Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
JJUUNI 4-10
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 15-16
“Yesu Yatuukiriza Obunnabbi”
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 15:24, 29
ne bagabana ebyambalo bye eby’okungulu: Yok 19:23, 24 wongerako ebigambo ebitali mu njiri ya Matayo, Makko, ne Lukka. Abasirikale Abaruumi baakubira ebyambalo bya Yesu byombi akalulu, eky’okungulu n’eky’omunda. Eky’okungulu ‘baakigabanyaamu emirundi ena, ne bakuba akalulu okulaba buli musirikale ekitundu ky’anaatwala’. Naye ekyambalo eky’omunda tebaayagala kukiyuzaamu; n’olwekyo baakikubira akalulu balabe ani anaakitwala. Ekyo kyatuukiriza obunnabbi obukwata ku Masiya obuli mu Zb 22:18. Mu kiseera ekyo abo abaabanga bagenda okutta omuntu baasokanga kumuggyako ngoye ze n’ebintu bye. Abamenyi b’amateeka baabambulangamu engoye nga tebannaba kubatta. Ekyo baakikolanga okwongera okubaswaza.
ne banyeenya emitwe: Kino baakikolanga ng’eno bwe bawereekereza ebigambo ebivuma. Abo abaakikola ku Yesu, baatuukiriza obunnabbi obuli mu Zb 22:7.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 15:43
Yusufu: Ebintu eby’enjawulo abawandiisi b’ebitabo by’Enjiri bye baawandiika ku Yusufu birina kye biraga ku ngeri zaabwe n’obulamu bwabwe. Matayo eyali omusolooza w’omusolo yawandiika nti Yusufu yali ‘mugagga’; Makko, okusingira ddala eyawandiikira Abaruumi yagamba nti, Yusufu “yali mukiise mu Lukiiko Olukulu, ng’assibwamu ekitiibwa” era nti yali alindirira Obwakabaka bwa Katonda; Lukka eyali omusawo yawandiika nti, Yusufu “yali musajja mulungi era nga mutuukirivu” era teyakkiriziganya na banne abaasalira Yesu omusango; Yokaana yekka ye yawandiika nti Yusufu yali ‘muyigirizwa wa Yesu, naye nga wa mu kyama olw’okuba yali atya Abayudaaya.’—Mat 27:57-60; Mak 15:43-46; Luk 23:50-53; Yok 19:38-42.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 15:25
ku ssaawa ssatu: Ng’ezo zaali ssaawa nga 3 ez’oku makya. Abamu bagamba nti olunyiriri luno lukontana n’ebiri mu Yok 19:14-16, awalaga nti Piraato yawaayo Yesu okukomererwa ku “ssaawa nga mukaaga.” Wadde ng’ebyawandiikibwa tebinnyonnyola lwaki kiri bwe kityo, waliwo ebisobola okutuyamba okumanya lwaki ebyawandiikibwa ebyo birabika ng’ebikontana. Ebitabo by’Enjiri byonna bikwatagana bwe biba byogera ku byaliwo ku lunaku lwa Yesu olwasembayo. Ebitabo byonna ebina biraga nti bakabona abakulu n’abakadde baakuŋŋaana ng’obudde bwakakya, ne balagira nti Yesu atwalibwe eri Gavana Omuruumi eyali ayitibwa Pontiyo Piraato. (Mat 27:1, 2; Mak 15:1; Luk 22:66–23:1; Yok 18:28) Matayo, Makko, ne Lukka, bonna baawandiika nti Yesu bwe yamala okukomererwa ku muti, ensi yonna yakwata enzikiza “okuva ku ssaawa mukaaga okutuusa ku ssaawa mwenda.” (Mat 27:45, 46; Mak 15:33, 34; Luk 23:44) Ensonga lwaki ebyo Makko bye yawandiika birabika ng’ebikontana n’eby’abawandiisi b’Enjiri abalala eyinza okuba nga y’eno: Abamu baakitwalanga nti okutta