Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
SSEBUTEMBA 6-12
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYAMATEEKA 33-34
“Noonya Obuddukiro mu Mikono gya Yakuwa ‘egy’Emirembe n’Emirembe’”
it-2-E lup. 51
Yesuluni
Kino kitiibwa ekyali kikozesebwa ku Isirayiri. Mu Septuagint ey’Oluyonaani, ekigambo “Yesuluni” kyavvuunulwa nga “omwagalwa.” Ekitiibwa “Yesuluni” kyandibadde kijjukiza Abayisirayiri nti baali bantu ba Yakuwa be yakola nabo endagaano era nti baalina okusigala nga beesigwa gy’ali. (Ma 33:5, 26; Is 44:2) Mu Ekyamateeka 32:15, ekigambo Yesuluni kikozesebwa mu ngeri ya kugereesa. Mu kifo ky’okutuukagana n’ekitiibwa Yesuluni, Abayisirayiri baali bakakanyavu, baava ku Mutonzi waabwe, era baanyooma Omulokozi waabwe.
rr lup. 120, akasanduuko
Busobola Okutuyamba Okuddamu Okuyimirira
Tusaanidde okukijjukira nti ebyasa bingi emabega nga Ezeekyeri tannabaawo, nnabbi Musa yakiraga nti Yakuwa alina amaanyi mangi era ayagala okugakozesa okuyamba abantu be. Musa yagamba nti: “Okuva edda n’edda Katonda abadde kiddukiro, emikono gye egy’emirembe n’emirembe gikuwanirira.” (Ma. 33:27) Mazima ddala, tusobola okuba abakakafu nti bwe tuddukira eri Katonda waffe nga tufunye ebizibu, ajja kutuwanirira era atuyambe okuddamu okuyimirira.—Ezk. 37:10.
Dduka Embiro z’Empaka n’Obugumiikiriza
Okufaananako Ibulayimu, Musa naye yafa ng’ebyo Katonda bye yali amusuubizza tebinnatuukirira. Abayisirayiri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Katonda yagamba Musa nti: “Ensi ojja kugirengera bulengezi, naye tojja kugenda mu nsi eyo gye mpa abantu ba Isirayiri.” Kino kyali kityo kubanga emabegako abantu abajeemu baaleetera Musa ne Alooni okunyiiga ne balemererwa okuwa Katonda ekitiibwa “mu Bayisirayiri ku mazzi g’e Meriba.” (Ma. 32:51, 52) Okugaanibwa okuyingira mu Nsi Ensuubize kyaleetera Musa okunyiiga? Nedda. Yasaba Yakuwa awe abantu omukisa era n’akomekkereza ng’agamba nti: “Weesiimye ggwe Isirayiri! Ani alinga ggwe, eggwanga erirokolebwa Yakuwa, engabo yo ekutaasa, era ekitala kyo eky’ekitiibwa?”—Ma. 33:29.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 439 ¶3
Musa
Musa we yafiira yalina emyaka 120. Ng’eyogera ku mbeera y’obulamu bwe, Bayibuli egamba nti: “Amaaso ge gaali tegayimbadde era ng’akyalina amaanyi.” Yakuwa ye yamuziika mu kifo ekitamanyiddwa n’okutuusa leero. (Ma 34:5-7) Kirabika ekyo Yakuwa yakikola okulemesa Abayisirayiri okugenda mu kifo Musa we yaziikibwa okwenyigira mu kusinza okw’obulimba. Awatali kubuusabuusa, Sitaani yali ayagala okukozesa omulambo gwa Musa okuleetera Abayisirayiri okwenyigira mu kusinza okw’obulimba, kubanga omuyigirizwa Yuda, muganda wa Yesu yagamba nti: “Mikayiri malayika omukulu bw’atakkiriziganya na Mulyolyomi ku bikwata ku mulambo gwa Musa, teyamusalira musango ng’amuvuma naye yamugamba nti: “Yakuwa k’akunenye.’” (Yud 9) Abayisirayiri bwe baali tebannasomoka Mugga Yoludaani kugenda mu nsi ya Kanani, baasooka kukungubagira Musa okumala ennaku 30.—Ma 34:8.
SSEBUTEMBA 13-19
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 1-2
“Engeri gy’Oyinza Okutuuka ku Buwanguzi mu Bulamu”
Beera Muvumu—Yakuwa Ali Naawe!
Okusobola okukola Katonda by’ayagala, tulina okusoma Ekigambo kye era n’okukolera ku ebyo bye tuba tusomye. Ekyo kyennyini Yakuwa kye yalagira Yoswa okukola bwe yatandika okukulembera Abayisirayiri nga Musa amaze okufa. Yakuwa yamugamba nti, “Beera muvumu era beera wa maanyi nnyo, osobole okukwata Amateeka gonna omuweereza wange Musa ge yakulagira okukwata. . . . Ekitabo kino eky’Amateeka tekivanga ku mimwa gyo, era onookisomanga n’okifumiitirizangako emisana n’ekiro, osobole okukolera ku ebyo byonna ebikirimu; olwo lw’onootuuka ku buwanguzi era ne weeyisa mu ngeri ey’amagezi.” (Yos. 1:7, 8) Yoswa yakolera ku kubuulira okwo era ‘yatuuka ku buwanguzi.’ Naffe bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba bavumu era tujja kusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe eri Katonda.
