-
Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 28Obuweereza bw’Obwakabaka—2015 | Ssebutemba
-
-
Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 28
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 28
Oluyimba 73 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 31 ¶1-12 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Bassekabaka 23-25 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Bassekabaka 23:8-15 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Mirimu Ki Bamalayika Gye Bakola?—nwt-E lup. 1692-1693 (Ddak. 5)
Na. 3: Ddala Yesu Yakomererwa ku Musaalaba?—td-35A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Wa obujulirwa ku mawulire amalungi mu bujjuvu.’—Bik. 20:24.
Ddak. 10: Pawulo ne Banne Baawa Obujulirwa mu Bujjuvu mu Firipi. Kukubaganya birowoozo. Musome Ebikolwa 16:11-15. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza.
Ddak. 20: “Okuyigiriza nga Tukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe mumala okukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, laga ekyokulabirako ekitegekeddwa obulungi ng’omubuulizi agaba brocuwa Amawulire Amalungi era ng’akubaganya ebirowoozo n’omuntu ku katundu kamu mu brocuwa eyo.
Oluyimba 114 n’Okusaba
-
-
Okuyigiriza nga Tukozesa Brocuwa Amawulire AmalungiObuweereza bw’Obwakabaka—2015 | Ssebutemba
-
-
1. Brocuwa Amawulire Amalungi yategekebwa etya?
1 Nga bwe twalaba mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi, ekimu ku bintu ebikulu bye tukozesa nga tuyigiriza ye brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Ebyawandiikibwa ebisinga mu brocuwa eno biragiddwa bulagibwa kisobozese omuntu okubisoma obutereevu mu Bayibuli. Ebitabo byaffe bingi biwandiikibwa mu ngeri esobozesa omusomi okuyiga ku lulwe, naye omuntu okusobola okuganyulwa mu brocuwa eno, walina okubaawo amuyigiriza. N’olwekyo bwe tugigabira omuntu tusaanidde okumulaga engeri gye tugikozesaamu okuyigiriza abantu Bayibuli, asobole okutegeera amawulire amalungi agali mu Bayibuli.—Mat. 13:44.
-