LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bhs sul. 3 lup. 29-39
  • Katonda Yalina Kigendererwa Ki Okutonda Abantu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Yalina Kigendererwa Ki Okutonda Abantu?
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Read in Baibuli Ky’Eyigiriza
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OMULABE WA KATONDA
  • ANI AFUGA ENSI?
  • ENTEEKATEEKA YA SITAANI ENEEZIKIRIZIBWA ETYA?
  • OLUSUKU LWA KATONDA LULI KUMPI!
  • Lwaki Waliwo Okubonaabona Kungi mu Nsi?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Abalala Batusinga
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?
    Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Obulamu Bwali Butya mu Lusuku lwa Katonda?
    Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
See More
Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
bhs sul. 3 lup. 29-39

ESSUULA EY’OKUSATU

Katonda Yalina Kigendererwa Ki Okutonda Abantu?

1. Katonda yalina kigendererwa ki okutonda abantu?

KATONDA yatonda abantu ng’alina ekigendererwa ekirungi ennyo. Yatonda abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, n’abateeka mu kifo ekirabika obulungi ennyo. Yali ayagala bazaale abaana, bafuule ensi yonna ekifo ekirabika obulungi ennyo, era balabirire n’ebisolo.—Olubereberye 1:28; 2:8, 9, 15; laba Ekyongerezeddwako Na. 6.

2. (a) Tumanya tutya nti Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa kye? (b) Bantu ba ngeri ki Katonda b’ayagala babeere ku nsi, era ayagala babeereko kumala bbanga ki?

2 Olowooza ekiseera kirituuka ne tubeera mu nsi erabika obulungi? Yakuwa agamba nti: “Nkiteeseteese, era nja kukikola.” (Isaaya 46:9-11; 55:11) Mazima ddala Yakuwa ajja kutuukiriza ekigendererwa kye, era tewali kijja kumulemesa. Yakuwa agamba nti ensi “teyagitondera bwereere;” yagitonda ng’alina ekigendererwa. (Isaaya 45:18) Ayagala abantu bajjule mu nsi yonna. Bantu ba ngeri ki Katonda b’ayagala okubeera mu nsi, era ayagala babeeremu kumala bbanga ki? Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu [oba, abakola Katonda by’ayagala] balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29; Okubikkulirwa 21:3, 4.

3. Eky’okuba nti abantu balwala era bafa, kireetawo bibuuzo ki?

3 Kyokka leero abantu balwala era bafa. Mu bitundu by’ensi bingi mulimu entalo era abantu battiŋŋana. Naye ekyo si kye kyali ekigendererwa kya Katonda. Kati olwo lwaki embeera eri bw’etyo, era lwaki ekigendererwa kya Katonda tekinnatuukirizibwa? Bayibuli yokka y’esobola okutuddamu.

OMULABE WA KATONDA

4, 5. (a) Ani yayogera ne Kaawa ng’ayitira mu musota? (b) Omuntu omulungi ayinza atya okufuuka omubbi?

4 Bayibuli etutegeeza nti Katonda alina omulabe ayitibwa “Omulyolyomi era Sitaani.” Sitaani yayogera ne Kaawa mu lusuku Edeni ng’ayitira mu musota. (Okubikkulirwa 12:9; Olubereberye 3:1) Yakikola mu ngeri eyaleetera Kaawa okulowooza nti omusota gwe gwali gwogera.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 7.

5 Katonda ye yatonda Sitaani Omulyolyomi? Nedda! Omu ku bamalayika abaali mu ggulu nga Katonda ateekerateekera Adamu ne Kaawa ensi ye yeefuula Omulyolyomi. (Yobu 38:4, 7) Ekyo kyasoboka kitya? Lowooza ku kino: Omuntu omulungi ayinza atya okufuuka omubbi? Aba teyazaalibwa nga mubbi, naye atandika okwegomba ekintu ekitali kikye. Bwe yeeyongera okukirowoozaako, okwegomba kwe okubi kweyongera okukula. Ekivaamu, bw’afuna akakisa abba ekintu ekyo, bw’atyo n’afuuka omubbi.—Soma Yakobo 1:13-15; laba Ekyongerezeddwako Na. 8.

