Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
MAAYI 3-9
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 27-29
“Koppa Yakuwa Atasosola”
Weeyongere Okuyiga ku Ngeri za Yakuwa n’Okumukoppa
Bawala ba Zerofekaadi baagenda eri Musa ne bamugamba nti: “Lwaki erinnya lya kitaffe liggibwa mu kika kye olw’okuba teyazaala mwana wa bulenzi? Tusaba otuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.” Musa teyabagamba nti ‘Etteeka bwe lityo bwe ligamba, sirina kya kubakolera.’ Mu kifo ky’ekyo, Musa ‘yatwala ensonga yaabwe mu maaso ga Yakuwa.’ (Kubal. 27:2-5) Kiki Yakuwa kye yagamba Musa? Yamugamba nti: “Bawala ba Zerofekaadi batuufu. Bawe obutaka obw’obusika mu baganda ba kitaabwe, era obusika bwa kitaabwe bubawe.” Yakuwa yakola n’ekisingako awo. Yalagira eryo lifuuke na tteeka. Yagamba Musa nti: “Singa omusajja yenna afa nga talese mwana wa bulenzi, obusika bwe munaabuwanga muwala we.” (Kubal. 27:6-8; Yos. 17:1-6) Okuva olwo, abakazi bonna Abayisirayiri abeesanganga mu mbeera ng’eyo, baaweebwanga obusika.
Weeyongere Okuyiga ku Ngeri za Yakuwa n’Okumukoppa
Mu butuufu Yakuwa yakiraga nti tasosola. Bawala ba Zerofekaadi tebaalina muntu yenna yali asobola kubayamba, era Yakuwa yakwata ensonga zaabwe mu ngeri ey’obwenkanya nga bwe yakolanga n’eri Abayisirayiri abalala. (Zab. 68:5) Ekyo kye kimu ku byokulabirako ebingi bye tusoma mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa tasosola.—1 Sam. 16:1-13; Bik. 10:30-35, 44-48.
Weeyongere Okuyiga ku Ngeri za Yakuwa n’Okumukoppa
Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda atasosola? Kijjukire nti bwe tuba ab’okwewala okusosola abalala, tulina okusooka okukikkiriza nti abantu bonna balina okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Oboolyawo oyinza okuba ng’olowooza nti tososola. Naye osaanidde okukijjukira nti tekiba kyangu muntu kukiraba nti musosoze. Kati olwo oyinza otya okutegeera obanga tososola? Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Bwe yali ayagala okumanya engeri abantu gye baali bamutwalamu, yabuuza mikwano gye be yali yeesiga nti: “Omwana w’omuntu abantu bagamba nti y’ani?” (Mat. 16:13, 14) Naawe oyinza okukola nga Yesu. Oyinza okufunayo mukwano gwo gw’omanyi nti ajja kukubuulira ddala ekyo ky’oli, n’omubuuza obanga ddala oli muntu atasosola. Singa akugamba nti oluusi abantu b’eggwanga erimu obayisa bulungi okusinga ab’amawanga amalala oba nti ofaayo nnyo ku bantu abalina ssente oba abayivu okusinga bw’ofaayo ku balala, kiki ky’osaanidde okukola? Osaanidde okusaba Yakuwa akuyambe okukyusa endowooza gy’olina ku bantu abalala, osobole okweggyamu obusosoze.—Mat. 7:7; Bak. 3:10, 11.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 528 ¶5
Ebiweebwayo
Ebiweebwayo eby’eby’okunywa. Ebiweebwayo eby’eby’okunywa byaweebwangayo wamu n’ebiweebwayo ebirala ebisinga obungi, nnaddala oluvannyuma lw’Abayisirayiri okutwala Ensi Ensuubize. (Kbl 15:2, 5, 8-10) Ebiweebwayo eby’eby’okunywa gwabanga mwenge era gwayiibwanga ku kyoto. (Kbl 28:7, 14; geraageranya Kuv 30:9; Kbl 15:10.) Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo b’omu Firipo nti: “Wadde nga nfukibwa ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekifukibwa ku ssaddaaka ne ku buweereza obutukuvu okukkiriza kwammwe bye kubakubirizza okukola, ndi musanyufu.” Wano omutume Pawulo yeeyogerako ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, okulaga nti yali mwetegefu okwewaayo ku lw’Abakristaayo banne. (Baf 2:17) Ng’anaatera okufa yagamba Timoseewo nti: “Kaakano nfukibwa ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, era ekiseera eky’okuteebwa kwange kinaatera okutuuka.”—2Ti 4:6.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
w07-E 4/1 lup. 17-18
Okuwaayo Ssaddaaka Ezisanyusa Katonda
Eggwanga lya Isirayiri bwe lyateekebwawo, Yakuwa yawa Abayisirayiri obulagirizi obukwata ku ngeri gye baali basaanidde okumusinzaamu, era bwali buzingiramu n’obwo obukwata ku biweebwayo ne ssaddaaka. (Okubala, essuula 28 ne 29) Ebimu ku biweebwayo byali ebibala by’ensi; ebirala byali bizingiramu okussaddaaka ensolo gamba ng’ente ennume, endiga, embuzi, amayiba, n’enjiibwa. (Eby’Abaleevi 1:3, 5, 10, 14; 23:10-18; Okubala 15:1-7; 28:7) Waaliwo n’ebiweebwayo ebyokebwa ebyayokebwanga byonna n’omuliro. (Okuva 29:38-42) Ate era waabangawo n’ebiweebwayo eby’emirembe, era ng’oyo eyabanga akiwaddeyo yalyanga ku ssaddaaka gye yabanga awaddeyo eri Katonda.—Eby’Abaleevi 19:5-8.
