LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr20 Jjanwali lup. 1-8
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2020
  • Subheadings
  • JJANWALI 6-12
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2020
mwbr20 Jjanwali lup. 1-8

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

JJANWALI 6-12

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 1-2

“Yakuwa Atonda Ebintu Ebiramu ku Nsi”

it-1-E lup. 527-528

Okutonda

Katonda bwe yagamba ku Lunaku Olusooka nti, “Wabeewo ekitangaala,” ekitangaala kyayita mu bire ne kituuka ku nsi wadde nga mu kiseera ekyo ensibuko y’ekitangaala ekyo yali tesobola kulabibwa ng’oli ku nsi. Kirabika ekitangaala kyagenda kirabika mpolampola ng’omuvvuunuzi ayitibwa J. W. Watts bwe yagamba nti: “Mpolampola, ekitangaala kyalabika.” (Lub 1:3, A Distinctive Translation of Genesis) Katonda yayawula ekitangaala ku kizikiza, ekitangaala n’akiyita Emisana ate ekizikiza n’akiyita Ekiro. Ekyo kiraga nti ensi yali yeetooloola enjuba, ne kisobozesa ekitundu kyayo eky’ebuvanjuba n’eky’ebugwanjuba okufuna ekitangaala n’enzikiza.​—Lub 1:3, 4.

Ku Lunaku olw’Okubiri, Katonda yakola ebbanga bwe ‘yayawulamu amazzi ebitundu bibiri.’ Amazzi agamu gaasigala ku nsi, naye amazzi agasinga obungi ne gabeera waggulu w’ensi, wakati waago ne wabeerawo ebbanga. Ebbanga eryo Katonda yaliyita Eggulu, naye si lye ggulu awali emmunyeenye, kubanga amazzi tegoogerwako ng’agabisse emmunyeenye n’ebitonde ebirala ebiri mu bwengula.​—Lub 1:6-8; laba EXPANSE.

Ku Lunaku olw’Okusatu Katonda yakozesa amaanyi ge n’akuŋŋaanya wamu amazzi agaali ku nsi olukalu ne lulabika. Olukalu yaluyita Ensi. Ate era ku lunaku lwe lumu, Katonda yameza ku nsi omuddo, ebimera ebibala ensigo n’emiti egibala ebibala ebirimu ensigo, so si nti ebintu ebyo byajjawo byokka. Ebimera ebyo eby’ebiti ebisatu byali bisobola okuzaala ebirala okusinziira ku “bika” byabyo.​—Lub 1:9-13.

it-1-E lup. 528 ¶5-8

Okutonda

Ate era mu Olubereberye 1:16 ekigambo ba·raʼʹ eky’Olwebbulaniya, ekitegeeza “okutonda,” si kye kikozesebwa. Mu kifo ky’ekyo, ekigambo ʽa·sahʹ eky’Olwebbulaniya, ekitegeeza “okukola,” kye kikozesebwa. Okuva bwe kiri nti enjuba, omwezi, n’emmunyeenye biri mu “ggulu” eryogerwako mu Olubereberye 1:1, kiraga nti byatondebwa ng’Olunaku olw’Okuna terunnatuuka. Ku lunaku olw’okuna, Katonda yaleetera ebyaka ebyo okutandika okulabika ku nsi. Katonda bwe yagamba nti, “bijja kwakiranga mu bbanga ery’eggulu bimulise ensi,” kitegeeza nti byanditandise okulabibwa ku nsi ne biba ng’ebiri mu bbanga. Ate era, ebyaka ebyo byandibadde “bubonero obulaga ebiseera, n’ennaku n’emyaka,” era ekyo oluvannyuma kyandiyambye abantu mu ngeri nnyingi.​—Lub 1:14.

Ku Lunaku olw’Okutaano, Katonda yatonda ebintu ebiramu ebibuuka mu bbanga n’ebibeera mu mazzi. Katonda teyatonda kiramu kimu kyokka ebirala ne biva mu ekyo, wabula yakozesa amaanyi ge okutonda ebiramu bingi. Bayibuli egamba nti: “Katonda n’atonda ensolo ennene ez’omu nnyanja n’ebiramu byonna ebiwuga era ebijjudde mu mazzi okusinziira ku bika byabyo, n’ebibuuka ebirina ebiwaawaatiro okusinziira ku bika byabyo.” Katonda yasanyuka olw’ebyo bye yali atonze era n’abiwa omukisa n’abigamba nti “muzaale mwale.” Ekyo kyali kisoboka, kubanga yabiwa obusobozi bw’okuzaala ebirala “okusinziira ku bika byabyo.”​—Lub 1:20-23.

