LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr19 Okitobba lup. 1-7
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2019
  • Subheadings
  • OKITOBBA 7-13
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2019
mwbr19 Okitobba lup. 1-7

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

OKITOBBA 7-13

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YAKOBO 3-5

“Yoleka Amagezi Agava eri Katonda”

cl lup. 221-222 ¶9-10

“Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?

“Okusooka malongoofu.” Ekintu okuba ekirongoofu kirina okuba nga tekyonooneddwa, kungulu ne munda. Bayibuli ekwataganya amagezi n’omutima, kyokka amagezi ga Katonda tegayinza kubeera mu mutima ogulimu ebirowoozo ebibi, okwegomba okubi n’ebiruubirirwa ebibi. (Engero 2:10; Matayo 15:19, 20) Kyokka, omutima bwe guba nga mulongoofu, kwe kugamba, okusinziira ku busobozi bw’abantu abatatuukiridde, tujja ‘kuleka ebibi tukolenga ebirungi.’ (Zabbuli 37:27; Engero 3:7) Tekituukirawo nti obulongoofu y’engeri eri mu magezi agava eri Katonda esoose okumenyebwa? Mazima ddala, singa tetuba bayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo, tuyinza tutya okwoleka engeri endala eziraga nti tulina amagezi agava waggulu?

“Ga mirembe.” Amagezi agava waggulu gatukubiriza okunoonya emirembe, emu ku ngeri eri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda. (Abaggalatiya 5:22) Twewala okutabangula ‘emirembe’ egigatta awamu abantu ba Yakuwa. (Abeefeso 4:3) Era tukola kyonna ekisoboka okuzzaawo emirembe bwe giba gitabanguse. Lwaki ekyo kikulu? Bayibuli egamba nti: “mweyongere . . . okuba mu mirembe; era Katonda ow’okwagala n’emirembe ajja kubeera nammwe.” (2 Abakkolinso 13:11) Kasita tweyongera okubeera mu mirembe, Katonda ow’emirembe ajja kuba naffe. Engeri gye tuyisaamu bakkiriza bannaffe erina ky’ekola ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tuyinza tutya okubeera mu mirembe n’abalala? Lowooza ku kyokulabirako kino.

cl lup. 223-224 ¶12

“Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?

“Si makakanyavu.” Kitegeeza ki obutaba mukakanyavu? Okusinziira ku beekenneenya ba Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekyasooka ekyavvuunulwa “si makakanyavu” mu Yakobo 3:17, kizibu okuvvuunula. Abavvuunuzi bakozesezza ebigambo nga “makkakkamu,” “magumiikiriza,” era ‘galumirirwa.’ Amakulu g’ekigambo ekyo mu Luyonaani gali, ‘obutakalambira ku kintu.’ Tuyinza tutya okulaga nti tulina engeri eno eraga nti tulina amagezi agava waggulu?

cl 224-225 ¶14-15

“Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?

“Mawulize.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “mawulize” tekisangibwa walala mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Okusinziira ku mwekenneenya omu, ekigambo kino ‘kitera okukozesebwa mu kukangavvula okw’ekijaasi.’ Kirina amakulu ‘g’okukolera amangu ku kikugambiddwa’ era ‘n’okubeera omuwulize.’ Oyo alina amagezi agava waggulu, agondera ebyo Ebyawandiikibwa kye bigamba. Si ye muntu akalambira ku ky’aba asazeewo bwe wabaawo ebiraga nti si kituufu. Wabula, aba mwetegefu okukyusaamu bw’alagibwa obukakafu okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti akoze ensobi mu kusalawo kwe. Bwe batyo abalala bwe bakulaba?

“Gajjudde Obusaasizi n’Ebibala Ebirungi”

“Gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi.” Obusaasizi ngeri nkulu eraga amagezi agava waggulu, kubanga amagezi ng’ago googerwako nti “gajjudde obusaasizi.” Weetegereze nti “obusaasizi n’ebibala ebirungi” byogerwako wamu. Kino kituukirawo, kubanga mu Bayibuli, okusaasira emirundi mingi kutegeeza okufaayo ku balala, ekireetera omuntu okukola ebikolwa eby’ekisa. Ekitabo ekimu kinnyonnyola obusaasizi nga “okunakuwala ng’omuntu omulala ali mu mbeera mbi era n’ofuba okubaako ky’okolawo.” N’olwekyo, amagezi agava eri Katonda tegali mu bigambo bugambo. Wabula galeetera omuntu okulaga omukwano n’okulumirirwa omulala. Tuyinza tutya okulaga nti tuli basaasizi?

cl 226-227 ¶18-19

“Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?