Beera Muvumu—Yakuwa Ali Naawe!
Si kyangu okukola Katonda by’ayagala mu nsi eno embi ejjudde ebizibu. Naye tetuli ffekka. Katonda ali naffe. N’Omwana we, Omutwe gw’ekibiina, ali naffe. Era tulina bakkiriza bannaffe abasoba mu 7,000,0000 abeetegefu okutuyamba. Ka ffenna twoleke okukkiriza era tubuulire amawulire amalungi nga tulowooza ku kyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka 2013, ekigamba nti: ‘Beera muvumu era beera wa maanyi. Yakuwa Katonda wo ali naawe.”—Yoswa 1:9.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu
2:4, 5—Lwaki Lakabu yalimba abasajja kabaka be yali atumye okunoonya abakessi? Lakabu ateeka obulamu bwe mu kabi ng’akweka abakessi kubanga kati akkiririza mu Yakuwa. N’olwekyo, tavunaanyizibwa kubuulira basajja ba kabaka abaagala okutta abantu ba Katonda amayitire g’abakessi abo. (Matayo 7:6; 21:23-27; Yokaana 7:3-10) Lakabu ‘yayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa,’ nga mw’otwalidde n’okulimba abasajja ba kabaka.—Yakobo 2:24-26.
SSEBUTEMBA 20-26
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 3-5
“Yakuwa Awa Omukisa Abo Abooleka Okukkiriza”
it-2-E lup. 105
Yoludaani
Ebiseera ebisinga, amazzi mu kitundu ky’Omugga Yoludaani ekiyita okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya gaba n’obuwanvu bwa ffuuti nga 3 ku 10 okukka wansi, n’obugazi bwa ffuuti nga 90 ku 100. Naye ekiseera ky’obutiti bwe kiba kyakaggwaako omugga Yoludaani gubooga ne gweyongera okuba omugazi era n’amazzi geeyongera obuwanvu. (Yos 3:15) Mu kiseera ng’ekyo, tekyandisobose ggwanga lya Isirayiri omwali abasajja, abakazi, n’abaana, okusomoka Omugga Yoludaani, naddala okuliraana Yeriko. Mu kitundu ekyo amazzi gaddukanga nnyo ne kiba nti ne mu myaka egiyise abamu ku bantu abaawugiranga mu kitundu ekyo baatwalibwanga amazzi. Kyokka, Yakuwa yayimiriza amazzi g’Omugga Yoludaani n’asobozesa Abayisirayiri okusomoka nga bayita ku ttaka ekkalu. (Yos 3:14-17) Oluvannyuma lw’emyaka mingi, Yakuwa yasobozesa Eriya okukola ekyamagero kye kimu ng’ali ne Erisa, era ne Erisa naye yakola ekyamagero ekyo ng’ali yekka.—2Sk 2:7, 8, 13, 14.
Sanyukira Ebintu Yakuwa by’Atujjukiza
Okugoberera obulagirizi Yakuwa bw’atuwa kituyamba kitya okwongera okumwesiga? Lowooza ku ekyo ekyaliwo ng’Abayisirayiri bayingira mu Nsi Ensuubize. Yakuwa yali alagidde bakabona abaali basitudde ssanduuko y’endagaano okuyingira mu Mugga Yoludaani. Naye abantu bwe baasembera okumpi ne Yoludaani, baalaba ng’amazzi mangi era nga gaddukira ku sipiidi ya waggulu. Kiki Abayisirayiri kye bandikoze? Bandisiisidde okumpi n’omugga okumala wiiki eziwerako okutuusa ng’amazzi gakendedde? Ekyo si kye baakola. Mu kifo ky’ekyo, beesiga Yakuwa era ne bakolera ku bulagirizi bwe. Biki ebyavaamu? Bayibuli egamba nti: “Amangu ddala nga bakabona balinnye mu mazzi, omugga gwalekera awo okukulukuta, . . . era bakabona ne basigala nga bayimiridde awakalu wakati mu mugga okumpi ne Yeriko okutuusa abantu bonna lwe baasomoka.” (Yos. 3:12-17, Contemporary English Version) Lowooza ku ssanyu Abayisirayiri lye baafuna bwe baalaba ng’amazzi g’omugga galekedde awo okukulukuta! Mu butuufu, okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa kyabayamba okwongera okumwesiga.
Sanyukira Ebintu Yakuwa by’Atujjukiza
Kyo kituufu nti Yakuwa tatukolera byamagero ng’ebyo leero, naye bwe twoleka okukkiriza era ne tukolera ku bulagirizi bw’atuwa, atuwa emikisa. Katonda atuwa omwoyo gwe ogutuyamba okukola omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Ne Kristo Yesu, Omujulirwa wa Yakuwa omukulu, yasuubiza okuyamba abayigirizwa be nga bakola omulimu guno omukulu ennyo. Yagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa . . . Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.” (Mat. 28:19, 20) Abajulirwa ba Yakuwa bangi abaalina ensonyi oba abaali batya okubuulira, bakirabye nti omwoyo omutukuvu gubayambye okuba abavumu nga bakola omulimu gw’okubuulira.—Soma Zabbuli 119:46; 2 Abakkolinso 4:7.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa
5:14, 15—“Omulangira w’eggye lya Yakuwa” ayinza kuba nga yali ani? Omulangira w’eggye ono azzaamu Yoswa amaanyi nga baakatandika okuwangula Ensi Ensuubize, alabika ye “Kigambo,” kwe kugamba, Yesu Kristo nga tannajja ku nsi ng’omuntu. (Yokaana 1:1; Danyeri 10:13) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Yesu Kristo agulumiziddwa ali wamu n’abantu ba Katonda leero, nga balwana olutalo lwabwe olw’eby’omwoyo!
SSEBUTEMBA 27–OKITOBBA 3
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 6-7
“Weewale Ebintu Ebitaliimu Nsa”
Totunuulira Bintu Bitasaana!
Nga wayise emyaka mingi, omusajja Omuyisirayiri eyali ayitibwa Akani bwe yalaba ebimu ku bintu ebyali binyagiddwa mu kibuga Yeriko, yabibba. Katonda yali alagidde nti ebintu byonna ebyali mu kibuga ekyo bizikirizibwe, okuggyako ebintu ebimu ebyali birina okutwalibwa mu ggwanika lya Yakuwa. Abayisirayiri baalabulwa nti: “Mwewalire ddala ekintu eky’okuzikirizibwa, muleme okwegomba ekintu eky’okuzikirizibwa” n’okutwala ebimu ku bintu okuva mu kibuga. Olw’okuba Akani yajeema, abantu ba Isirayiri baawangulwa mu kibuga Ayi, era bangi ku bo battibwa. Akani teyakkiriza nti yali abbye ebintu okutuusa lwe kyazuulibwa. Akani yagamba nti: “Bwe nnalaba [ebintu,] . . . ne mbyegomba ne mbitwala.” Okwegomba kw’amaaso kwamuleetera okuzikirizibwa, wamu ne byonna bye yalina. (Yos. 6:18, 19; 7:1-26) Akani yeegomba ebintu ebyali bigaaniddwa.
w97-E 8/15 lup. 28 ¶2
Lwaki Tusaanidde Okutegeeza Abakadde nga Waliwo Omuntu Akoze Ekibi eky’Amaanyi?
Ensonga emu lwaki tusaanidde okutegeeza abakadde nga waliwo omuntu akoze ekibi eky’amaanyi eri nti, kisobozesa ekibiina okusigala nga kiyonjo. Yakuwa Katonda muyonjo era mutukuvu. Ayagala abo bonna abamusinza babe bayonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa. Bayibuli egamba nti: “Ng’abaana abawulize, mulekere awo okugoberera okwegomba kwe mwalina edda nga muli mu butamanya, naye mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna ng’Oyo eyabayita bw’ali Omutukuvu, kubanga kyawandiikibwa nti: “Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu.’” (1 Peetero 1:14-16) Abantu abakola ebibi eby’amaanyi basobola okwonoona ekibiina era ne kiviirako Yakuwa okukiggyako omwoyo gwe singa tewaba kikolebwawo kubakangavvula oba okubaggya mu kibiina.—Geraageranya Yoswa, essuula 7.
Totunuulira Bintu Bitasaana!