omumenyi w’amateeka kyatandikiranga ku kumukuba. Oluusi yakubibwanga nnyo n’atuuka n’okufa nga tannaba kukomererwa. Yesu yakubibwa nnyo ne kiba nti kyali kyetaagisa omuntu omulala okusitula omuti kwe yali agenda okukomererwa, nga ye takyasobola kugusitula. (Luk 23:26; Yok 19:17) Bwe kiba nti okukuba omuntu kyatwalibwanga ng’entandikwa y’okumutta, wateekwa okuba nga waayitawo ekiseeera ekiwerako Yesu n’alyoka akomererwa. Olw’ensonga ezo, Mat 27:26 ne Mak 15:15 walaga nti okukuba Yesu n’okumukomerera byaliwo mu kiseera kye kimu. N’olwekyo, abawandiisi ab’enjawulo bayinza okuba nga baawa ebiseera eby’enjawo, nga buli omu asinziira ku ngeri gye yatwalamu ebyaliwo okuva ku ssaawa we baatandikira okubonyaabonya Yesu. Kino kituyamba okutegeera ensonga lwaki Piraato yeewuunya bwe yawulira nti Yesu yali afudde mangu oluvannyuma lw’okumukomerera. (Mak 15:44) Okugatta ku ekyo, abawandiisi ba Bayibuli nabo baakozesa enkola ey’okubala obudde nga baawulamu olunaku ebitundu bina, nga buli kitundu kirimu essaawa ssatu, emisana era n’ekiro. Ekyo kiraga ensonga lwaki Bayibuli erimu ebigambo nga; essaawa ssatu, essaawa mukaaga, essaawa mwenda, nga babala okuva ku ssaawa 12 ez’oku makya. (Mat 20:1-5; Yok 4:6; Bik 2:15; 3:1; 10:3, 9, 30) Ate era okutwalira awamu, abantu tebaalina bibayamba kumanya budde bwennyini, era eyo ye nsonga lwaki abawandiisi baakozesanga ebigambo, “essaawa nga,” nga bwe kiragibwa mu Yok 19:14. (Mat 27:46; Luk 23:44; Yok 4:6; Bik 10:3, 9) Mu bufunze: Makko ayinza okuba nga yatwaliramu ekiseera we baatandikira okukuba Yesu okutuusa lwe baamukomerera, ate ye Yokaana yayogera ku kiseera kyokka we baakomererera Yesu. Bombi bayinza okuba nga baabala obudde nga basinziira ku nkola ey’okwawulamu olunaku ebitundu bina nga buli kitundu kya ssaawa ssatu, era Yokaana yakozesa ekigamba “nga” ng’ayogera ku kiseera we baakomererera Yesu. Ensonga ezo ziyinza okuba nga ze zaaleetera abawandiisi okuwa obudde obulabika ng’obukontana. Ate era, Yokaana yawandiika Enjiri ye nga wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lwa Makko okuwandika eyiye. Okuba nti essaawa Yokaana ze yawandiika zirabika ng’ez’enjawulo ku za Makko, kiraga nti teyakoppolola bukoppolozi ebyo Makko bye yawandiika.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 16:8
baali batidde nnyo: Okusinziira ku biwandiiko ebikadde ennyo ebiriwo eby’ennyiriri ezisembayo mu Njiri ya Makko, Enjiri eyo ekomekkereza n’ebigambo ebiri mu lunyiriri 8. Abamu bagamba nti ebigambo ebikomekkereza Enjiri eyo biggwako ng’omusomi akyasuubira nti bikyagenda mu maaso, ne kiba nti ekitabo kya Makko tekiyinza kuba nga kyali kikomekkereza bwe kityo mu kusooka. Kyokka, okuva bwe kiri nti Makko ebigambo bye yabiwandiika mu bufunze, kye bagamba kiyinza obutaba kituufu. Ate era, abeekenneenya ba Bayibuli Jerome ne Eusebius abaaliwo mu kyasa eky’okuna, baalaga nti Enjiri ya Makko ekomekkereza n’ebigambo “baali batidde nnyo.”