Ebiweebwayo byonna ne ssaddaaka zonna ebyaweebwangayo eri Katonda ebyalagirwa mu Mateeka ga Musa, yali emu ku ngeri y’okusinzaamu Katonda era n’okulaga nti ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna. Okuyitira mu ssaddaaka ng’ezo, Abayisirayiri beebazanga Yakuwa olw’emikisa n’obukuumi bwe yabanga abawadde, era n’okumusaba abasonyiwe ebibi byabwe. Abayisirayiri bwe baagobereranga amateeka ga Yakuwa agakwata ku ngeri y’okumusinzaamu, yabawanga emikisa mingi.—Engero 3:9, 10.
Ekintu Yakuwa kye yatwalanga nga kye kisinga obukulu kye kigendererwa ky’oyo eyabanga awaddeyo ssaddaaka. Ng’ayitira mu nnabbi Koseya, Yakuwa yagamba nti: “Nsanyukira okwagala okutajjulukuka so si ssaddaaka, era nsanyukira okumanya okukwata ku Katonda mu kifo ky’ebiweebwayo ebyokebwa.” (Koseya 6:6) N’olwekyo, abantu bwe baavanga ku kusinza okw’amazima, ne bakola ebikolwa eby’obugwenyufu, era ne bayiwa omusaayi ogutalina musango, ssaddaaka ze baawangayo ku kyoto kya Yakuwa tezaabanga za mugaso. Eyo ye nsonga lwaki, Yakuwa ng’ayitira mu nnabbi Isaaya, yagamba eggwanga lya Isirayiri nti: “Ssaddaaka zammwe ennyingi zingasa ki? . . . Nneetamiddwa ebiweebwayo byammwe ebyokebwa eby’endiga ennume n’amasavu g’ensolo eziriisiddwa obulungi, sisanyukira musaayi gw’ente ento ennume n’ogw’endiga ento n’ogw’embuzi.”—Isaaya 1:11.
MAAYI 10-16
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 30-31
“Tuukiriza Obweyamo Bwo”
it-2-E lup. 1162
Obweyamo
Omuntu Yabukolanga Kyeyagalire, Naye Yabanga Alina Okubutuukiriza. Obweyamo bwonna bwakolebwanga kyeyagalire. Kyokka, omuntu bwe yakolanga obweyamo, Katonda yabanga amusuubira okubutuukiriza. Omuntu bwe yeeyamanga yabanga ng’asinzeeyo obulamu bwe okulaga nti ajja kutuukiriza ekyo ky’agambye. (Kbl 30:2; laba ne Bar 1:31, 32.) Olw’okuba kizingiramu obulamu, eyo ye nsonga lwaki ebyawandiikibwa bikubiriza omuntu okusooka okufumiitiriza nga tannakola bweyamo, era n’okulowooza ku buvunaanyizibwa bwonna obuzingirwamu. Amateeka gaagamba nti: “Bwe weeyamanga eri Yakuwa . . . Katonda ajja kukwetaagisa okukituukiriza, era bw’otolikituukiriza, oliba oyonoonye. Naye bw’oteeyamenga onoobanga toyonoonye.”—Ma 23:21, 22.
it-2-E lup. 1162
Obweyamo
Kwe kusuubiza Katonda okukola ekintu ekimu, okuwaayo ekiweebwayo oba ekirabo, okuyingira obuweereza obumu oba okuba mu mbeera emu, oba okwewala ebintu ebimu wadde nga si bikyamu. Obweyamo omuntu yabukolanga kyeyagalire. Olw’okuba kisuubizo, obweyamo bulina amakulu ag’okulayira, era ebiseera ebimu ebigambo ebyo byombi bikozesebwa wamu mu Bayibuli. (Kbl 30:2; Mat 5:33) “Obweyamo” okusingira ddala kuba kwogera ekyo ky’oyagala okukola, ate “okulayira” kuzingiramu ebyo ebigambibwa ab’obuyinza okubakakasa nti ekyo ekyogeddwa kituufu. Ebiseera ebimu ebirayiro byakolebwanga okukakasa endagaano.—Lub 26:28; 31:44, 53.
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Okubala
30:6-8—Omusajja Omukristaayo asobola okusazaamu obweyamo mukyala we bw’aba akoze? Ku bikwata ku kukola obweyamo, Yakuwa akolagana n’abaweereza be kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, okwewaayo eri Yakuwa, buba bweyamo omuntu bw’aba okoze ku lulwe. (Abaggalatiya 6:5) Omusajja talina buyinza kugaana mukazi we kukola bweyamo ng’obwo. Ku luuyi olulala, omukyala asaanidde okwewala okukola obweyamo obukontana n’Ekigambo kya Katonda oba obuvunaanyizibwa bw’alina eri bbaawe.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 28 ¶1
Yefusa
Abantu baali basobola okuweebwayo okuweereza Yakuwa obulamu bwabwe bwonna ku weema entukuvu. Eddembe eryo abazadde baali balirina. Ng’ekyokulabirako, Kaana nga tannaba kuzaala Samwiri, yeeyama okumuwaayo okuweereza ku weema entukuvu. Omwami we Erukaana yamukkiriza okutuukiriza obweyamo obwo. Amangu ddala nga Samwiri yaakava ku mabeere, Kaana yamuwaayo ku weema entukuvu. Bwe yali amutwala yagenda n’ensolo eya ssaddaaka. (1Sa 1:11, 22-28; 2:11) Samusooni ye mwana omulala eyaweebwayo okuweereza Katonda ng’Omunaziri.—Bal 13:2-5, 11-14; geraageranya obuyinza taata bwe yalina ku muwala we mu Kbl 30:3-5, 16.