Abakristaayo ab’amazima nabo basobola okutwalirizibwa okwegomba kw’amaaso n’okw’omubiri. N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwegendereza bye tulaba ne bye twegomba. (1 Kol. 9:25, 27; soma 1 Yokaana 2:15-17.) Yobu, omusajja eyali omutuukirivu, y’omu ku abo abaali bamanyi nti waliwo akakwate ka maanyi wakati w’ebyo bye tulaba ne bye twegomba. Yagamba nti: “Nnakola endagaano n’amaaso gange. Kale nnyinza ntya okutunuulira omukazi omulala ne mmwegwanyiza?” (Yob. 31:1) Yobu teyakoma ku kwewala kukwata ku bakazi mu ngeri etasaana, naye era yali afuba okwewala okulowooza ku kintu ng’ekyo. Yesu yakiraga nti ebirowoozo by’omuntu birina okukuumibwa nga biyonjo bwe yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.”—Mat. 5:28.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Mu biseera by’eddda, amagye bwe gaabanga gagenda okulumba ekibuga ekiriko bbugwe, gaasookanga kukizingiza. Amagye ka gabe nga gaamalanga kiseera kyenkana wa nga gazingizza ekibuga, bwe gaakiwambanga, gaatwalanga eby’obugagga ebyabanga mu kibuga ekyo nga mw’otwalidde n’emmere gye gaasangangamu. Kyokka, abayiikuuzi bwe baayiikuula awaali ekibuga Yeriko, baasanga emmere nnyingi. Magazini eyitibwa Biblical Archaeology Review egamba nti: “Ng’oggyeeko ebintu eby’ebbumba, ekintu ekirala ekyazuulibwa mu bungi awaali ekibuga ekyo ye mmere enkalu. . . . Ekyo si kya bulijjo, naddala bw’olowooza ku bintu ebizze bizuulibwa mu bitundu bya Palesitayini. Ensumbi emu oba bbiri ez’emmere ze zitera okuzuulibwa, naye okusanga emmere ennyingi bw’etyo, si kintu kya bulijjo.”
Okusinziira ku Byawandiikibwa, Abayisirayiri baalina ensonga eyandibaleetedde obutatwala mmere eyali mu kibuga Yeriko. Yakuwa yali abalagidde obutatwala kintu kyonna. (Yos. 6:17, 18) Abayisirayiri baalumba ekibuga mu kiseera ky’amakungula, emmere enkalu we yabeereranga ennyingi. (Yos. 3:15-17; 5:10) Okuva bwe kiri nti emmere enkalu nnyingi yasangibwa awaali ekibuga Yeriko, kiraga nti ekiseera Abayisirayiri kye baamala nga bakizingizza kyali kitono ddala. Ekyo kikwatagana bulungi n’ekyo Bayibuli ky’egamba.
OKITOBBA 4-10
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 8-9
“Bye Tuyigira ku Ebyo Bye Tusoma ku Bagibiyoni”
it-1-E lup. 930-931
Gibiyoni
Enkolagana Yaabwe ne Yoswa. Mu kiseera kya Yoswa, ekitundu kya Gibiyoni kyalimu Abakiivi era nga lino lyali limu ku mawanga g’Abakanani omusanvu agaalina okuzikirizibwa. (Ma 7:1, 2; Yos 9:3-7) Abagibiyoni era baali bayitibwa Abaamoli, era emirundi egimu mu Bayibuli, Abakanani bonna okutwalira awamu bayitibwa Abaamoli. (2Sa 21:2; geraageranya Lub 10:15-18; 15:16.) Okwawukana ku Bakanani abalala, Abagibiyoni baakiraba nti wadde nga baalina eggye ery’amaanyi era nga n’ekibuga kyabwe kinene, baali tebasobola kuwangula Bayisirayiri kubanga Yakuwa yali abalwanirira. N’olwekyo, Yeriko ne Ayi bwe byamala okuzikirizibwa, abasajja b’e Gibiyoni, oboolyawo nga baali bakiikirira n’ebibuga by’Abakiivi ebirala bisatu, omwali Kefira, Beerosi, ne Kiriyasu-yalimu (Yos 9:17), baasindika ababaka eri Yoswa e Girugaali basobole okukola endagaano ey’emirembe n’Abayisirayiri. Ababaka abo baali bambadde engatto ezaali zikubiddwa ebiraka n’engoye enkadde, era baalina emigaati egyali gyakala era egikunkumuka, n’ensawo z’omwenge ez’amaliba ezaalimu ebituli, ne bagamba nti baali bava mu nsi ey’ewala etaali emu ku ezo Abayisirayiri ze baalina okuzikiriza. Bakkiriza nti Yakuwa ye yali alwaniridde Abayisirayiri nga bava e Misiri, era nti ye yali abasobozesezza okuwangula Sikoni ne Ogi, bakabaka b’Abaamoli. Kyokka tebaayogera ku eyo ekyali kituuse ku Yeriko ne Ayi, kubanga mu kiseera ekyo ekitono amawulire ago gaali tegayinza kuba nga gaali gatuuse “mu nsi ey’ewala ennyo” gye baali bagamba nti gye bavudde. Abakadde ba Isirayiri beekenneenya ebyo abasajja abo bye baayogera ne babikkiriza era ne bakola nabo endagaano obutabazikiriza.—Yos 9:3-15.
