LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 54 lup. 132-lup. 133 kat. 1
  • Yesu—‘Emmere ey’Obulamu’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu—‘Emmere ey’Obulamu’
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Wali Olidde ku Mugaati ogw’Obulamu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Kiki ky’Osaanidde Okukola Okufuna Obulamu Obutaggwaawo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Bye Tuyigira ku Kyamagero eky’Emigaati
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Ebigambo bya Yesu Byewuunyisa Bangi
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 54 lup. 132-lup. 133 kat. 1
Abasajja nga bakuŋŋaanya emmaanu; omukazi ng’agisa, ng’agikolamu obugaati obwekulungirivu, era ng’abufumba

ESSUULA 54

Yesu​—‘Emmere ey’Obulamu’

YOKAANA 6:25-48

  • YESU YE ‘MMERE OKUVA MU GGULU’

Ku luuyi olw’ebuvanjuba obw’Ennyanja y’e Ggaliraaya, Yesu yaliisa abantu bangi mu ngeri ey’ekyamagero. Bwe yakitegeera nti baagala kumufuula kabaka yavaayo. Ekiro ekyo yali atambulidde ku nnyanja eriko omuyaga era ng’ataasizza Peetero, naye eyali atambulidde ku nnyanja kyokka n’atandika okubbira oluvannyuma lw’okunafuwa mu kukkiriza. Ate era Yesu yakkakkanya omuyaga, oboolyawo ekyayamba eryato abagoberezi be mwe baali obutamenyekamenyeka.

Kati Yesu akomyewo ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ennyanja, mu bitundu by’e Kaperunawumu. Abantu be yaliisa mu ngeri ey’ekyamagero bamusisinkana ne bamugamba nti: “Watuuse ddi eno?” Yesu akiraga nti balina ebiruubirirwa ebikyamu ng’abagamba nti bamunoonya lwa kwagala kufuna bya kulya. Abagamba nti: “Temukolerera mmere eggwaawo, wabula mukolerere emmere etaggwaawo ereeta obulamu obutaggwaawo.” Bamubuuza nti: “Tukole ki okutuukiriza Katonda by’ayagala?”​—Yokaana 6:25-28.

Abantu balowooza nti Yesu agenda kwogera ku ebyo ebiri mu Mateeka, naye Yesu ayogera ku kintu ekikulu ennyo. Agamba nti: “Kino Katonda ky’ayagala, mmwe okukkiririza mu Oyo gwe yatuma.” Wadde ng’abantu baali balabye ebyamagero bingi Yesu bye yali akoze, baali tebamukkiririzaamu. Kati baagala abeeko ekyamagero ekirala ky’abakolera basobole okumukkiririzaamu. Bamugamba nti: “Kikolwa ki ky’onookola? Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu, nga bwe kyawandiikibwa nti: ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’”​—Yokaana 6:29-31; Zabbuli 78:24.

Bw’aba addamu ekibuuzo ky’abantu, Yesu abagamba nti: “Musa teyabawa mmere kuva mu ggulu, naye Kitange y’abawa emmere eya ddala okuva mu ggulu. Kubanga emmere eva ewa Katonda y’oyo ava mu ggulu n’awa ensi obulamu.” Olw’obutategeera makulu g’ebyo by’abagambye, bamugamba nti: “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo.” (Yokaana 6:32-34) Kati olwo ‘mmere’ ki Yesu gy’ayogerako?

Yesu abagamba nti: “Nze mmere ey’obulamu. Oyo ajja gye ndi talirumwa njala n’akatono, era buli akkiririza mu nze talirumwa nnyonta n’akatono. Naye mbagamba nti, mundabye naye temunzikiriza. . . . Saava mu ggulu kukola bye njagala, wabula eby’oyo eyantuma. Kino eyantuma ky’ayagala, ku bonna be yampa nneme kubuzaako n’omu naye mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. Kitange kino ky’ayagala, buli muntu ategeera Omwana n’amukkiririzaamu afune obulamu obutaggwaawo.”​—Yokaana 6:35-40.

Ekyo kinyiiza nnyo Abayudaaya, era ne batandika okwemulugunya. Bagamba nti ayinza atya okugamba nti ye “mmere eyava mu ggulu”? (Yokaana 6:41) Bo bakitwala nti Yesu muntu wa bulijjo eyazaalibwa abazadde ab’omu kibuga ky’e Ggaliraaya ekiyitibwa Nazaaleesi. Abantu bagamba nti: “Ono si ye Yesu mutabani wa Yusufu, era nga tumanyi kitaawe ne nnyina?”​—Yokaana 6:42.

Yesu abagamba nti: “Mulekere awo okwemulugunya. Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise; era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. Kyawandiikibwa mu biwandiiko bya Bannabbi nti: ‘Bonna baliyigirizibwa Yakuwa.’ Buli muntu awuliriza Kitange era n’ayiga ajja gye ndi. Tewali muntu eyali alabye ku Kitange, okuggyako oyo yekka eyava ewa Katonda; oyo ye yalaba Kitange. Mazima ddala mbagamba nti, oyo anzikiriza alina obulamu obutaggwaawo.”​—Yokaana 6:43-47; Isaaya 54:13.

Emabegako bwe yali ayogera ne Nikodemu, Yesu yakiraga nti abantu abaagala okufuna obulamu obutaggwaawo, balina okukkiririza mu Mwana w’omuntu. Yagamba nti: “Buli muntu yenna [akkiririza mu Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka] aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:15, 16) Naye kati ayogera n’ekibiina ky’abantu, era abategeeza ekifo ky’alina mu kubasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo, emmaanu n’emmere eri mu Ggaliraaya bye butasobola kuyamba bantu kufuna. Kati olwo abantu bayinza batya okufuna obulamu obutaggwaawo? Yesu addamu okugamba abantu nti: “Nze mmere ey’obulamu.”​—Yokaana 6:48.

Ensonga eno ekwata ku mmere eyava mu ggulu yeeyongera okwogerwako, n’ekomekkerezebwa nga Yesu ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu.

  • Okusinziira ku ebyo ebibaddewo emabageko, lwaki si kituufu abantu okusaba Yesu okukola ekyamagero?

  • Abayudaaya beeyisa batya nga Yesu agambye nti ye ‘mmere okuva mu ggulu’?

  • Lwaki emmere Yesu gy’ayogerako ya njawulo nnyo ku mmaanu oba emmere eya bulijjo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share