MAAYI 17-23
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 32-33
“Mugobe Abantu b’Omu Nsi eyo Bonna”
w10-E 8/1 lup. 23
Obadde Okimanyi?
Biki ebyali “ebifo ebigulumivu” ebitera okwogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?
Abayisirayiri bwe baali banaatera okuyingira Ensi Ensuubize, Yakuwa yabagamba okuggyawo ebifo byonna ebyali bisinzibwamu Abakanani abaali babeera mu kitundu ekyo. Katonda yabalagira nti: ‘Mulina . . . okusaanyaawo ebifaananyi byabwe byonna ebyayolebwa mu mayinja, n’ebifaananyi byabwe byonna eby’ekyuma, era musaanyeewo n’ebifo byabwe byonna ebigulumivu.’ (Okubala 33:52) Ebifo ebyo omwali okusinza okw’obulimba biyinza okuba nga byali byazimbibwa ku nsozi oba mu bifo ebirala, gamba nga wansi w’emiti oba mu bibuga. (1 Bassekabaka 14:23; 2 Bassekabaka 17:29; Ezeekyeri 6:3) Ebifo ebyo biyinza okuba nga byabeerangamu ebyoto, empagi oba ebikondo, ebifaananyi, ebikondo kwe baayotererezanga obubaani, era n’ebintu ebirala bye baakozesanga mu kusinza.
Yigira ku Nsobi z’Abayisirayiri
Leero, twolekagana n’ebizibu bingi ebifaananako eby’Abayisirayiri. Ensi ya leero nayo erimu ebintu bingi abantu bye basinza. Mu byo mwe muli ssente, eby’obufuzi, abakulembeze b’eddiini abamu, abantu ab’amannya mu kuzannya firimu, mu kuyimba ne mu by’emizannyo, oluusi n’ab’omu maka. Ekimu ku bino kiyinza okufuuka ekikulu ennyo mu bulamu bwaffe. Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abatayagala Yakuwa kiyinza okutwonoona mu by’omwoyo.
Ebikolwa eby’obugwenyufu byakolebwanga nnyo mu kusinza Bbaali era ekyo kyasendasenda Abayisirayiri bangi. Emitego ng’egyo gikyakwasa abantu ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’ateegendereza ayinza okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ku kompyuta ng’ali yekka ekyo ne kyonoona omuntu we ow’omunda. Nga kya nnaku Omukristaayo okusikirizibwa okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ku Intaneeti!
it-1-E lup. 404 ¶2
Kanani
Yoswa “tewali na kimu ky’ataakola ku ebyo byonna Yakuwa bye yalagira Musa” ebikwata ku kuzikiriza Abakanani. (Yos 11:15) Naye Abayisirayiri tebagoberera kyakulabirako kye ekirungi era baalemererwa okuggya mu nsi ebintu byonna ebyandigireetedde obutaba nnongoofu. Abayisirayiri bwe baaleka Abakanani okweyongera okubeera mu bo kyabaleetera ebizibu bingi. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo kyaviirako Abayisirayiri bangi okufa (ng’oggyeeko ekyo, waaliwo obumenyi bw’amateeka, ebikolwa eby’obugwenyufu, n’okusinza ebifaananyi). Naye singa baagondera ekiragiro kya Katonda eky’okugoba Abakanani bonna mu nsi tebaandifunye bizibu bingi bwe bityo. (Kbl 33:55, 56; Bal 2:1-3, 11-23; Zab 106:34-43) Yakuwa yali yagamba Abayisirayiri nti emisango gye gy’asala gya bwenkanya era nti tasosola. Era yali yalabula Abayisirayiri nti bwe bandikolaganye n’Abakanani, ne bawasa bawala baabwe era ne bafumbiriganwa nabo, ne basinza bakatonda baabwe, era ne bakola obulombolombo bw’amadiini gaabwe n’ebikolwa eby’obugwenyufu, yandibadde abasalira omusango gwe gumu ogw’okuzikirizibwa era ‘ensi yali ejja kubasesema.’—Kuv 23:32, 33; 34:12-17; Lev 18:26-30; Ma 7:2-5, 25, 26.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 359 ¶2
Olusalosalo
Oluvannyuma lw’akalulu okulaga ekitundu ekika ekimu gye kyandifunye obusika, baasalangawo obunene bw’ettaka ekika ekyo lye kyandiweereddwa nga basinziira ku nsonga ey’okubiri, nga bwe bunene bw’ekika ekyo. Katonda yabagamba nti: “Ensi mujja kugigabana nga mukuba kalulu okusinziira ku mpya zammwe. Ekibinja ekirimu abantu abangi mujja kukiwa ekitundu kinene okuba obusika, ate ekirimu abatono mujja kukiwa ekitundu kitono okuba obusika. Buli omu akalulu we kanaamuteeka we wajja okuba obusika bwe.” (Kbl 33:54) Ebyabanga bivudde mu kalulu ebiraga ekitundu ekika ekimu gye kyandifunye obusika tebyakyusibwanga. Naye obunene bw’ettaka eryandiweereddwa ekika ekimu oba ekirala, bwo bwakyusibwanga. Bwe kityo, bwe kyazuulibwa nti ekitundu ekyali kiweereddwa ekika kya Yuda kyali kinene nnyo, ebitundu ebimu byaggibwako ne biweebwa ekika kya Simiyoni.—Yos 19:9.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
w09-E 10/1 lup. 30, akasanduuko
ENTALO KATONDA ZE YAWA OMUKISA
Eggwanga lya Isirayiri, eryali lyalondebwa Katonda emyaka mingi emabega ng’Obukristaayo tebunnatandikibwawo, ebiseera ebimu lyalagirwanga okuteekateeka eggye okusobola okwenyigira mu lutalo. Abayisirayiri bwe baali tebannatwala Kanani, ensi Katonda gye yali yasuubiza Ibulayimu, yabagamba nti: “Yakuwa Katonda wo ajja kugawaayo [amawanga musaanvu] gy’oli era ojja kugawangula. Ogazikirizanga. Tokolanga ndagaano nago era togakwatirwanga kisa.” (Ekyamateeka 7:1, 2) Bwe kityo, Yoswa eyali akulembera eggye lya Isirayiri yawangula amawanga ago gonna “nga Yakuwa Katonda wa Isirayiri bwe yalagira.”—Yoswa 10:40.