Waliwo ebiwandiiko eby’Oluyonaani ebiwerako n’enkyusa mu nnimi endala ezongerako okufundikira okuwanvu oba okumpi ku lunyiriri 8. Okufundikira okuwanvu (nga kwongerako ennyiriri 12) kusangibwa mu biwandiiko, Codex Alexandrinus, Codex Ephraemi Syri rescriptus, ne Codex Bezae Cantabrigiensis, nga byonna bya mu kyasa eky’okutaano E.E. Ate era, kusangibwa ne mu Latin Vulgate, Curetonian Syriac, ne Syriac Peshitta. Naye okufundikira okuwanvu tekusangibwa mu biwandiiko by’Oluyonaani ebibiri ebiyitibwa Codex Sinaiticus ne Codex Vaticanus, ebyaliwo mu kyasa eky’okuna, oba mu Codex Sinaiticus Syriacus ey’omu kyasa eky’okuna oba eky’okutaano. Ate era, okufundikira okuwanvu tekusangibwa mu kiwandiiko ekikadde ennyo eky’olulimi Olukoputiki eky’Enjiri ya Makko eky’omu kyasa eky’okutaano. Mu ngeri y’emu, ebiwandiiko ebisinga obukadde eby’Enjiri ya Makko, mu lulimi Olumeniya n’Olujoogiya bikomekkereza na lunyiriri lwa 8.
Ebiwandiiko ebimu eby’Oluyonaani n’enkyusa ezimu ez’ennimi endala ezaddirira zongerako okufundikira okumpi (nga si kwa bigambo bingi). Ekiwandiiko ekiyitibwa Codex Regius eky’omu kyasa eky’omunaana E.E., kirina okufundikira kwombi, ng’okufundikira okumpi kwe kusooka. Ekiwandiiko ekyo, mu kufundikira kwombi kisoosa ebigambo ebiraga nti, wadde okufundikira okwo kusangibwa mu biwandiiko ebimu, tekuliimu mu Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa.
OKUFUNDIKIRA OKUMPI
Okufundikra okumpi okwongerwa ku Mak 16:8 tekwali mu Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa. Ebigambo ebyo bye bino:
Naye ebintu byonna bye yabalagira baabibuulira abo abaali awamu ne Peetero. Ebyo nga biwedde, Yesu kennyini n’abatuma okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba okutwala obubaka obutukuvu obutaggwaawo obw’okuwa abantu obulokozi obw’emirembe gyonna.
OKUFUNDIKIRA OKUWANVU
Okufundikira okuwanvu okwongerwa ku Mak 16:8 tekwali mu Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa. Ebigambo ebyo bye bino:
Bwe yamala okuzuukira, ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, yasooka kulabikira Maliyamu Magudaleena gwe yagobako dayimooni omusanvu. 10 Maliyamu n’agenda n’abuulira abo abaabanga naye abaali bakungubaga era nga bakaaba. 11 Naye bwe baawulira nti azuukidde era nti Maliyamu amulabye, ne batakkiriza. 12 Oluvannyuma lw’ebyo, n’alabikira babiri ku bayigirizwa be ng’ali mu ngeri ndala, bwe baali nga bagenda mu kyalo; 13 ne baddayo ne babuulirako abalala. Era nabo tebaabakkiriza. 14 Naye oluvannyuma n’alabikira ekkumi n’omu nga bali ku mmeeza, n’abanenya olw’obutaba na kukkiriza n’olw’emitima gyabwe emikakanyavu, kubanga tebakkiriza abo abaamulaba ng’azuukidde okuva mu bafu. 15 N’abagamba nti: “Mugende mu nsi yonna mubuulire amawulire amalungi eri ebitonde byonna. 16 Oyo akkiriza n’abatizibwa alirokolebwa, naye oyo atakkiriza alisalirwa omusango. 17 Ate era obubonero buno bulirabibwa mu abo abakkiriza: Mu linnya lyange baligoba dayimooni, balyogera ennimi, 18 balikwata emisota, era bwe balinywa ekintu kyonna eky’obutwa tekiribakolako kabi. Baliteeka emikono gyabwe ku balwadde ne bawona.”
Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. 20 Ne bagenda, ne babuulira wonna, nga Mukama waffe akola nabo era ng’awagira obubaka bwabwe okuyitira mu bubonero obwakolebwanga.”
