LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr21 Jjulaayi lup. 1-13
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2021
  • Subheadings
  • JJULAAYI 5-11
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2021
mwbr21 Jjulaayi lup. 1-13

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

JJULAAYI 5-11

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 11-12

“Engeri Yakuwa gy’Ayagala Okusinzibwamu”

it-2-E lup. 1007 ¶4

Obulamu

Okuweereza n’Obulamu Bwo Bwonna. “Obulamu” kitegeeza omuntu yenna, nga bwe kiva okulagibwa. Naye ebyawandiikibwa ebimu bitukubiriza okunoonya, okwagala, era n’okuweereza Katonda ‘n’omutima gwaffe gwonna n’obulamu bwaffe bwonna’ (Ma 4:29; 11:13, 18), kyokka Ekyamateeka 6:5 wagamba nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna n’amaanyi go gonna.” Yesu yagamba nti, kikulu okuweereza Katonda n’obulamu bwo bwonna n’amaanyi go gonna, era yagattako nti, “n’amagezi go gonna.” (Mak 12:30; Luk 10:27) Ekyebuuzibwa kiri nti, lwaki ebintu ebyo byonna byogerwa wamu n’obulamu, ng’ate obulamu buzingiramu ebintu ebyo byonna? Okusobola okutegeera eky’okuddamu, lowooza ku kyokulabirako kino: Omuntu ayinza okwetunda (okutunda obulamu bwe) mu buddu, bw’atyo n’afuuka ekintu kya mukama we. Kyokka ayinza obutaweereza mukama we n’omutima gwe gwonna era ayinza obutayagala ku musanyusa, bwe kityo ayinza obutakozesa maanyi ge gonna oba amagezi ge gonna okukola ebyo mukama we by’ayagala. (Geraageranya Bef 6:5; Bak 3:22.) N’olwekyo, kirabika ebintu ebirala byogerwako tuleme okubyerabira era tubirowoozeeko nga tuweereza Katonda, atulinako obwannannyini era n’omwana we, eyatugula n’obulamu bwe. Okuweereza Katonda ‘n’obulamu bwaffe bwonna’ kizingiramu omuntu yenna, nga mw’otwalidde n’obusobozi bwe n’okwagala kwe, nga tewali kitundu kyonna kya mubiri kirekeddwayo.​—Geraageranya Mat 5:28-30; Luk 21:34-36; Bef 6:6-9; Baf 3:19; Bak 3:23, 24.

it-1-E lup. 84 ¶3

Ekyoto

Abayisirayiri baalagirwa okumenyaamenya ebyoto by’abakaafiiri era n’okubetenta empagi n’ebikondo ebyazimbibwanga okumpi n’ebyoto ebyo. (Kuv 34:13; Ma 7:5, 6; 12:1-3) Tebaalina ku bakoppa oba okwokya abaana baabwe mu muliro, ng’Abakanani bwe baakolanga. (Ma 12:30, 31; 16:21) Mu kifo ky’okuba n’ebyoto ebingi, Abayisirayiri baalina okuba n’ekyoto kimu kye bandikozesezza mu kusinza Katonda omu ow’amazima, era kyali kya kubeera mu kifo Yakuwa kye yandironze. (Ma 12:2-6, 13, 14, 27; kigeraageranye ne Babulooni, awaali ebyoto 180 ebya katonda omukazi ayitibwa Ishtar yekka.) Mu kusooka baalagirwa okuzimba ekyoto n’amayinja agataali mateme oluvannyuma lw’okusomoka Omugga Yoludaani (Ma 27:4-8), era Yoswa ye yazimba ekyoto ekyo ku Lusozi Ebali. (Yos 8:30-32) Oluvannyuma lw’okugabanyamu Ensi Ensuubize mu bika by’Abayisirayiri, ab’ekika kya Lewubeeni n’ekya Gaadi era n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase baazimba ekyoto ekinene ennyo ku ludda lwa Yoludaani. Ekyoto ekyo kyaleetawo obutategeeregana wakati waabwe n’ebika ebirala, okutuusa ebika ebirala lwe byakakasa nti ekyoto ekyo kyali tekiraga nti baali bavudde ku Yakuwa, wabula kyali kya kuba kijjukizo nti bajja kuba beesigwa eri Yakuwa Katonda ow’Amazima.​—Yos 22:10-34.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 925-926

Gerizimu, Olusozi

Nga bakolera ku bulagirizi Musa bwe yabawa, Yoswa yalagira ebika bya Isirayiri okukuŋŋaanira mu maaso g’OLusozi Gerizimu n’Olusozi Ebali, nga waakayita ekiseera kitono oluvannyuma lw’okuwangula Ayi. Nga bali eyo, abantu baawulira emikisa gye bandifunye bwe bandigondedde Yakuwa nga gisomebwa era n’ebikolimo bye bandifunye bwe bandimujeemedde. Ab’ekika kya Simiyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, Yusufu, ne Benyamini baayimirira mu maaso g’Olusozi Gerizimu. Abaleevi ne ssanduuko ey’endagaano baayimirira mu kiwonvu, ate ebika ebirala omukaaga byayimirira mu maaso g’Olusozi Ebali. (Ma 11:29, 30; 27:11-13; Yos 8:28-35) Kirabika ebika ebyayimirira mu maaso g’Olusozi Gerizimu bye byaddangamu ng’emikisa gisomebwa ku ludda lwabwe, ate ebika ebirala ebyayimirira ku Lusozi Ebali, bye byaddangamu ng’ebikolimo bisomebwa ku ludda lwabwe. Wadde nga kigambibwa nti emikisa gyasomebwa nga bayima ku Lusozi Gerizimu olw’okuba lwali lulabika bulungi era nga lugimu, okwawukana ku Lusozi Ebali olwaliko enjazi era nga si lugimu, Bayibuli terina ky’eyogera ku nsonga eyo. Amateeka gaasomebwa “mu ddoboozi ery’omwanguka mu maaso g’ekibiina kya Isirayiri kyonna, omwali abakazi, abaana abato, n’abagwira abaali babeera mu bo.” (Yos 8:35) Abantu abo abaali abangi baali basobola okuwulira ebigambo ebisomebwa nga bali mu maaso g’ensozi zombi. Kirabika ekyo kyali kisoboka olw’okuba mu kifo ekyo tewaaliwo bintu biziyiza maloboozi.​—Laba EBALI, OLUSOZI.