Abayisirayiri okuwangula amawanga amalala kyali kikyamu? Nedda. Amawanga ago gaali gajjudde okusinza ebifaananyi, okuyiwa omusaayi, n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Ate era baawangayo abaana baabwe nga ssaddaaka nga babookya mu muliro. (Okubala 33:52; Yeremiya 7:31) Olw’okuba Katonda mutukuvu, mwenkanya, era ng’ayagala nnyo abantu be, kyamuleetera okuggya ebintu ebibi byonna mu nsi. Wadde kiri kityo, Yakuwa yakeberanga omutima gwa buli omu, ekintu omukulu w’eggye ky’atasobola kukola leero, n’awonyawo abo abaali abeetegefu okuleka ebikolwa ebibi ne bamuweereza.
MAAYI 24-30
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 34-36
“Yakuwa Mufuule Ekiddukiro Kyo”
Oddukira eri Yakuwa?
Naye watya singa Omuyisirayiri yattanga munne nga takigenderedde? Wadde nga yabanga tagenderedde kutta muntu, yabangako omusango ogw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. (Lub. 9:5) Naye omuntu oyo yalagibwanga ekisa ne kiba nti yali asobola okuddukira mu kimu ku bibuga omukaaga eby’okuddukiramu aleme kuttibwa oyo awoolera eggwanga. Bwe yaddukiranga mu kibuga ekyo, yafunanga obukuumi. Oyo eyabanga asse omuntu nga tagenderedde yalinanga okusigala mu kibuga eky’okuddukiramu okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa.—Kubal. 35:15, 28.
Oddukira eri Yakuwa?
Omuntu bwe yattanga munne nga tagenderedde, yalinanga okusooka okutegeeza ensonga ze abakadde abaabanga ku mulyango gw’ekibuga kye yabanga addukiddemu. Abakadde abo baalinanga okumuyisa obulungi ng’atuuse. (Yos. 20:4) Nga wayise ekiseera, omuntu oyo yazzibwangayo eri abakadde b’omu kibuga mwe yabanga attidde omuntu era abakadde abo baatunulanga mu nsonga ze ne bamulamula. (Soma Okubala 35:24, 25.) Bwe baamalanga okukakasa nti omuntu yamutta mu butanwa, yakomezebwangawo mu kibuga eky’okuddukiramu.
Oddukira eri Yakuwa?
Omuntu bwe yaddukiranga mu kibuga, yabanga n’obukuumi. Ng’ayogera ku bibuga ebyo, Yakuwa yagamba nti: “Binaabanga bibuga bye munaddukirangamu.” (Yos. 20:2, 3) Yakuwa teyalagira nti omuntu eyabanga addukidde mu kibuga yalinanga okuddamu okuvunaanibwa omusango gwe yazza, era n’oyo eyawooleranga eggwanga teyakkirizibwanga kuyingira mu kibuga kutta oyo eyabanga addukiddeyo. Omuntu eyabanga addukidde mu kibuga yali talina kutya nti wandibaddewo amwesasuza. Bwe yabanga mu kibuga yabanga mugumu ng’akimanyi nti alina obukuumi. Mu kibuga ekyo, teyabanga ng’ali mu kkomera. Yabanga asobola okukola emirimu gye, okuyamba abalala, n’okuweereza Yakuwa mu mirembe. Mu butuufu yabanga asobola okuweereza Yakuwa n’essanyu!
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w92 3/1 lup. 6 ¶13
Ekinunulo Ekyenkanankana ku lwa Bonna
Kyokka, Adamu ne Kaawa tebaganyulwa mu kinunulo. Amateeka ga Musa gaalimu omusingi guno: “Temukkirizanga kinunulo kiweebwayo ku lw’omutemu agwanira okufa.” (Okubala 35:31) Adamu teyalimbibwa, n’olwekyo yakola ekibi mu bugenderevu. (1 Timoseewo 2:14) Bwe kityo yaleetera abaana be okufa, olw’okuba baasikira obutali butuukirivu bwe, mu ngeri eyo ne basalirwa ogw’okufa. Mazima ddala, Adamu yali agwanira kufa, kubanga ng’omuntu atuukiridde yali yasalawo mu bugenderevu okujeemera etteeka lya Katonda. Kyandibadde kikontana n’emisingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu okukkiriza Adamu okuganyulwa mu kinunulo. Kyokka, okusasula empeera y’ekibi kya Adamu kijjawo ekibonerezo eky’okufa okuva ku zzadde lya Adamu! (Abaruumi 5:16) Okusinziira ku mateeka, amaanyi g’ekibi gaba gaggiddwawo okuva ku nsibuko yaago. Omununuzi ‘alega ku kufa ku lwa buli muntu,’ nga yeetikka ebiva mu kibi ku lw’abaana ba Adamu bonna.—Abebbulaniya 2:9; 2 Abakkolinso 5:21; 1 Peetero 2:24.