6. Malayika omu yafuuka atya omulabe wa Katonda?

6 Ekyo kye kyatuuka ku malayika oyo. Yakuwa bwe yamala okutonda Adamu ne Kaawa, yabagamba bazaale abaana ‘bajjuze ensi.’ (Olubereberye 1:27, 28) Malayika oyo ayinza okuba nga yalowooza nti, ‘Abantu abo bonna basobola okunsinza mu kifo ky’okusinza Yakuwa!’ Gye yakoma okukirowoozaako, gye yakoma okwegomba abantu bamusinze mu kifo ky’okusinza Yakuwa. N’ekyavaamu, yalimbalimba Kaawa n’amuleetera okwonoona. (Soma Olubereberye 3:1-5.) Bwe yakola bw’atyo, yafuuka Sitaani Omulyolyomi, omulabe wa Katonda.

7. (a) Lwaki Adamu ne Kaawa baafa? (b) Lwaki tukaddiwa era ne tufa?

7 Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda ne balya ekibala. (Olubereberye 2:17; 3:6) Baayonoona mu maaso ga Yakuwa, era ekiseera kyatuuka ne bafa nga Yakuwa bwe yali agambye. (Olubereberye 3:17-19) Abaana ba Adamu ne Kaawa bonna baafuuka boonoonyi era eyo ye nsonga lwaki bafa. (Soma Abaruumi 5:12.) Okusobola okutegeera ensonga lwaki abaana ba Adamu ne Kaawa baafuuka boonoonyi, lowooza ku kyokulabirako kino. Ka tugambe nti okubira bbulooka mu katiba akaliko akamogo. Bbulooka ezo zijja kubaako akamogo ng’akali ku katiba. Adamu bwe yajeemera Katonda yafuuka mwonoonyi. Olw’okuba tuli baana ba Adamu, ffenna tuli boonoonyi, oba tuliko akamogo nga ye. Era olw’okuba ffenna tuli boonoonyi, tukaddiwa era tufa.—Abaruumi 3:23; laba Ekyongerezeddwako Na. 9.

8, 9. (a) Kiki Sitaani kye yali ayagala Adamu ne Kaawa balowooze? (b) Lwaki Yakuwa teyazikiririzaawo bajeemu abo?

8 Sitaani yatandikawo obujeemu bwe yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda. Yali ayagala Adamu ne Kaawa balowooze nti Yakuwa mulimba, era nti mufuzi mubi atabaagaliza kirungi kyonna. Sitaani yali nga agamba nti abantu tebeetaaga Katonda kubagamba kya kukola, era nti Adamu ne Kaawa be baali balina okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. Kiki Yakuwa kye yandikoze? Yali asobola okuzikiriza abajeemu abo n’amalawo obujeemu obwo. Naye ekyo kyandiraze nti Sitaani mulimba? Nedda.

9 Yakuwa teyazikiririzaawo bajeemu abo. Mu kifo ky’ekyo, yaleka abantu okwefuga bokka. Ekiseera bwe kyandiyiseewo kyandyeyolese bulungi nti Sitaani mulimba era nti Yakuwa amanyi ekyo abantu kye beetaaga okusobola okuba obulungi. Tujja kuyiga ebisingawo ku nsonga eno mu Ssuula ey’ekkumi n’emu. Naye olowooza ekyo Adamu ne Kaawa kye baakola kyali kituufu? Olowooza baali batuufu okukkiriza Sitaani bye yabagamba ne bajeemera Katonda? Yakuwa ye yali awadde Adamu ne Kaawa ebintu byonna bye baalina. Yali abawadde obulamu obutuukiridde, ekifo eky’okubeeramu ekirabika obulungi, n’omulimu ogwali gubaleetera essanyu. Kyokka ye Sitaani yali talina kalungi konna ke yali abakoledde. Singa waliyo mu lusuku Edeni, ggwe wandikoze ki?

10. Kiki buli omu ku ffe ky’alina okusalawo?

10 Leero naffe tulina okusalawo ani gwe tugwanidde okugondera, era obulamu bwaffe bwesigamye ku ekyo kye tusalawo. Tusobola okusalawo okugondera Yakuwa ng’Omufuzi waffe ne tukiraga nti Sitaani mulimba, oba tuyinza okusalawo okugondera Sitaani ne kiraga nti ye mufuzi waffe. (Zabbuli 73:28; soma Engero 27:11.) Abantu batono nnyo mu nsi abagondera Katonda. Mu butuufu, Katonda si y’afuga ensi. Naye Katonda bw’aba nga si y’afuga ensi, kati olwo ani agifuga?

ANI AFUGA ENSI?

Sitaani asuubiza okuwa Yesu gavumenti zonna, oba obwakabaka bwonna obw’omu nsi

Sitaani yandibadde asuubiza okuwa Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi singa tebwali bubwe?

11, 12. (a) Ekyo Sitaani kye yasuubiza Yesu kiraga ki? (b) Byawandiikibwa ki ebiraga nti Sitaani y’afuga ensi?

11 Yesu yali amanyi ani afuga ensi. Lumu Sitaani yalaga Yesu “obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo, n’amugamba nti: ‘Ebintu bino byonna nja kubikuwa singa ovunnama n’onsinza.’” (Matayo 4:8, 9; Lukka 4:5, 6) Weebuuze, ‘Singa obwakabaka obwo tebwali bwa Sitaani, yandibadde asuubiza okubuwa Yesu?’ Nedda. N’olwekyo, gavumenti zonna eziriwo mu nsi za Sitaani.

12 Oyinza okwebuuza nti: ‘Kijja kitya okuba nti Sitaani y’afuga ensi? Yakuwa si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna eyatonda ebintu byonna?’ (Okubikkulirwa 4:11) Ekyo kituufu, naye Yesu yakiraga kaati nti Sitaani ye ‘mufuzi w’ensi eno.’ (Yokaana 12:31; 14:30; 16:11) Omutume Pawulo yayita Sitaani Omulyolyomi “katonda w’ensi eno.” (2 Abakkolinso 4:3, 4) N’omutume Yokaana yagamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”—1 Yokaana 5:19.

ENTEEKATEEKA YA SITAANI ENEEZIKIRIZIBWA ETYA?

13. Lwaki twetaaga enteekateeka empya?

13 Embeera y’ensi yeeyongedde okuba embi. Waliwo entalo, obulyi bw’enguzi, obunnanfuusi, n’ebikolwa eby’obukambwe. Abantu tebasobola kumalawo bizibu ebyo byonna ne bwe bafuba batya. Naye Katonda anaatera okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani eno embi ku lutalo Amagedoni, asseewo enteekateeka empya ey’obutuukirivu.—Okubikkulirwa 16:14-16; laba Ekyongerezeddwako Na. 10.

14. Katonda alonze ani okuba Kabaka mu Bwakabaka bwe? Kiki Bayibuli kye yali yayogera edda ennyo ku Yesu?

14 Yakuwa yalonda Yesu Kristo okuba Kabaka w’Obwakabaka bwe oba gavumenti ye ey’omu ggulu. Emyaka nkumi na nkumi emabega, Bayibuli yagamba nti Yesu yandifuze ‘ng’Omukulu ow’Emirembe’ era nti gavumenti ye yandibadde ya mirembe na mirembe. (Isaaya 9:6, 7) Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka obwo bujje. Yabagamba basabe nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Mu Ssuula ey’omunaana, tujja kulaba engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okuggyawo gavumenti zonna eziriwo mu nsi. (Soma Danyeri 2:44.) Oluvannyuma Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuula ensi olusuku lwa Katonda.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 11.