JJULAAYI 12-18

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 13-15

“Engeri Amateeka Gye Gaalagamu nti Yakuwa Afaayo ku Baavu”

it-2-E lup. 1110 ¶3

Ekimu eky’Ekkumi

Kirabika waaliwo ekimu eky’ekkumi ekirala, eky’okubiri, ekyakuŋŋanyizibwanga buli mwaka naye nga si kya kuwagira mirimu gya bwa kabona, wadde ng’Abaleevi baaweebwangako. Okusingira ddala kyakozesebwanga Abayisirayiri bwe baabanga bakuŋŋaanye ku mbaga. Omuntu bwe yabanga tasobola kwettika kimu kya kkumi, olw’okuba yabanga alina okutambula olugendo luwanvu nnyo okutuuka e Yerusaalemi, yakitundanga n’afunamu ssente era ssente ezo n’azikozesa ng’ali mu Yerusaalemi okuyimirizaawo ab’omu maka ge, basobole okunyumirwa olukuŋŋaana olutukuvu olwabangayo. (Ma 12:4-7, 11, 17, 18; 14:22-27) Oluvannyuma, ku nkomerero ya buli omwaka ogw’okusatu n’ogw’omukaaga buli luvannyuma lw’emyaka musanvu, ekimu eky’ekkumi ekyo mu kifo ky’okukikozesa ku nkuŋŋaana ennene kyaweebwanga Abaleevi, abagwira, bannamwandu, n’abaana abataalina bakitaabwe.​—Ma 14:28, 29; 26:12.

it-2-E lup. 833

Omwaka gwa Ssabbiiti

Omwaka gwa Ssabbiiti gwali guyitibwa “omwaka ogw’okusumululiramu [hash·shemit·tahʹ].” (Ma 15:9; 31:10) Mu mwaka ogwo ettaka tebaalirimangako, baalirekanga ne liwummula oba baalisumululanga. (Kuv 23:11) Ate era, waabangawo n’okuwummuza amabanja oba okusumulula amabanja. Kwabanga ‘kumusumulula ku lwa Yakuwa,’ olw’okumuwa ekitiibwa. Wadde ng’abalala balina endowooza ey’enjawulo, abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti amabanja tegaasazibwangamu naye nti oyo eyabanga abanja teyalinanga kubanja Mwebbulaniya munne, kubanga mu mwaka ogwo teyabanga na birime bya kutunda; naye yabanga asobola okubanja omugwira. (Ma 15:1-3) Balabbi abamu bagamba nti amabanja agaabanga gawoleddwa ow’oluganda omwavu gaasazibwangamu, naye nti amabanja agaabanga gawoleddwa olwa bizineesi gaagwanga mu kiti kya njawulo. Ate era, bagamba nti mu kyasa ekyasooka Embala Eno, Hillel yatandikawo enkola ey’omuntu eyabanga awoze omulala okugenda mu kooti n’abaako by’ayogera bibeere omusingo ebbanja lye lisobole okusasulwa.​—The Pentateuch and Haftorahs, edited by J. Hertz, London, 1972, lup. 811, 812.

it-2-E lup. 978 ¶6

Omuddu

Amateeka agakwata ku muddu ne mukama we. Mu Isirayiri embeera y’omuddu Omwebbulaniya yabanga ya njawulo ku mbeera y’omuddu omugwira, munnagwanga, oba omusenze eyabeeranga mu bo. Omuddu ataali Mwebbulaniya yabanga muddu wa mukama we lubeerera era yabanga asobola okusikirwa okuva ku taata okudda ku mwana (Lev 25:44-46), naye omuddu Omwebbulaniya yabanga alina okuteebwa mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obuweereza bwe oba mu mwaka gwa Jjubiri. Omuddu Omwebbulaniya yalinanga okutwalibwa ng’omupakasi. (Kuv 21:2; Lev 25:10; Ma 15:12) Omwebbulaniya eyeetundanga mu buddu eri omugwira, eri ab’eŋŋanda z’omugwira oba eri omusenze, yabanga asobola okununulibwa ekiseera kyonna. Ye kennyini yabanga asobola okwenunula oba yabanga asobola okununulibwa omuntu yenna eyabanga n’obuyinza okumununula. Ssente ez’okumununula zaabanga zisinziira ku myaka egyabanga gusigaddeyo okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri oba okutuuka ku mwaka ogw’omusanvu ogw’obuweereza bwe. (Lev 25:47-52; Ma 15:12) Omuddu Omwebbulaniya bwe yaweebwanga eddembe lye, mukama we yamuwanga ekirabo asobole okubaako watandikira. (Ma 15:13-15) Omuddu bwe yabanga yajja ne mukazi we, mukazi we yagendanga naye. Kyokka, mukama we bw’aba nga ye yamuwa omukazi (kirabika omukazi omugwira ataalinanga kuweebwa ddembe mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obuweereza bwe), omukazi oyo n’abaana be baasigalanga nga ba mukama we. Mu mbeera ng’eyo omuddu Omwebbulaniya yabanga asobola okusalawo okusigala ne mukama we. Okutu kwe kwawummulwanga n’olukato okulaga nti ajja kusigala ng’aweereza mukama we obulamu bwe bwonna.​—Kuv 21:2-6; Ma 15:16, 17.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06-E 4/1 lup. 31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Biki kye tuyigira ku tteeka eriri mu Okuva 23:19 erigamba nti: “Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina waagwo”?

Etteeka lino erisangibwa mu Mateeka ga Musa, erirabika emirundi essatu mu Bayibuli, lisobola okutuyamba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku kisaana n’ekitasaana, obusaasizi bwe, era n’ekisa kye. Ate era, liraga nti Yakuwa akyayira ddala okusinza okw’obulimba.​—Okuva 34:26; Ekyamateeka 14:21.

Okufumbira omwana gw’embuzi oba omwana gw’ensolo endala yonna mu mata ga nnyina waagwo, kikontana n’engeri Yakuwa gye yategekamu ebintu. Katonda yawa omwana gw’ensolo amata ga nnyina waagwo gaguyambe okukula obulungi. Omwekenneenya omu owa Bayibuli yagamba nti, okufumbira omwana gw’ensolo mu mata ga nnyina waagwo, kyandibadde kiraga “okunnyooma enkolagana Katonda gye yateekawo wakati w’omuzadde n’omwana era n’agitukuza.”

