Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
JJANWALI 3-9
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 15-16
“Okulyamu Abalala Olukwe Kintu Kibi Nnyo!”
Okulyaŋŋanamu Enkwe Kucaase Nnyo Ennaku Zino!
4 Lowooza ku Derira, omukazi Samusooni gwe yali ayagala ennyo. Samusooni yali ayagala okulwanyisa Abafirisuuti abaali abalabe b’abantu ba Katonda. Oboolyawo abakungu b’Abafirisuuti abataano baakiraba nti Derira yali talina kwagala kwa nnamaddala eri Samusooni. Baamusuubiza okumuwa ssente nnyingi bwe yandizudde wa Samusooni gye yali aggya amaanyi ge amangi. Derira yakkiriza ekyo abakungu abo kye baamugamba era emirundi esatu miramba yagezaako okusendasenda Samusooni amubuulire wa gye yali aggya amaanyi ge naye n’agaana okumubuulira. “Yamubeebanga buli lunaku.” N’ekyavaamu, Samusooni yeetamwa n’ajula okufa. Bwe kityo, Samusooni yamugamba nti enviiri ze zaali tezisalwangako era nti singa bazisalako yandiweddemu amaanyi. Ekyo Derira bwe yakitegeera, yamwebasa ku bisambi bye n’ayita omusajja n’amusalako enviiri era oluvannyuma n’amuwaayo mu mikono gy’abalabe be bamukole kye baagala. (Balam. 16:4, 5, 15-21) Ng’ekyo Derira kye yakola kyali kibi nnyo! Olw’okuba Derira yalina omululu, yalyamu olukwe omusajja eyali amwagala ennyo.
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ekyabalamuzi
14:16, 17; 16:16. Okubeeba omuntu ng’oyagala abeeko ky’akukolera kisobola okwonoona enkolagana yammwe ennungi.—Nge. 19:13; 21:19.
Okulyaŋŋanamu Enkwe Kucaase Nnyo Ennaku Zino!
15 Kiki ekiyinza okuyamba abafumbo okusigala nga beesigwa eri bannaabwe mu bufumbo? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Sanyukanga n’omukazi [oba omusajja] ow’omu buvubuka bwo” era, “nyumirwa obulamu ne mukyala wo [oba n’omwami wo] gw’oyagala ennyo.” (Nge. 5:18; Mub. 9:9) Omwami ne mukyala we bwe bagenda beeyongera okukula mu myaka, baba balina okwongera okukola kyonna ekisoboka okunyweza enkolagana yaabwe. Ekyo bayinza kukikola batya? Bayinza okukikola nga buli omu afuba okwoleka ekisa eri munne, nga buli omu afaayo ku byetaago bya munne, era nga buli omu afaayo okufuna ekiseera okubeerako ne munne. Balina okufuba okukuuma enkolagana yaabwe mu bufumbo awamu n’enkolagana yaabwe ne Yakuwa nga nnywevu. Ekyo basobola okukikola nga basomera wamu Bayibuli, nga bafuba okukolera awamu mu buweereza, era nga basabira wamu.
SIGALA NG’OLI MWESIGWA ERI YAKUWA
16 Waliwo abantu abamu mu kibiina abaakola ebibi eby’amaanyi era ne bakangavvulwa, “basobole okuba abalamu mu kukkiriza.” (Tit. 1:13) Abamu ku bo enneeyisa yaabwe yabaleetera n’okugobebwa mu kibiina. Naye “abo abatendekeddwa okukangavvula okwo,” bayambiddwa okutereeza enkolagana yaabwe ne Katonda. (Beb. 12:11) Watya singa omu ku b’eŋŋanda zaffe oba mukwano gwaffe agobebwa mu kibiina? Engeri gye tweyisaamu mu mbeera ng’eyo eyinza okulaga obanga tuli beesigwa eri Yakuwa oba tuli beesigwa eri omuntu oyo omwonoonyi. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa atusuubira okugondera etteeka lye erikwata ku kwewala okukolagana n’omuntu yenna aba agobeddwa mu kibiina.—Soma 1 Abakkolinso 5:11-13.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w05-E 3/15 lup. 27 ¶6
Samusooni Yawangulanga olw’Amaanyi ga Yakuwa!
Samusooni yali mumalirivu okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okulwanyisa Abafirisuuti. Ekyamutwala mu nnyumba ya malaaya e Gaaza, kwe kuba nti yali ayagala kulwanyisa abalabe ba Katonda. Samusooni yali yeetaaga ekifo aw’okusula ekiro mu kibuga ky’abalabe ba Isirayiri, era ekifo ekyo yakifuna mu nnyumba ya malaaya. Samusooni teyalina kigendererwa kya kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Samusooni yava mu nnyumba y’omukazi oyo ekiro mu ttumbi, n’akwata enzigi z’ekibuga n’ebikondo byazo n’abisitula n’abitwala waggulu ku lusozi olwali okumpi n’e Kebbulooni, ekyali mayiro nga 37 okuva e Gaaza. Ekyo kye yakola Yakuwa yakisiima era ye yamuwa amaanyi.—Balam. 16:1-3.