“Teweesigamanga ku Kukutegeera Kwo Ggwe”
Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna—nga mw’otwalidde n’abakadde abalina obumanyirivu—tetulina kwerabira kwebuuza ku Yakuwa nga tulina bye tusalawo. Lowooza ku ekyo Yoswa n’abakadde ba Isirayiri kye baakola ng’Abagibiyoni, abaali beefudde ng’abantu abaali bavudde mu nsi ey’ewala, basabye Yoswa okukola nabo endagaano ey’emirembe. Nga tebasoose kwebuuza ku Yakuwa, Yoswa n’abakadde ba Isirayiri baakola endagaano n’Abagibiyoni. Wadde nga Yakuwa teyamenyawo ndagaano eyo, yakakasa nti ensobi eyo gye baakola ewandiikibwa mu Bayibuli tusobole okukimanya nti Yoswa n’abasajja be tebaanoonya bulagirizi bwe. Bulijjo tulina okwebuuza ku Yakuwa nga tetunnabaako kye tusalawo.—Yos. 9:3-6, 14, 15.
“Tambulatambula mu Nsi”
Ababaka abo baagamba nti: “Abaweereza bo bavudde mu nsi ey’ewala ennyo olw’erinnya lya Yakuwa Katonda wo.” (Yoswa 9:3-9) Engoye zaabwe enkadde n’emmere eyali ekukudde byalaga nti bavudde wala, kyokka Gibiyoni kyali mayilo 20 okuva e Girugaali. Nga bamaze okubamatiza, Yoswa n’abaami be baakola endagaano ey’emirembe ne Gibiyoni era n’ebibuga ebikiriraanye. Abagibiyoni baakola akakodyo ako olw’okuba baali tebaagala bwagazi kuzikirizibwa? Nedda, kyalaga nti baali baagala okusiimibwa Katonda wa Isirayiri. Yakuwa yakkiriza Abagibiyoni okufuuka “abasennyi b’enku era abakimi b’amazzi g’ekibiina n’ag’ekyoto kya Yakuwa.” (Yoswa 9:11-27) Abagibiyoni beeyongera okukola emirimu egya wansi mu buweereza bwa Yakuwa. Kirabika baali bamu ku Banesinimu abaakomawo okuva e Babulooni era ne baweereza mu yeekaalu eyali ezziddwaawo. (Ezera 2:1, 2, 43-54; 8:20) Tuyinza okukoppa endowooza yaabwe nga tufuba okuba mu mirembe ne Katonda era nga tuba beetegefu okukola emirimu egya wansi mu buweereza bwe.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 1030
Okuwanika ku Muti
Mu mateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri, abamenyi b’amateeka abamu baawanikibwanga ku muti oluvannyuma lw’okuttibwa, ‘ng’abakolimiddwa Katonda.’ Ekyo kyakolebwanga okulabula abantu abalala baleme kukola nsobi y’emu abamenyi b’amateeka abo gye baabanga bakoze. Omulambo gw’omuntu eyabanga awanikiddwa gwalinanga okuggibwa ku muti ng’obudde tebunnaziba ne guziikibwa. Okuleka omulambo ku muti ekiro kyonna kyandyonoonye ensi Yakuwa gye yawa Abayisirayiri. (Ma 21:22, 23) Abayisirayiri baagobereranga etteeka eryo ka kibe nti oyo eyabanga attiddwa teyali Muyisirayiri.—Yos 8:29; 10:26, 27.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
it-1-E lup. 520; lup. 525 ¶1
Endagaano
Kuba kukkiriziganya okuba kutuukiddwako wakati w’abantu babiri oba okusingawo nga kukwata ku kukola ekintu oba obutakikola. Ekigambo berithʹ eky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “endagaano” kirabika emirundi egisukka mu 280 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, era emirundi egisukka mu 80 ku egyo kirabikira mu bitabo ebisooka ebitaano Musa bye yawandiika.
Endagaano Endala Ezaakolebwa. (a) Endagaano Yoswa n’abaami ba Isirayiri gye baakola n’abantu b’omu Gibiyoni obutabazikiriza. Wadde ng’Abagibiyoni baali bamu ku Bakanani abaakolimirwa, Abayisirayiri be baalina okuzikiriza, naye olw’endagaano gye baakola n’Abayisirayiri eyali tesobola kukyusibwa, tebaazikirizibwa. Kyokka kyo ekikolimo kyabasigalako, era olw’ensonga eyo baalina okutyabiranga ekibiina ky’Abayisirayiri enku n’okubakimiranga amazzi. (Yos 9:15, 16, 23-27) (b) Endagaano Yoswa gye yakola n’Abayisirayiri okuweerezanga Yakuwa. (Yos 24:25, 26) (c) Endagaano abakadde b’e Gireyaadi gye baakola ne Yefusa e Mizupa okumufuula omukulembeze waabwe Yakuwa bwe yandimuyambye okuwangula Abaamoni. (Bal 11:8-11) (d) Endagaano Yonasaani gye yakola ne Dawudi. (1Sa 18:3; 23:18) (e) Endagaano Yekoyaada kabona gye yakola n’abakulu b’abakuumi abaali bayitibwa Abakkali n’abakuumi b’omu lubiri. (2Sk 11:4; 2By 23:1-3) (f) Endagaano Abayisirayiri gye baakola ne Yakuwa okugoba abakazi abagwira. (Ezr 10:3) (g) Eyo Yakuwa gye yakola okuwaayo omuweereza we ng’endagaano ku lw’abantu. (Is 42:6; 49:8) (h) Dawudi gye yakola n’abakadde ba Isirayiri bonna e Kebbulooni. (1By 11:3) (i) Endagaano abantu gye baakola mu kiseera ky’obufuzi bwa Asa okunoonya Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna era n’obulamu bwabwe bwonna. (2By 15:12) (j) Endagaano Kabaka Yosiya gye yakola ne Yakuwa okukwata Amateeka Yakuwa bye yawa eggwanga lya Isirayiri. (2By 34:31) (k) Abayisirayiri abaali ‘beewaana’ nga balowooza nti tewali kabi kaali kayinza kubatuukako olw’okuba baali baakola “endagaano n’Okufa.”—Is 28:14, 15, 18.
