LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • th essomo 5 lup. 8
  • Okusoma Obulungi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okusoma Obulungi
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Laba Ebirala
  • Okusoma Obulungi
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Nyiikirira Okusoma
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Okusoma Baibuli—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Laba Ebirara
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 5 lup. 8

ESSOMO 5

Okusoma Obulungi

Ekyawandiikibwa

1 Timoseewo 4:13

MU BUFUNZE: Soma ebyo byennyini ebiwandiikiddwa, mu ddoboozi eriwulikika.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Tegeka bulungi. Lowooza ku nsonga lwaki by’ogenda okusoma byawandiikibwa. Weegezeemu okusomera awamu ebigambo mu kifo ky’okusoma ekigambo kimu kimu. Weegendereze oleme kwongeramu bigambo, kubuuka bigambo, oba okusoma ekitaliiwo. Goberera obubonero bwonna.

    Eky’okukola

    Saba mukwano gwo agoberere ng’osoma era akubuulire ebigambo by’otosomye bulungi.

  • Yatula bulungi buli kigambo. Bwe wabaawo ekigambo ky’otayatula bulungi, kinoonye mu nkuluze, wuliriza akatambi k’amaloboozi ak’ekitabo ky’osoma, oba saba omusomi omulungi akuyambe.

  • Yogera mu ngeri etegeerekeka. Yimusa omutwe, era yasamya bulungi akamwa, kikuyambe okwatula obulungi ebigambo. Fuba okwatula buli nnyingo.

    Eky’okukola

    Toggumiza buli kigambo kubanga ekyo kijja kukuleetera obutasoma bulungi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza