Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
MAAKI 7-13
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 12-13
“Okwetulinkiriza Kuvaamu Okufeebezebwa”
Okwetulinkiriza Kuvaamu Okufeebezebwa
17 Mu kusooka, ekyo Sawulo kye yakola kiyinza okulabika ng’ekyali kisaanira. Abantu ba Katonda ‘baali mu buzibu obw’amaanyi’ era nga batidde nnyo olw’embera enzibu gye baalimu. (1 Samwiri 13:6, 7) Mazima ddala, tekiba kikyamu kubaako ky’okolawo bwe kiba nga kyetaagisa. Kyokka, jjukira nti Yakuwa asobola okulaba ekiri mu mutima n’amanya ebiruubirirwa omuntu by’aba nabyo. (1 Samwiri 16:7) Bwe kityo, ateekwa okuba ng’alina bye yalaba mu Sawulo ebitaayogerwako mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa ayinza okuba nga yalaba nti Sawulo teyali mugumiikiriza olw’okuba yalina amalala. Oboolyawo Sawulo yakitwala nti olw’okuba ye yali kabaka wa Isirayiri, teyalina kulindirira nnabbi omukadde akola akasoobo! Sawulo yawulira nti okulwayo kwa Samwiri kwamuwa ebbeetu okuwaayo ekiweebwayo n’okubuusa amaaso ebiragiro ebyamuweebwa. Kiki ekyavaamu? Samwiri teyasiima ekyo Sawulo kye yakola era yamunenya n’amugamba nti: “Obwakabaka bwo tebujja kuwangaala . . . kubanga togondedde ekyo Yakuwa kye yakulagira.” (1 Samwiri 13:13, 14) Okwetulinkiriza kwa Sawulo kwamuviiramu okufeebezebwa.
Obuwulize Bwo Yakuwa Abutwala nga bwa Muwendo
8 Bayibuli by’eyogera ku Kabaka Sawulo biraga bulungi nti obuwulize kintu kikulu nnyo. Mu ntandikwa, Sawulo yali mufuzi mulungi, muwombeefu, era yali ‘yeenyooma.’ Naye yatuuka ekiseera n’afuna amalala n’endowooza enkyamu ne kimuleetera okusalawo obubi. (1 Samwiri 10:21, 22; 15:17) Lumu Sawulo bwe yali ateekateeka okulwanyisa Abafirisuuti, Samwiri yagamba Sawulo alindeko okutuusa ng’azze okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa, era amuwe n’obulagirizi obulala. Kyokka Samwiri teyajja mu bwangu nga bwe kyali kisuubirwa, era abantu baatandika okusaasaana. Sawulo bwe yalaba biri bityo, “n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa.” Kino kyanyiiza Yakuwa. Samwiri bwe yajja, Sawulo yeewolereza nti yali awaddeyo ekiweebwayo olw’okuba Samwiri yali aluddeyo. Eri Kabaka Sawulo, okuwaayo ssaddaaka kyali kikulu okusinga okulindirira Samwiri ajje aweeyo ssaddaaka eyo. Samwiri yamugamba nti: “Okoze kya busirusiru. Togondedde kiragiro Yakuwa Katonda wo kye yakuwa.” Okujeemera Yakuwa kyaleetera Sawulo okuggibwako obwakabaka bwe.—1 Samwiri 10:8; 13:5-13.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Onookolera ku Kulabula Yakuwa kw’Atuwa?
15 Kyandiba nti Abayisirayiri baali balowooza nti kabaka omuntu obuntu gwe balabako yandibadde asobola okubayamba okusinga Yakuwa? Bwe kiba nti bwe batyo bwe baali balowooza, baali bagoberera ekintu ekitaliimu nsa! Ate era okugoberera ekintu ekyo ekitaliimu nsa kyali kisobola okubaleetera okugoberera ebintu ebirala ebitaliimu nsa ebiva eri Sitaani. Bakabaka baali basobola okubaleetera okusinza ebifaananyi. Abantu abasinza ebifaananyi balowooza nti basobola okwesiga bakatonda abaakolebwa mu mayinja oba mu miti olw’okuba basobola okulaba bakatonda abo n’okubakwatako. Bagaana okwesiga Yakuwa, Katonda atalabika, eyatonda ebintu byonna. Naye ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ebifaananyi ‘tebirina mugaso.’ (1 Kol. 8:4) Tebisobola kulaba, kuwulira, kwogera, wadde okukola ekintu kyonna. N’olwekyo, tekiba kya magezi kusinza bifaananyi olw’okuba osobola okubiraba n’okubikwatako. Tebisobola kuyamba muntu yenna. Bintu ebitaliimu nsa era ‘buli abyesiga alibifaanana.’—Zab. 115:4-8.