OLUSUKU LWA KATONDA LULI KUMPI!

Abantu bayimba, bakuba ebivuga, era banyumirwa obulamu mu nsi empya

15. “Ensi empya” kye ki?

15 Bayibuli egamba nti: “Tulindirira eggulu eriggya n’ensi empya, era nga muno obutuukirivu mwe bulibeera.” (2 Peetero 3:13; Isaaya 65:17) Emirundi egimu Bayibuli bw’eba eyogera ku “nsi,” eba etegeeza abantu abali ku nsi. (Olubereberye 11:1) N’olwekyo, “ensi empya” omulibeera obutuukirivu be bantu bonna abagondera Katonda era abajja okufuna emikisa gye.

16. Kirabo ki eky’omuwendo ennyo Katonda ky’anaawa abo abanaabeera mu lusuku lwe, era kiki kye tulina okukola okusobola okukifuna?

16 Yesu yagamba nti abo abanaabeera mu lusuku lwa Katonda bajja kufuna “obulamu obutaggwaawo.” (Makko 10:30) Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna ekirabo kino? Soma Yokaana 3:16 ne 17:3 omanye kye tulina okukola. Kati ka tulabe ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bulamu nga bwe bunaabeera mu lusuku lwa Katonda.

17, 18. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti wajja kubaawo emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna?

17 Tewajja kubaawo bintu bibi gamba ng’entalo, obumenyi bw’amateeka, n’ettemu. Mu lusuku lwa Katonda temujja kubaamu bantu babi. (Zabbuli 37:10, 11) Katonda ajja kumalawo “entalo mu nsi yonna.” (Zabbuli 46:9; Isaaya 2:4) Ensi ejja kubaamu bantu abaagala Katonda era abakola by’ayagala. Wajja kubaawo emirembe egy’olubeerera.—Zabbuli 72:7.

18 Yakuwa ajja kukuuma abantu be. Mu biseera eby’edda, Abayisirayiri bwe baagonderanga Katonda, waabangawo obutebenkevu, kubanga Katonda yabakuumanga. (Eby’Abaleevi 25:18, 19) Mu Lusuku lwa Katonda tetujja kutya kintu kyonna oba muntu yenna. Yakuwa ajja kutukuuma ekiseera kyonna!—Soma Isaaya 32:18; Mikka 4:4.

19. Tukakasiza ku ki nti emmere ejja kuba nnyingi mu lusuku lwa Katonda?

19 Wajja kubaawo emmere nnyingi. “Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.” (Zabbuli 72:16) Yakuwa, “Katonda waffe, ajja kutuwa omukisa,” era “ensi ejja kubaza emmere.”—Zabbuli 67:6.

20. Tumanya tutya nti ensi yonna ejja kuba erabika bulungi nnyo?

20 Ensi yonna ejja kuba erabika bulungi nnyo. Abantu bajja kuba n’ennyumba ennungi era n’ennimiro ezirabika obulungi. (Soma Isaaya 65:21-24; Okubikkulirwa 11:18.) Ensi yonna ejja kuba erabika bulungi nnyo ng’olusuku Edeni bwe lwali. Yakuwa ajja kutuwanga ebintu byonna bye twetaaga. Bayibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa: “Oyanjuluza engalo zo n’owa buli kiramu bye kyagala.”—Zabbuli 145:16.

21. Tumanya tutya nti wajja kubaawo emirembe wakati w’abantu n’ensolo?

21 Wajja kubaawo emirembe wakati w’abantu n’ensolo. Ensolo tezijja kuddamu kutuusa kabi konna ku bantu. N’ensolo ez’obulabe ennyo mu kiseera kino, abaana abato bajja kuba tebakyazitya.—Soma Isaaya 11:6-9; 65:25.