MAAYI 31–JJUUNI 6
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 1-2
“Omusango Mugusala ku lwa Katonda”
w96-E 3/15 lup. 23 ¶1
Yakuwa—Ye Katonda Ayagala Obutuukirivu n’Obwenkanya
Abakadde mu kibiina be balamula emisango egizingiramu okukola ebibi eby’amaanyi. (1 Abakkolinso 5:12, 13) Bwe baba basala emisango, bakijjukira nti obwenkanya bwa Katonda buzingiramu okulaga ekisa we kisaanira. Bwe baba tebalina we basinziira kulaga kisa, gamba ng’omwonoonyi agaanye okwenenya, tebakiraga. Naye abakadde tebagoba mubi mu kibiina olw’okwagala okwesasuza. Basuubira nti okugoba omuntu ng’oyo mu kibiina kijja kumuyamba okwenenya. (Geraageranya Ezeekyeri 18:23.) Olw’okuba abakadde bali wansi w’obukulembeze bwa Kristo, bafuba okwoleka obwenkanya, era ekyo kizingiramu okuba “ng’ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga.” (Isaaya 32:1, 2) N’olwekyo, balina okwewala okusosola n’obutaba bakakanyavu.—Ekyamateeka 1:16, 17.
Gondera Abo Katonda b’Awadde Obuyinza
Kyokka, okumanya obumanya Amateeka si kye kyokka ekyali kyetaagisa, omuntu okusobola okubeera omulamuzi. Olw’okuba baali tebatuukiridde, abasajja abo abakadde baali balina okuba obulindaala okwewala ebintu ng’okwefaako bokka, okusosola, n’omulugube—ebyandibaleetedde okusala emisango mu butali bwenkanya. Musa yabagamba nti: “Bwe munaabanga mulamula temusalirizanga. Atali wa kitiibwa mumuwulirizenga mu ngeri y’emu nga bwe muwuliriza ow’ekitiibwa. Temutyanga bantu kubanga omusango mugusala ku lwa Katonda.” Mu butuufu, abalamuzi ba Isirayiri baali balamula ku lwa Katonda. Nga yali nkizo ya maanyi nnyo!—Ekyamateeka 1:16, 17.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Yakuwa by’Atujjukiza Byesigika
Abayisirayiri bwe baatandika olugendo olwabatwalira emyaka 40 nga bayita mu ‘ddungu ery’entiisa,’ Yakuwa teyababuulira butereevu ngeri gye yali agenda kubakulembera, kubakuuma, na kubalabirira. Naye yakiraga mu ngeri ezitali zimu nti bwe bandimwesize era ne bakolera ku bulagirizi bwe, bandiganyuddwa nnyo. Ng’akozesa empagi ey’ekire emisana n’empagi ey’omuliro ekiro, Yakuwa yajjukizanga Abayisirayiri nti yali wamu nabo mu lugendo olwo olutaali lwangu. (Ma. 1:19; Kuv. 40:36-38) Era yakolanga ne ku byetaago byabwe eby’omubiri. Bayibuli egamba nti: “Ebyambalo byabwe tebyakaddiwa era ebigere byabwe tebyazimba.” Mu butuufu “tewali na kimu kye baajula.”—Nek. 9:19-21.
JJUUNI 7-13
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 3-4
“Amateeka ga Yakuwa Gooleka Amagezi n’Obwenkanya”
it-2-E lup. 1140 ¶5
Okutegeera
Omuntu bwe yeesomesa Ekigambo kya Katonda n’amateeka ge era n’abikolerako, asobola okufuna okutegeera okusinga abo abamuyigiriza era ne yeeyisa mu ngeri ey’amagezi okusinga abasajja abakadde. (Zab 119:99, 100, 130; geraageranya Luk 2:46, 47.) Ekyo kiri bwe kityo kubanga ebiragiro n’amateeka ga Katonda mwe musangibwa amagezi n’okutegeera. N’olwekyo, Abayisirayiri bwe bandikutte ebiragiro ebyo, kyandireetedde amawanga agaali gabeetoolodde okubatwala ‘ng’eggwanga erya bantu ab’amagezi era abategeevu.’ (Ma 4:5-8; Zab 111:7, 8, 10; geraageranya 1Sk 2:3.) Omuntu alina okutegeera akiraba nti kikulu okugoberera Ekigambo kya Katonda, afuba okutambuliza obulamu bwe ku ebyo ebikirimu, era asaba Katonda amuyambe okukikolerako. (Zab 119:169) Afuba okutegeerera ddala Ekigambo kya Katonda (Mat 13:19-23), akiwandiika ku mutima gwe (Nge 3:3-6; 7:1-4), era ‘akyawa amakubo gonna ag’obulimba’ (Zab 119:104). Omwana wa Katonda bwe yali ku nsi, ekyo kyennyini kye yakola. Yayoleka okutegeera n’akkiriza okufiira ku muti okusobola okutuukiriza Ebyawandiikibwa, kubanga byali bimwetaagisa okufa mu ngeri eyo.—Mat 26:51-54.
w99-E 11/1 lup. 20 ¶6-7
Okwoleka Omwoyo Omugabi
Kabaka omukazi oyo bye yalaba ne bye yawulira byamuwuniikiriza nnyo n’agamba nti: “Abasajja bo beesiimye, n’abaweereza bo abayimirira mu maaso go bulijjo ne bawuliriza amagezi go nabo beesiimye!” (1 Bassekabaka 10:4-8) Teyagamba nti abaweereza ba Sulemaani baali beesiimye olw’okuba baali beetooloddwa ebintu ebirungi ennyo era eby’ebbeeyi—wadde nga bwe kityo bwe kyali. Mu kifo ky’ekyo, abaweereza ba Sulemaani baali beesiimye olw’okuba bulijjo baawulirizanga amagezi Katonda ge yali amuwadde. Nga Kabaka omukazi ow’e Seba assaawo ekyokulabirako ekirungi eri abantu ba Yakuwa leero, abawuliriza amagezi g’Omutonzi kennyini n’ag’Omwana we Yesu Kristo!