Ate era, abamu bagamba nti okufumbira omwana gw’ensolo mu mata ga nnyina waagwo, kayinza okuba nga kaali kalombolombo akaakolebwanga abakaafiiri okusobola okuleeta enkuba. Bwe kiba nti ekyo kyali kituufu, etteeka eryo lyandiyambye Abayisirayiri obutakoppa bulombolombo bw’amadiini ag’obulimba obwakolebwanga amawanga agaali gabeetoolodde. Mu butuufu, Amateeka ga Musa gaagaana Abayisirayiri okutambulira mu mateeka g’amawanga ago.​—Eby’Abaleevi 20:23.

N’ekisembayo, tulaba obusaasizi bwa Yakuwa mu tteeka eryo. Mu butuufu, Amateeka gaalimu amateeka agawerako, agafaananako etteeka eryo agaagaananga abantu okuyisa obubi ensolo era n’okukola ebintu mu ngeri eyawukana ku ngeri Katonda gye yategekamu ebintu. Ng’ekyokulabirako, Amateeka gaalimu etteeka erigaana okusaddaaka ensolo eyabanga tennaweza nnaku musanvu, okusaddaaka ensolo n’omwana gwayo ku lunaku lwe lumu, era n’okutwala ekinyonyi n’amagi gaakyo oba n’obwana bwakyo.​—Eby’Abaleevi 22:27, 28; Ekyamateeka 22:6, 7.

Mu butuufu, Amateeka tegaalimu bubeezi biragiro, wabula emisingi egigalimu gituyamba okumanya emitindo gya Yakuwa egikwata ku mpisa egyoleka engeri ze ennungi.​—Zabbuli 19:7-11.

JJULAAYI 19-25

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 16-18

“Emisingi egy’Okugoberera Okusobola Okusala Emisango mu Butuukirivu”

it-1-E lup. 343 ¶5

Okuziba Amaaso

Omuntu okusala omusango mu ngeri etali ya bwenkanya kyali kikiikirirwa okuziba amaaso, era Amateeka gaalimu ebiragiro ebigaana okulya enguzi, okuweebwa ebirabo, oba okusosola, kubanga ebintu ebyo byali biyinza okuziba amaaso g’omulamuzi n’asala omusango mu ngeri etali ya bwenkanya. “Enguzi eziba amaaso g’abantu abalaba obulungi.” (Kuv 23:8) “Enguzi eziba amaaso g’abantu ab’amagezi.” (Ma 16:19) Omulamuzi ne bw’aba mulungi oba mutegeevu kwenkana wa, abo abali mu musango gw’asala bwe bamuwa ebirabo, bisobola okumulemesa okusala omusango mu ngeri ey’obwenkanya, k’abe ng’akigenderedde oba nedda. Amateeka ga Katonda gaalaga nti ng’oggyeeko ebirabo, omuntu asobola n’okutwalirizibwa enneewulira. Ekyo kiragibwa mu tteeka erigamba nti: “Temusalanga musango mu ngeri etali ya bwenkanya. Teweekubiiranga ku ludda lw’omwavu oba olw’omugagga.” (Lev 19:15) N’olwekyo, omulamuzi teyalina kusalira mugagga musango ng’asinziira ku nneewulira ye oba olw’okwagala okuganja eri abantu.​—Kuv 23:2, 3.

it-2-E lup. 511 ¶7

Nnamba

Bbiri. Nnamba bbiri etera okukozesebwa ku bintu ebikwatagana n’amateeka. Abajulizi ababiri bye boogera bwe biba nga bikwatagana obujulizi obwo buba butuufu. Abajulizi babiri oba basatu be babanga beetaagisa okusobola okutwala ensonga mu maaso g’abalamuzi. Omusingi ogwo gugobererwa ne mu kibiina Ekikristaayo. (Ma 17:6; 19:15; Mat 18:16; 2Ko 13:1; 1Ti 5:19; Beb 10:28) Katonda yagoberera omusingi ogwo bwe yali awaayo omwana we okununula abantu. Yesu yagamba nti: “Kyawandiikibwa ne mu Mateeka gammwe nti: ‘Obujulirwa obw’abantu ababiri buba bwa mazima.’ Nze nneewaako obujulirwa, era ne Kitange eyantuma naye ampaako obujulirwa.”​—Yok 8:17, 18.

it-2-E lup. 685 ¶6

Kabona

Bakabona okusingira ddala be baalina enkizo ey’okunnyonnyola amateeka ga Katonda, era be baalina obuvunaanyizibwa obusinga obunene mu kusala emisango mu Isirayiri. Mu bibuga ebyabaweebwa, bakabona baabeerangawo okuyamba abalamuzi era baakoleranga wamu n’abalamuzi okusala emisango egyabanga emizibu ennyo, egyabanga giremereddwa kooti. (Ma 17:8, 9) Bakabona n’abakadde baalinanga okubeerangawo ng’emisango egikwatagana n’okutta egyabanga gitagonjooleddwa gisalibwa, basobole okukakasa nti engeri entuufu ey’okusalamu emisango egyo egobererwa, omusango ogw’okuyiwa omusaayi gusobole okuggibwa ku kibuga. (Ma 21:1, 2, 5) Omusajja ow’obuggya bwe yalumirizanga mukyala we nti ayenze mu kyama, omukazi oyo yaleetebwanga ku weema entukuvu, oluvannyuma kabona yakolanga omukolo ogwalagirwa mu mateeka, Yakuwa asobole okubalaga obanga omukazi oyo yazza omusango oba nedda. (Kbl 5:11-31) Ebyo ebyabanga bisaliddwawo bakabona oba abalamuzi byalinanga okussibwamu ekitiibwa; omuntu yenna eyanyoomanga mu bugenderevu ensala y’omusango oba eyagaananga okugigoberera yattibwanga.​—Kbl 15:30; Ma 17:10-13.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 787