OKITOBBA 11-17
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 10-11
“Yakuwa Alwanirira Isirayiri”
it-1-E lup. 50
Adoni-zedeki
Yali kabaka wa Yerusaalemi mu kiseera Abayisirayiri we baawambira Ensi Ensuubize. Adoni-zedeki yeegatta wamu ne bakabaka abaali ebugwanjuba wa Yoludaani okulwanyisa Yoswa. (Yos 9:1-3) Kyokka, Abakiivi abaali babeera mu Gibiyoni baakola endagaano ey’emirembe ne Yoswa. Okusobola okulemesa abalala okwewaayo eri Abayisirayiri, Adoni-zedeki yeegatta ne bakabaka abo abana ne bazingiza Gibiyoni era ne bakirwanyisa. Yoswa yanunula Abagibiyoni n’awangula amagye ga bakabaka abo abataano era ekyo ne kiviirako bakabaka abo okuddukira e Makkeda, ne beekweka mu mpuku. Yoswa kennyini ye yattira Adoni-zedeki ne bakabaka abo abana mu maaso g’eggye lya Isirayiri, era emirambo gyabwe ne giwanikibwa ku miti. Oluvannyuma emirambo gyabwe gyasuulibwa mu mpuku mwe baali beekwese, era eyo ye yafuuka entaana yaabwe.—Yos 10:1-27.
it-1-E lup. 102 0
Omuzira
Engeri Yakuwa Gye Yagukozesaamu. Omuzira kye kimu ku bintu Yakuwa bye yakozesanga okutuukiriza ekigambo kye n’okulaga amaanyi ge amangi. (Zb 148:1, 8; Is 30:30) Omulundi ogusooka okwogerwako mu Bayibuli Yakuwa lwe yakozesa omuzira, lwelwo lwe yagukozesa mu kibonyoobonyo eky’omusanvu kye yaleeta ku nsi ya Misiri. Omuzira ogwo gwali gwa maanyi nnyo ne kiba nti gwayonoona ebirime, emiti, era gwatta ensolo n’abantu abataali mu mayumba gaabwe, naye tegwagwa mu kitundu ky’e Goseni Abayisirayiri gye baali babeera. (Kuv 9:18-26; Zb 78:47, 48; 105:32, 33) Oluvannyuma, mu Nsi Ensuubize, Abayisirayiri abaali baduumirwa Yoswa bwe baagenda okununula Abagibiyoni abaali balumbiddwa bakabaka abataano Abaamoli abaali beegasse awamu, Yakuwa yatonnyesa omuzira ogw’amaanyi ku Baamoli. Ku olwo, abo abattibwa omuzira baali bangi nnyo okusinga abo abattibwa Abayisirayiri.—Yos 10:3-7, 11.
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa
10:13—Ekintu ekyo eky’ekyewuunyo kisoboka kitya? “Waliwo ekitasoboka eri Yakuwa” Omutonzi w’eggulu n’ensi? (Olubereberye 18:14) Bw’aba ayagadde, Yakuwa asobola okukyusa mu ngeri ensi gy’etambulamu, enjuba n’omwezi ne birabika ng’ebiri mu kifo ekimu. Oba ayinza obutakyusa mu ntambula ya nsi naye n’asobozesa ekitangaala ekiva ku njuba n’omwezi okusigala nga kyaka. Ka kibe ki kye yakola, “waali tewabangawo lunaku ng’olwo” mu byafaayo by’omuntu.—Yoswa 10:14.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Eky’okuba nti ebitabo ebimu byayogerwako mu Bayibuli era byakozesebwanga tekyandituleetedde kulowooza nti byali byaluŋŋamizibwa. Yakuwa Katonda yakakasa nti ebiwandiiko byonna ebiri mu ‘kigambo kya Katonda waffe’ bikuumibwa bulungi era nti ‘bibeerawo emirembe gyonna.’ (Is. 40:8) Ebyo Yakuwa bye yasalawo biteekebwe mu bitabo bya Bayibuli 66 bye byokka bye twetaaga okuba nga ‘tulina byonna bye yeetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.’—2 Tim. 3:16, 17.