Ku Lunaku olw’Omukaaga ‘Katonda yakola ensolo ez’omu nsiko okusinziira ku bika byazo, n’ensolo ez’awaka okusinziira ku bika byazo, n’ensolo zonna ezeewalula ku ttaka okusinziira ku bika byazo,’ era byonna byali birungi, okufaananako ne bye yasooka okutonda.​—Lub 1:24, 25.

Ku nkomerero y’olunaku olw’omukaaga, Katonda yatonda ekitonde eky’enjawulo ennyo era ekya waggulu ku nsolo, wadde nga kyali kya wansi ku bamalayika. Yatonda omuntu mu kifaananyi kye. Wadde nga Olubereberye 1:27 wagamba nti Katonda yatonda “omusajja n’omukazi,” Olubereberye 2:7-9 walaga nti Katonda yatonda omuntu mu nfuufu y’ensi n’afuuwa mu nnyindo ze omukka ogw’obulamu, omuntu n’afuuka omulamu. Ku luno Katonda yakozesa ettaka lye yali amaze okutonda okukola omusajja, era n’akola omukazi okuva mu lubiriizi lw’omusajja. (Lub 2:18-25) Omukazi bwe yamala okutondebwa, omusajja yali afunye munne amujjuuliriza.​—Lub 5:1, 2.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w15 6/1 lup. 5

Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu

Emyaka ensi n’obwengula gye bimaze

Bannassaayansi bateebereza nti ensi emaze emyaka obuwumbi nga 4 era nti obwengula bumaze emyaka egiri wakati w’obuwumbi 13 ne 14. Bayibuli teyogera myaka ensi n’obwengula gye bimaze. Tewali Bayibuli w’egambira nti ensi emaze emyaka nkumi na nkumi gyokka. Olunyiriri olusooka mu Bayibuli lugamba nti: “Olubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” (Olubereberye 1:1) Ebigambo ebyo biyamba bannassaayansi okunoonyereza ku bintu ebyatondebwa ne basobola okumanya emyaka ensi n’obwengula gye bimaze.

it-2-E lup. 52

Yesu Kristo

Si Mutonzi. Wadde ng’Omwana yayambako mu kutonda, tekimufuula Mutonzi nga Kitaawe. Amaanyi g’omwoyo omutukuvu agaakozesebwa mu kutonda gaava eri Katonda. (Lub 1:2; Zb 33:6) Ate era, okuva bwe kiri nti Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu, y’asobozesa ebitonde byonna ebiramu okubaawo. (Zb 36:9) Omwana si Mutonzi wabula Katonda gwe yakozesa okutonda ebintu byonna. Yesu kennyini yalaga nti Katonda ye yatonda ebintu byonna era nga n’Ebyawandiikibwa bwe biraga.​—Mat 19:4-6; laba CREATION.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w08-E 2/1 lup. 5

Twava Wa?

Engeri Bayibuli gy’Eddamu Ekibuuzo Ekyo Etuleetera Okuba n’Emirembe mu Mutima

Okukimanya nti Katonda ye yatonda abantu bonna, kikwata ku ngeri gye tutwalamu abantu abalala. (Abeefeso 3:15) Ate era kikwata ku ngeri gye twetwalamu n’engeri gye tutwalamu ebizibu bye tufuna. Endowooza yaffe ekwatibwako mu ngeri zino.

Bwe tuba twolekaganye n’okusalawo okw’amaanyi, tetujja kubuzaabuzibwa ndowooza z’abantu ez’enjawulo. Mu kifo ky’ekyo, tujja kwesiga amagezi agali mu Bayibuli. Lwaki? Kubanga “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu, omuntu wa Katonda abenga n’obusobozi, era ng’alina byonna bye yeetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.”​—2 Timoseewo 3:16, 17.

Kyo kituufu nti okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kyetaagisa okufuba n’okwefuga. Okusobola okukolera ku magezi agali mu Bayibuli, oluusi kiyinza okutwetaagisa okukola ebintu ebyawukana ku ebyo bye twegomba. (Olubereberye 8:21) Kyokka, bwe tukimanya nti twatondebwa Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo, tuba bakakafu nti amanyi ebisobola okutuleetera essanyu. (Isaaya 55:9) Ekigambo kye kigamba nti: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.” (Engero 3:5, 6) Bwe tukolera ku magezi ago, tetujja kweraliikirira nnyo nga twolekaganye n’okusalawo okw’amaanyi oba nga tufunye ebizibu.