Ate era ekirala ekyewuunyisa, ky’ekyo Kabaka omukazi kye yaddako okugamba Sulemaani. Yamugamba nti: “Yakuwa Katonda wo atenderezebwe.” (1 Bassekabaka 10:9) Awatali kubuusabuusa, yakiraba nti Yakuwa ye yali awadde Sulemaani amagezi n’eby’obugagga ebyo. Ekyo kikwatagana n’ekyo Yakuwa kye yali asuubizza eggwanga lya Isirayiri emabegako. Yagamba nti: ‘Bwe munaatambuliranga mu makubo gange,’ “amawanga aganaawulira ebikwata ku biragiro bino byonna gajja kulaba amagezi gammwe n’okutegeera kwammwe era gajja kugamba nti, ‘Mazima ddala eggwanga lino eddene ggwanga lya bantu ab’amagezi era abategeevu.’”—Ekyamateeka 4:5-7.
Oli ‘Mugagga mu Maaso ga Katonda’?
Yakuwa bw’aba awa abantu be emikisa, bulijjo abawa ekisingayo okuba ekirungi. (Yakobo 1:17) Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yawa Abayisirayiri aw’okubeera, yabawa ‘ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’ Wadde ng’ensi y’e Misiri nayo yali eyogeddwako bw’etyo, waaliwo ekintu eky’enjawulo ensi Yakuwa gye yawa Abayisirayiri kye yali esinza Misiri. Musa yagamba Abayisirayiri nti eno yali “nsi Yakuwa Katonda wo gy’afaako.” Kwe kugamba, bandibadde bulungi olw’okuba Yakuwa yandibadde abalabirira. Abayisirayiri bwe baabeeranga abeesigwa eri Yakuwa, baafunanga emikisa mingi era ng’embeera y’obulamu bwabwe esingira wala ey’ab’amawanga gonna agaali gabeetoolodde. Mazima ddala, omukisa gwa Yakuwa gwe “gugaggawaza”!—Okubala 16:13; Ekyamateeka 4:5-8; 11:8-15.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Ekyamateeka
4:15-20, 23, 24—Etteeka erigaana okukola ekifaananyi ekyole ligaana omuntu okukola ekifaananyi kyonna ng’alina ekigendererwa eky’okukitimba? Nedda. Etteeka eryo lyali ligaana omuntu okukola ebifaananyi ng’alina ekigendererwa eky’okubikozesa mu kusinza, kwe kugamba, ‘okubivvunnamira n’okubiweereza.’ Ebyawandiikibwa tebigaana muntu kubajja, kubumba oba okusiiga ebifaananyi ng’alina ekigendererwa eky’okubitimba.—1 Bassekabaka 7:18, 25.
JJUUNI 14-20
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 5-6
“Yigiriza Abaana Bo Okwagala Yakuwa”
Abazadde, Mukole ku Byetaago by’ab’Omu Maka Gammwe
Ku nsonga eno, tutera okujuliza Ekyamateeka 6:5-7. Osabibwa okubikkula Bayibuli yo osome ennyiriri ezo. Weetegereze nti abazadde bakubirizibwa okusooka okukola ku byetaago byabwe eby’omwoyo, okwagala Yakuwa, n’okwesomesa Ekigambo kye. N’olwekyo, kikwetaagisa okunyiikira okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako osobole okukitegeera obulungi, era kikuyambe okwagala amakubo ga Yakuwa, emisingi gye n’amateeka ge. N’ekinaavaamu amazima g’oyiga okuva mu Bayibuli gajja kukuleetera essanyu era gakuleetere okutya Yakuwa n’okumwagala. Ojja kuba olina ebintu bingi eby’okuyigiriza abaana bo.—Lukka 6:45.
w07-E 5/15 lup. 15-16
Nnyinza Ntya Okuyamba Abaana Bange Okufuuka Abayigirize?
Ebiruubirirwa byo, enneeyisa yo, n’ebyo by’oyagala, tebyeyolekera mu ebyo by’oyogera byokka wabula ne mu ebyo by’okola. (Abaruumi 2:21, 22) Okuviira ddala mu buto, abaana bayiga nga beetegereza ebyo bazadde baabwe bye bakola. Abaana beetegereza ebyo bazadde baabwe bye batwala ng’ebisinga obukulu, era ebyo ebiseera ebisinga bye batwala ng’ebikulu mu bulamu bwabwe. Bw’oba nga ddala oyagala Yakuwa, abaana bo bajja kukiraba. Ng’ekyokulabirako, bajja kukiraba nti okusoma Bayibuli n’okwesomesa obitwala nga bikulu nnyo. Era bajja kukiraba nti okulembeza Obwakabaka mu bulamu bwo. (Matayo 6:33) Bw’onoofuba okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa, kijja kuyamba abaana bo okukiraba nti okuweereza Yakuwa kye kisinga obukulu mu bulamu bwo.—Matayo 28:19, 20; Abebbulaniya 10:24, 25.