JJANWALI 10-16
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 17-19
“Okumenya Amateeka ga Katonda Kivaamu Ebizibu Bingi”
it-2-E lup. 390-391
Mikka
1. Omusajja ow’omu Efulayimu. Mikka yamenya etteeka ery’omunaana eriri mu Mateeka Ekkumi (Kuv 20:15), bwe yatwala ebitundu bya ffeeza 1,100 ebyali ebya maama we. Bwe yagamba maama we nti ye yali atutte ebitundu bye ebya ffeeza era n’abimuddiza, maama we yagamba nti: “Nja kutukuza ffeeza eri Yakuwa okuva mu mukono gwange ku lwa mutabani wange, ffeeza oyo akozesebwe okukola ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi eky’ekyuma. Kaakano mmukuddizza.” Oluvannyuma maama we yatwala ebitundu bya ffeeza 200 n’abiwa omuweesi, omuweesi n’abikolamu “ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi eky’ekyuma” era ebifaananyi ebyo ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka. Mikka, eyalina “ennyumba ya bakatonda,” yakola efodi n’ebifaananyi bya baterafi era n’alonda omu ku baana be okuba kabona we. Wadde nga mu kukola ebyo byonna baali balowooza nti baweesa Yakuwa kitiibwa, ebyo bye baakola byali bikyamu nnyo, kubanga byali bikontana n’ekiragiro kya Yakuwa ekigaana abantu be okusinza ebifaananyi, (Kuv 20:4-6) era byali tebikwatagana na nteekateeka Yakuwa gye yali assizzaawo ey’okumusinziza ku weema entukuvu era n’ey’obwakabona. (Bal 17:1-6; Ma 12:1-14) Oluvannyuma Mikka yaleeta Yonasaani, muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa mu maka ge akole nga kabona we. (Bal 18:4, 30) Wadde ng’ekyo Mikka kye yali akoze kyali kikyamu nnyo, yalowooza nti kyali kisanyusa Yakuwa era yagamba nti: “Kaakano nkimanyi nti Yakuwa ajja kunkolera ebirungi.” (Bal 17:7-13) Kyokka, wadde nga Yonasaani yali Muleevi, teyali wa mu lunyiriri lwa Alooni era yali talina kuweereza nga kabona.—Kbl 3:10.
it-2-E lup. 391 ¶2
Mikka
Nga wayise ekiseera kitono, Mikka ng’ali wamu n’ekibinja ky’abasajja abalala, baawondera Abadaani. Bwe baabatuukako, Abadaani baababuuza ensonga lwaki baali babawondera, era Mikka n’abagamba nti: “Mututte bakatonda bange be nnakola era mugenze ne kabona. Kaakano nsigazza ki?” Ab’ekika kya Ddaani baagamba Mikka nti bwe yandyeyongedde okubawondera ng’abasaba ebintu bye, bandimulumbye ne bamutuusaako obulabe. Mikka bwe yakiraba nti ye n’abasajja be, Abadaani baali babasinza amaanyi, yakyusa n’addayo ewuwe. (Bal 18:22-26) Oluvannyuma Abadaani baalumba ekibuga ekyali kiyitibwa Layisi ne bakyokya omuliro, era we kyali ne bazimbawo ekibuga ekirala kye baatuuma Ddaani. Yonasaani ne batabani be baafuuka bakabona b’Ababadaani. Abadaani “bassaawo ekifaananyi ekyole Mikka kye yakola, era ne kisigala eyo ennaku zonna ennyumba ya Katonda ow’amazima [weema entukuvu] ze yamala ng’eri mu Siiro.”—Bal 18:27-31.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Enzivvuunula ya Bayibuli Ennungi Ennyo
6 Obukakafu obulaga nti erinnya lya Katonda lirina okubeera mu Bayibuli bweyongedde. Mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 erinnya lya Katonda lirimu emirundi 7,216. Mu nkyusa eno erinnya lya Katonda lisangibwa mu bifo ebirala 6 we litaali mu nkyusa eya 1984. Bitaano ku bifo ebyo bisangibwa mu 1 Samwiri 2:25; 6:3; 10:26; 23:14, 16. Lyateekebwa mu bifo ebyo kubanga Emizingo egy’Ennyanja Enfu egyaliwo emyaka egisukka mu 1,000 ng’ebiwandiiko by’Abamasoleti eby’Olwebbulaniya tebinnabaawo, girimu erinnya lya Katonda mu nnyiriri ezo. Ate ekifo ekirala mwe lyayongerwa kye Ekyabalamuzi 19:18, era lyayongerwamu oluvannyuma lw’okwekenneenya ebiwandiiko ebirala eby’edda.
JJANWALI 17-23
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 20-21
“Noonyanga Obulagirizi bwa Yakuwa”
Osobola Okuba nga Finekaasi ng’Oyolekagana n’Embeera Enzibu?
Oluvannyuma lw’abasajja b’e Gibeya, ab’omu kika kya Benyamini, okukwata omuzaana w’omusajja Omuleevi era ne bamutta, abantu okuva mu bika bya Isirayiri ebirala baakuŋŋaana okulwanyisa Ababenyamini. (Balam. 20:1-11) Bwe baali tebannatandika kulwana, baasooka kusaba Yakuwa, naye emirundi ebiri miramba baawangulwa. (Balam. 20:14-25) Naye ekyo kyandibaleetedde okulowooza nti Yakuwa tawulira ssaala zaabwe? Ddala Yakuwa yasanyukira ekyo kye baali basazeewo okukola oluvannyuma lw’ekibi ekyo ekyali kikoleddwa?