Bwe tuba tusosolwa, tetujja kwenyooma, nga tulowooza nti tuli ba wansi ku bantu ab’amawanga amalala. Mu kifo ky’ekyo, tujja kuwulira nti tuli ba mugaso. Lwaki? Kubanga Kitaffe, Yakuwa Katonda, “tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—Ebikolwa 10:34, 35.

Ate era ekyo kijja kutuyamba obutasosola balala. Tujja kukitegeera nti tewali nsonga eyandituleetedde kulowooza nti tuli ba waggulu ku bantu b’amawanga amalala, okuva bwe kiri nti Katonda “yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu okubeera ku nsi yonna.”​—Ebikolwa 17:26.

Mazima ddala, okukimanya nti twatondebwa era nti Omutonzi waffe atufaako kituleetera okuba n’emirembe egya nnamaddala mu mutima. Naye okusobola okusigaza emirembe egyo, waliwo ekirala kye tulina okukola.

JJANWALI 13-19

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 3-5

“Ebizibu Ebyava mu Bulimba Obwasooka”

w17.02 lup. 5 ¶9

Ekigendererwa kya Yakuwa Kijja Kutuukirira!

Ng’ayitira mu musota, Sitaani Omulyolyomi yalimbalimba Kaawa n’amuleetera okujeemera Yakuwa. (Soma Olubereberye 3:1-5; Kub. 12:9) Sitaani yayagala Adamu ne Kaawa balowooze nti Yakuwa yakola bubi okubagaana okulya ku buli muti ogw’omu lusuku. Mu ngeri endala Sitaani yali ng’agamba nti: ‘Kye mugamba nti temusobola kukola kye mwagala?’ Oluvannyuma yagamba Kaawa nti: “Temujja kufa.” Era Sitaani yagamba Kaawa nti baali tebeetaaga kuwuliriza Katonda. Yamugamba nti: “Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe lwe galizibuka.” Sitaani yali ategeeza nti Yakuwa yagaana abantu okulya ku bibala by’omuti ogwo olw’okuba ekyo kyandibaleetedde okufuna okumanya okw’enjawulo. Era Sitaani yalimbalimba Kaawa ng’agamba nti: ‘Mujja kuba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.’

w00-E 11/15 lup. 25-26

Waliwo Bye Tusobola Okuyigira ku Bantu Abaasooka

Ekibi Kaawa kye yakola kyali tekyewalika? Kyali kyewalika. Gezaako okwessa mu bigere bye. Omusota bye gwayogera byali byawukanira ddala ku ebyo Katonda ne Adamu bye baali bamugambye. Wandiwulidde otya singa omuntu gw’otomanyi akugamba nti omuntu gw’oyagala era gwe weesiga mulimba? Kaawa yandibadde agaanira ddala okuwuliriza ebyo omusota bye gwali kumugamba. Omusota gwali tegulina buyinza kubuusabuusa ebyo Katonda ne Adamu bye baali bamugambye. Singa Kaawa yali assa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze, yandibadde asooka kwebuuza ku mwami we. Naffe kye tusaanidde okukola singa tugambibwa okukola ekintu kyonna ekikontana n’ekyo Katonda ky’ayagala. Kyokka, Kaawa yawuliriza Sitaani n’ayagala okwesalirawo ekirungi n’ekibi. Gye yakoma okulowooza ku ekyo Sitaani kye yamugamba, gye yakoma okwagala okukikola. Nga yakola nsobi ya maanyi okuleka ebirowoozo ebikyamu okusigala mu mutima gwe mu kifo ky’okubiggiramu ddala oba okusooka okwebuuza ku mwami we!​—1 Abakkolinso 11:3; Yakobo 1:14, 15.

Adamu Yawuliriza Mukazi We

Oluvannyuma Kaawa yasendasenda Adamu okujeemera Katonda. Kiki ekyaleetera Adamu okukkiriza ekyo mukazi we kye yamugamba? (Olubereberye 3:6, 17) Adamu yalina okulondawo ani gwe yandigondedde. Yandigondedde Omutonzi we eyali amuwadde byonna bye yalina nga mw’otwalidde ne mukazi we Kaawa? Adamu yandisoose kwebuuza ku Katonda? Oba yandiwulirizza mukazi we bye yamugamba? Adamu yali amanyi bulungi ebyandivudde mu kulya ekibala Katonda kye yali abagaanye. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Adamu teyalimbibwa wabula omukazi ye yalimbibwa n’agwa mu kibi.” (1 Timoseewo 2:14) N’olwekyo, Adamu yajeemera Katonda mu bugenderevu. Yatya okunyiiza mukazi we mu kifo ky’okwesiga Katonda nti yanditereezezza ensonga.

w12-E 9/1 lup. 4 ¶2

Ddala Katonda Afaayo ku Bakazi?