JJUUNI 11-17
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 1
“Beera Muwombeefu nga Maliyamu”
“Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”
Ebigambo bye ebyoleka obwetoowaze na kati bikyajjukirwa. Yagamba Gabulyeri nti: “Laba! ndi muzaana wa Yakuwa! Ka kibeere bwe kityo gye ndi nga bw’ogambye.” (Luk. 1: 38) Omuzaana yabeeranga muweereza wa wansi nnyo ddala; obulamu bwe bwabanga mu mikono gya mukama we. Bw’atyo Maliyamu bwe yali yeetwala mu maaso ga Mukama we, Yakuwa. Yalina obwesige nti Yakuwa yandimukuumye era n’amuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi, kubanga mwesigwa eri abo abeesigwa gy’ali.—Zb. 18:25.
“Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”
Awo oluvannyuma Maliyamu naye yatandika okwogera. Bye yayogera byawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda. (Soma Lukka 1:46-55.) Ebigambo ebyo bituyamba okutegeera ebintu bingi ku Maliyamu. Mu bigambo bye ebyo yatendereza Yakuwa olw’okumuwa enkizo ey’okuba nnyina wa Masiya, era kino kiraga nti yali muntu asiima. Era yalaga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi, bwe yayogera nti Yakuwa afeebya ab’amalala n’ab’amaanyi era nti ayamba abantu aba wansi abaagala okuba abaweereza be. Ebigambo ebyo era biraga nti Maliyamu yali amanyi nnyo ebyawandiikibwa. Yajuliza ebyawandiikibwa ebisukka mu 20 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya!
Kya lwatu nti Maliyamu yafumiitirizanga nnyo ku Kigambo kya Katonda. Yayoleka obwetoowaze n’ajuliza butereevu Ebyawandiikibwa mu kifo ky’okwogera obwogezi ye kye yali alowooza. Omwana eyali mu lubuto lwe naye oluvannyuma yayoleka obwetoowaze bwe yagamba nti: “Bye njigiriza si byange, naye by’oyo eyantuma.” (Yok. 7:16) Kiba kirungi okwebuuza nti: ‘Nange nkiraga nti Ekigambo kya Katonda kye nkulembeza oba nkulembeza ndowooza zange?’ Maliyamu yayoleka endowooza entuufu.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 1:69
ejjembe ery’obulokozi: Oba, “omulokozi ow’amaanyi.” Mu Bayibuli, amayembe g’ebisolo gakiikirira amaanyi oba obuwanguzi. (1Sa 2:1; Zb 75:4, 5, 10; 148:14; obugambo obuli wansi) Ate era, abafuzi n’obwakabaka bwabwe, ka bube bulungi oba bubi, nabo bakiikirirwa amayembe, era mu Bayibuli obuwanguzi bwe baatuukako bwogerwako ng’okutomera n’amayembe. (Ma 33:17; Dan 7:24; 8:2-10, 20-24) Mu lunyiriri luno, ayogerwako ‘ng’ejjembe ery’obulokozi’ ye Masiya, oyo alina amaanyi ag’okulokola, omulokozi ow’amaanyi.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 1:76
olikulemberamu Yakuwa: Yokaana Omubatiza ‘yandikulembeddemu Yakuwa’ mu ngeri nti ye yanditeekeddeteekedde ekkubo oyo eyali agenda okukiikirira Yakuwa, era eyali agenda okujjira mu linnya lya Yakuwa.—Yok 5:43; 8:29.
JJUUNI 18-24
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 2-3
“Abato—Mufuba Okukulaakulana mu by’Omwoyo?”