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ekyabalamuzi
20:17-48—Lwaki Yakuwa yaleka Ababenyamini okuwangula ebika ebirala emirundi ebiri, wadde nga Ababenyamini baali beetaaga okubonerezebwa? Bwe yaleka ebika ebyesigwa okuwangulwa, Yakuwa yabagezesa obanga baali bamalirivu okumalirawo ddala ebikolwa ebibi mu Isirayiri.
Osobola Okuba nga Finekaasi ng’Oyolekagana n’Embeera Enzibu?
Ekyo kituyigiriza ki? Oluusi ebizibu ebimu ebiba mu kibiina bisigalawo wadde ng’abakadde bafubye okubigonjoola era nga bafubye n’okusaba Katonda abayambe. Ekyo bwe kibaawo, abakadde baba beetaaga okujjukira ebigambo bya Yesu bino: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.” (Luk. 11:9) Ne bwe kiba nti Yakuwa alabika ng’aluddewo okuddamu okusaba kwabwe, abakadde basaanidde okuba abakakafu nti ajja kubaddamu mu kiseera kye ekituufu.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Obadde Okimanyi?
Envuumuulo zaakozesebwanga zitya mu ntalo ez’edda?
Dawudi yakozesa nvuumuulo okutta Goliyaasi. Dawudi ayinza okuba nga yayiga okukozesa envuumuulo mu biseera we yalundiranga endiga ng’akyali mulenzi muto.—1 Sam. 17:40-50.
Abamisiri n’Abaasuli baakolanga ebifaananyi ebiriko abalwanyi abakutte envuumuulo. Okusobola okukola envuumuulo, baddiranga akagoye oba akaliba ne bakasibako obuguwa bubiri. Omulwanyi yateekanga ejjinja eryetooloovu mu nvuumuulo n’agiwuuba, oluvannyuma n’ata akamu ku buguwa obwo ejjinja ne liva mu nvuumuulo nga liddukira ku sipiidi ya maanyi nnyo ne likuba omulabe.
Abayiikuula eby’omu ttaka baavumbula mu Buwalabu amayinja mangi abalwanyi ge baakozesanga mu ntalo. Abalwanyi abakugu abaakozesanga envuumuulo kigambibwa nti ejjinja lye baakasukanga lyaddukiranga ku sipiidi ya maanyi nnyo. Abawandiisi b’ebitabo abamu bagamba nti ejjinja eryakasukibwanga lyagwanga wala ng’akasaale gye kagwa.—Balam. 20:16.
JJANWALI 24-30
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUUSI 1-2
“Laga Abalala Okwagala Okutajjulukuka”
Koppa Mikwano gya Katonda egy’Oku Lusegere
5 Luusi yali asobola okugamba nti maama we n’ab’eŋŋanda ze abalala abandibadde bamulabirira baali mu Mowaabu. Mowaabu ye yali ensi ye. Abantu b’e Mowaabu be baali abantu be, olulimi lwe baali boogera lwe yali ayogera, era yali amanyidde buwangwa bwayo. Ebyo Nawomi yali tasobola kubimuwa mu Besirekemu. Mu butuufu, Nawomi yakubiriza Luusi okusigala mu Mowaabu. Nawomi yagamba baka baana be nti yali tasobola kubafunira basajja ba kufumbirwa wadde amaka. Kiki Luusi kye yandikoze? Munne Olupa ye yasalawo okuddayo “eri abantu be ne bakatonda be.” (Luus. 1:9-15) Ne Luusi yali ayagala okuddayo eri bakatonda ab’obulimba abantu be be baali basinza? Nedda.
Koppa Mikwano gya Katonda egy’Oku Lusegere
6 Kirabika Luusi yayiga ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu mwami we eyafa oba okuyitira mu Nawomi. Yakuwa teyali nga bakatonda b’e Mowaabu. Luusi yali akimanyi nti Yakuwa ye Katonda gw’agwanidde okwagala era gw’agwanidde okusinza. Kyokka okumanya obumanya ekyo kyali tekimala. Luusi yalina okusalawo. Yakuwa gwe yandironzeewo okuba Katonda we? Luusi yasalawo mu ngeri ey’amagezi. Yagamba Nawomi nti: “Abantu bo be banaaba abantu bange, ne Katonda wo y’anaaba Katonda wange.” (Luus. 1:16) Wadde nga tukwatibwako nnyo bwe tulowooza ku kwagala Luusi kwe yalaga Nawomi, ekisinga okutukwatako kwe kwagala Luusi kwe yalina eri Yakuwa. Bowaazi naye yasiima nnyo Luusi olw’okusalawo okuddukira wansi w’ebiwaawaatiro bya Yakuwa. (Soma Luusi 2:12.) Ekyo kituleetera okulowooza ku kanyonyi akato akanoonya obukuumi wansi w’ebiwaawaatiro bya maama waako. (Zab. 36:7; 91:1-4) Yakuwa yalinga omuzadde eri Luusi. Yakuwa yawa Luusi emikisa olw’okukkiriza kwe yayoleka era Luusi teyejjusa n’akatono olw’ekyo kye yasalawo okukola.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Luusi
1:13, 21—Yakuwa ye yaleetera Nawomi ebizibu? Nedda. Nawomi yali tanenya Yakuwa olw’ebizibu bye yali ayiseemu. Wabula, bwe yalaba ebyo byonna ebyali bimutuuseeko, yalowooza nti Katonda yali amuvuddeko. Yawulira ennaku ey’amaanyi. Ng’oggyeeko ekyo, mu biseera ebyo omuntu bwe yazaalanga, kyatwalibwanga nti Katonda amuwadde omukisa ate bwe yabanga omugumba kyagambibwanga nti yakolimirwa. Olw’okuba yali tafunye bazzukulu ate nga n’abaana be bafudde, Nawomi ayinza okuba yalowooza nti Yakuwa ye yali amuleetedde ebizibu.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
‘Omukazi Omwegendereza’
B’Otwala ng’Ababo Be Baluwa?