Katonda yakolimira abakazi?

Nedda. Mu kifo ky’ekyo, “omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani,” Katonda gwe ‘yakolimira.’ (Okubikkulirwa 12:9; Olubereberye 3:14) Katonda bwe yagamba nti Adamu ‘yandifuzenga’ mukazi we, yali tawa basajja bbeetu kutulugunya bakazi. (Olubereberye 3:16) Wabula yali abagamba ebyandivudde mu kibi kye baakola.

w04 1/1 lup. 7 ¶2

Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Olubereberye​—I

3:17—Mu ngeri ki ensi gye yakolimirwa, era kumala bbanga ki? Okukolimira ensi kyali kitegeeza nti kyandibadde kizibu nnyo okugirimako. Ensi bwe yakolimirwa n’emerako amaggwa n’amatovu, bazzukulu ba Adamu baabonaabona nnyo, ne kiba nti Lameka taata wa Nuuwa yatuuka n’okwogera ku ‘kutegana okw’emikono gyabwe olw’ettaka Yakuwa lye yakolimira.’ (Olubereberye 5:29) Oluvannyuma lw’Amataba, Yakuwa yawa Nuuwa ne batabani be omukisa n’abagamba okuzaala bajjuze ensi. (Olubereberye 9:1) Kirabika ekikolimo kyakoma awo.​—Olubereberye 13:10.

it-2-E lup. 186

Obulumi mu Kuzaala

Kaawa, omukazi eyasooka, bwe yakola ekibi, Katonda yamugamba nti yandiyise mu bulumi ng’azaala. Singa yasigala nga mwesigwa, Katonda yandimuwadde omukisa era teyandifunye bulumi ng’azaala, kubanga “omukisa gwa Yakuwa gwe gugaggawaza, era tagugattako bulumi.” (Nge 10:22) Naye obulumi bwandibaddewo mu kuzaala kubanga yali afuuse atatuukiridde. Katonda yamugamba nti (mu Bayibuli, oluusi Katonda by’akkiriza okubaawo byogerwako nti y’abireese): “Nnaakwongerangako obulumi ng’oli lubuto; mu bulumi mw’onoozaaliranga abaana.”​—Lub 3:16.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 192 ¶5

Lameka

Ekitontome Lameka kye yayiiyiza bakazi be (Lub 4:23, 24) kiraga nti ebikolwa eby’obukambwe byali biyitiridde nnyo mu kiseera ekyo. Ekitontome kya Lameka kigamba nti: “Muwulire eddoboozi lyange mmwe baka Lameka; mutege okutu eri ebigambo byange: Nzise omusajja olw’okuntuusaako ebisago, nzise omuvubuka olw’okunkuba. Bwe kiba nti anatta Kayini wa kuwoolerwako eggwanga emirundi 7, Anatta Lameka wa kuwoolerwako eggwanga emirundi 77.” Lameka ayinza okuba nga yali yeewolereza, ng’agamba nti ye teyatta muntu mu bugenderevu, nga Kayini. Lameka yali ng’agamba nti bwe yatta omusajja eyamukuba n’amutuusaako ebisago, yali yeetaasa. N’olwekyo, mu kitontome kye yali yeewolereza eri omuntu yenna eyandyagadde okumwesasuza olw’okutta omuntu.

it-1-E lup. 338 ¶2

Okuvvoola

‘Okukoowoola erinnya lya Yakuwa’ okwatandika mu biseera bya Enosi ng’amataba tegannabaawo kuyinza okuba nga tekwakolebwanga mu ngeri ntuufu, kubanga Abbeeri eyaliwo emabega ateekwa okuba nga yakozesanga erinnya lya Katonda bwe yabanga asaba. (Lub 4:26; Beb 11:4) Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti okukoowoola erinnya lya Yakuwa okwaliwo mu kiseera ekyo kwabanga kulikozesa mu ngeri nkyamu, gamba ng’okulituuma abantu oba ebintu ebisinzibwa. Bwe kiba bwe kityo, okwo kwabanga kulivvoola.​—Laba ENOSH, ENOS.