Abazadde, Mukole ku Byetaago by’ab’Omu Maka Gammwe
Ng’Ekyamateeka 6:7 bwe walaga, waliwo ebiseera ebirala abazadde lwe muyinza okukubaganya ebirowoozo n’abaana bammwe ku bintu eby’omwoyo. Bwe muba mutambula, nga mulina emirimu gye mukola, oba nga muwumuddeko, musobola okukola ku byetaago by’abaana bammwe eby’omwoyo. Tekitegeeza nti buli lwe “mubayigiriza” mulina kuggyayo Bayibuli. Wabula bwe muba munyumya gezaako okwogera ku bintu ebizimba. Ng’ekyokulabirako, magazini ya Awake! eyogera ku bintu ebitali bimu. Musobola okukozesa ebintu ng’ebyo okunyumya ku bisolo Yakuwa bye yatonda, ebifo ebirabika obulungi, oba engeri abantu ab’omu nsi ez’enjawulo gye beeyisaamu. Emboozi ng’ezo ziyinza okuleetera abaana okwagala okusoma ebitabo ebituweebwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi.—Matayo 24:45-47.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okwagala n’Obwenkanya mu Isirayiri ey’Edda
Eby’okuyiga: Yakuwa talaba ekyo kyokka kye tuli kungulu. Alaba n’ekyo kye tuli munda. (1 Sam. 16:7) Tewali birowoozo, nneewulira, oba kikolwa kisobola kumukwekebwa. Atunoonyaamu ebirungi era atuyamba okubikola. Naye ayagala tumanye era tweggyemu ebirowoozo ebibi nga tebinnaba kutuleetera kukola bintu bibi.—2 Byom. 16:9; Mat. 5:27-30.
JJUUNI 21-27
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 7-8
“Tofumbiriganwanga Nabo”
w12-E 7/1 lup. 29 ¶2
Lwaki Katonda Yalagira Abaweereza Be Okuwasa oba Okufumbirwa Bakkiriza Bannaabwe Bokka?
Okusingira ddala, Yakuwa yali akimanyi nti Sitaani ayagala nnyo okwonoona abaweereza be ng’abaleetera okusinza bakatonda ab’obulimba. N’olwekyo, Katonda yalabula abaweereza be nti, abantu abatali bakkiriza “bajja kukyusa batabani bo balekere awo okungoberera era baweereze bakatonda abalala.” Ekyo kyandibaleetedde ebizibu bingi. Abayisirayiri bwe bandiweerezza bakatonda abalala, bandifiiriddwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa awamu n’obukuumi bwe, era kyandibadde kyangu abalabe baabwe okubalumba. Kati olwo eggwanga eryo lyandivuddemu litya Masiya eyasuubizibwa? Mu butuufu, Sitaani yalina ensonga lwaki yali ayagala okusendasenda Abayisirayiri okuwasa oba okufumbirwa abatali bakkiriza.
Kya Magezi Okuwasa oba Okufumbirwa “Mu Mukama Waffe Mwokka”?
Wadde kiri kityo, mu Kigambo kye, Yakuwa atulagira okuwasa oba okufumbirwa mu mukama waffe mwokka. Lwaki? Kubanga ayagaliza abaweereza be ekyo ekisingayo okuba ekirungi. Tayagala baweereza be bafune bulumi obuva mu kusalawo obubi, era ayagala babe basanyufu. Mu kiseera kya Nekkemiya, Abayudaaya bangi bwe baali bawasa era nga bafumbirwa abagwira abaali batasinza Yakuwa, Nekkemiya yabajjukiza ekyokulabirako ekibi Sulemaani kye yateekawo. Wadde nga Katonda yali ayagala nnyo Sulemaani, “abakazi abagwira baamuleetera okwonoona.” (Nek. 13:23-26) N’olwekyo, Yakuwa akimanyi nti singa abaweereza be bawasa oba bafumbirwa mu Mukama waffe mwokka, kijja kubaganyula nnyo. (Zab. 19:7-10; Is. 48:17, 18) Abakristaayo ab’amazima basiima nnyo amagazi Yakuwa g’abawa era beetegefu okugakolerako. Mu kukola batyo, baba bakiraga nti bakkirizza Yakuwa, Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, okuba Omufuzi waabwe.—Nge. 1:5.
Weegendereze Abo b’Ofuula Mikwano Gyo
Abakristaayo bonna, naddala abo abali obwannamunigina era nga baagala okuwasa oba okufumbirwa, basaanidde okwegendereza abo be bafuula mikwano gyabwe. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Temwegattanga wamu na batali bakkiriza. Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu? Oba ekitangaala n’ekizikiza bitabagana bitya?” (2 Kol. 6:14) Bayibuli eragira abaweereza ba Katonda okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka,” kwe kugamba, okuwasa oba okufumbirwa omuntu eyeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa era ng’atambuliza obulamu bwe ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. (1 Kol. 7:39) Bw’owasa oba bw’ofumbirwa omuntu ng’oyo ayagala Yakuwa, asobola okukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Yakuwa Atuwa Bye Twetaaga Buli Lunaku
Ate era, okusaba emmere eya buli lunaku kyanditujjukizza obwetaavu bwe tulina obw’emmere ey’eby’omwoyo eya buli lunaku. Wadde ng’enjala yali emuluma nnyo oluvannyuma lw’okumala ekiseera kiwanvu ng’asiiba, Yesu teyakkiriza kukola Sitaani kye yamugamba eky’okufuula amayinja emigaati. Yesu yamuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.’” (Matayo 4:4) Wano Yesu yali ajuliza ebigambo bya nnabbi Musa eyagamba Abayisirayiri nti: “[Yakuwa] yakutoowaza n’akuleka okulumwa enjala, n’akuliisa emmaanu, ggwe ne bakitaabo gye mwali mutamanyi, akuyigirize nti omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Ekyamateeka 8:3) Engeri Yakuwa gye yagabiramu Abayisirayiri emmaanu, yabasobozesa okufuna emmere era n’okuyiga ebintu eby’omwoyo. Ekisooka buli omu yalina ‘okukuŋŋaanya emmere emumala buli lunaku.’ Bwe baakuŋŋaanyanga emmere esukka mu y’olunaku olumu, eyafikkangawo yawunyanga era n’ejjamu envunyu. (Okuva 16:4, 20) Kyokka, ekyo tekyabangawo ku lunaku olw’omukaaga lwe bakuŋŋaanyanga emmere ekubisaamu eya bulijjo emirundi ebiri, basobole okubeera ne gye bandiridde ku Ssabbiiti. (Okuva 16:5, 23, 24) N’olwekyo, emmaanu yabajjukiza nti baalina okuba abawulize era nti obulamu bwabwe bwali tebwesigamye ku mmere yokka wabula ku “buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.”