5 Sayiri Luusi gwe yawuula yavaamu efa ng’emu, nga ze kiro nga 14. Kirabika yamusiba mu kitambaala n’amwetikka ku mutwe n’addayo e Besirekemu ng’obudde butandise okukwata.—Luus. 2:17.
6 Nawomi yasanyuka okulaba mukaamwana we Luusi ng’akomyewo, era oboolyawo ne yeewuunya nnyo bwe yalaba ekitereke kya sayiri kye yali yeetisse. Luusi era yali aleese n’emmere eyali efisseewo ku eyo Bowaazi gye yali awadde abakozi be, era eyo gye baalya ekyeggulo. Nawomi yamubuuza nti: “Olondereredde wa leero, era okoledde wa? Oyo akussizzaako omwoyo aweebwe omukisa.” (Luus. 2:19) Nawomi bwe yalaba ekitereke ekinene Luusi kye yajja nakyo, yakitegeera nti waaliwo eyali amussizzaako omwoyo n’amulaga ekisa.
7 Baatandika okunyumya, era Luusi n’abuulira Nawomi ebyo Bowaazi bye yali amukoledde. Nawomi yasanyuka nnyo era n’agamba nti: “Yakuwa ataleseeyo kulaga abalamu n’abafu okwagala okutajjulukuka, amuwe omukisa.” (Luus. 2:20) Nawomi yakitwala nti ekisa Bowaazi kye yalaga Luusi kyali kivudde eri Yakuwa, oyo akubiriza abaweereza be okuba abagabi, era asuubiza okubasasula olw’ekisa kye balaga abalala.—Soma Engero 19:17.
8 Nawomi naye yagamba Luusi alondererenga mu nnimiro ya Bowaazi, nga Bowaazi bwe yali amugambye, era alondererenga kumpi n’abawala ab’omu nnyumba ya Bowaazi, abakunguzi balemenga okumuteganya. Luusi yawuliriza nnyazaala we era ‘ne yeeyongera okubeera naye.’ (Luus. 2:22, 23) Ekyo kyongera okulaga nti Luusi yalina okwagala okutajjulukuka. Ebyo bye tusoma ku Luusi byandituleetedde okwebuuza obanga tufa ku b’omu maka gaffe, era obanga tubawa obuyambi bwe beetaaga. Bwe twoleka okwagala okutajjulukuka ng’okwo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.
9 Nawomi ne Luusi bwe baali babeera wamu, ago gaali maka ga ddala? Abamu balowooza nti amaka okuba aga ddala galina okubaamu taata, maama, abaana, jjajja, n’abalala abalinga abo. Naye ebyo bye tusoma ku Luusi ne Nawomi bitulaga nti ne bwe kiba nti abamu ku b’omu maka baafa, abo ababa basigaddewo basobola okulagaŋŋana omukwano n’ekisa ne baba basanyufu. Abantu b’obeera nabo obatwala nga ba muwendo? Yesu yagamba nti abo abali mu kibiina Ekikristaayo babeera ba ŋŋanda zaffe ddala ne bwe tuba nti tetulina ba ŋŋanda zaffe ba musaayi.—Mak. 10:29, 30.
JJANWALI 31–FEBWALI 6
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUUSI 3-4
“Weekolere Erinnya Eddungi era Olikuume”
w12-E 10/1 lup. 22 ¶5
“Omukazi Omwegendereza”
Bowaazi yayogera n’obukkakkamu, era ekyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu Luusi amaanyi. Yamugamba nti: “Yakuwa akuwe omukisa mwana wange. Okwagala okutajjulukuka kw’olaze ku nkomerero kusinze okwo kwe walaga mu kusooka, kubanga togenze kunoonya musajja mu bavubuka, ka babe baavu oba bagagga.” (Luus. 3:10) Luusi yalaga okwagala okutajjulukuka “mu kusooka,” bwe yajja ne Nawomi mu Isirayiri era n’amulabirira. Okwagala okutajjulukuka kwe yalaga ku “nkomerero” kwe kuba nti yali mwetegefu okufumbirwa Bowaazi. Bowaazi yakiraba nti omukazi omuto nga Luusi yandibadde anoonya omuntu ow’okufumbirwa mu bavubuka, ka babe baavu oba bagagga. Kyokka ekyo Luusi si kye yakola; yali ayagala okukolera Nawomi ekintu ekirungi era ekyandisobozesezza erinnya lya bba wa Nawomi eyali yafa obuteerabirwa. Tekyewuunyisa nti Bowaazi yatendereza omukazi ono.
