LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 11/1 lup. 9
  • Obadde Okimanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • “Okutegeeza Amakulu Si kwa Katonda?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yakuwa Teyeerabira Yusufu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • “Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yakuwa Akuyamba Osobole Okutuuka ku Buwanguzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 11/1 lup. 9

OBADDE OKIMANYI?

Lwaki Yusufu yamwako enviiri nga tannagenda eri Falaawo?

Ekifaananyi ekiraga kinyoozi ng’akola omulimu gwe mu Misiri ey’edda

Ekifaananyi ekiraga kinyoozi ng’akola omulimu gwe mu misiri ey’edda

Ekitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye, kiraga nti Falaawo bwe yaloota ebirooto ebyamutiisa, yatumya mangu Yusufu okuva mu kkomera amunnyonnyole amakulu gaabyo. Mu kiseera ekyo Yusufu yali yaakamala emyaka mingi mu kkomera. Wadde nga Falaawo yamutumya mu bwangu, Yusufu yasooka kwemwa n’alyoka agenda eri Falaawo. (Olubereberye 39:20-23; 41:1, 14) Olw’okuba omuwandiisi yawandiika ku kintu kino ekirabika ng’ekitono, kiraga nti yali amanyi bulungi obulombolombo bw’Abamisiri.

Mu mawanga mangi nga mw’otwalidde n’Abebbulaniya, abantu baakuzanga ebirevu. Okusinziira ku kitabo ekimu ekiyitibwa Cyclopedia of Biblical, Theological, and Ecclesiastical Literature ekyawandiikibwa McClintock ne Strong, “Abamisiri ab’edda be bantu bokka ab’ebuvanjuba abataakuzanga birevu.”

Tebaamwanga birevu byokka. Magazini emu eyitibwa Biblical Archaeology Review egamba nti mu mikolo gy’Abamisiri egimu, abasajja baalinga okweteekateeka nga tebannagenda eri Falaawo nga bwe baakolanga nga tebannagenda mu yeekaalu. Ne Yusufu yalina okusooka okumwa ebirevu, omutwe, n’omubiri gwe gwonna.

Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga nti taata wa Timoseewo yali Muyonaani. Ekyo kitegeeza nti yazaalibwa mu Buyonaani?

Maama wa Timoseewo ng’amusomera Ebyawandiikibwa, embabega ye taata we

Kiyinza obutaba bwe kityo. Mu bitabo bya Bayibuli omutume Pawulo bye yawandiika, ebiseera ebimu yakozesanga ekigambo Abayonaani ng’ategeeza abantu bonna abataali Bayudaaya. (Abaruumi 1:​16; 10:12) Emu ku nsonga lwaki Pawulo yakozesanga ekigambo “Abayonaani” eri nti obuwangwa bw’Abayonaani n’olulimi Oluyonaani byali bibunye nnyo mu bitundu Pawulo bye yabuulirangamu.

Baani abaayitibwanga Abayonaani? Mu kyasa eky’okuna embala eno nga tennatandika, omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Isocrates ow’omu kibuga Asene yayogera nnyo ku ngeri obuwangwa bw’Abayonaani gye bwali bubunyeemu mu nsi yonna. Yagamba nti: “Abo abafunye obuyigirize bw’Abayonaani bayitibwa Bayonaani, wadde nga tebaazaalibwa mu Buyonaani.” N’olwekyo, kisoboka okuba nti taata wa Timoseewo awamu n’abalala Pawulo be yayitanga Abayonaani, baali bagoberera obuwangwa bw’Abayonaani naye nta tebaazaalibwa mu Buyonaani.​—Ebikolwa 16:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share