Okugoba

Okusinziira ku Mateeka, ekibonerezo eky’okugoba omuntu okusobola okusibwa mu nkola waalinanga okubeerawo obujulizi bwa bantu babiri. (Ma 19:15) Abajulizi abo be baalinanga okusooka okukuba amayinja omuntu eyabanga azizza omusango. (Ma 17:7) Ekyo kyandibadde kiraga nti baagala nnyo amateeka ga Katonda era n’okukuuma ekibiina kya Isirayiri nga kiyonjo. Ate era, kyandibadde kiziyiza abantu okuwa obujulizi obw’obulimba oba okumala gawa bujulizi nga tebasoose kulowooza.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

it-2-E lup. 519 ¶4

Kkooti, Okulamula

Ekibiina Ekikristaayo. Wadde ng’ekibiina Ekikristaayo tekirina buyinza ng’obwa kooti, kisobola okutereeza ab’oluganda abatatambula bulungi mu by’omwoyo ababa beetaaga okukangavvula era kisobola n’okubagoba mu kibiina. N’olwekyo, omutume Pawulo yagamba ekibiina, kwe kugamba, abo abatwala obukulembeze mu kibiina nti balina okusala emisango egiri mu kibiina. (1Ko 5:12, 13) Omutume Pawulo n’omutume Peetero bwe baali bawandiikira ebibiina n’abalabirizi, bombi baakiraga bulungi nti abakadde basaanidde okulabirira ekibiina mu by’omwoyo era nti basaanidde okuyamba omuntu yenna ab’akutte ekkubo ekyamu. (2Ti 4:2; 1Pe 5:1, 2; geraageranya Bag 6:1.) Abo abaleetawo enjawukana mu kibiina oba abeekutulamu obubiina basaanidde okulabulwa omulundi ogusooka n’ogw’okubiri ng’ekibiina tekinnabaako kye kikolawo. (Tit 3:10, 11) Naye abo abeeyongera okukola ebibi balina okuggibwa oba okugobebwa mu kibiina. Okwo kuba kukangavvula okulaga aboonoonyi nti okukola ebibi tekukkirizibwa mu kibiina. (1Ti 1:20) Omutume Pawulo yalagira abasajja mu kibiina abalina obuvunaanyizibwa okukola ng’abalamuzi bakole ku nsonga ng’ezo. (1Ko 5:1-5; 6:1-5) Bakkiriza ebivunaanibwa omuntu nti bituufu nga waliwo abajulizi babiri oba basatu, era obujulizi obwo babwekenneenya awatali kusaliriza era nga tebaliiko kyekubiira.​—1Ti 5:19, 21.

JJULAAYI 26–AGUSITO 1

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 19-21

“Obulamu bw’Abantu Bwa Muwendo eri Yakuwa”

w17.11 lup. 14 ¶4

Ba Mwenkanya era Musaasizi nga Yakuwa

Ebibuga omukaaga eby’okuddukiramu byali byangu okutuukamu. Yakuwa yalagira Abayisirayiri okugabanyaamu ebibuga ebyo kyenkanyi ku njuyi zombi ez’Omugga Yoludaani. Lwaki? Ekyo kyandisobozesezza omuntu ayagala okuddukirayo okwanguyirwa okutuukayo. (Kubal. 35:11-14) Enguudo ezaali zigenda mu bibuga ebyo zaakuumibwanga nga ziri mu mbeera nnungi. (Ma. 19:3) Okusinziira ku bitabo ebyogera ku byafaayo by’Abayudaaya, ku nguudo kwabangako obupande obuyamba abantu okumanya engeri y’okutuuka mu bibuga ebyo. Olw’okuba waaliwo ebibuga eby’okuddukiramu, kyayamba omuntu eyabanga asse omuntu mu butanwa obutaddukira mu nsi ndala, oboolyawo gye yandyenyigidde mu kusinza okw’obulimba.

w17.11 lup. 15 ¶9

Ba Mwenkanya era Musaasizi nga Yakuwa

Ensonga enkulu eyateekesaawo ebibuga eby’okuddukiramu kwe kukuuma Abayisirayiri obutabaako musango gwa kuyiwa musaayi. (Ma. 19:10) Yakuwa ayagala obulamu era akyayira ddala “emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango.” (Nge. 6:16, 17) Olw’okuba Katonda mwenkanya era mutukuvu, yali tasobola kubuusa maaso n’omusaayi ogwabanga guyiiriddwa mu butanwa. Kyo kituufu nti oyo eyattanga omuntu mu butanwa yalagibwanga ekisa. Wadde kyali kityo, yalina okusooka okutuukirira abakadde n’abategeeza ensonga ye, era bwe baakizuulanga nti ddala omuntu yali amusse mu butanwa yalinanga okusigala mu kibuga eky’okuddukiramu okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa. Ekyo kitegeeza nti oluusi kyabanga kyetaagisa omuntu oyo okubeera mu kibuga ekyo ebbanga lyonna ery’obulamu bwe eryali lisigaddeyo. Ekyo kyayamba Abayisirayiri okukiraba nti obulamu bw’omuntu Yakuwa abutwala nga butukuvu. Okusobola okulaga nti bassa ekitiibwa mu Yakuwa, Ensibuko y’Obulamu, Abayisirayiri baalina okwewala okukola ekintu kyonna ekyandiviiriddeko omuntu okufa.

it-1-E lup. 344

Omusaayi

Omuntu alina eddembe ery’okunyumirwa obulamu Katonda bwe yamuwa, era omulala yenna abumuggyako aba avunaanibwa eri Katonda. Ekyo kyeyoleka bulungi Katonda bwe yagamba Kayini omutemu nti: “Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.” (Lub 4:10) N’omuntu akyawa muganda we era ng’amwagaliza kufa, oba amuwaayiriza oba amuwaako obujulizi obw’obulimba, bw’atyo n’ateeka obulamu bwa muganda we mu kabi aba yeereetako omusango gw’okuyiwa omusaayi gwa muganda.​—Lev 19:16; Ma 19:18-21; 1Yo 3:15.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 518 ¶1

Kkooti, Okulamula

Kkooti yabeeranga ku mulyango gw’ekibuga. (Ma 16:18; 21:19; 22:15, 24; 25:7; Lus 4:1) “Omulyango” kitegeeza ekibangirizi ekyabanga munda w’ekibuga okumpi n’omulyago. Abantu baakuŋŋaaniranga ku miryango gy’ebibuga ne basomerwa Amateeka n’ebiragiro. (Nek 8:1-3) Kyabanga kyangu okufuna abajulizi ku mulyango gw’ekibuga abaabanga beetaagibwa mu misango gy’engassi, gamba ng’okutunda ettaka n’ebirala, kubanga abantu bangi baayingiranga era ne bafulumira mu mulyango gw’ekibuga emisana. Ate era, olw’okuba waabangawo abantu bangi ng’emisango giwozesebwa ku miryango kyayambanga abalamuzi okusala emisango mu ngeri ey’obwenkanya. Kirabika waabangawo ekifo ekirungi okumpi n’omulyango gw’ekibuga abalamuzi we baatuulanga. (Yob 29:7) Samwiri yagendanga e Beseri, e Girugaali, ne Mizupa era “yalamuliranga Isirayiri mu bifo ebyo byonna,” ate era ne mu Laama awabeeranga ennyumba ye.​—1Sa 7:16, 17.

