?
Naye Yesu akimanyi nti endowooza yaabwe nkyamu. Akiraba nti balina endowooza egudde olubege, era etali ya mu Byawandiikibwa ekwata ku bintu ebitalina kukolebwa ku Ssabbiiti. (Okuva 20:8-10) Guno si gwe mulundi ogusoose Yesu okuvumirirwa olw’okukola ebintu ebirungi ku Ssabbiiti. Kati Yesu aleetawo embeera egenda okwanika endowooza yaabwe enkyamu. Agamba omusajja ow’omukono ogukaze nti: “Situka ojje wano mu makkati.”—Makko 3:3.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 3:5
nga munyiivu era nga munakuwavu nnyo: Makko yekka y’annyonnyola engeri Yesu gye yawuliramu olw’obukakanyavu bw’emitima gy’abakulembeze b’eddiini. (Mat 12:13; Luk 6:10) Kirabika Peetero, omusajja eyayolekanga enneewulira ye, ye yannyonnyola Makko engeri Yesu gye yawuliramu.—Laba vidiyo, “Ennyanjula y’Ekitabo kya Makko.”
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 3:29
avvoola omwoyo omutukuvu: Okuvvoola kitegeeza okwogera obubi ku Katonda oba ku bintu ebitukuvu. Okuva bwe kiri nti omwoyo omutukuvu guva eri Katonda, okuguziyiza mu bugenderevu oba okugaana obulagirizi bwagwo kuba kuvvoola Katonda. Nga bwe kiragibwa mu Mat 12:24, 28 ne Mak 3:22, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baalaba nti omwoyo gwa Katonda gwe gwasobozesa Yesu okukola ebyamagero, kyokka ne bagamba nti yali akozesa maanyi ga Sitaani.
aba n’ekibi emirembe n’emirembe: Kirabika ekibi ekyogerwako wano kyekyo ekikolebwa mu bugenderevu, era ekitasoboka kusonyiyibwa; ekibi ng’ekyo tewali ssaddaaka esobola kukitangirira.—Laba awannyonnyolerwa ebigambo avvoola omwoyo omutukuvu mu lunyiriri luno, n’awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 12:31.
‘Otegeera Amakulu’?
Kiki kye tuyigira ku lugero olwo? Okusookera ddala, tulina okukimanya nti tetusobola kusalawo sipiidi ki omuyizi wa Bayibuli gy’alina okukulaakulanirako mu by’omwoyo. Wadde nga tufuba okukola kyonna ekisoboka okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukula mu by’omwoyo, twoleka obwetoowaze nga twewala okumupikiriza oba okumukaka okubatizibwa. Omuntu okwewaayo kirina kusibuka mu mutima gwe ng’akubirizibwa okwagala kw’alina eri Katonda. Yakuwa okusobola okukkiriza okwewaayo kwaffe, tulina okuba nga tukikoze olw’okuba tumwagalira ddala.—Zab. 51:12; 54:6; 110:3.
Eky’okubiri, ebyo ebiri mu lugero olwo bituyamba obutaggwaamu maanyi singa mu kusooka tetulaba bibala biva mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Twetaaga okuba abagumiikiriza. (Yak. 5: 7, 8) Bwe tuba nga tukoze kyonna ekisoboka okuyamba omuyizi wa Bayibuli naye ensigo ey’amazima n’etekula mu mutima gwe, ekyo tekitegeeza nti tuli bayigiriza babi. Yakuwa asobozesa ensigo ey’amazima okukula mu mutima gw’omuntu singa omuntu oyo aba mwetoowaze era nga mwetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. (Mat. 13:23) N’olwekyo, okuba nti Yakuwa asiima obuweereza bwaffe tetusaanidde kukipimira ku bantu bameka be tuba tuyambye okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa okusiima obuweereza bwaffe, tasinziira ku ngeri abantu gye beeyisaamu nga tubabuulidde. Mu kifo ky’ekyo, asiima nnyo obunyiikivu bwe twoleka nga tukola omulimu ogw’okubuulira.—Soma Lukka 10:17-20; 1 Abakkolinso 3:8.
