OLUYIMBA 44
Essaala y’Omunaku
Printed Edition
	- 1. Ai Yakuwa: “Wulira - okusaba kwange.” - Omugugu gwe nneetisse - gunzitooweredde. - Mpeddemu amaanyi - olw’okweraliikirira. - Nkwegayiridde Katonda - wange; mbudaabuda. - (CHORUS) - Onnyambe nze, okuguma, - ’Ssuubi lyange likakate. - Nkukoowoola, ggwe Yakuwa. - Zza obuggya ’maanyi gange. 
- 2. Ekigambo kyo kimpa - ’maanyi bwe mba nnafuye. - Kirimu ebintu bingi - nnyo ebinzimba nze. - Onnyambe mbeere n’okukkiriza - okw’amaanyi, - Nzijukirenga bulijjo - ’kwagala kwo ’kungi. - (CHORUS) - Onnyambe nze, okuguma, - ’Ssuubi lyange likakate. - Nkukoowoola, ggwe Yakuwa. - Zza obuggya ’maanyi gange. 
(Laba ne Zab. 42:6; 119:28; Bar. 8:26; 2 Kol. 4:16; 1 Yok. 3:20.)