w12-E 10/1 lup. 23 ¶1
“Omukazi Omwegendereza”
Nga kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Luusi bwe yalowooza ku ebyo Bowaazi bye yali amugambye nti abantu bonna baali bamumanyi ‘ng’omukazi omwegendereza’! Awatali kubuusabuusa, eky’okuba nti Luusi yali ayagala nnyo okumanya Yakuwa n’okumuweereza kye kyaviirako abantu okumwogerako bwe batyo. Ate era yali alaze ekisa eky’ensusso n’okwagala eri Nawomi n’abantu be bwe yasalawo okugoberera empisa n’obulombolombo bye yali tamanyidde. Bwe tuba n’okukkiriza ng’okwa Luusi, tujja kuba tufaayo ku balala nga tussa ekitiibwa mu mpisa z’abantu b’omu kitundu mwe tuli, era tujja kumanyibwa ng’abantu abalungi.
w12-E 10/1 lup. 24 ¶3
“Omukazi Omwegendereza”
Luusi yafumbirwa Bowaazi, era Bayibuli egamba nti: “Yakuwa n’asobozesa Luusi okufuna olubuto, n’azaala omwana ow’obulenzi.” Abakazi b’omu Besirekemu baasanyukirako Nawomi era ne batendereza Luusi olw’okuba yali amusingira abaana ab’obulenzi musanvu. Bayibuli era eraga nti omwana Luusi gwe yazaala yafuuka jjajja wa Kabaka Dawudi. (Luus. 4:11-22) Ate nga Dawudi yali jjajja wa Yesu Kristo.—Mat. 1:1.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Luusi
4:6—Mu ngeri ki omununuzi gye ‘yandyonoonye’ obusika bwe ng’anunula ekibanja? Okusooka, singa omuntu yabanga atunze ettaka lye olw’obwavu, ssente omununuzi ze yabanga alina okusasula zaasinziiranga ku myaka egyabanga gibulayo okutuuka ku Jjubiri eddako. (Leev. 25:25-27) Bwe yandinunudde ekibanja ekyo kyandikendeezezza ku by’obugagga bwe. Ate era Luusi bwe yandizadde omwana ow’obulenzi, omwana oyo ye yandibadde omusika w’ettaka eryo, so si ab’eŋŋanda z’omugenzi.
FEBWALI 7-13
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 1-2
“Tegeeza Yakuwa Ebikuli ku Mutima”
Yategeeza Katonda Ebyamuli ku Mutima
12 Kaana yateerawo abaweereza ba Yakuwa bonna ekyokulabirako ekirungi ku bikwata ku kusaba. Yakuwa ayagala abantu be bamutegeeze byonna ebibali ku mutima, ng’omwana bw’ategeeza muzadde we ebimuli ku mutima. (Soma Zabbuli 62:8; 1 Abassessalonika 5:17.) Omutume Peetero yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebigambo bino ebitukubiriza okusaba: ‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza, kubanga abafaako.’—1 Peet. 5:7.
w07-E 3/15 lup. 16 ¶4
Engeri Kaana Gye Yafunamu Emirembe
Ebyo bituyigiriza ki? Bwe tusaba Yakuwa nga tulina ebitweraliikiriza, tusaanidde okumubuulira engeri gye twewuliramu era ne tumutegeeza bye twetaaga. Bwe tuba nga tetulina kirala kye tuyinza kukolawo okusobola okugonjoola ekizibu, tusaanidde okukireka mu mikono gye. Ekyo kye kisingayo okuba eky’amagezi.—Nge. 3:5, 6.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka
2:10—Lwaki mu ssaala Kaana gye yasaba yagamba nti Yakuwa “ajja kuwa kabaka we obuyinza” ng’ate tewaaliwo muntu eyali afuga nga kabaka mu Isirayiri? Eky’okuba nti Abayisirayiri baali ba kufuna kabaka kyali kyalagulwako dda mu Mateeka ga Musa. (Ma. 17:14-18) Ng’anaatera okufa, Yakobo yagamba: “Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda.” (Lub. 49:10) Ate era ng’ayogera ku Saala—jjajja w’Abayisirayiri, Yakuwa yagamba nti: “Bakabaka b’amawanga baliva mu ye.” (Lub. 17:16) N’olwekyo, Kaana yali ayogera ku kabaka ow’omu biseera eby’omu maaso.