MAAKI 14-20
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 14-15
“Okuba Omuwulize Kisinga Ssaddaaka”
Obuwulize Bwo Yakuwa Abutwala nga bwa Muwendo
4 Olw’okuba ye Mutonzi, Yakuwa ye nnannyini bintu byonna bye tulina. Kati olwo, waliwo ekintu kyonna kye tusobola okumuwa? Yee, tulina ekintu eky’omuwendo ennyo kye tusobola okumuwa. Kye kiruwa ekyo? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo bino: “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange, ndyoke mbeere n’eky’okuddamu eri oyo ansoomooza.” (Engero 27:11) Bwe tuba abawulize tuba tulina kye tuwadde Katonda. Wadde ng’embeera zaffe za njawulo, bwe tuba abawulize, buli omu ku ffe asobola okukiraga nti Sitaani Omulyolyomi mulimba okugamba nti abantu tebasobola kunywerera ku Katonda nga bafunye ebizibu. Eyo nga nkizo ya maanyi!
it-2-E lup. 521 ¶2
Obuwulize
Okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda tuteekeddwa okuba abawulize. Samwiri yagamba Kabaka Sawulo nti: “Yakuwa asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Yakuwa? Okuba omuwulize [obutereevu, okuwuliriza] kisinga ssaddaaka, n’okussaayo omwoyo kisinga amasavu g’endiga ennume.” (1Sa 15:22) Omuntu bw’ataba muwulize aba ajeemedde ekigambo kya Yakuwa, aba akiraze nti teyeesiga kigambo ekyo, takikkiririzaamu, era nti takkiririza ne mu Yakuwa, Ensibuko y’ekigambo ekyo. N’olwekyo omuntu agaana okugondera Yakuwa taba na njawulo na muntu eyeenyigira mu by’obusamize oba asinza ebifaananyi. (1Sa 15:23; geraageranya Bar. 6:16.) Tekiba na makulu omuntu okugamba nti akkiriziganya n’ebimugambiddwa, kyokka n’atabikolerako. Okugaana okukolera ku bulagirizi obuba bumuweereddwa kiba kiraga nti tassa kitiibwa mu oyo aba abumuwadde. (Mat 21:28-32) Abo abasanyuka okuwulira amazima agava eri Katonda era ne bakiraga nti bagakkirizza, kyokka ne batakolera ku ebyo bye baba bawulidde, baba beerimbalimba era tebafuna mikisa. (Yak 1:22-25) Omwana wa Katonda yakyoleka bulungi nti n’abo abakola ebintu ebifaananako n’ebyo ebyalagirwa, kyokka nga babikola mu ngeri enkyamu oba nga balina ekiruubirirwa ekikyamu, tebaliyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.—Mat 7:15-23.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 493
Obusaasizi
Omuntu okulaga abalala obusaasizi olw’okuba aba apikiriziddwa naye ng’ekyo ky’akoze kikontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala, ebivaamu tebiba birungi. Ekyo tukirabira ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka Sawulo. Ekiseera kyali kituuse Yakuwa okutuukiriza omusango gwe yali asalidde Abamaleki, abantu abaasookera ddala okulumba Abayisirayiri nga bavudde e Misiri. Sawulo yalagirwa obutabasaasira. Kyokka olw’okupikirizibwa abantu be yali afuga, Sawulo teyagondera mu bujjuvu kiragiro kya Yakuwa. N’olwekyo Yakuwa yamuggyako obwakabaka. (1Sa 15:2-24) Omuntu bw’aba nga mukakafu nti bulijjo engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu ye ntuufu, era ng’akulembeza Yakuwa mu buli kimu ky’akola, kimuyamba okwewala okukola ensobi ng’eyo Sawulo gye yakola, eyamuviirako okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa.