“Tegasosola.” Amagezi agava eri Katonda tegasosola mu langi oba mu ggwanga. Bwe tuba tulina amagezi ng’ago, tufuba okuggya mu mitima gyaffe obusosoze. (Yakobo 2:9) Abantu abamu tetubayisa mu ngeri ey’enjawulo ku balala olw’obuyigirize bwe balina, olw’embeera yaabwe ey’eby’enfuna oba olw’obuvunaanyizibwa bwe balina mu kibiina; era tetunyooma bakkiriza bannaffe wadde nga bayinza okulabika ng’aba wansi. Bwe kiba nti Yakuwa abalaga okwagala, mazima ddala kyandibadde kigwanira naffe okubalaga okwagala.

“Tegaliimu bunnanfuusi.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omunnanfuusi” kiyinza okutegeeza “munnakatemba.” Mu biseera eby’edda, Abayonaani n’Abaruumi baayambalanga obukookolo nga bazannya emizannyo. Bwe kityo, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘munnanfuusi’ kyakozesebwanga ku muntu eyeefuula oba azannya ekyo ky’atali. Engeri eno eraga amagezi agava eri Katonda yandikutte ku ngeri gye tuyisaamu bakkiriza bannaffe ne ku ndowooza gye tubalinako.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 11/15 lup. 20 ¶6

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa ya Yakobo n’Eza Peetero

4:5—Wano Yakobo ajuliza kyawandiikibwa ki? Yakobo talina kyawandiikibwa ky’ajuliza butereevu. Naye, ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa byandiba nga byesigamizibwa ku byawandiikibwa nga Olubereberye 6:5; 8:21; Engero 21:10; ne Abaggalatiya 5:17.

w97-E 11/15 lup. 20-21 ¶8

Okukkiriza Kutuyamba Okuba Abagumiikiriza n’Okusaba Ennyo Yakuwa

Bw’oyogera obubi ku mukkiriza munno oba okoze ekibi. (Yakobo 4:11, 12) Kyokka abamu banoonya ensobi mu Bakristaayo bannaabwe, oboolyawo nga beetwala okuba abatuukirivu oba nga baagala okwegulumiza nga bassa abalala wansi. (Zabbuli 50:20; Engero 3:29) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okwogera obubi’ kitegeeza okukyawa omuntu oba okumuwaayiriza. Kino kiyinza okuvaamu okusalira ow’oluganda omusango. Ekyo kikwatagana kitya ‘n’okwogera obubi ku mateeka era n’okugasalira omusango’? Abawandiisi n’Abafalisaayo ‘baakozesa olukujjukujju okuleka amateeka ga Katonda’ basobole okugoberera obulombolombo bwabwe. (Makko 7:1-13) Mu ngeri y’emu, singa tusalira muganda waffe omusango Yakuwa gw’atandisalidde musango, tuba ‘ng’abasalira amateeka ga Katonda omusango’ era tuba ng’abalaga nti si matuufu. Era singa tusalira muganda waffe omusango mu ngeri etali ya bwenkanya, tuba tetutuukirizza tteeka ery’okwagala.—Abaruumi 13:8-10.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w10-E 9/1 lup. 23-24

Katonda Ayagala Tumwatulire Ebibi Byaffe?

Katonda teyawa bantu buyinza kusonyiwa bantu bannaabwe bibi bye baba bakoze eri Katonda; ye yekka asobola okubasonyiwa. Bayibuli egamba nti: “Naye bwe twatula ebibi byaffe, Katonda mwesigwa era mutuukirivu, ajja kutusonyiwa ebibi byaffe era atunaazeeko obutali butuukirivu bwonna.” (1 Yokaana 1:9) Naye, ani gwe tulina okwatulira ebibi byaffe?