OKITOBBA 18-24
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 12-14
“Goberera Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna”
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa
14:10-13. Wadde ng’alina emyaka 85, Kalebu asaba omulimu omuzibu ennyo ogw’okuzikiriza abantu b’omu Kebbulooni. Ekitundu ekyo kirimu Abanaki—abasajja abawagguufu. Ng’ayambibwako Yakuwa, omusajja ono omulwanyi nnamige atuuka ku buwanguzi era Kebbulooni kifuuka kibuga eky’okuddukiramu. (Yoswa 15:13-19; 21:11-13) Ekyokulabirako kya Kalebu kitukubiriza obuteewala mirimu gy’Obwakabaka emizibu.
Okufuna Obuvumu Okuyitira mu Kukkiriza n’Okutya Katonda
Okukkiriza ng’okwo kugenda kweyongera. Kweyongera bwe tutambulira mu mazima, bwe ‘tulega’ ku miganyulo egivaamu, bwe ‘tulaba’ engeri okusaba kwaffe gye kuddibwamu oba bwe tutegeera engeri Yakuwa gy’atuwaamu obulagirizi mu bulamu bwaffe. (Zabbuli 34:8; 1 Yokaana 5:14, 15) Tuyinza okuba abakakafu nti okukkiriza kwa Yoswa ne Kalebu kweyongera bwe baalega ku bulungi bwa Katonda. (Yoswa 23:14) Lowooza ku nsonga zino: Nga Katonda bwe yali abasuubizza, baawonawo mu myaka 40 gye baamala nga batambulira mu ddungu. (Okubala 14:27-30; 32:11, 12) Beenyigira mu lutalo olw’okuwamba Kanani olwamala emyaka mukaaga. Ku nkomerero, baawangaala nnyo nga bali mu bulamu obulungi era ne bafuna n’obusika bwabwe. Mazima ddala Yakuwa awa empeera abo abamuweereza n’obwesigwa era n’obuvumu.—Yoswa 14:6, 9-14; 19:49, 50; 24:29.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 902-903
Gebali
Yakuwa yayogera ku ‘nsi y’Abagebali’ ng’emu ku ezo Abayisirayiri ze baali batannawamba mu kiseera kya Yoswa. (Yos 13:1-5) Abo abawakanya ebyo ebiri mu Bayibuli ekyo bakikozesa okulaga nti ebiri mu Bayibuli tebikwatagana, okuva bwe kiri nti ekibuga Gebali kyali wala nnyo ku luuyi olw’ebukiikakkono okuva ensi ya Isirayiri we yali (mayiro nga 60 ebukiikakkono wa Ddaani) era nti Abayisirayiri tebaabeerako mu kibuga ekyo. Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti awaali olunyiriri olwo mu kiwandiiko ky’Olwebbulaniya wayinza okuba nga waali waasanguka era nti mu kusooka wayinza okuba nga waali wasoma nti “ensi eriraanye Lebanooni,” oba ‘okutuukira ddala ku nsalwo y’Abagebali.’ Kyokka, tusaanidde okukijjukira nti Abayisirayiri okusobola okufuna ebyo Yakuwa bye yabasuubiza ebyogerwako mu Yoswa 13:2-7 waliwo bye baalina okutuukiriza. N’olwekyo, Abayisirayiri bayinza okuba nga tebaasobola kufuna kitundu ky’e Gebali olw’obujeemu bwabwe.—Geraageranya Yos 23:12, 13.
OKITOBBA 25-31
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 15-17
“Kuuma Obusika Bwo obw’Omuwendo”
it-1-E lup. 1083 ¶3
Kebbulooni
Abayisirayiri bwe beeyongera okuwamba ebitundu eby’ebukiikaddyo obw’ensi ya Kanani, baazikiriza abantu abaali babeera mu Kebbulooni, nga mw’otwalidde ne kabaka waabwe (oboolyawo eyaddira Kokamu mu bigere). (Yos 10:36, 37) Kyokka, wadde ng’Abayisirayiri abaali bakulemberwa Yoswa baasobola okuwangula Abakanani, kirabika tebaateekangawo mangu bakuumi okukuuma bitundu bye baabanga bamaze okuwamba. Kirabika Abayisirayiri bwe baali bakyalwana okusobola okuwamba ebitundu ebirala, Abaanaki baddamu okubeera mu Kebbulooni, ne kiba nti oluvannyuma kyali kyetaagisa Kalebu (oba abaana ba Yuda abaali bakulemberwa Kalebu) okuddamu okubagoba mu kibuga ekyo. (Yos 11:21-23; 14:12-15; 15:13, 14; Bal 1:10) Mu kusooka ekibuga Kebbulooni kyali kyaweebwa Kalebu ow’omu kika kya Yuda, naye oluvannyuma kyafuulibwa ekimu ku bibuga eby’okuddukiramu. Ate era kyali kimu ku bibuga bya bakabona. Kyokka, ‘ebitundu ebyali ebweru w’ekibuga Kebbulooni’ n’ebyalo byakyo byaweebwa Kalebu okuba obusika bwe.—Yos 14:13, 14; 20:7; 21:9-13.