AGUSITO 2-8

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 22-23

“Engeri Amateeka Gye Gaalagamu nti Yakuwa Afaayo ku Bisolo”

it-1-E lup. 375-376

Omugugu

Mu biseera eby’edda, ensolo zaakozesebwanga okwetikka emigugu, era Katonda yagamba Abayisirayiri nti bwe basanganga endogoyi y’omuntu atabaagala ng’egudde n’omugugu gwayo tebaalinanga kugiyitako, wabula baalinanga ‘okugiggyako omugugu.’ (Kuv 23:5) Obuzito ensolo bwe yeetikka buyitibwa omugugu.

it-1-E lup. 621 ¶1

Ekyamateeka

Okusinziira ku kitabo ky’Ekyamateeka, ensolo nazo zaalina okufiibwako. Abayisirayiri baagaanibwa okutwala ekinyonyi ekyabanga kitudde mu kisu kyakyo. Olw’okuba kyabanga kirina okukuuma obwana bwakyo, obulamu bwakyo bwabanga mu kabi. Baalinanga okukireka kigende, naye obwana bwakyo baabanga basobola okubutwala. Ekinyonyi ekyo kyabanga kisobola okuddamu okuzaala obwana obulala. (Ma 22:6, 7) Omulimi teyakkirizibwanga kulimisa nte ng’eri wamu n’endogoyi, ensolo ennafu ereme okukosebwa. (Ma 22:10) Ente teyalinanga kusibibwa mumwa gwayo ng’ewuula, ereme okulumwa enjala ng’emmere egiri kumpi ate ng’ekozesa amaanyi gaayo okugiwuula.​—Ma 25:4.

w03-E 10/15 lup. 32 ¶1-2

“Temwegattanga Wamu na Batali Bakkiriza”

NGA bw’olaba wano, eŋŋamira n’ente ebirima biri mu bulumi. Ekikoligo ekisibiddwa ku nsolo ezo​—ekirina okusibibwa ku nsolo ezenkana obunene n’amaanyi​—kireetera ensolo ezo zombi okuba mu bulumi. Olw’okuba Katonda afaayo ku mbeera ye nsolo ng’ezo, yagamba Abayisirayiri nti: “Tolimisanga nte ng’eri wamu n’endogoyi.” (Ekyamateeka 22:10) Omusingi ogwo gukola ne ku nte eba esibiddwa awamu ne ŋŋamira okulima.

Mu mbeera eza bulijjo, omulimi tatera kukola kintu ng’ekyo. Naye singa aba talina nte bbiri, ayinza okusiba ekikoligo ku nsolo endala ebbiri z’aba alina. Kirabika, ekyo omulimi eyaliwo mu kyasa eky’ekkumi n’omwendo alagiddwa mu kifaananyi kye yasalawo okukola. Olw’okuba tezenkana bunene na buzito, ensolo ennafu eba erina okufuba ennyo okusobola okutambulira awamu n’ey’amaanyi, ate ey’amaanyi eba erina omugugu omuzito ennyo gw’esika.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 600

Ebbanja, Eyeewola

Ebbanja litegeeza ekyo ekyawolebwa, ekiteekeddwa okusasulwa oba okukolebwa. Mu Isirayiri ey’edda, okusingira ddala abantu beewolanga olw’obutaba bulungi mu bya nfuna. Omuyisirayiri bwe yeewolanga yabanga ayolekedde obuzibu; olw’okuba oyo eyeewola aba muddu w’oyo amuwola. (Nge 22:7) N’olwekyo, Katonda yalagira abantu be okuba abagabi era n’okuwolanga Bayisirayiri bannaabwe abaabanga mu bwetaavu, naye nga tebabaggyako magoba. (Kuv 22:25; Ma 15:7, 8; Zb 37:26; 112:5) Naye baabanga basobola okuggya amagoba ku mugwira. (Ma 23:20) Abeekenneenya ba Bayibuli Abayudaaya bagamba nti amagoba gaggibwanga ku ssente ezawolebwanga olwa bizineesi, so si ku ezo ezawolebwanga omuntu eyabanga mu bwetaavu. Ebiseera ebisinga abagwira baabeeranga mu Isirayiri okumala ekiseera kitono, ng’abasinga baabanga basuubuzi, era baabanga basuubirwa okusasula amagoba okuva bwe kiri nti nabo be baawolanga baabaggyangako amagoba.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

g-E 4/15 lup. 13

Ddala kikyamu okutta ebisolo?

ABANTU KYE BAGAMBA Abayizzi abamu era n’abavubi abamu batta ebisolo ng’omuzannyo oba olw’okwagala okwesanyusaamu obwesanyusa. Abalala bayinza okukkiriziganya n’omuwandiisi w’ebitabo Omulasa ayitibwa Leo Tolstoy, eyagamba nti okutta n’okulya ebisolo “kibi.”

BAYIBULI KY’EGAMBA Katonda akkiriza abantu okutta ebisolo olw’okukuuma obulamu bw’abantu oba olw’okufuna eky’okwambala. (Okuva 21:28; Makko 1:6) Ate era, Bayibuli egamba nti abantu basobola okutta ebisolo okusobola okufuna eky’okulya. Olubereberye 9:3 wagamba nti: “Buli nsolo ennamu etambula eneebanga kya kulya gye muli.” Ne Yesu yayambako abayigirizwa be okuvuba ebyennyanja oluvannyuma ne babirya.​—Yokaana 21:4-13.