Olw’okuba Katonda y’asobola okutusonyiwa, gwe tulina okwatulira ebibi byaffe. Ekyo kyennyini Dawudi kye yakola nga bwe twalabye. Naye Katonda asinziira ku ki okutusonyiwa? Bayibuli egamba nti: “N’olwekyo, mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulwe, Yakuwa kennyini alyoke abawe ekiwummulo.” (Ebikolwa 3:19) N’olwekyo, okusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe tetulina kukukoma ku kumanya kibi ky’okoze n’okwenenya kyokka, naye era tulina n’okuba abeetegefu okuleka ekkubo ekyamu. Oluusi ekyo tekitera kuba kyangu. Naye waliwo obuyambi.

Jjukira ebigambo bino eby’omuyigirizwa Yakobo bye twayogeddeko emabega: “Mwatuliraganenga ebibi byammwe era musabiraganenga, musobole okuwonyezebwa.” Yakobo yagattako nti: “Okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.” (Yakobo 5:16) ‘Omutuukirivu’ ayinza okuba omu ku ‘bakadde b’ekibiina’ Yakobo be yayogeddeko mu lunyiriri 14. Mu kibiina Ekikristaayo, mulimu “abakadde” abaalondebwa okuyamba abo abaagala okusonyiyibwa Katonda. Naye “abakadde” abo tebasobola kusonyiwa bibi bya muntu munnaabwe, kubanga tewali yaweebwa buyinza kusonyiwa bibi abantu bye baba bakoze eri Katonda. Wadde kiri kityo, balina ebisaanyizo eby’okukangavvula n’okutereeza omuntu aba akoze ekibi, ne bamuyamba okutegeera ensobi gy’aba akoze n’asobola okwenenya.—Abaggalatiya 6:1.

Lwaki Tusaanidde Okwatula Ebibi Byaffe?

Ka kibe nti ekibi omuntu ky’akoze kitono oba kinene, ab’ayonoonye enkolagana ye ne muntu munne era ne Katonda. N’ekivaamu ayinza okuwulira obubi. Omuntu ow’omunda, Yakuwa gwe yatuwa y’aba amuleetedde okuwulira bw’atyo. (Abaruumi 2:14, 15) Kiki ekiyinza okukolebwa?

Ekitabo kya Yakobo era kirimu ebigambo bino ebizzaamu amaanyi: “Waliwo omuntu yenna mu mmwe alwadde [mu by’omwoyo]? Ayite abakadde b’ekibiina, bamusabire era bamusiige amafuta mu linnya lya Yakuwa. Era okusaba okw’okukkiriza kujja kuwonya omulwadde oyo, era Yakuwa ajja kumussuusa. Ate era bw’aba ng’alina ebibi bye yakola bijja kumusonyiyibwa.”—Yakobo 5:14, 15.

Abakadde era bagambibwa okuyamba ekisibo. Mu ngeri ki? Nga tebakoma kuwuliriza buwuliriza omuntu ng’ababuulira ekibi ky’akoze. Naye, olw’okuba aba mulwadde mu by’omwoyo, baba balina ekirala kye balina okukolawo ‘omulwadde oyo asobole okusuuka.’ Yakobo yayogera ebintu bibiri bye balina okukola.

Ekisooka, ‘okusiiga amafuta.’ Ekyo kitegeeza amaanyi agali mu Kigambo kya Katonda. Omutume Pawulo yagamba nti, “ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi, . . . era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima,” ne kisobola okukwata ku muntu. (Abebbulaniya 4:12) Abakadde bwe bakozesa obulungi Bayibuli, basobola okuyamba omuntu omulwadde mu by’omwoyo okulaba ekyamuviiriddeko okukola ekibi era n’abaako ky’akolawo okutereeza enkolagana ye ne Katonda.

Ekirala, ‘okusaba okw’okukkiriza.’ Wadde ng’essaala z’abakadde tezisobola kukyusa musango Katonda gw’aba asaze mu bwenkanya, essaala ezo nkulu nnyo mu maaso ga Katonda, omwetegefu okusonyiwa ebibi ng’asinziira ku ssaddaaka ya Kristo. (1 Yokaana 2:2) Katonda mwetegefu okuyamba omwonoonyi yenna eyeenenya mu bwesimbu era akola ‘ebikolwa ebiraga nti yeenenyezza.’—Ebikolwa 26:20.