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 2:41
bazadde be baagendanga: Okusinziira ku mateeka, abakazi kyali tekibakakatako kugenda ku mbaga ey’Okuyitako. Kyokka Maliyamu yawerekeranga Yusufu e Yerusaalemi ku mbaga ey’Okuyitako. (Kuv 23:17; 34:23) Buli mwaka baatindigganga olugendo lwa mayiro nga 190 ate nga baalina abaana abawerako.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 2:46, 47
ng’ababuuza ebibuuzo: Olw’okuba abo abaali bawuliriza Yesu beewuunya, kiraga nti ebibuuzo bye yali ababuuza tebyali bya kito. (Luk 2:47) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ng’ababuuza ebibuuzo” oluusi kikozesebwa okutegeeza ebibuuzo ng’ebyo abalamuzi bye babuuza mu kkooti nga baagala okutuuka ku nsonga. (Mat 27:11; Mak 14:60, 61; 15:2, 4; Bik 5:27) Bannabyafaayo bagamba nti abakulembeze b’eddiini abamu baasigalanga mu yeekaalu ng’embaga ewedde, ne bayigiriza abantu nga batudde mu kimu ku bisenge bya yeekaalu. Abantu baatuulanga kumpi nabo ne babawuliriza era ne bababuuza ebibuuzo.
ne beewuunya nnyo: Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okwewuunya’ kiyinza okutegeeza okwewuunya enfunda n’enfunda oba okumala ekiseera.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 2:51, 52
yeeyongera okubagondera: Ekigambo ky’Oluyonaani kiwa amakulu g’ekintu ekibaawo obutakoma. Yesu bwe yamala okuwuniikiriza abayigiriza olw’engeri gye yali amanyiimu Eyawandiikibwa, yaddayo eka ne yeeyongera okugondera bazadde be. Obuwulize bwe bwali businga obw’omwana omulala yenna; y’emu ku ngeri gye yatuukirizaamu Amateeka ga Musa mu bujjuvu.—Kuv 20:12; Bag 4:4.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 2:14
n’emirembe gibeere ku nsi mu bantu Katonda b’asiima: Ebiwandiiko ebimu birimu ebigambo ebiyinza okuvvuunulwa nti “ne ku nsi, emirembe gibeere mu bantu,” era ebigambo ebyo bwe bityo bwe byavvuunulwa mu nkyusa za Bayibuli ezimu. Naye engeri gye byavvuunulwamu mu Enkyusa ey’Ensi Empya ekwatagana n’ebiri mu biwandiiko ebisinga obungi. Ebigambo bya bamalayika ebyo byali tebiraga nti emirembe gya Katonda gyandibadde ku bantu bonna abali ku nsi, ka babe nga balina ndowooza ki oba nga beeyisa batya. Wabula, bikwata ku abo abandifunye emirembe gya Katonda olw’okuba boolese okukkiriza okwa nnamaddala, era ne bafuuka abagoberezi b’Omwana we.—Laba awannyonnyolerwa ebigambo bantu Katonda b’asiima ebiri mu lunyiriri luno.
bantu Katonda b’asiima: Ekigambo ky’Oluyonaani eu·do·kiʹa ekyavvuunulwa nti “b’asiima” kitegeeza okusiimibwa Katonda so si bantu. Era kiyinza okuvvuunulwa nti “b’asanyukira.” Ekigambo eu·do·keʹo ekikifaanana kikozesebwa mu Mat 3:17; Mak 1:11; ne Luk 3:22 (laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 3:17; Mak 1:11), awalaga nga Katonda ayogera n’Omwana we ng’amaze okubatizibwa. Nakyo kiwa amakulu ‘g’okusiima oba okusanyukira.’ Mu ngeri eyo, ekigambo ky’Oluyonaani an·throʹpois eu·do·kiʹas kitegeeza abantu Katonda b’asiima, era kiyinza okuvvuunulwa nti “abantu Katonda b’asanyukira.” N’olw’ekyo, ebigambo bya bamalayika ebyo tebikwata ku bantu bonna okutwalira awamu, wabula bikwata ku bantu Katonda b’awa emirembe gye olw’okuba balina okukkiriza okwa nnamaddala, era bagoberera Omwana we. Wadde ng’ekigambo ky’Oluyonaani eu·do·kiʹa emirundi egimu kiyinza okutegeeza emirembe abantu bonna gye bayinza okuba nagyo (Bar 10:1; Baf 1:15), emirundi egisinga kitegeeza emirembe gya Katonda, ekyo ekimusanyusa, oba ekyo ky’asiima (Mat 11:26; Luk 10:21; Bef 1:5, 9; Baf 2:13; 2Se 1:11). Mu Septuagint mu Zb 51:18 [50:20, LXX], ekigambo ekyo kikozesebwa ku Katonda “ky’asiima.”