MAAKI 21-27
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 16-17
“Olutalo lwa Yakuwa”
“Olutalo lwa Yakuwa”
Dawudi yakakasa Sawulo nti yali asobola okuwangula Goliyaasi era n’amubuulira engeri gye yatta empologoma n’eddubu. Yali yeewaana bwewaanyi? Nedda. Dawudi yali amanyi ekyamusobozesa okutta ensolo ezo. Yagamba nti: “Yakuwa eyannunula mu maala g’empologoma n’ag’eddubu, y’ajja okunnunula ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.” Sawulo yalwaddaaki n’amatira, era n’agamba Dawudi nti: “Genda, Yakuwa abeere naawe.”—1 Samwiri 17:37.
Naawe oyagala okuba n’okukkiriza ng’okwa Dawudi? Weetegereze nti ebyo Dawudi bye yali amanyi ku Katonda ne bye yali ayiseemu mu bulamu bye byamuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu. Yali akimanyi nti Yakuwa akuuma abaweereza be era atuukiriza ebisuubizo bye. Bwe tuba twagala okuba n’okukkiriza ng’okwo, tulina okweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda ow’amazima. Bwe tussa mu nkola bye tuyiga era ne tulaba ebirungi ebivaamu, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera.—Abebbulaniya 11:1.
“Olutalo lwa Yakuwa”
Ebigambo Dawudi bye yayogera ng’addamu Goliyaasi byayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Teeberezaamu ng’omuvubuka oyo omuto agamba Goliyaasi nti: “Ojja gye ndi ng’olina ekitala n’amafumu abiri, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Yakuwa ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomoozezza.” Dawudi yali akimanyi nti amaanyi g’omuntu n’eby’okulwanyisa si bye byali ebikulu. Goliyaasi yali anyoomye Yakuwa Katonda, era Yakuwa yandibaddeko ne ky’akolawo. Nga Dawudi bwe yagamba, “olutalo lwa Yakuwa.”—1 Samwiri 17:45-47.
Kyo kituufu Dawudi yali akiraba nti Goliyaasi yali musajja muwagguufu era yalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi. Naye ekyo tekyamutiisa. Dawudi teyakola nsobi ya kwegeraageranya ne Goliyaasi nga Sawulo n’abasirikale be bwe baakola, wabula yageraageranya Goliyaasi ne Yakuwa. Goliyaasi yali wa ffuuti nga mwenda n’ekitundu obuwanvu era ng’asinga abasajja abalala bonna abaaliwo, naye yali muwanvu kwenkana wa bw’omugeraageranya n’Omufuzi w’obutonde bwonna? Mu maaso ga Yakuwa, Goliyaasi yali ng’omuntu omulala yenna, era Yakuwa yali asobola okumusaanyaawo mu bwangu.
“Olutalo lwa Yakuwa”
Leero, abaweereza ba Katonda tebalwana ntalo ng’ezo. (Matayo 26:52) Wadde kiri kityo, tusaanidde okukoppa okukkiriza kwa Dawudi. Okufaananako Dawudi, Yakuwa tusaanidde okumutwala nga wa ddala, era ye yekka gwe tusaanidde okutya n’okuweereza. Oluusi tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’ebizibu bye tulina, naye ebizibu byaffe bitono nnyo bw’obigeraageranya n’amaanyi ga Yakuwa agataliiko kkomo. Bwe tusalawo okusinza Yakuwa Katonda yekka era ne tumwesiga nga Dawudi bwe yakola, tewali kizibu kyandituleetedde kuggwaamu maanyi. Tewali kiyinza kulema Yakuwa!
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 871-872
Sawulo
Oluvannyuma lw’ekyo okubaawo, era n’oluvannyuma lwa Dawudi okufukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri eyandibadde addako, omwoyo gwa Yakuwa gwava ku Sawulo. Okuva olwo “omwoyo omubi okuva eri Yakuwa gwatandika okumuteganya.” Yakuwa bwe yamala okuggya omwoyo gwe ku Sawulo, yaleka omwoyo omubi okubeera ku Sawulo ne gumulemesa okubeera n’emirembe ku mutima, era ne gumuviirako okubeera n’enneewulira embi awamu n’endowooza embi. Olw’okuba Sawulo yajeemera Yakuwa, kyalaga nti omutima gwe n’endowooza ye tebyali birungi. Bwe kityo omwoyo gwa Yakuwa gwali tegusobola kumuwa bukuumi. Kyokka okuva bwe kiri nti Yakuwa yali akkirizza “omwoyo omubi” okudda mu kifo ky’omwoyo gwe ne gutandika okutawaanya Sawulo, kyali kiyinza okugambibwa nti ‘omwoyo omubi ogwo gwali guvudde eri Yakuwa.’ N’olwekyo abaweereza ba Sawulo baagwogerako ‘ng’omwoyo omubi okuva eri Katonda.’ Ng’akolera ku magezi agaamuweebwa omu ku baweereza be, Sawulo yayita Dawudi ajje mu lubiri amuyimbirenga buli lwe yabanga atawaanyizibwa “omwoyo omubi,” asobole okukkakkana.—1Sa 16:14-23; 17:15.
MAAKI 28–APULI 3
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 18-19
“Sigala ng’Oli Mwetoowaze ng’Olina Ebirungi by’Otuuseeko”
Weesige Omwoyo gwa Katonda ng’Oyolekaganye n’Enkyukakyuka Ezibaawo mu Bulamu
4 Mangu ddala, omuvubuka oyo omusumba yali agenda kubeera omuntu ow’ettutumu mu ggwanga lyonna. Yayitibwa okuweerezanga kabaka era n’okumukubira ennanga. Yatta Goliyaasi omulwanyi omuwagguufu eyali ow’entiisa ennyo era nga n’abasajja abalwanyi ab’omu Isirayiri batya okumwaŋŋanga. Bwe yalondebwa okukulembera abasajja abalwanyi, Dawudi yalwanyisa Abafirisuuti era n’abawangula. Abantu baamwagala nnyo. Baayiiya ennyimba ezimutendereza. Eyali omuwi w’amagezi owa Kabaka Sawulo yagamba nti Dawudi yali “mukugu mu kukuba entongooli; mulwanyi muzira, wa maanyi, mwogezi mulungi, alabika bulungi.”—1 Samwiri 16:18; 17:23, 24, 45-51; 18:5-7.
Laba Enjawulo Eriwo mu Bantu
6 Abantu abamu bafuna amalala olw’endabika yaabwe ennungi, olw’ettutumu lye balina, olw’okuba n’ekitone ky’okuyimba, olw’okuba n’amaanyi, oba olw’okuba n’ekifo ekya waggulu. Ebintu ebyo byonna Dawudi yabirina, naye yasigala nga mwetoowaze obulamu bwe bwonna. Bwe yamala okutta Goliyaasi era Kabaka Sawulo n’amuwa muwala we amuwase, Dawudi yagamba nti: “Nze ani, era ab’ennyumba ya kitange be baani mu Isirayiri, nze okuwasa muwala wa kabaka?” (1 Sam. 18:18) Kiki ekyayamba Dawudi okusigala nga mwetoowaze? Dawudi yali akimanyi nti ebintu ebyo byonna yabirina olw’okuba Katonda ‘yakutama,’ kwe kugamba, yeetoowaza n’amulowoozaako. (Zab. 113:5-8) Dawudi yakimanya nti buli kirungi kye yalina Yakuwa ye yali akimuwadde.—Geraageranya 1 Abakkolinso 4:7.