Ensonga enkulu eyandituleetedde okwatula ebibi bye tukoze ku bantu bannaffe oba mu maaso ga Katonda, kwe kuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Yesu Kristo yalaga nti tulina okusooka okutereeza ensonga ne muntu munnaffe era ne tuzzaawo emirembe, awo ne tuba nga tusobola okusinza Katonda n’omuntu ow’omunda omulungi. (Matayo 5:23, 24) Engero 28:13 wagamba nti: “Oyo abikka ku bibi bye ebintu tebijja kumugendera bulungi, naye buli ayatula ebibi bye n’abireka ajja kusaasirwa.” Bwe twewombeeka mu maaso ga Yakuwa Katonda era ne tumusaba atusonyiwe ebibi byaffe, tujja kumusanyusa era atugulumize ng’ekiseera kituuse.—1 Peetero 5:6.

OKITOBBA 14-20

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 PEETERO 1-2

“Mubeerenga Batukuvu”

w17.02 lup. 9 ¶5

Ekinunulo—‘Kirabo Ekituukiridde’ Okuva eri Kitaffe

Tuyinza tutya okulaga nti twagala erinnya lya Yakuwa? Tukiraga okuyitira mu ngeri gye tweyisaamu. Yakuwa ayagala tubeere batukuvu. (Soma 1 Peetero 1:15, 16.) Ekyo kitegeeza nti tulina kusinza Yakuwa yekka era tulina okumugondera n’omutima gwaffe gwonna. Ne bwe tuba tuyigganyizibwa, tukola kyonna ekisoboka okunywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu n’amateeka ge. Bwe tukola ebikolwa ebirungi, tuleka ekitangaala kyaffe okwaka era ekyo kiweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa. (Mat. 5:14-16) Mu butuufu kireetera n’abalala okukiraba nti ddala amateeka ga Yakuwa malungi era nti Sitaani mulimba. Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna tusobya. Naye bwe tukola ensobi, tusaanidde okwenenya mu bwesimbu era ne tukola kyonna ekisoboka obutaddamu kukola bintu ebitaweesa Yakuwa kitiibwa.—Zab. 79:9.

lvs lup. 77 ¶6

Engeri gye Tuyinza Okulondamu Eby’okwesanyusaamu

Yakuwa atugamba nti: “Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu.” (1 Peetero 1:14-16; 2 Peetero 3:11) Yakuwa tasobola kusiima kusinza kwaffe singa tekuba kutukuvu oba kuyonjo. (Ekyamateeka 15:21) Okusinza kwaffe tekusobola kuba kuyonjo singa twenyigira mu bintu Yakuwa by’akyawa, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, eby’obukambwe, oba ebintu ebirina akakwate n’eby’obusamize. (Abaruumi 6:12-14; 8:13) Ate era Yakuwa tasobola kutusiima singa tulonda eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu ebyo. Bwe tulondawo eby’okwesanyusaamu ng’ebyo, okusinza kwaffe tekuba kulongoofu era Yakuwa aba takusiima. Mu butuufu ekyo kyonoona enkolagana yaffe naye.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 11/15 lup. 21 ¶10

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa ya Yakobo n’Eza Peetero

1:10-12. Bamalayika beegombanga nnyo okumanya n’okutegeera ebintu by’omunda ebikwata ku kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ebyawandiikibwanga bannabbi ba Katonda ab’edda. Kyokka, ebintu bino byatandika okutegeerekeka obulungi nga Yakuwa atandiseewo enkolagana n’ekibiina ekyo. (Bef. 3:10) Naffe tetwandigoberedde ekyokulabirako kya bamalayika ne tufuba okunoonyereza ku “bintu bya Katonda eby’ebuziba”?—1 Kol. 2:10.