Obadde Okimanyi?
Ani yali taata wa Yusufu?
Yusufu eyakuza Yesu yali mubazzi era yali abeera mu kabuga k’e Nazaaleesi. Naye ani eyali taata we? Olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu oluli mu Njiri ya Matayo lulaga nti Yakobo ye yali kitaawe, ate olwo oluli mu Njiri ya Lukka lulaga nti Yusufu yali ‘mwana wa Keri.’ Lwaki abawandiisi abo balabika ng’abaakontana?—Lukka 3:23; Matayo 1:16.
Enjiri ya Matayo egamba nti: “Yakobo n’azaala Yusufu,” era yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekiraga nti Yakobo ye yali taata wa Yusufu owa ddala. N’olwekyo Matayo yali alaga olunyiriri lwa Dawudi Yusufu mwe yasibuka, era nga ne Yesu eyandifuze nga kabaka ku ntebe ya Dawudi yava mu lunyiriri lwe lumu.
Kyokka yo Enjiri ya Lukka egamba nti, Yusufu yali mwana wa Keri. Ebigambo, “mwana wa,” biyinza okutegeeza “mukoddomi wa.” Mu ngeri y’emu, Lukka 3:27 wagamba nti Seyalutyeri yali ‘mwana wa Neeri’ ng’ate kitaawe owa ddala yali ayitibwa Yekoniya. (1 Ebyomumirembe 3:17; Matayo 1:12) Kirabika Seyalutyeri yawasa muwala wa Neeri bw’atyo n’afuuka mukoddomi we. Ne Yusufu ayitibwa “mwana” wa Keri kubanga yawasa Maliyamu, muwala wa Keri. Lukka yawandiika ku lunyiriri lwa Yesu ku ludda lwa nnyina Maliyamu. N’olwekyo, Bayibuli eyogera ku nnyiriri bbiri ez’obuzaale bwa Yesu.
JJUUNI 25–JJULAAYI 1
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 4-5
“Ziyiza Ebikemo nga Yesu Bwe Yakola”
Osaanidde Kuba Muntu Wa Ngeri Ki?
Sitaani yakozesa akakodyo ke kamu ng’agezaako okukema Yesu mu ddungu. Yesu bwe yali amaze ennaku 40 ng’asiiba, Sitaani yagezaako okumukema ng’akozesa eby’okulya. Sitaani yagamba Yesu nti, “Bw’oba oli mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.” (Luk. 4:1-3) Yesu yali asobola okukola ebintu bibiri: Yali asobola okusalawo okukozesa amaanyi ge okwefunira eky’okulya oba obutagakozesa. Yesu yali akimanyi nti tekyali kituufu kukozesa maanyi ge kwenoonyeza bibye. Wadde ng’enjala yali emuluma, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kye kyali kisinga obukulu gy’ali okusinga eby’okulya. Yesu yagamba Sitaani nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.’”—Mat. 4:4.
Osaanidde Kuba Muntu Wa Ngeri Ki?
Sitaani yakozesa atya “okwegomba kw’amaaso” okukema Yesu? Sitaani “[yalaga Yesu] obwakabaka bwonna obw’omu nsi; n’amugamba nti: ‘Nja kukuwa obuyinza ku bwakabaka buno bwonna n’ekitiibwa kyabwo.’” (Luk. 4:5, 6) Yesu teyalaba bwakabaka bwonna obw’omu nsi na maaso ge, naye yalaba ekitiibwa kyabwo mu kwolesebwa. Sitaani ateekwa okuba nga yali alowooza nti ebyo Yesu bye yali alabye mu kwolesebwa byandimusikirizza. Yagamba Yesu nti: “Singa ovunnama n’onsinza, bwonna bujja kuba bubwo.” (Luk. 4:7) Yesu yagaana okukola ekyo Sitaani kye yamugamba okukola. Amangu ddala yamuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza era ye yekka gw’olina okuweereza.’”—Luk. 4:8.