7 Okufaananako Dawudi, abaweereza ba Yakuwa leero booleka obwetoowaze. Tukwatibwako nnyo bwe tukimanya nti Yakuwa, Omuyinza w’ebintu byonna, mwetoowaze. (Zab. 18:35) Era tufuba okukolera ku kubuulirira kuno okugamba nti: “Mwambale obusaasizi, ekisa, obuwombeefu, obukkakkamu n’obugumiikiriza.” (Bak. 3:12) Ate era tukimanyi nti okwagala ‘tekwewaana era tekwegulumiza.’ (1 Kol. 13:4) Bwe twoleka obwetoowaze kisobola okuleetera abantu okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ng’enneeyisa ennungi ey’abakyala bw’eyinza okuleetera abaami baabwe okuyiga amazima, n’obwetoowaze bwaffe busobola okuleetera abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa.—1 Peet. 3:1.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 695-696
Nnabbi
Wadde nga bannabbi baalondebwanga omwoyo gwa Yakuwa, kirabika si nti buli kiseera baabanga boogera obubaka obuva eri Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, omwoyo gwa Katonda ‘gwabajjangako’ biseera bimu na bimu, ne gubawa obubaka bwe baalinanga okulangirira. (Ezk 11:4, 5; Mi 3:8) Bwe gwabajjangako, gwabaleeteranga okwogera. (1Sa 10:10; Yer 20:9; Am 3:8) Ng’oggyeeko okuba nti gwabaleeteranga okukola ebintu ebitali bya bulijjo, endabika yaabwe n’enneeyisa yaabwe yalaganga nti baalina amaanyi agatali ga bulijjo. Kino kituyamba okutegeera Bayibuli ky’etegeeza bw’eyogera ku bantu abamu nti baali ‘beeyisa nga bannabbi.’ (1Sa 10:6-11; 19:20-24; Yer 29:24-32; geraageranya Bik 2:4, 12-17; 6:15; 7:55.) Olw’okuba bwe baabanga bakola omulimu gwabwe baagukolanga n’omutima gwabwe gwonna, n’obuvumu era n’obunyiikivu, ekyo kyaleeteranga abalala okubalaba ng’abaali beeyisa mu ngeri etali ya bulijjo, era ng’abaali batalowooza bulungi. Eyo ye nsonga lwaki nnabbi eyajja okufuka ku Yeeku amafuta, abasirikale baamuyita omugwi w’eddalu. Kyokka bwe baakitegeera nti yali nnabbi, obubaka bwe yali aleese baabutwala nga bukulu nnyo. (2Sk 9:1-13; geraageranya Bik 26:24, 25.) Sawulo bwe yali ng’anoonya Dawudi okumutta, waliwo we yatuuka n’atandika ‘okweyisa nga nnabbi,’ ne yeeyambulamu engoye ze n’agalamira “ng’ali bwereere olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna,” era ekyo kyasobozesa Dawudi okudduka. (1Sa 19:18–20:1) Ekyo tekitegeeza nti bannabbi baateranga okubeera obwereere. Emirundi emirala ebiri Bayibuli gy’eyogera ku bannabbi nti baali bwereere, eky’okuba obwereere kyali kirina kye kikiikirira mu bunnabbi bwe baali balangirira. (Is 20:2-4; Mi 1:8-11) Ensonga eyaviirako Sawulo okuba obwereere temanyiddwa.
APULI 4-10
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 20-22
“Engeri gy’Oyinza Okuba ow’Omukwano Omulungi”
Kola Emikwano Eminywevu ng’Enkomerero Tennajja
18 Leero baganda baffe ne bannyinaffe boolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, bangi bakosebwa obutyabaga. Ekyo bwe kibaawo, abamu ku ffe tusobola okubudamya mikwano gyaffe abo mu maka gaffe. Abalala bayinza okubayamba nga bawaayo ssente. Naye ffenna tusobola okusaba Yakuwa okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe. Bwe tukimanyaako nti muganda waffe oba mwannyinaffe aweddemu amaanyi, tuyinza obutamanya kya kwogera oba kya kukola. Naye ffenna tulina bingi bye tusobola okukola. Ng’ekyokulabirako, tusobola okuwaayo ebiseera ne tubeerako wamu ne mukwano gwaffe. Tusobola okumuwuliriza ng’alina by’atugamba. Era tusobola okumusomerayo ekyawandiikibwa ekisinga okutubudaabuda. (Is. 50:4) Ekisinga obukulu kwe kuba nti obaawo okuyamba mikwano gyo we bakwetaagira.—Soma Engero 17:17.
Tambulira mu Makubo ga Yakuwa
7 Katonda atusuubira okuba abeesigwa eri mikwano gyaffe. (Nge. 17:17) Yonasaani, mutabani wa Kabaka Sawulo, yali mukwano gwa Dawudi. Yonasaani bwe yawulira nti Dawudi asse Goliyaasi, ‘Yonasaani ne Dawudi baafuuka ba mukwano nnyo, era Yonasaani n’atandika okumwagala nga bwe yali yeeyagala.’ (1 Sam. 18:1, 3) Yonasaani yatuuka n’okulabula Dawudi nti Sawulo yali ayagala kumutta. Nga Dawudi amaze okudduka, Yonasaani yamusisinkana n’akola naye endagaano. Wadde nga kaabula kata Sawulo atte Yonasaani olw’okwogera ku Dawudi, Yonasaani yaddamu okusisinkana mukwano gwe Dawudi ne banyweza enkolagana yaabwe. (1 Sam. 20:24-41) Omulundi gwe baasembayo okusisinkana, Yonasaani yazzaamu Dawudi amaanyi “yeeyongere okwesiga Yakuwa.”—1 Sam. 23:16-18.