FEBWALI 14-20
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 3-5
“Yakuwa Afaayo ku Balala”
Omuyinza w’Ebintu Byonna Afaayo ku Balala
3 Samwiri yatandika ‘okuweereza’ Yakuwa ku weema entukuvu ng’akyali muto nnyo. (1 Sam. 3:1) Lumu ekiro Samwiri bwe yali yeebase, waliwo ekintu ekitali kya bulijjo ekyabaawo. (Soma 1 Samwiri 3:2-10.) Yawulira eddoboozi nga limuyita. Olw’okuba Samwiri yali alowooza nti eddoboozi eryo lyali lya Eli, kabona asinga obukulu, yaddukka n’agenda gy’ali n’amugamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Eli yamugamba nti yali tamuyise. Ekintu ekyo bwe kyabaawo emirundi emirala ebiri, Eli yakitegeera nti Katonda ye yali ayita Samwiri. Bwe kityo yabuulira Samwiri kye yalina okwogera era Samwiri n’akola bw’atyo. Lwaki Yakuwa ng’ayitira mu malayika teyategeerezaawo Samwiri nti ye yali amuyita? Ekyo Bayibuli tekitubuulira, naye ebyo ebyaddirira biraga nti Yakuwa ayinza okuba nga yakola bw’atyo olw’okuba yali afaayo ku nneewulira ya Samwiri eyali akyali omuto. Lwaki tugamba tutyo?
Omuyinza w’Ebintu Byonna Afaayo ku Balala
4 Soma 1 Samwiri 3:11-18. Amateeka ga Yakuwa gaalagira abaana okussa ekitiibwa mu bantu abakulu, naddala abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa. (Kuv. 22:28; Leev. 19:32) N’olwekyo, kiteekwa okuba nga tekyali kyangu eri omwana Samwiri okugenda eri Eli ku makya okumubuulira omusango Yakuwa gwe yali amusalidde. Bayibuli egamba nti Samwiri “yali atya okubuulira Eli ebyo bye yali ayoleseddwa.” Naye Yakuwa yakyoleka kaati eri Eli nti ye yali ayita Samwiri. Bwe kityo, Eli yagamba Samwiri amubuulire Katonda kye yali amugambye. Yamugamba nti: ‘Tonkisa kigambo kyonna ku ebyo byonna bye yakugambye.’ Samwiri ‘yamubuulira byonna.’
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka
3:3—Ddala Samwiri yasulanga mu Awasinga Obutukuvu? Nedda. Samwiri yali Muleevi ow’omu kika ky’Abakokasi abataali bakabona. (1 Byom. 6:33-38) N’olw’ensonga eyo, yali takkirizibwa ‘kutunuulira bintu bitukuvu.’ (Kubal. 4:17-20) Ekifo kyokka Samwiri mwe yali akkirizibwa okutuuka lwe luggya lwa weema. Era kirabika eyo gye yasulanga. Eri naye ayinza okuba nga yasulanga mu luggya olwo. Ebigambo “omwali Essanduuko ya Katonda” biteekwa okuba nga byogera ku kifo awaali oluggya.
FEBWALI 21-27
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 6-8
“Ani Kabaka Wo?”
it-2-E lup. 163 ¶1
Obwakabaka bwa Katonda
Basaba Omuntu Okubafuga nga Kabaka. Nga wayise emyaka nga 400 okuva Abayisirayiri lwe baava e Misiri, era nga wayise emyaka nga 800 okuva Katonda lwe yakola ne Ibulayimu endagaano, Abayisirayiri baasaba wabeewo omuntu abafuga nga kabaka nga bwe kyali mu mawanga amalala. Ekyo kyalaga nti baali bagaanye Yakuwa okuba Kabaka waabwe. (1Sa 8:4-8) Abantu baali batuufu okusuubira nti ekiseera kyandituuse Katonda n’abateerawo kabaka, kubanga ekyo kyali kikwatagana n’ekyo Katonda kye yali asuubizza Ibulayimu era ne Yakobo. Ate era obunnabbi Yakobo bwe yayogera ku Yuda ng’anaatera okufa (Lub 49:8-10), ebigambo Yakuwa bye yagamba Abayisirayiri nga bamaze okuva e Misiri (Kuv 19:3-6), ekimu ku biragiro bye yabawa mu Mateeka (Ma 17:14, 15), n’ebimu ku ebyo bye yaleetera nnabbi Balamu okwogera, byonna byalaga nti ekiseera kyandituuse ne bafugibwa kabaka (Kbl 24:2-7, 17). Ate era, ebigambo Kaana maama wa Samwiri bye yayogera mu ssaala gye yasaba, nabyo bikkaatiriza ensonga eyo. (1Sa 2:7-10) Wadde kyali kityo, Yakuwa yali tannaba kubikkula mu bujjuvu ‘kyama kye ekitukuvu’ ekikwata ku Bwakabaka. Era yali tannaba kulaga kiseera we yandibadde ateerawo Obwakabaka obwo, engeri gye bwandibadde butegekeddwamu, na baani abandibadde bafuga mu Bwakabaka obwo. Era yali tannaba kulaga obanga bwandibadde bufugira ku nsi oba mu ggulu. N’olwekyo Abayisirayiri beetulinkiriza bwe baasaba baweebwe omuntu abafuge nga kabaka.