it-2-E lup. 565 ¶3

Omulabirizi

Omulabirizi ow’Oku Ntikko. Mu 1 Peetero 2:25, omutume Peetero ajuliza Isaaya 53:6 ng’ayogera ku abo ‘abalinga endiga ezibuze,’ era oluvannyuma agamba nti: “Naye kaakano mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w’obulamu bwammwe.” Omusumba Peetero gw’ayogerako ateekwa okuba nga ye Yakuwa Katonda, okuva bwe kiri nti abo be yawandiikira ebigambo ebyo baali tebannawaba kuva ku Kristo Yesu, wabula okuyitira mu ye baali bakomezeddwawo eri Yakuwa Katonda, Omusumba Asingiridde. (Zb 23:1; 80:1; Yer 23:3; Ezk 34:12) Yakuwa era mulabirizi akebera endiga ze. (Zb 17:3) Ekigambo okukebera (mu Luyonaani, e·pi·sko·peʹ) kiyinza okukwataganyizibwa n’okusala omusango gamba ng’ogwo ogwasalirwa ekibuga Yerusaalemi mu kyasa ekyasooka E.E., ekitaamanya ‘kiseera kya kukebererwamu’ [mu Luyonaani, e·pi·sko·pesʹ].” (Luk 19:44) Ku luuyi olulala, okukeberebwa kusobola okuvaamu emiganyulo gamba ng’egyo abo abanaasangibwa nga bagulumiza Katonda ku lunaku “olw’okukebererwako [mu Luyonaani, e·pi·sko·pesʹ]” gye bajja okufuna.—1Pe 2:12.

OKITOBBA 21-27

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 PEETERO 3-5

“Enkomerero ya Byonna Esembedde”

w13 11/15 lup. 3 ¶1

“Mubeere Bulindaala ku Bikwata ku Kusaba”

OMUSAJJA omu eyali akola omulimu ogw’okukuuma ekiro yagamba nti: “Ekiseera ekisingayo okuba ekizibu okusigala ng’otunula ky’ekyo ng’obudde bunaatera okukya.” Tewali kubuusabuusa nti abo bonna abakola ekiro bakkiriziganya naye. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo leero kibeetaagisa okufuba ennyo okusobola okusigala nga batunula, okuva bwe kiri nti ensi ya Sitaani eno enaatera okuzikirizibwa. (Bar. 13:12) Nga kiba kya kabi nnyo okwebaka mu by’omwoyo mu kiseera kino! N’olwekyo, kikulu nnyo ‘okubeera n’endowooza ennuŋŋamu’ n’okufuba okusigala nga tuli “bulindaala ku bikwata ku kusaba.”—1 Peet. 4:7.

w99-E 4/15 lup. 22 ¶3

Engeri gye Tuyinza Okutegeera Obunafu bwe Tulina mu by’Omwoyo n’Okubuvvuunuka

N’ekisembayo, kuumiranga mu birowoozo ebigambo by’omutume Peetero ebigamba nti: “Enkomerero ya byonna esembedde. N’olwekyo, mubeere n’endowooza ennuŋŋamu, era mubeere bulindaala ku bikwata ku kusaba. N’okusinga byonna, mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.” (1 Peetero 4:7, 8) Kyangu nnyo okuleka obutali butuukirivu bwaffe oba obw’abalala okutuleetera okwesittala. Sitaani amanyi bulungi obunafu bw’abantu. Akozesa enjawukana okutuwangula. N’olwekyo, tulina okufuba okwagalana ennyo kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi era ‘tuleme kuwa Mulyolyomi kakisa konna.’—Abeefeso 4:25-27.

w18.03 lup. 14-15 ¶2-3

Kikulu Okwoleka Omwoyo ogw’Okusembeza Abalala!

Peetero yagamba bakkiriza banne abo nti: “Musembezeganyenga.” (1 Peet. 4:9) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okusembeza” obutereevu kitegeeza “okwagala, oba okulaga abantu b’otomanyi ekisa.” Kyokka weetegereze nti Peetero yakubiriza Bakristaayo banne ‘okusembezeganyanga,’ kwe kugamba, okusembezanga abo be baali bamanyi era be baali baweerereza awamu nabo. Okusembezeganya kwandibayambye kutya?