Okukuuma Emikwano mu Nsi Etaliimu Kwagala
11 Beera Mwesigwa. Sulemaani yawandiika nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.” (Nge. 17:17) Mu kuwandiika ebigambo ebyo, Sulemaani ayinza okuba nga yali alowooza ku mukwano kitaawe Dawudi gwe yalina ne Yonasaani. (1 Sam. 18:1) Kabaka Sawulo yali ayagala mutabani we Yonasaani y’aba amuddira mu bigere nga kabaka wa Isirayiri. Naye Yonasaani yawagira ekya Dawudi okufuuka kabaka wa Isirayiri nga Yakuwa bwe yali asazeewo. Yonasaani teyakwatirwa Dawudi buggya nga kitaawe Sawulo. Teyanyiiga olw’abantu okutendereza ennyo Dawudi, era yagaana okukkiriza eby’obulimba Sawulo bye yayogera ku Dawudi. (1 Sam. 20:24-34) Naawe olinga Yonasaani? Mikwano gyaffe bwe baweebwa enkizo mu kibiina, tusanyukira wamu nabo? Bwe bafuna ebizibu, tubabudaabuda era ne tubayamba? Bwe wabaawo ayogera ekintu ekibi ku mukwano gwaffe, twanguwa okukikkiriza, oba tumuwolereza nga Yonasaani bwe yakola?
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri Ekisooka
21:12, 13. Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.
APULI 18-24
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 23-24
“Lindirira Yakuwa”
Weesige Omwoyo gwa Katonda ng’Oyolekaganye n’Enkyukakyuka Ezibaawo mu Bulamu
8 Dawudi yagaana okutuusa ku Sawulo akabi konna. Olw’okuba yalina okukkiriza n’obugumiikiriza, yaleka ensonga mu mikono gya Yakuwa. Nga kabaka amaze okuva mu mpuku, Dawudi yamugamba nti: “Yakuwa k’alamule wakati wange naawe, era Yakuwa k’akuwoolereko eggwanga ku lwange, naye ggwo omukono gwange tegujja kukukolako kabi.” (1 Samwiri 24:12) Wadde nga yamanya nti Sawulo ye yali omukyamu, Dawudi teyawoolera ggwanga; era teyayogera mu ngeri embi eri Sawulo wadde okumuvuma. Emirundi emirala mingi, Dawudi yeefuga n’atawoolera ggwanga. Mu kifo ky’okuwoolera eggwanga, yeesiga Yakuwa okutereeza ensonga.—1 Samwiri 25:32-34; 26:10, 11.
w04-E 6/1 lup. 22-23
Embeera z’Olimu Zifuga Obulamu Bwo?
Ekintu ekirala kye tuyiga kiri nti, mu kifo ky’okukola ebintu ebikontana n’Ebyawandiikibwa nga tugezaako okukyusa embeera yaffe, tusaanidde okulindirira Yakuwa. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Muleke obugumiikiriza butuukirize omulimu gwabwo, mulyoke mubeere abatuukiridde era abakola obulungi mu byonna nga temulina kibabulako mu buli kintu kyonna.” (Yakobo 1:4) Obugumiikiriza bulina ‘okutuukiriza omulimu gwabwo,’ nga tukkiriza okwaŋŋanga ekigezo okutuusa lwe kinaakoma mu kifo ky’okugezaako okukikomya mu bwangu nga tukola ebintu ebikontana n’Ebyawandiikibwa. Bwe tugumiikiriza, okukkiriza kwaffe kugezesebwa era ne kweyongera okunywera. Yusufu ne Dawudi baagumiikiriza. Tebaagezaako kugonjoola bizibu bye baalina nga bakola ebintu ebitasanyusa Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, baakola kyonna kye baali basobola mu mbeera yaabwe. Baalindirira Yakuwa era Yakuwa yabawa emikisa. Bombi Yakuwa yabakozesa okununula n’okukulembera abantu be.—Olubereberye 41:39-41; 45:5; 2 Samwiri 5:4, 5.