JJANWALI 20-26

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 6-8

“Yakolera Ddala bw’Atyo”

w18.02 lup. 4 ¶4

Ba n’Okukkiriza era Ba Muwulize nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu

Ebizibu Nuuwa bye yayolekagana nabyo. Mu kiseera Enoka jjajja wa Nuuwa we yabeererawo, abantu baali boonoonese nnyo. Baali boogera n’ebintu ebibi ku Yakuwa. (Yud. 14, 15) Ebikolwa eby’obukambwe byali byeyongera buli lukya. Mu kiseera kya Nuuwa, ensi yali “ejjudde ebikolwa eby’obukambwe.” Bamalayika ababi beeyambaza emibiri gy’abantu ne bawasa abakazi ku nsi ne bazaala ebyana ebyali bikola ebikolwa eby’obukambwe. (Lub. 6:2-4, 11, 12) Naye Nuuwa yali wa njawulo ku bantu abalala. ‘Nuuwa yasiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Okwawukana ku bantu ab’omu mulembe gwe, ye teyaliiko kya kunenyezebwa. Nuuwa yatambula ne Katonda ow’amazima.’​—Lub. 6:8, 9.

w13 4/1 lup. 14 ¶1

‘Yatambulira Wamu ne Katonda’

Omulimu ogwo gwatwala emyaka nga 40 oba 50. Emiti gyalina okutemebwa, enduli zaalina okuwalulwa, okusalibwamu embaawo, ssaako okuzigatta. Eryato lyalina kuba lya myaliiro essatu omuli ebisenge eby’enjawulo, era lyalina okubaako oluggi. Liteekwa okuba nga lyaliko obudirisa waggulu, era nga waggulu waalyo lyakolebwa mu ngeri esobozesa amazzi okukulukuta.​—Olubereberye 6:14-16.

w11 9/15 lup. 18 ¶13

Dduka Embiro z’Empaka n’Obugumiikiriza

Kiki ekyayamba abaweereza ba Yakuwa abo okugumiikiriza ne basobola okumalako embiro z’empaka? Weetegereze ekyo Pawulo kye yayogera ku Nuuwa. (Soma Abebbulaniya 11:7.) Nuuwa yali talabangako ku mataba. (Lub. 6:17) Amataba gaali tegabangawo ku nsi. Wadde kyali kityo, Nuuwa teyakitwala nti amataba gaali tegasobola kubaawo. Lwaki? Kubanga yali akkiriza nti Yakuwa asobola okutuukiriza kyonna ky’aba agambye. Nuuwa teyalowooza nti Yakuwa kye yali amugambye okukola kyali kizibu nnyo. Mu kifo ky’ekyo, yakolera ddala ekyo Yakuwa kye yamugamba okukola. Bayibuli egamba nti “bw’atyo bwe yakola.” (Lub. 6:22) Bwe tulowooza ku ebyo byonna Nuuwa bye yalina okukola​—okuzimba eryato, okukuŋŋanya ebisolo, okukuŋŋanya emmere gye bandiridde nga bali mu lyato era n’ey’ebisolo, okubuulira, n’okuyamba ab’omu maka ge okusigala nga banywevu mu by’omwoyo​—tukiraba nti tekyali kyangu kukola buli kimu nga Yakuwa bwe yali amulagidde. Naye olw’okuba Nuuwa yayoleka okukkiriza n’obugumiikiriza ng’akola omulimu Yakuwa gwe yali amuwadde okukola, Yakuwa yamuwonyaawo awamu n’ab’omu maka ge era n’abawa emikisa mingi.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w04 1/1 lup. 7 ¶7

Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Olubereberye​—I

7:2—Kiki ekyasinziirwako okwawulawo ensolo ennongoofu n’ezitali nnongoofu? Kya lwatu, okuwaayo ssaddaaka mu kusinza kwe kwasinziirwangako okwawulawo ebirongoofu n’ebitali birongoofu so si ebintu ebyandiriiriddwa oba ebitandiriiriddwa. Ng’Amataba tegannabaawo, abantu tebaalyanga nnyama ya nsolo. Ensolo ezimu okutwalibwa okuba “ennongoofu” n’endala ‘obutaba nnongoofu’ kyajjawo wansi w’Amateeka ga Musa, era kyakoma amateeka ago bwe gaakoma. (Ebikolwa 10:9-16; Abeefeso 2:15) Kirabika Nuuwa yali amanyi ebiweebwayo ebyali bisaana okuweebwayo eri Yakuwa. Amangu ddala nga yaakava mu lyato, ‘yazimbira Yakuwa ekyoto, n’atoola ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa.’​—Olubereberye 8:20.

w04 1/1 lup. 8 ¶1

Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Olubereberye​—I

7:11—Amazzi agaaleeta Amataba gaava wa? Ku “lunaku” olw’okubiri olw’okutonda, ebbanga bwe lyali likolebwa, waaliwo amazzi “wansi w’ebbanga” n’amazzi “waggulu w’ebbanga.” (Olubereberye 1:6, 7) Amazzi agaali “wansi” geego agaali ku nsi. Amazzi agaali “waggulu” ge mazzi amangi ennyo agaali waggulu w’ensi. Amazzi ago ge gaatonnya ku nsi mu biseera bya Nuuwa.