Eky’okusatu, tetusobola kumanya nkyukakyuka zonna ezibaawo mu bulamu bw’omuntu. Ng’ekyokulabirako, lumu waliwo omwami ne mukyala we abaatuukirira omuminsani eyali abayigiriza Bayibuli ne bamugamba nti baali baagala okufuuka ababuulizi abatali babatize. Omuminsani yabagamba nti okusobola okufuuka ababuulizi, baalina okulekayo omuze ogw’okunywa ssigala. Kyamwewuunyisa nnyo bwe baamugamba nti baali bamaze emyezi egiwerako nga tebakyanywa ssigala. Lwaki baalekayo omuze ogwo? Baali bakirabye nti ne bwe bandinywedde sigala mu nkukutu, Yakuwa yandibadde akiraba ate nga tayagala bunnanfuusi. Eyo ye nsonga lwaki baasalawo okulekayo omuze ogwo. Okwagala kwe baalina eri Yakuwa kwabakubiriza okusalawo obulungi. Baali bakuze mu by’omwoyo wadde ng’omuminsani oyo yali tamanyi nkyukakyuka eyali ebaddewo mu bulamu bwabwe.
APULI 30–MAAYI 6
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 5-6
“Yesu Alina Amaanyi ag’Okuzuukiza Abantu Baffe Abaafa”
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 5:39
tafudde, wabula yeebase: Mu Bayibuli, okufa kugeraageranyizibwa ku kwebaka. (Zb 13:3; Yok 11:11-14; Bik 7:60; 1Ko 7:39; 15:51; 1Se 4:13) Yesu yali agenda kuzuukiza omuwala oyo, n’olwekyo ayinza okuba nga yayogera ebigambo ebyo okulaga nti ng’abantu bwe basobola okuzuukusibwa okuva mu tulo otw’amaanyi, n’abafu basobola okuddamu okuba abalamu. Amaanyi Yesu ge yakozesa okuzuukiza omuwala oyo gaava eri Kitaawe, oyo “azuukiza abafu era ayogera ku bintu ebitaliiwo ng’ebiriwo.”—Bar 4:17.
Omuwala Addamu Okuba Omulamu!
Emabegako, Yesu aliko abantu be yawonya naye n’abagamba obutabaako gwe babuulirako, era ne ku mulundi guno agamba bazadde b’omuwala oyo obutabuulirako muntu yenna. Wadde kiri kityo, bazadde b’omuwala oyo n’abantu abalala babunyisa amawulire ago “mu kitundu ekyo kyonna.” (Matayo 9:26) Singa naawe waliwo omuntu wo eyali afudde n’azuukira, ekyo tewandibadde musanyufu okukibuulirako abalala? Guno gwe mulundi ogw’okubiri nga Bayibuli eyogera ku Yesu okuzuukiza omuntu.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 5:19
Genda . . . obabuulire: Yesu yagaananga abantu okubuulira abalala ebyamagero bye yabanga akoze. (Mak 1:44; 3:12; 7:36) Naye ku luno yagamba omusajja ono agende abuulire ab’eŋŋanda ze ekyali kibaddewo. Ekyo ayinza okuba nga yakikola olw’okuba abantu baali bamugambye okuva mu kitundu kyabwe, era nga ye kennyini teyandisobodde kubabuulira. Ate era kyandiyambye abantu obutakuliriza mawulire mabi agandisaasaanye olw’embizzi ezaali zigudde mu nnyanja.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 6:11
mwekunkumulangako enfuufu ku bigere byammwe: Ekikolwa kino kyandiraze nti abayigirizwa bandibadde tebavunaanyizibwa ku ekyo ekyandituuse ku bantu abatandikkirizza bubaka bwabwe. Ebigambo bye bimu bisangibwa mu Mat 10:14 ne Luk 9:5. Makko ne Lukka bagattako ebigambo, okuba obujulirwa gye bali. Pawulo ne Balunabba baakolera ku bulagirizi obwo bwe baali mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya (Bik 13:51), era Pawulo bwe yakunkumula ebyambalo bye ng’ali mu Kkolinso, yagattako ebigambo bino: “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe. Nze siriiko musango.” (Bik 18:6) Ekyo abayigirizwa bayinza okuba nga baali bakimanyi, kubanga Abayudaaya abaali beetwala okuba abatuukirivu ennyo bwe baabanga bava mu bitundu ebirala, baasookanga kwekunkumulako nfuufu gye baatwalanga nti si nnongoofu, baleme kugiyingiza mu nsi yaabwe. Kyokka Yesu bwe yagamba abayigirizwa be okwekunkumulako enfuufu ku bigere byabwe, ekyo si kye yali ategeeza.