Naffe tuyinza okwolekagana n’ebigezo ebiyinza okutuleetera okwagala okukola ebintu ebikontana n’Ebyawandiikibwa okusobola okubivvuunuka. Ng’ekyokulabirako, owulira ng’oweddemu amaanyi olw’okuba tonnafuna muntu mutuufu wa kuwasa oba wa kufumbirwa? Bwe kiba kityo, weewale okujeemera etteeka lya Yakuwa erikwata ku kufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” (1 Abakkolinso 7:39) Oyolekagana n’ebizibu mu bufumbo? Bwe kiba kityo, weewale okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi ogukubiriza abafumbo okwawukana oba okugattululwa era ofube okukolera awamu ne munno mu bufumbo okugonjoola ebizibu bye mulina. (Malaki 2:16; Abeefeso 5:21-33) Ozibuwalirwa okulabirira ab’omu maka go olw’embeera yo ey’eby’enfuna? Okulindirira Yakuwa kizingiramu okwewala okukola ebintu ebitakkirizibwa mu mateeka ng’ogezaako okufuna ssente. (Zabbuli 37:25; Abebbulaniya 13:18) Ffenna tusaanidde okufuba okukola kyonna kye tusobola mu mbeera gye tubaamu. Bwe tukola tutyo Yakuwa ajja kutuwa emikisa. N’olwekyo, ka tube bamalirivu okulindirira Yakuwa okugonjoola ebizibu bye twolekagana nabyo.—Mikka 7:7.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Mpeera
11 Bwe tukulaakulanya okwagala n’ekisa, tetujja kukwatirwa balala buggya. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya.” (1 Kol. 13:4) Okusobola okwewala okukwatirwa abalala obuggya, tusaanidde okufuba okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira, nga bakkiriza bannaffe tubatwala ng’ebitundu by’omubiri ogumu naffe kwe tuli. Ekyo kijja kutuleetera okubaagala n’okukolera ku kubuulirira kuno okugamba nti: “Singa ekitundu ekimu kigulumizibwa, ebitundu ebirala byonna bisanyukira wamu nakyo.” (1 Kol. 12:16-18, 26) Abalala bwe babaako enkizo ze bafunye, mu kifo ky’okubakwatirwa obuggya tujja kusanyukira wamu nabo. Lowooza ku kyokulabirako Yonasaani mutabani wa Kabaka Sawulo kye yateekawo. Yonasaani teyakwatirwa Dawudi buggya bwe yakimanya nti Katonda yali alonze Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri eyandizzeeko. Mu kifo ky’ekyo, yazzaamu Dawudi amaanyi. (1 Sam. 23:16-18) Naffe tusobola okwoleka ekisa n’okwagala nga Yonasaani?
12 Eky’okusatu, ba mugumiikiriza eri abo b’oyigiriza. Kijjukire nti abantu abo bayinza okuba nga baali tebawulirangako agamu ku mazima agali mu Bayibuli ge tumanyi obulungi. Ate bangi ku bo baba baagala nnyo amadiini gaabwe. Bayinza okuba nga bawulira nti amadiini gaabwe gabagatta wamu n’ab’omu maka gaabwe, ab’eŋŋanda zaabwe, n’abantu mu kitundu mwe babeera. Tuyinza tutya okuyamba abantu ng’abo?
13 Lowooza ku kyokulabirako kino: Kiki ekikolebwa singa wabaawo olutindo olukadde era olwonoonese olwetaaga okuggibwawo bazimbe olulala? Emirundi mingi, olutindo olupya luzimbibwa ng’eno abantu bwe bakyakozesa olutindo olukadde. Olutindo olupya bwe luggwa okuzimbibwa, olwo nno olutindo olukadde luggibwawo. Mu ngeri y’emu, nga tetunnagamba bantu kulekayo nzikiriza zaabwe enkadde ze baagala ennyo, tulina okusooka okubayamba okutegeera n’okwagala amazima agali mu Bayibuli amapya gye bali. Kati olwo baba basobola okulekayo enzikiriza zaabwe enkyamu. Kiyinza okutwala ekiseera ekiwerako okuyamba abantu okukola enkyukakyuka.—Bar. 12:2.