22. Kiki Yesu ky’anaakolera abalwadde?

22 Wajja kuba tewakyaliwo bulwadde. Yesu bwe yali ku nsi yawonya abantu bangi endwadde. (Matayo 9:35; Makko 1:40-42; Yokaana 5:5-9) Naye bw’anaaba afuga ensi yonna nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu ajja kuwonya abantu bonna. Tewali n’omu ajja kugamba nti: “Ndi mulwadde.”—Isaaya 33:24; 35:5, 6.

23. Kiki Katonda ky’anaakolera abo abaafa?

23 Abafu bajja kuzuukira. Katonda asuubiza nti ajja kuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa. “Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Soma Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15.

24. Owulira otya bw’olowooza ku kubeera mu Lusuku lwa Katonda?

24 Ffenna tulina okubaako kye tusalawo. Tusobola okusalawo okuyiga ebikwata ku Yakuwa era ne tumuweereza, oba okusalawo okukola ebyo ffe bye twagala. Bwe tusalawo okuweereza Yakuwa, ebiseera byaffe eby’omu maaso bijja kuba birungi nnyo. Omusajja omu bwe yasaba Yesu amujjukire ng’afudde, Yesu yamugamba nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43) Kati ka tuyige ebisingawo ebikwata ku Yesu Kristo n’engeri gy’ajja okutuukirizaamu ebisuubizo bya Katonda.

BYE TUYIZE

EKISOOKA: KATONDA YATUTONDA NG’ALINA EKIGENDERERWA

“Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29

Katonda yalina kigendererwa ki okutonda abantu?

  • Olubereberye 1:28

    Katonda yali ayagala abantu bafuule ensi yonna ekifo ekirabika obulungi era balabirire n’ensolo.

  • Isaaya 46:9-11; 55:11

    Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa kye, era tewali kijja kumulemesa.

EKY’OKUBIRI: ENSONGA LWAKI WALIWO EBIZIBU BINGI

“Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”—1 Yokaana 5:19

Ani afuga ensi?

  • Yokaana 12:31

    Yesu yayita Sitaani omufuzi w’ensi.

  • Yakobo 1:13-15

    Sitaani yeegomba ekitali kikye.

  • Olubereberye 2:17; 3:1-6

    Sitaani yalimbalimba Kaawa, Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, era oluvannyuma bombi baafa.

  • Abaruumi 3:23; 5:12

    Tufa olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu.

  • 2 Abakkolinso 4:3, 4

    Sitaani abuzaabuza abantu.

EKY’OKUSATU: OBWAKABAKA BWA KATONDA BUJJA KUGONJOOLA EBIZIBU BYONNA

“Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi.”—Matayo 6:10

Kiki Yakuwa ky’ajja okukola?

  • Danyeri 2:44

    Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’abantu zonna.

  • Okubikkulirwa 16:14-16

    Katonda ajja kuzikiriza enteekateeka ya Sitaani eno embi ku Amagedoni.

  • Isaaya 9:6, 7

    Yakuwa yalonda Yesu okuba Kabaka mu gavumenti ye ey’omu ggulu. Yesu ajja kufuga ensi yonna.

EKY’OKUNA: OBWAKABAKA BWA KATONDA BUJJA KUFUULA ENSI YONNA OLUSUKU LWA KATONDA

“Oyanjuluza engalo zon’owa buli kiramu bye kyagala.”—Zabbuli 145:16

Kiki Obwakabaka bwa Katonda kye bunaatukolera?

  • Zabbuli 46:9

    Bujja kuggyawo entalo, obumenyi bw’amateeka n’ebikolwa eby’obukambwe.

  • Isaaya 32:18; 65:21-24

    Abantu bonna bajja kuba n’ennyumba ennungi, ennimiro ezirabika obulungi, era bajja kuba mu mirembe.

  • Zabbuli 72:16

    Wajja kubaawo emmere nnyingi.

  • Isaaya 11:6-9

    Wajja kubaawo emirembe wakati w’abantu n’ensolo.

  • Isaaya 33:24; Ebikolwa 24:15

    Wajja kuba tewakyaliwo bulwadde, n’abafu bajja kuzuukira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share