JJANWALI 27–FEBWALI 2

EKIGAMBO KYA KATODNA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 9-11

“Ensi Yonna Yalina Olulimi Lumu”

it-1-E lup. 239

Babulooni Ekinene

Ebikwata ku Babulooni eky’Edda. Ekibuga Babulooni kyatandikibwawo mu lusenyi lw’omu nsi ya Sinaali mu kiseera abantu we baagerezaako okuzimba omunaala gw’e Babeeri. (Lub 11:2-9) Omunaala ogwo gwali teguzimbibwa lwa kugulumiza linnya lya Yakuwa, wabula abantu baali gaagala ‘kwekolera linnya.’ Eminaala ng’egyo gyasangibwa mu matongo ga Babulooni ne mu bitundu ebirala gamba nga mu Mesopotamiya, era ekyo kikakasa nti okusinza okw’obulimba okwatandikira ku munaala gw’e Babeeri ogwasooka kwabuna ne mu bitundu ebirala. Eky’okuba nti Yakuwa Katonda yalemesa omulimu gw’okuzimba omunaala gw’e Babeeri okugenda mu maaso, kiraga nti okuzimba omunaala ogwo ye yali entandikwa y’okusinza okw’obulimba. Wadde ng’erinnya Babeeri ery’Olwebbulaniya eryatuumibwa ekibuga ekyo litegeeza “Okutabulwatabulwa,” erinnya ery’Olusumeriya (Ka-dingir-ra) n’ery’Olukadiya (Bab-ilu) gombi gategeeza “Omulyango gwa Katonda.” Ekyo kiraga nti abantu abaasigala mu kibuga ekyo baakyusa erinnya lyakyo eryali liraga nti Katonda yali akisalidde omusango, kyokka n’erinnya eppya lye baakiwa lyali likwataganyizibwa n’okusinza okw’obulimba.

it-2-E lup. 202 ¶2

Olulimi

Ekitabo ky’Olubereberye kinnyonnyola engeri abantu abamu abaaliwo oluvannyuma lw’Amataba gye baakuŋŋaanamu okukola omulimu ogwali gukontana n’ekigendererwa kya Katonda kye yagamba Nuuwa ne batabani be. (Lub 9:1) Mu kifo ky’okusaasaana ne ‘bajjuza ensi,’ baasalawo okubeera mu kifo kimu, oluvannyuma ekyamanyibwa ng’olusenyi lw’omu nsi ya Sinaali mu Mesopotamiya. Awatali kubuusabuusa, ekifo ekyo kye kyandibadde entabiro y’okusinza era baali batandise n’okuzimba omunaala.​—Lub 11:2-4.

it-2-E lup. 202 ¶3

Olulimi

Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yatabulatabula olulimi lwe baali boogera n’abalemesa okugenda mu maaso n’omulimu gwe baali batandise. Ekyo kyabalemesa okukwatagana ne balekera awo okuzimba ne basaasaana mu bitundu ebirala eby’ensi. Okutabulatabula olulimi lwabwe era kyandiremesezza oba kyandiddirizza omulimu gw’okuzimba gwe baali batandise nga baziyiza ekigendererwa kya Katonda, okuva bwe kiri nti abantu aboogera ennimi ez’enjawulo tebandisobodde kukolera wamu oba okugatta amagezi ge bandifunye. Amagezi ago tegandivudde eri Katonda, wabula abantu bandigafunye olw’obumayirivu bwe bandifunye era n’okuyitira mu kunoonyereza. (Geraageranya Mub 7:29; Ma 32:5.) N’olwekyo, wadde ng’okutabulwatabulwa kw’olulimi kwayawukanya abantu mu kiseera ekyo, kwaganyula abantu okutwalira awamu, olw’okuba kwabalemesa okutuuka ku biruubirirwa ebikyamu. (Lub 11:5-9; geraageranya Is 8:9, 10.) Bwe tulaba ebibaddewo mu kiseera kyaffe, olw’amagezi abantu ge bafunye n’engeri gye bagakozesezzaamu obubi, tusobola okulaba ekyandibaddewo singa Katonda yaleka omulimu gw’okuzimba omunaala ogwo ne gugenda mu maaso.