Wadde kiri kityo, Bayibuli egamba nti Katonda “akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.” (Zabbuli 11:5) N’olwekyo, Katonda tayagala tutuuse kabi ku nsolo oba tuzitte olw’okwesanyusaamu obwesanyusa oba ng’omuzannyo.

Bayibuli eraga nti Katonda atwala obulamu bw’ensolo nga bwa muwendo.

• Bayibuli egamba nti mu kiseera eky’okutonda, ‘Katonda yakola ensolo ez’omu nsiko okusinziira ku bika byazo, n’ensolo ez’awaka okusinziira ku bika byazo, n’ensolo zonna ezeewalula ku ttaka okusinziira ku bika byazo. Katonda n’alaba nga kirungi.’​—Olubereberye 1:25.

• Bayibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa: “Awa ensolo emmere.” (Zabbuli 147:9) Katonda yatonda ebimera nga bisobola okuba emmere eri ebisolo era nga bisobola n’okuba ekifo ky’ebisolo eky’okubeeramu.

• Kabaka Dawudi owa Isirayiri yasaba nti: “Ai Yakuwa, okuuma abantu n’ensolo.” (Zabbuli 36:6) Ng’ekyokulabirako, mu kiseera ky’Amataba Yakuwa yawonyaawo abantu munaana awamu n’ebika byonna eby’ebisolo bwe yali azikiriza abantu ababi.​—Olubereberye 6:19.

Mu butuufu, Yakuwa ayagala nnyo ebisolo era ayagala abantu babiyise bulungi.

“Omutuukirivu alabirira ebisolo bye.”​—Engero 12:10.

AGUSITO 9-15

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 24-26

“Engeri Amateeka Gye Gaalagamu nti Yakuwa Afaayo ku Bakazi”

it-2-E lup. 1196 ¶4

Omukazi

Ne mu mateeka agakwata ku magye omwami n’omukyala baali bafiibwako, mu ngeri nti omusajja bwe yabanga yaakawasa teyaweerezanga mu magye okumala omwaka mulamba. Ekyo kyawanga abafumbo abaabanga baakafumbiriganwa omukisa gw’okuzaala omwana, ekyandireetedde omukazi oyo okubudaabudibwa ennyo ng’omusajja agenze, era n’okusingawo ng’afiiridde mu lutalo.​—Ma 20:7; 24:5.

it-1-E lup. 963 ¶2

Okulonderera

Wadde ng’enteekateeka eno ennungi eyayambanga abantu abaavu yakubirizanga abantu okuba abagabi, obuteefaako bokka, era n’okwesiga Yakuwa nti ajja kubawa emikisa, teyaleeteranga bantu kuba bagayaavu. Ekyo kiggyayo bulungi ebigambo bya Dawudi ebigamba nti: “Sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa, wadde abaana be nga basabiriza emmere.” (Zb 37:25) Abaavu bwe baagobereranga enteekateeka eyo eyali mu Mateeka, era ne bateekamu n’okufuba, tebaalumwanga njala, era bo n’abaana baabwe tebaasabirizanga.

w11-E 3/1 lup. 23

Obadde Okimanyi?

Mu Isirayiri ey’edda, omusajja bwe yafa nga tazadde mwana wa bulenzi, muganda we yalinanga okuwasa nnamwandu w’omusajja oyo asobole okuzaalira muganda we ezzadde, erinnya ly’omusajja oyo eyafa lireme kusaanawo. (Olubereberye 38:8) Enteekateeka eyo oluvannyuma eyateekebwa mu Mateeka ga Musa, yali emanyiddwa ng’ekyo muganda wa bba ky’asaanidde okukola. (Ekyamateeka 25:5, 6) Ekyo Bowaazi kye yakola ekyogerwako mu kitabo kya Luusi, kiraga nti enteekateeka eyo yali esobola okutuukirizibwa n’abasajja abalala ab’eŋŋanda z’omusajja oyo eyafa, baganda be bonna bwe baba nga baafa.​—Luusi 1:3, 4; 2:19, 20; 4:1-6.

Okuba nti Abasaddukaayo baayogera ku bufumbo obw’ekyo muganda wa bba ky’asaanidde okukola mu Makko 12:20-22, kiraga nti bwakolebwanga ne mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi. Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Flavius Josephus eyaliwo mu kyasa ekyasooka yagamba nti enkola eyo teyakoma ku kukuuma linnya lya musajja eyabanga afudde kyokka, naye era yayambanga ebintu omusajja oyo bye yabanga alina okusigala mu kikka kye era ne nnamwandu okulabirirwa obulungi. Mu biseera eby’edda, omukazi teyabanga na buyinza kusikira bintu bya bba. Kyokka, omwana gwe yazaalanga mu muganda wa bba yabanga asobola okusikira ebintu eby’omusajja oyo eyafa.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 640 ¶5

Okugattululwa

Ebbaluwa ey’Okugattululwa. Tekisaanidde kutwalibwa nti etteeka eryawanga abasajja eddembe okugoba bakazi baabwe lyakifuulanga kyangu eri omusajja Omuyisirayiri okugattululwa ne mukazi we. Omusajja okusobola okugattululwa ne mukazi we waaliwo emitendera egyali mu mateeka gye yabanga alina okugoberera. Kyali kimwetaagisa okuwandiikira omukazi “ebbaluwa eraga nti amugobye.” Yalinanga ‘okugimukwasa n’amugoba mu nnyumba ye.’ (Ma 24:1) Wadde nga Bayibuli teyogera bingi bikwata ku mutendera ogwo, kirabika omutendera ogwo gwali guzingiramu okwebuuza ku basajja abaalina obuyinza, abayinza okuba nga baasookanga kumugamba atabagane ne mukazi we. Ebiseera ebyali bizingirwa mu kuwandiika ebbaluwa ey’okugattululwa mu mateeka, byawanga akakisa omusajja eyabanga ayagala okugoba mukazi we okuddamu okulowooza ku ekyo kye yabanga asazeewo. Waali walina okubaawo ensonga esinziirwako okugattululwa, era emitendera gyonna bwe gyagobererwanga kyayambanga abantu obutayanguyiriza kugattululwa. Ate era, ekyo kyakuumanga eddembe ly’omukazi n’obulamu bwe. Ebyawandiikibwa tebyogera ku ebyo ebyabanga mu ‘bbaluwa eraga nti omusajja agobye mukazi we.’