Okusembezeganyanga kyandibayambye okwongera okunyweza enkolagana yaabwe. Lowooza ku kino. Ojjukira essanyu lye wafuna ng’omuntu akuyise okumukyalirako? Buli lw’ojjukira ekiseera ekyo tekikuleetera ssanyu? Bwe wakyaza omuntu ali mu kibiina kyo, omukwano gwammwe tegweyongera okunywera? Bwe tusembeza bakkiriza bannaffe, kituyamba okwongera okubamanya obulungi. Abakristaayo abaaliwo mu kiseera kya Peetero baali beetaaga okwongera okunyweza enkolagana yaabwe ng’embeera mu nsi yeeyongera okwonooneka. Bwe kityo bwe kiri n’eri Abakristaayo abaliwo mu nnaku zino “ez’enkomerero.”—2 Tim. 3:1.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w13 6/15 lup. 23

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Bayibuli egamba nti Yesu ‘yabuulira emyoyo egiri mu kkomera.’ (1 Peet. 3:19) Ekyo kitegeeza ki?

▪ Omutume Peetero agamba nti emyoyo egyo gye myoyo “egyajeema Katonda bwe yali ng’alindirira n’obugumiikiriza mu kiseera kya Nuuwa.” (1 Peet. 3:20) Peetero yali ayogera ku bamalayika abaasalawo okujeemera Katonda ne beegatta ku Sitaani. Yuda ayogera ku bamalayika “abaaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu,” era agamba nti Katonda “abakuumira mu busibe, mu kizikiza ekikutte, nga balindirira omusango ogw’oku lunaku olukulu.”—Yud. 6.

Bamalayika baajeema batya mu kiseera kya Nuuwa? Amataba bwe gaali tegannajja, bamalayika abo ababi beeyambaza emibiri gy’abantu, ekintu Katonda kye yali tabalagidde kukola. (Lub. 6:2, 4) Ate era, bamalayika abo beegatta n’abakazi, ekintu ekitali kya butonde. Tekyali kigendererwa kya Katonda bamalayika okwegatta n’abakazi. (Lub. 5:2) Bamalayika abo ababi bajja kuzikirizibwa mu kiseera kya Katonda ekigereke. Naye nga Yuda bwe yagamba, kati bali “mu kizikiza ekikutte,” kwe kugamba, bali mu kkomera ery’eby’omwoyo.

Ddi Yesu lwe yabuulira “emyoyo egiri mu kkomera,” era ekyo yakikola atya? Peetero yagamba nti ekyo kyaliwo oluvannyuma lwa Yesu ‘okufuulibwa omulamu mu mwoyo.’ (1 Peet. 3:18, 19) Ate era weetegereze nti Peetero yagamba nti Yesu “yagenda n’abuulira.” Ebigamba ebyo biraga nti Peetero we yawandiikira ebbaluwa ye eyasooka, Yesu yali yamala dda okubuulira emyoyo egyo. Kirabika nti bwe waali waakayita ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yesu okuzuukira, yagenda n’abuulira emyoyo egyo emibi ekibonerezo ekigenda okugiweebwa. Obubaka bwe yagibuulira tebwali bwa ssanyu, wabula bwali bwa musango. (Yon. 1:1, 2) Okuva bwe kiri nti Yesu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala okufa, n’akiraga nti Omulyolyomi tamulinaako buyinza, yalina kw’asinziira okulangirira obubaka obw’omusango eri emyoyo egyo.—Yok. 14:30; 16:8-11.

Mu kiseera eky’omu maaso, Yesu ajja kusiba Sitaani awamu ne bamalayika abo ababi, abasuule mu bunnya. (Luk. 8:30, 31; Kub. 20:1-3) Naye mu kiseera kino, bamalayika abo bali mu kizikiza eky’eby’omwoyo ekikutte, era tewali kubuusabuusa nti bajja kuzikirizibwa.—Kub. 20:7-10.

w08 11/15 lup. 21 ¶8

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa ya Yakobo n’Eza Peetero

4:6—‘Abafu abaabuulirwa amawulire amalungi be baani? Beebo abaali ‘abafu mu byonoono byabwe n’ebibi byabwe,’ oba abaali abafu mu by’omwoyo, nga tebannawulira mawulire malungi. (Bef. 2:1) Kyokka, oluvannyuma lw’okukkiriza amawulire amalungi, ‘baazuukizibwa’ mu by’omwoyo.