it-2-E lup. 472

Amawanga

Olw’okuba kati baali tebakyasobola kuwuliziganya, buli kibinja ky’abantu abaali boogera olulimi olumu baatandikawo obuwangwa bwabwe, empisa, n’eddiini yaabwe​—buli ggwanga nga likola ebintu mu ngeri yaalyo. (Lev 18:3) Olw’okuba baali beeyawudde ku Katonda, abantu ab’amawanga ag’enjawulo beekolera ebifaananyi bya bakatonda baabwe.​—Ma 12:30; 2Sk 17:29, 33.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 1023 ¶4

Kaamu

Kiyinzika okuba nti Kanani ye yakola ensobi naye kitaawe Kaamu n’atamukangavvula. Oba Nuuwa, ng’ayogera mu ngeri y’obunnabbi yalaba nti endowooza enkyamu eyali mu Kaamu yali ne mu mutabani we Kanani, era nti abaana ba Kanani bonna bandigyolese. Ekikolimo ekyo kyatuukirira ku kigero ekitono Abayisirayiri bwe baazikiriza Abakanani bangi. Abo abataazikirizibwa (gamba nga, Abagibiyoni [Yos 9]) baafuulibwa baddu ba Bayisirayiri. Emyaka mingi oluvannyuma, ekikolimo kyeyongera okutuukirira bazzukulu ba Kanani bwe baawambibwa obufuzi kirimaanyi obwa Bumeedi ne Buperusi, obwa Buyonaani, n’obwa Rooma.

it-2-E lup. 503

Nimuloodi

Obwakabaka bwa Nimuloodi bwatandikira mu bibuga Babeeri, Ereki, Akadi, ne Kalune, nga byonna byali mu nsi ya Sinaali. (Lub 10:10) N’olwekyo kirabika Nimuloodi ye yawa ekiragiro ky’okuzimba ekibuga Babeeri n’omunaala gwakyo. Ekyo kikwatagana n’ebiri mu bitabo by’ebyafaayo by’Abayudaaya. Munnabyafaayo ayitibwa Josephus yawandiika nti: “Mpolampola, [Nimuloodi] yafuuka nnaakyemalira ng’agamba nti engeri yokka ey’okuggya abantu ku Katonda kwe kubaleetera okwesigama ku ye ng’omuntu. Yatiisatiisa okwesasuza Katonda singa Katonda yalowooza ku ky’okuddamu okuzikiriza abantu ng’akozesa amataba; era nti yandizimbye omunaala omuwanvu amazzi gwe gatasobola kubuutikira ne yeesasuza okufa kwa bajjajjaabe. Abantu baakolera ku magezi ga [Nimuloodi] nga bagamba nti okugondera Katonda kufaananako okubeera mu buddu; bwe kityo baasalawo okuzimba omunaala . . . era omulimu gwali guddukira ku sipiidi etagambika.”​—Jewish Antiquities, I, 114, 115 (iv, 2, 3).

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

mwb17.03 lup. 5 ¶1-2

Engeri y’Okukozesa Brocuwa, Wuliriza Katonda

Brocuwa Wuliriza Katonda yategekebwa okuyamba abantu abatasobola kusoma bulungi. Buli ssomo liri ku mpapula bbiri era erimu ebifaananyi n’obubonero obusonga ku kifaananyi ekiba kiddako.

Brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna erimu ebifaananyi bye bimu n’ebyo ebiri mu Wuliriza Katonda, naye yo erimu ebigambo bingiko, era abayizi abasobola okusoma bayinza okugikozesa. Omubuulizi asobola okugikozesa ng’ayigiriza omuyizi brocuwa Wuliriza Katonda. Ku mpapula ezisinga obungi kuliko ebirala bye basobola okukubaganyaako ebirowoozo okusinziira ku busobozi bw’omuyizi.

km 7/12 lup. 3 ¶6

Yamba Abantu Okuwuliriza Katonda

Okuva bwe kiri nti brocuwa Wuliriza Katonda teriimu bibuuzo, si ya kukozesebwa mu ngeri ya kubuuza bibuuzo na kuddamu nga bwe kibeera nga tuyigiriza omuntu mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Mu buli ggwanga abantu banyumirwa okuwuliriza engero. N’olwekyo kozesa ebifaananyi ebirimu obanyumize ebintu ebyaliwo ebyawandiikibwa mu Bayibuli. Bannyonnyole ebifaananyi era yogera n’ebbugumu. Saba omuyizi akubuulire ky’alaba ne ky’alowooza. Soma ebyawandiikibwa ebiri ku nkomerero y’olupapula, era mubikubaganyeeko ebirowoozo. Mubuuze ebibuuzo asobole okwenyigira mu kukubaganya ebirowoozo era kikusobozese okumanya obanga ategedde. Bwe muba mukozesa brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, musomere wamu obutundu n’ebyawandiikibwa ebikwatagana n’ekifaananyi kye mukubaganyaako ebirowoozo.