AGUSITO 16-22

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 27-28

“Emikisa Gino Gyonna Gijja Kukujjira”

w10 12/15 lup. 19 ¶18

Funa Emikisa Okuyitira mu Kabaka Akulemberwa Omwoyo gwa Katonda!

Okuwuliriza kizingiramu okutwala ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda awamu n’emmere ey’eby’omwoyo gy’atuwa nga bikulu nnyo. (Mat. 24:45) Era kizingiramu okugondera Katonda n’Omwana we. Yesu yagamba nti: “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.” (Mat. 7:21) Era okuwuliriza Katonda kizingiramu okugondera enteekateeka gy’ataddewo, ekibiina Ekikristaayo awamu n’abakadde, ‘ebirabo mu bantu.’​—Bef. 4:8.

w01 10/1 lup. 8 ¶2

Emikisa gya Yakuwa Ginaakutuukako?

Ekigambo ky’Olwebbulaniya ‘okuwuliriza,’ ekikozeseddwa mu Ekyamateeka 28:2, kitegeeza okweyongera okukola ekintu. Abantu ba Yakuwa tebalina kumuwuliriza bwa lumu, wabula bateekwa okumuwuliriza obulamu bwabwe bwonna. Olwo nno, lwe bandifunye emikisa gya Yakuwa. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivuunuddwa ‘okukujjira,’ kikwataganyizibwa n’okuyigga, ng’emirundi egisinga kirina amakulu ‘g’okusanga’ oba ‘okukwata.’

w10 9/15 lup. 8 ¶4

Fuba Okunoonya Omukisa gwa Yakuwa

Kiki ekyandikubirizza Abayisirayiri okuba abawulize? Amateeka ga Katonda gaalaga nti abantu be bwe bandigaanye okumuweereza “n’omutima omusanyufu,” ekyo kyandimunyiizizza. (Soma Ekyamateeka 28:45-47.) Yakuwa tayagala tumugondere lwa buwaze, kubanga ekyo ebisolo ne badayimooni nabyo bisobola okukikola nga biwaliriziddwa. (Mak. 1:27; Yak. 3:3) Omuntu bw’agondera Katonda awatali kuwalirizibwa kiba kiraga nti amwagala. Kino akikola nga musanyufu olw’okuba aba akkiriza nti amateeka ga Yakuwa si mugugu era nti “y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.”​—Beb. 11:6; 1 Yok. 5:3.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 360

Akabonero Akalamba Olusalosalo

Amateeka ga Yakuwa gaagaana okujjululanga obubonero obulamba ensalosalo. (Ma 19:14; era laba Nge 22:28.) Mu butuufu, omuntu eyajjululanga “obubonero obulamba ensalosalo ya muliraanwa we” yakolimirwanga (Ma 27:17) Okuva bwe kiri nti abantu beeyimirizangawo ku ebyo bye baalimanga ku bibanja byabwe, okujjulula obubonero obulamba ensalosalo y’omuntu kyandibadde ng’okumuggyako ekyo ekimuyamba okweyimirizaawo. Okukola ekyo kyabanga nga kubba era bwe kityo bwe kyatwalibwanga mu biseera eby’edda. (Yob 24:2) Naye waaliwo abantu abataali beesigwa abaakolanga ebintu ng’ebyo, era abaami b’omu Yuda abaaliwo mu kiseera kya Koseya baageraageranyizibwa ku abo abajjulula ensalosalo.​—Kos 5:10.

AGUSITO 23-29

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 29-30

“Okuweereza Yakuwa Si Kizibu Nnyo”

w10 1/1 lup. 10 ¶2

Yakuwa Atuwa Eddembe ly’Okwesalirawo

Ddala kizibu okutegeera ebyo Katonda by’atwetaagisa era n’okubikola? Musa yagamba nti: “Ekiragiro kino kye nkuwa leero si kizibu nnyo gy’oli era tekiri wala.” (Olunyiriri 11) Yakuwa tatusaba kukola kintu kye tutasobola. Ebyo by’atwetaagisa si bizibu era tusobola okubimanya. Tekitwetaagisa kulinnya “mu ggulu” oba okugenda “mitala wa nnyanja” okusobola okuyiga Katonda by’atwetaagisa. (Olunyiriri 12, 13) Bayibuli etubuulira kaati engeri gye tusaanidde okweyisaamu.​—Mikka 6:8.

w10 1/1 lup. 10 ¶1

Yakuwa Atuwa Eddembe ly’Okwesalirawo

“NNALOWOOZANGA nti sirisobola kuba mwesigwa eri Yakuwa.” Bw’atyo omukyala omu Omukristaayo bwe yagamba eyali alowooza nti ebyo ebyamutuukako ng’akyali muto byandimulemesezza okuba omwesigwa. Ddala bwe kityo bwe kiri? Ddala ebyo ebiba bitutuuseeko mu bulamu biyinza okutulemesa okuba abeesigwa eri Katonda? Nedda. Yakuwa Katonda atuwadde ekirabo eky’eddembe ly’okwesalirawo, ne kiba nti tusobola okwesalirawo kye twagala okubeera mu bulamu. Yakuwa ayagala tusalewo bulungi, era Ekigambo kye Bayibuli, kitubuulira engeri gye tuyinza okukikolamu. Lowooza ku bigambo bya Musa ebiri mu Ekyamateeka essuula 30.

w10 1/1 lup. 10 ¶4

Yakuwa Atuwa Eddembe ly’Okwesalirawo

Ddala Yakuwa afaayo ka tube nga tusazeewo mu ngeri ki? Kya lwatu afaayo! Ng’aluŋŋamiziddwa Katonda, Musa yagamba nti: “Weeroboze obulamu.” (Olunyiriri 19) Kati olwo, tuyinza tutya okweroboza obulamu? Musa yagamba nti: “Ng’oyagala Yakuwa Katonda wo, ng’owuliriza eddoboozi lye, era ng’omunywererako.” (Olunyiriri 20) Bwe tuba twagala Yakuwa, tujja kumugondera era tumunywerereko, ka kibe ki ekiyinza okubaawo. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulonzeewo obulamu​—obusingayo obulungi mu kiseera kino era tujja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya enaatera okutuuka.​—2 Peetero 3:11-13; 1 Yokaana 5:3.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 665 ¶3