Yagumiikiriza Wadde nga Waaliwo Ebizibu
Weetegereze engeri Yakuwa gye yayanukulamu Samwiri bwe yamutegeeza ensonga eyo okuyitira mu kusaba: “Wuliriza ebyo byonna abantu bye bakugamba, kubanga tebagaanye ggwe, wabula nze gwe bagaanye okuba kabaka waabwe.” Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byabudaabuda nnyo Samwiri! Ku luuyi olulala, ekyo abantu kye baakola kyalaga nti baali beesambye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna! Yakuwa yagamba nnabbi we okulabula Abayisirayiri ku ebyo ebyandibatuuseeko nga bafugibwa omuntu. Samwiri bwe yabagamba ebyo Yakuwa bye yali amugambye, abantu baakalambira nti: “Wadde kiri kityo, ffe twagala kuba na kabaka anaatufuganga.” Olw’okuba yali agondera Katonda we bulijjo, Samwiri yagenda n’afuka amafuta ku kabaka Yakuwa gwe yali alonze.—1 Sam. 8:7-19.
Kyeyolese nti Obufuzi bwa Yakuwa Bwe Busingayo Obulungi!
9 Ebyafaayo biraze bulungi obutuufu bw’ebyo Yakuwa bye yayogera. Okufugibwa abantu kyaviirako Abayisirayiri okufuna ebizibu eby’amaanyi, naddala kabaka eyabanga afuga bwe yavanga ku Yakuwa. Ekyokulabirako ky’eggwanga lya Isirayiri kiraga bulungi ensonga lwaki okumala emyaka mingi, gavumenti z’abantu ziremereddwa okufuga abantu obulungi. Kyo kituufu nti bannabyabufuzi abamu basaba Katonda abawe emirembe n’obutebenkevu, naye Katonda tasobola kuwa mikisa abo abatagondera bufuzi bwe.—Zab. 2:10-12.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Lwaki Wandibatiziddwa?
13 Omuntu ateekwa okukyusa enneeyisa ye ey’emabega nga tannabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Okukyuka kukolebwa kyeyagalire oluvannyuma lw’omuntu okumalirira mu mutima gwe okugoberera Yesu Kristo. Abantu ng’abo baleka amakubo gaabwe amakyamu ag’emabega era ne bamalirira okukola ekituufu mu maaso ga Katonda. Mu Byawandiikibwa, ekigambo ky’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ekivvuunulwa okukyuka, kitegeeza okukyuka n’otunula gy’obadde okubye amabega. Ekikolwa kino kitegeeza okuva mu kkubo ekkyamu n’odda eri Katonda. (1 Bassek. 8:33, 34) Okukyuka kwetaagisa ‘ebikolwa ebyoleka okwenenya.’ (Bik. 26:20) Kitegeeza okuleka okusinza okw’obulimba, ne tukolera ku biragiro bya Katonda, era ne tumwemalirako. (Ma. 30:2, 8-10; 1 Sam. 7:3) Okukyuka kweyolekera mu nkyukakyuka ze tukola mu ndowooza zaffe, mu biruubirirwa byaffe, n’engeri gye tweyisaamu. (Ezk. 18:31) Tukiraga nti ‘tukyuse’ bwe twambala omuntu omuggya ne tulekera awo okukola ebintu ebibi.—Bik. 3:19; Bef. 4:20-24; Bak. 3:5-14.
FEBWALI 28–MAAKI 6
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 9-11
“Mu Kusooka Sawulo Yali Mwetoowaze”
Ba Mwetoowaze ng’Otambula ne Katonda Wo
11 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka Sawulo. Mu kusooka Sawulo yali mwetoowaze. Yali amanyi obusobozi bwe we bukoma era bwe yaweebwa obuvunaanyizibwa obulala yali agaanye n’okubukkiriza. (1 Sam. 9:21; 10:20-22) Kyokka oluvannyuma Sawulo yatandika okwetulinkiriza. Yayoleka engeri eyo embi nga waakayita ekiseera kitono ng’amaze okufuuka kabaka. Lumu yalemererwa okugumiikiriza ng’alindirira nnabbi Samwiri. Mu kifo ky’okwesiga Yakuwa nti yali asobola okuyamba abantu be, Sawulo yawaayo ekiweebwayo ekyokebwa wadde nga si ye yalina okukiwaayo. N’ekyavaamu, Yakuwa yanyiigira Sawulo era oluvannyuma yamuggyako n’obwakabaka. (1 Sam. 13:8-14) Tusaanidde okuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Sawulo, twewale okwetulinkiriza.