it-1-E lup. 848
Emirimu egy’Obuddu
Mu buseera eby’edda, abantu baakozesebwanga nnyo “emirimu egy’obuddu” (mu Lwebbulaniya, mas) era abo abaabanga bawambiddwa mu ntalo okusingira ddala be baakozesebwanga ng’abaddu. (Ma 20:11; Yos 16:10; 17:13; Es 10:1; Is 31:8; Kuk 1:1) Abayisirayiri bwe baali bakola emirimu gy’obuddu mu Misiri era nga batulugunyizibwa bannampala Abamisiri, baazimba amaterekero mu bibuga Pisomu ne Lamusesi. (Kuv 1:11-14) Oluvannyuma Abayisirayiri bwe baatuuka mu Nsi Ensuubize, mu kifo ky’okugoba Abakanani abaali babeera mu nsi eyo n’okubazikiriza nga Yakuwa bwe yali abalagidde, baabakozesa emirimu egy’obuddu. Ekyo kyaviirako Abayisirayiri okusendebwasendebwa okusinza bakatonda ab’obulimba. (Yos 16:10; Bal 1:28; 2:3, 11, 12) Kabaka Sulemaani naye yeeyongera okukozesa bazzukulu b’Abakanani abo emirimu gy’obuddu, kwe kugamba, Abaamoli, Abakiiti, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi.—1Sk 9:20, 21.
it-1-E lup. 402 ¶3
Kanani
Wadde ng’Abakanani bangi tebaazikirizibwa ng’Abayisirayiri bawamba Ensi Ensuubize era baagaana okuba wansi w’Abayisirayiri, kisobola okugambibwa nti ‘Yakuwa yawa Isirayiri ensi yonna gye yalayira okuwa bajjajjaabwe, nti “yabawa ekiwummulo,” era nti “tewali kisuubizo na kimu ekitaatuukirira ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa bye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri; byonna byatuukirira.” (Yos 21:43-45) Abalabe b’Abayisirayiri bonna abaali babeetoolodde baatyanga okubalumba. Katonda yali yagamba nti yandigobye Abakanani “mpolampola” ensolo ez’omu nsiko zireme kweyongera bungi mu bitundu ebitaliimu bantu. (Kuv 23:29, 30; Ma 7:22) Wadde ng’Abakanani baalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi, omwali n’amagaali g’olutalo agaaliko ebyuma ebisala, Abayisirayiri okulemererwa okuwamba ebitundu ebimu tekyava ku kuba nti Yakuwa yalemererwa okutuukiriza ekisuubizo kye. Mu kifo ky’ekyo, Ebyawandiikibwa biraga nti emirundi emitono Abayisirayiri gye baawangulwa kyava ku kuba nti tebaali beesigwa eri Yakuwa.—Kbl 14:44, 45; Yos 7:1-12.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Obadde Okimanyi?
Isirayiri ey’edda yalimu ebibira bingi nga Bayibuli bw’ekiraga?
BAYIBULI eraga nti ebitundu ebimu eby’Ensi Ensuubize byalimu ebibira n’emiti mingi nnyo. (Yos. 17:15, 18; 1 Bassek. 10:27) Kyokka, abantu abamu bwe batunuulira ebitundu ebisinga obungi mu nsi eyo leero, beebuuza obanga ddala ebyo Bayibuli by’eyogera bituufu.
Ekitabo ekiyitibwa Life in Biblical Israel kigamba nti “ebibira ebyali mu Isirayiri mu biseera by’edda byali binene okusinga bwe kiri leero.” Ensozi z’omu Isirayiri okusingira ddala zaaliko emiti gya falaawo (Pinus halepensis), emiti gy’emiyovu (Quercus calliprinos), n’emiti gy’emyera (Pistacia palaestina). Mu Sefera, ekitundu eky’ensozi ekiri wakati w’ensozi za Yuda n’Ennyanja Meditereniyani, waaliyo emiti gy’emisukamooli (Ficus sycomorus) mingi.
Ekitabo ekiyitibwa Plants of the Bible kigamba nti ebitundu ebimu ebya Isirayiri tebikyalimu miti. Lwaki? Nga kiraga nti emiti egyali mu bitundu ebyo gyagenda gisaanyizibwawo mpolampola, ekitabo ekyo kigamba nti: “Abantu bagenze basaanyaawo ebibira okusobola okufuna aw’okulimira, aw’okulundira, eby’okuzimbisa, n’enku.”