JJUUNI 28–JJULAAYI 4
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 9-10
“Yakuwa Katonda Wo Akwetaaza Ki?”
w09-E 10/1 lup. 10 ¶3-4
Kiki Yakuwa ky’Atwetaaza?
Kiki ekyanditukubirizza okugondera Katonda kyeyagalire? Musa yatubuulira emu ku nsonga bwe yagamba nti: “Okutyanga Yakuwa Katonda wo.” (Ekyamateeka 10:12) Kuno si kutya okutuukibwako ebintu ebibi, wabula okussa ekitiibwa mu Katonda ne mu mateeka ge. Bwe tuba tutya Katonda tujja kwewala okukola ebintu ebimunyiiza.
Naye, kiki ekyandisinze okutukubiriza okugondera Katonda? Musa yagamba nti: ‘Oyagalanga [Yakuwa] era . . . oweerezanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna.’ (Ekyamateeka 10:12) Okwagala Katonda kisingawo ku kuba n’enneewulira. Ekitabo ekimu kigamba nti: “Ebigambo by’Olwebbulaniya ebitegeeza enneewulira ebiseera ebimu bitegeeza n’ebikolwa ebiva mu kuba n’enneewulira.” Ekitabo ekyo era kigamba nti okwagala Katonda kitegeeza “okweyisa mu ngeri eraga nti omwagala.” Mu ngeri endala, bwe tuba nga ddala twagala Katonda, tujja kukola ebyo ebimusanyusa.—Engero 27:11.
w09-E 10/1 lup. 10 ¶6
Kiki Yakuwa ky’Atwetaaza?
Bwe tuba abawulize tujja kufuna emikisa. Musa yagamba nti: ‘Okwatanga ebiragiro . . . bye nkulagira leero ku lw’obulungi bwo.’ (Ekyamateeka 10:13) Mu butuufu, buli kiragiro kya Yakuwa, kwe kugamba, buli kintu kyonna ky’atulagira okukola, tukikola ku lwa bulungi bwaffe. Lwaki kiri bw’ekityo? Bayibuli egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) N’olwekyo, atuwa amateeka ago olw’okuba ayagala tube n’obulamu obulungi. (Isaaya 48:17) Bwe tunaakola ebyo byonna Yakuwa by’atwetaaza tujja kwewala ebizibu bingi kati, era tujja kufuna emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso nga tufugibwa Obwakabaka bwe.
Ddala Oyinza ‘Okufuna Enkolagana Ennungi ne Katonda’?
Ibulayimu eyaliwo mu biseera ebyayita yalina enkolagana ng’eyo. Omusajja oyo ow’edda ennyo Yakuwa yamwogerako nga ‘mukwano gwe.’ (Isaaya 41:8) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yatwala Ibulayimu okuba mukwano gwe. Ibulayimu yalina enkolagana ennungi ne Katonda olw’okuba ‘yakkiririza mu Yakuwa.’ (Yakobo 2:23) Leero, Yakuwa ‘ayagala’ nnyo abo abamuweereza olw’okuba bamwagala. (Ekyamateeka 10:15) Ekigambo kye kitukubiriza nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Mu bigambo ebyo tukubirizibwa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era atusuubiza nti ajja kubeera mukwano gwaffe.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 103
Abaanaki
Baali bantu bawagguufu abaali babeera mu bitundu eby’ensozi eby’ensi ya Kanani, ne ku lubalama lw’ennyanja nnaddala mu bukiikaddyo. Waaliwo ekiseera abasajja basatu Abaanaki, kwe kugamba, Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi, we baabeerera mu Kebbulooni. (Kbl 13:22) Ekyo kye kiseera abakessi 12 Abebbulaniya we baalabira Abaanaki. Era abakessi 10 baawa bannaabwe amawulire amabi nga bagamba nti abasajja abo baali bazzukulu b’Abanefuli abaaliwo ng’Amataba tegannajja, era nti bwe beegeraageranya ku basajja abo babeera ‘ng’amayanzi’ gye bali. (Kbl 13:28-33; Ma 1:28) Olw’okuba baali bawagguufu nnyo abasajja abalala abawanvu baabageraageranyanga ku bo, gamba ng’Abeemi n’Abaleefa. Ate era, olw’okuba baali b’amaanyi nnyo ekyo kirabika kye kyavaawo olugero olugamba nti: “Ani ayinza okwaŋŋanga abaana ba Anaki?”—Ma 2:10, 11, 20, 21; 9:1-3.