Engeri Gye Tuyinza Okwoleka Omwoyo ogw’Okwefiiriza
8 Ebyo bye tusoma ku Kabaka Sawulo owa Isirayiri bituyamba okulaba engeri omwoyo ogw’okwefaako ffekka gye guyinza okutulemesa okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Sawulo we yatandikira okufuga nga kabaka, yali musajja mwetoowaze. (1 Sam. 9:21) Sawulo teyabonereza Bayisirayiri abaali boogera obubi ku bufuzi bwe, wadde ng’ekyo yali asobola okukikola okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yali amulonze okuba kabaka. (1 Sam. 10:27) Kabaka Sawulo yakolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa n’akulembera Abayisirayiri okulwanyisa Abaamoni. Oluvannyuma lw’Abayisirayiri okuwangula Abaamoni, Sawulo yalaga nti Yakuwa ye yali abasobozesezza okutuuka ku buwanguzi obwo.—1 Sam. 11:6, 11-13.
w95-E 12/15 lup. 10 ¶1
Abaamoni Baayoleka Obukyayi Wadde nga Baali Balagiddwa Ekisa
Ne ku luno Abaamoni baakola ekintu ekyayoleka obukyayi era ekyalaga nti baali tebasiimye kisa Yakuwa kye yabalaga. Baalumba Abayisirayiri era ekyo Yakuwa teyakibuusa maaso. Bayibuli egamba nti: “Sawulo bwe yabiwulira [ebigambo bya Nakasi], omwoyo gwa Katonda ne gumuwa amaanyi, era n’asunguwala nnyo.” Ng’akolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, Sawulo yakuŋŋaanya eggye lya balwanyi 330,000 ne balwanyisa Abaamoni ne babawangula. “Abo abaawonawo baasaasaana, era buli omu yadduka yekka.”—1 Sam. 11:6, 11.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka
9:9—Ebigambo “mu biseera ebyo nnabbi yayitibwanga mulabi” birina makulu ki? Ebigambo bino biraga nti bannabbi bwe beeyongera okumanyika mu kiseera kya Samwiri n’ekya bakabaka, ekigambo “nnabbi” kye kyadda mu kifo ky’ekigambo “omulabi.” Samwiri atwalibwa okuba nnabbi eyasooka.—Bik. 3:24.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Abakadde, Okutendeka Abalala Mukitwala Mutya?
Ba Mwetegefu Okubatendeka era Ba Mukwano Gwabwe
16 Ba mwetegefu. Samwiri bwe yakimanya nti Abayisirayiri baali baagala omuntu okuba kabaka waabwe, ekyo kyamuyisa bubi nnyo. (1 Sam. 8:4-8) Mu butuufu, Samwiri teyasooka kwagala kukola ekyo abantu kye baali baagala, ne kiba nti, emirundi esatu Yakuwa yamukubiriza okubawuliriza. (1 Sam. 8:7, 9, 22) Wadde kyali kityo, Samwiri teyakwatirwa buggya musajja eyali agenda okumuddira mu bigere. Yakuwa bwe yamugamba okufuka amafuta ku Sawulo, Samwiri yakola ekyo Yakuwa kye yamugamba okukola, si lwa kutuusa butuusa luwalo, naye lwa kuba yali ayagala nnyo Yakuwa.
17 Okufaananako Samwiri, abakadde bangi leero abalina obumanyirivu bafaayo nnyo ku abo be batendeka. (1 Peet. 5:2) Abakadde ng’abo beetegefu okutendeka abalala era tebatya nti abo be batendeka bajja kubatwalako enkizo zaabwe. Mu butuufu, tebabatwala ng’abo abavuganya nabo, wabula babatwala nga ‘bakozi bannaabwe,’ abajja okubayambako mu kulabirira ekibiina. (2 Kol. 1:24; Beb. 13:16) Abakadde ng’abo bafuna essanyu lingi okulaba ng’abo be batendese bakozesa obusobozi bwabwe okuyamba ekibiina.—Bik. 20:35.
18 Ba mukwano gw’abo b’otendeka. Ku lunaku Samwiri lwe yasisinkana Sawulo, yali asobola okukwata eccupa n’amufukako mangu amafuta okufuuka kabaka, n’amusiibula naye nga tamuteeseteese. Mu kifo ky’ekyo, Samwiri yatwala akadde n’ateekateeka bulungi omutima gwa Sawulo. Baasooka kuliirako wamu, ne batambulako wamu, ne banyumya okumala ekiseera kiwanvu, oluvannyuma ne bawummulako, oluvannyuma Samwiri n’alyoka afuka amafuta ku Sawulo.
19 Mu ngeri y’emu leero, omukadde bw’aba tannatandika kutendeka wa luganda, asaanidde okusooka okuteekawo embeera ennungi n’okumufuula mukwano gwe. Kyo kituufu nti ebyo omukadde by’akola okusobola okuteekateeka omutima gw’oyo gw’ayagala okutendeka, bisobola okuba eby’enjawulo okusinziira ku nsi oba ku kitundu gye babeera. Wadde kiri kityo, singa omukadde awaayo obudde okubeerako awamu n’oyo gw’atendeka, aba ng’amugamba nti, “Oli wa muwendo nnyo gye ndi.” (Soma Abaruumi 12:10.) Mu butuufu, ow’oluganda kimusanyusa nnyo okulaba ng’omukadde amufaako.
20 Abakadde musaanidde okukijjukira nti: Omusomesa omulungi y’oyo ayagala okutendeka abalala era nga n’abo b’atendeka abaagala nnyo. (Geraageranya Yokaana 5:20.) Kyangu ow’oluganda okukiraba nti oyo amutendeka amufaako era ekyo kimuleetera okwagala okukolera ku ebyo by’amuyigiriza. N’olwekyo abakadde, ng’oggyeko okuyigiriza abalala, mufube okubafuula mikwano gyammwe.—Nge. 17:17; Yok. 15:15.