nwtsty vidiyo
Ekisenge kya Yeekaalu
Sitaani ayinza okuba nga yatwalira ddala Yesu ku “kisenge kya yeekaalu [oba “awasingayo okuba waggulu”] ku yeekaalu n’amugamba abuuke agwe wansi, naye ekifo kyennyini Yesu w’ayinza okuba nga we yayimirira tekimanyiddwa. Okuva bwe kiri nti ekigambo ekivvuunulwa “yeekaalu” mu lunyiriri luno kiyinza okutegeeza ekizimbe kya yeekaalu kyonna, Yesu ayinza okuba nga yayimirira ku nsonda ey’ebukiikaddyo w’ebuvanjuba bwa yeekaalu (1). Oba ayinza okuba nga yayimirira ku nsonda endala eya yeekaalu. K’ebe nsonda ki gye yayimirirako, singa yabuuka n’agwa wansi, yali ateekwa buteekwa kufa okuggyako nga Yakuwa y’amuwonyezza.
Osaanidde Kuba Muntu Wa Ngeri Ki?
Obutafaananako Kaawa, Yesu yali mwetoowaze. Sitaani yagezaako okumukema akole ekintu ekyandireetedde abalala okumutendereza naye nga kigezesa Katonda. Ekyo Yesu yagaana okukikola olw’okuba kyandibadde kikolwa ekyoleka amalala. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yaddamu Sitaani nti: “Kyagambibwa nti, ‘Tokemanga Yakuwa Katonda wo.’”—Soma Lukka 4:9-12.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 4:17
omuzingo gwa nnabbi Isaaya: Omuzingo gwa nnabbi Isaaya ogwazuulibwa okumpi n’Ennyanja Enfu, gulimu ebitundu eby’enjawulo 17 ebyagattibwa awamu era ng’omuzingo gwonna guweza obuwanvu bwa mita 7.3 (ffuuti 24). Ate era, Ebyawandiikibwa mu muzingo ogwo byawuddwamu emiwaatwa 54. Omuzingo ogwakozesebwanga mu kkuŋŋaaniro ly’e Nazaaleesi nagwo guyinza okuba nga gwalina obuwanvu bwe bumu. Olw’okuba emizingo egyakozesebwanga mu kyasa ekyasooka tegyalimu ssuula na nnyiriri, Yesu yalina okuzingulula omuzingo atuuke we yali ayagala okusoma. Naye olw’okuba yasobola okutuuka ku kyawandiikibwa kye yali ayagala okusoma, kiraga nti yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 4:25
yamala emyaka esatu n’emyezi mukaaga nga tetonnya: Okusinziira ku 1Sk 18:1, nnabbi Eriya yalangirira nti ekyeya kyandikomye “mu mwaka ogw’okusatu.” N’olwekyo, abamu bagamba nti ebyo Yesu bye yayogera bikontana n’ebiri mu 1 Bassekabaka. Kyokka ebiri mu 1 Bassekabaka tebiraga nti ekyeya kyakoma ng’emyaka esatu teginnawera. Ebigambo “mu mwaka ogw’okusatu” biraga ekiseera ekyayitawo okuva nnabbi Eriya lwe yasooka okugamba Kabaka Akabu ebikwata ku kyeya. (1Sk 17:1) Kirabika nnabbi Eriya yayogera ebigambo ebyo ng’ekiseera eky’omusana ekyateranga okumala emyezi mukaaga kikyagenda mu maaso. Ate era, tekyakoma ku lunaku nnabbi Eriya lwe yaddamu okugenda eri Akabu “mu mwaka ogw’okusatu,” wabula kyakoma oluvannyuma lw’ebyo ebyaliwo ku Lusozi Kalumeeri. (1Sk 18:18-45) N’olwekyo, ebigambo bya Yesu ebiri mu lunyiriri luno, awamu n’ebyo ebiri mu Yak 5:17, bikwatagana bulungi n’ebiri mu 1Sk 18:1.