km 7/12 lup. 3 ¶7

Yamba Abantu Okuwuliriza Katonda

Yamba Omuyizi Okukulaakulana: Tusuubira nti bwe munaakubaganya ebirowoozo n’omuyizi wo, kijja kumuleetera okwagala okuyiga okusoma asobole okwesomera ebikwata ku Katonda. (Mat. 5:3; Yok. 17:3) N’olwekyo, bwe kiba nti brocuwa Wuliriza Katonda gye mukozesa, oluvannyuma lw’ekiseera oyinza okumusaba omuyigirize okusoma, era osobola okumutwala mu brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Ka kibe nti munaaba mumazeeko emu ku brocuwa ezo, omuyizi ajja kuba tannatuukiriza bisaanyizo bya kubatizibwa. Osaanidde okumutwala mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba ekitabo ekirala kyonna ekinaamuyamba okwongera okutegeera Bayibuli.

km 3/13 lup. 4-5 ¶3-5

Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda

Engeri Gye Yategekebwamu: Ebitabo byaffe ebisinga obungi bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli byawandiikibwa mu ngeri esobozesa omuntu okubisoma n’ategeera amazima, wadde nga tewali amuyigiriza. Kyokka, brocuwa eno yo ya njawulo. Omuntu okusobola okugiganyulwamu, walina okubaawo amuyigiriza. N’olwekyo bw’oba ogiwadde omuntu, kirungi okubaganye naye ebirowoozo ku katundu kamu oba bubiri. Erimu obutundu bumpi, n’olwekyo muyinza okubukubaganyaako ebirowoozo ng’oli n’omuntu ku mulyango gwe oba mu kifo w’akolera. Wadde nga kiba kirungi okutandikira ku ssomo 1, tusobola okutandikira ku ssomo lyonna.

Mu bitabo byaffe ebisinga obungi, eby’okuddamu mu bibuuzo bisobola okusangibwa mu butundu. Kyokka mu brocuwa eno, eby’okuddamu ebisinga bisangibwa mu Bayibuli. Abantu abasinga obungi baagala ebyo bye bayiga bibe nga biva butereevu mu Bayibuli so si mu bitabo byaffe. Eyo ye nsonga lwaki kumpi ebyawandiikibwa byonna ebiragiddwa, tebijuliziddwa. Bya kusomebwa butereevu okuva mu Bayibuli. Kino kiyamba omuyizi okulaba nti by’ayiga biva eri Katonda.​—Is. 54:13.

Brocuwa eno tennyonnyola byawandiikibwa byonna. Lwaki? Yategekebwa okukubiriza abayizi okubuuza ebibuuzo n’okusobozesa omubuulizi okukozesa obusobozi bwe obw’okuyigiriza. N’olwekyo, kikulu nnyo okweteekateeka obulungi buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi. Weewale okwogera ennyo. Mu kifo ky’okunnyonnyola ekyawandiikibwa, kiba kirungi okusaba omuyizi annyonnyole engeri gy’akitegeddemu. Bwe tukozesa ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi, tusobola okumuyamba okutegeera amakulu g’ekyawandiikibwa.​—Bik. 17:2.

km 9/15 lup. 3 ¶1

Okuyigiriza nga Tukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi

Nga bwe twalaba mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi, ekimu ku bintu ebikulu bye tukozesa nga tuyigiriza ye brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Ebyawandiikibwa ebisinga mu brocuwa eno biragiddwa bulagibwa kisobozese omuntu okubisoma obutereevu mu Bayibuli. Ebitabo byaffe bingi biwandiikibwa mu ngeri esobozesa omusomi okuyiga ku lulwe, naye omuntu okusobola okuganyulwa mu brocuwa eno, walina okubaawo amuyigiriza. N’olwekyo bwe tugigabira omuntu tusaanidde okumulaga engeri gye tugikozesaamu okuyigiriza abantu Bayibuli, asobole okutegeera amawulire amalungi agali mu Bayibuli.​—Mat. 13:44.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share