OKITOBBA 28–NOOVEMBA 3

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 PEETERO 1-3

“Mukuumire mu Birowoozo Byammwe Okujja kw’Olunaku lwa Yakuwa”

w07 1/1 lup. 20 ¶11

Yakuwa Ajja ‘Kusala Omusango mu Bwenkanya’

Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti Yakuwa ajja kusala “mangu” omusango mu bwenkanya? Ekigambo kya Katonda kiraga nti ‘wadde Yakuwa mugumiikiriza,’ olunaku lwe olw’omusango lujja kujja ng’ekiseera kye ekigereke kituuse. (Lukka 18:7, 8; 2 Peetero 3:9, 10) Mu biseera bya Nuuwa, Amataba bwe gajja, gaazikiriza ababi mu bwangu. Ne mu biseera bya Lutti, omuliro bwe gwava mu ggulu, ababi baasaanawo. Yesu yagamba nti: “Bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w’omuntu lw’alirabisibwa.” (Lukka 17:27-30) Ne ku olwo, ababi bajja ‘kuzikirizibwa mangu.’ (1 Abassessalonika 5:2, 3) Mazima ddala, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa, mu bwenkanya bwe, tajja kukkiriza nsi ya Sitaani kweyongera kubaawo wadde olunaku olumu bwe luti ng’ekiseera kye eky’okusala omusango kituuse.

w07 1/1 lup. 12 ¶18

“Olunaku lwa Yakuwa Olukulu Luli Kumpi Okutuuka”

Tekyewuunyisa nti omutume Peetero atukubiriza okukuumira mu birowoozo ‘olunaku lwa Yakuwa’! Kino tuyinza kukikola tutya? Engeri emu kwe kuba ‘n’empisa entukuvu’ era n’okwenyigira mu ‘bikolwa eby’okwemalira ku Katonda.’ (2 Peetero 3:11, 12) Bwe tunyiikirira ebintu ebyo, kijja kutuyamba okwesunga ennyo ‘olunaku lwa Yakuwa.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okukuumira mu birowoozo” bwe kiba kivvuunuddwa butereevu kitegeeza “okwanguyaako.” Kyo kituufu tetusobola kwanguya kiseera kisigaddeyo kutuuka ku lunaku lwa Yakuwa. Kyokka bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gwa Katonda ng’eno bwe tulindirira olunaku lwe, ebiseera bijja kulabika nga bidduka mangu nnyo.—1 Abakkolinso 15:58.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 11/15 lup. 22 ¶2

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa ya Yakobo n’Eza Peetero

1:19—Ani ‘mmunyeenye y’oku makya,’ avaayo ddi, era tumanya tutya nti ekyo kyamala dda okubaawo? “Emmunyeenye ey’oku makya” ye Yesu Kristo ng’afuuse Kabaka. (Kub. 22:16) Mu 1914, Yesu yavaayo n’ayaka eri obutonde bwonna mu Bwakabaka bwe nga Masiya, ekyali kiraga nti olunaku olupya lwali lutandise. Okufuusibwa kwa Yesu kwalaga ekyo ekyandibaddewo ng’agulumiziddwa mu kitiibwa kye nga Kabaka, era kwalaga nti ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi kirina okutuukirira. Okussaayo omwoyo ku bunnabbi obwo kuleeta ekitangaala mu mitima gyaffe ne tumanya nti Emmunyeenye y’oku Makya yavaayo dda.

w08 11/15 lup. 22 ¶3

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa ya Yakobo n’Eza Peetero

2:4—“Tatalo” kye ki, era bamalayika abajeemu baasuulibwamu ddi? Tatalo liba nga kkomera, nga bitonde bya mwoyo byokka bye bikuumirwamu, so si bantu. Kuba kubeera mu kizikiza ku bikwata ku bigendererwa bya Katonda. Abo abali mu Tatalo tebalina ssuubi lyonna lya biseera bya mu maaso. Katonda yasuula bamalayika abajeemu mu Tatalo mu kiseera kya Nuuwa, era ba kusigala mu mbeera eyo okutuusa lwe balizikirizibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share