Okutu

Yakuwa ng’ayitira mu baweereza be, yayogera ku Bayisirayiri abajeemu era abakakanyavu ng’abaalina ‘amatu agatali makomole.’ (Yer 6:10, obugambo obwa wansi; Bik 7:51) Amatu gaabwe gaalinga agateereddwamu ekintu ekigaziyiza okuwulira. Amatu gaabwe tegaggulwa Yakuwa, awa amatu ag’okutegeera era amawulize eri abo abamunoonya naye aleka abo abamujeemera okuba n’amatu agatawulira mu by’omwoyo. (Ma 29:4; Bar 11:8) Omutume Pawulo yayogera ku kiseera abo abeeyita Abakristaayo lwe bandifuuse bakyewaggula ne bava mu kukkiriza, nga tebaagala kuwuliriza amazima agali mu Kigambo kya Katonda, naye nga baagala kuwulira ebyo bye baagala okuwulira, bwe batyo ne baba nga bawuliriza abayigiriza ab’obulimba. (2Ti 4:3, 4; 1Ti 4:1) Ate era, amatu g’omuntu gayinza ‘okuwaawaala’ olw’okuwulira amawulire amabi.​—1Sa 3:11; 2Sk 21:12; Yer 19:3.

AGUSITO 30–SSEBUTEMBA 5

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 31-32

“Yigira ku Byokulabirako Ebiri mu Luyimba Olwaluŋŋamizibwa”

w20.06 lup. 10 ¶8-9

“Gatta Wamu Omutima Gwange Nsobole Okutya Erinnya Lyo”

Abayisirayiri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Yakuwa alina oluyimba lwe yayigiriza Musa. (Ma. 31:19) Musa yalina okuyigiriza abantu oluyimba olwo. (Soma Ekyamateeka 32:2, 3.) Bwe tufumiitiriza ku lunyiriri 2 ne 3, tukiraba nti Yakuwa tayagala linnya lye likwekebwe, kwe kugamba, litwalibwe ng’eritalina kwatulwa. Ayagala erinnya lye limanyibwe buli muntu! Ng’Abayisirayiri abo baafuna enkizo ey’ekitalo okuwulira nga Musa abayigiriza ebikwata ku Yakuwa ne ku linnya lye ery’ekitiibwa! Ebyo Musa bye yabayigiriza byanyweza okukkiriza kwabwe era byabazzaamu amaanyi, ng’enkuba ettonnya empolampola bw’eyamba ebimera okukula obulungi. Tuyinza tutya okukakasa nti naffe okuyigiriza kwaffe bwe kutyo bwe kuba?

Bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba oba mu bifo ebya lukale, tusobola okukozesa Bayibuli okulaga abantu erinnya lya Katonda, Yakuwa. Tusobola okubawa ebitabo byaffe, okubalaga vidiyo, oba ebintu ebirala ebiri ku mukutu gwaffe ebiweesa Yakuwa ekitiibwa. Bwe tuba ku mulimu, ku ssomero, oba nga tuli ku lugendo, tusobola okukozesa akakisa konna ke tufuna okubuulira abantu ebikwata ku Kitaffe gwe twagala ennyo n’ekyo ky’ali. Bwe tubuulira abalala ebintu ebirungi Yakuwa by’ategekedde abantu n’ensi, tuba tubayamba okukiraba nti ayagala nnyo abantu. Buli lwe tubuulira abalala amazima agakwata ku Kitaffe atwagala ennyo, tuba tuyambako mu kutukuza erinnya lya Katonda. Tuba tubayamba okukitegeera nti waliwo eby’obulimba bingi bye bayigiriziddwa ku Katonda. Ebyo bye tuyigiriza abantu okuva mu Bayibuli bye bintu ebisingayo okubazzaamu amaanyi.​—Is. 65:13, 14.

w09-E 5/1 lup. 14 ¶4

Otegeera Ebyokulabirako Ebiri mu Bayibuli?

Ate era, Bayibuli egeraageranya Yakuwa ku bintu ebitalina bulamu. Ayogerwako ‘ng’olwazi lwa Isirayiri,’ ‘ng’ekigo,’ era ‘ng’engabo.’ (2 Samwiri 23:3; Zabbuli 18:2; Ekyamateeka 32:4) Lwaki ageraageranyizibwa ku bintu ebyo? Okufaananako olwazi olunene olugumu, olunywevu era olutasagaasagana, Yakuwa Katonda asobola okubeera Ensibuko y’obukuumi bwo ey’olubeerera.

w01 10/1 lup. 20 ¶7

Mukoppe Yakuwa nga Mukuza Abaana Bammwe

Lowooza ku kwagala Yakuwa kwe yalaga ng’akolagana n’Abayisirayiri. Musa yakozesa ekyokulabirako kino ekirungi okunnyonnyola okwagala kwa Yakuwa eri eggwanga lya Isirayiri. Tusoma bwe tuti: ‘Ng’empungu bw’eyigiriza obwana bwayo okubuuka, bw’epapalira we buli, bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo n’ebutwala, bw’ebusitulira ku biwaawaatiro byayo, Yakuwa yekka ye yakulemberamu [Yakobo].’ (Ekyamateeka 32:9, 11, 12) Okusobola okuyigiriza obwana bwayo okubuuka, empungu “epapalira we buli,” n’ekuba ebiwaawaatiro byayo ng’ekubiriza obwana bwayo okubuuka. Ekinyonyi ekito bwe kibuuka okuva mu kisu kyakyo, maama waakyo ‘abuukira waggulu’ waakyo. Bwe kirabika nti ekinyonyi ekito kiyinza okuggwa ku ttaka, maama waakyo abuuka ‘n’akisitulira ku biwaawaatiro bye.’ Mu ngeri y’emu, Yakuwa yafaayo ku ggwanga lya Isirayiri eryali lyakatondebwawo. Yabawa Amateeka ge okuyitira mu Musa. (Zabbuli 78:5-7) Era yabakuuma nga mwetegefu okubanunula nga bagudde mu mitawaana.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w04 10/1 lup. 11 ¶12

Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Ekyamateeka

31:12. Abato basaanidde okutuula awamu n’abakulu mu nkuŋŋaana z’ekibiina era ne bafuba okuwuliriza n’okuyiga.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share