14 Bwe tuba abagumiikiriza eri abantu be tubuulira, tetujja kubasuubira kutegeererawo oba kukkiririzaawo mazima agali mu Bayibuli ku mulundi gwe tusooka okugababuulira. Bwe tuba tubafaako, tujja kubayamba okufumiitiriza ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza okumala ekiseera. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye tuyinza okuyambamu omuntu okutegeera nti abantu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. Abantu bangi bamanyi kitono nnyo oba tebalina kye bamanyi ku njigiriza eyo. Bayinza okuba nga bakkiriza nti omuntu bw’afa, tasobola kuddamu kuba mulamu. Oba bayinza okuba nga bakkiriza nti abantu bonna abalungi bagenda mu ggulu. Tuyinza tutya okubayamba?
15 Ow’oluganda omu akola bw’ati: Asooka n’asomera omuntu Olubereberye 1:28 oluvannyuma n’amubuuza wa Katonda we yali ayagala abantu babeere era yali ayagala babeere mu mbeera ki. Abantu abasinga obungi baddamu nti, “Ku nsi, nga bali mu mbeera ennungi.” Oluvannyuma ow’oluganda oyo asoma Isaaya 55:11 n’abuuza omuntu obanga ekigendererwa kya Katonda ekyo kyakyuka. Emirundi mingi abantu baddamu nti nedda. Oluvannyuma ow’oluganda asoma Zabbuli 37:10, 11 n’abuuza omuntu nti, ‘Abantu banaaba mu bulamu bwa ngeri ki mu biseera eby’omu maaso?’ Ng’akozesa Bayibuli mu ngeri eyo, ow’oluganda oyo ayambye abantu abawerako okutegeera nti Katonda akyayagala abantu abalungi okubeera mu nsi ennungi emirembe gyonna.
APULI 25–MAAYI 1
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 SAMWIRI 25-26
“Okola Ebintu nga Tosoose Kulowooza?”
Yali Mukazi Mutegeevu
10 Dawudi n’abasajja be baayisanga batya abasumba abo? Singa baali baagala okulya ku ndiga zaabwe tekyandibabeeredde kizibu, naye tebaakikola. Bayibuli egamba nti baakuumanga endiga za Nabbali n’abaweereza be. (Soma 1 Samwiri 25:15, 16.) Abasumba baafunanga ebizibu bingi nga bali ku ttale. Ensolo enkambwe zaalinga nnyingi mu biseera ebyo. Ate era ekitundu ekyo kyali kumpi n’ensalo ya Isirayiri ey’ebukiikaddyo, era abazigu okuva mu nsi endala baateranga okulumba ebitundu ebyo.
11 Kiteekwa okuba nga tekyali kyangu kuliisa basajja abo bonna mu ddungu. Bwe kityo, lumu Dawudi yatuma ababaka eri Nabbali ng’amusaba obuyambi. Ekiseera ekyo kyali kirungi kubanga kyali kya kusala byoya ku ndiga. Okusala ebyoya ku ndiga kyabanga kiseera kya ssanyu, era abantu baabanga n’omwoyo omugabi. Ebigambo Dawudi bye yakozesa byali birungi. Yeeyita na “mutabani” wa Nabbali, oboolyawo okulaga nti gwe yali asaba obuyambi yali amusinga obukulu. Nabbali yakolawo ki?—1 Sam. 25:5-8.
12 Yeecwacwana! Omuvubuka eyayogeddwako ku ntandikwa, eyattottolera Abbigayiri ebyaliwo, yagamba nti Nabbali ‘yavuma’ abasajja ba Dawudi. Omusajja oyo omunaganya yagamba nti yali tasobola kuwa Dawudi mmere ye, mazzi ge, wadde ennyama ye. Yayogera ebigambo ebyali birengezza Dawudi, era n’agamba nti yali ng’omuddu eyali adduse ku mukama we. Kirabika Nabbali yalina endowooza ng’eya Sawulo eyali tayagalirako ddala Dawudi. Abasajja abo bombi tebaalina ndowooza ng’eya Yakuwa. Katonda yali ayagala nnyo Dawudi. Yali tamutunuulira ng’omuddu eyali yeewaggudde ku mukama we, wabula nga kabaka eyali agenda okufuga Isirayiri.—1 Sam. 25:10, 11, 14.
Yali Mukazi Mutegeevu
18 Abbigayiri yagamba Dawudi nti ensobi agivunaane ye, era n’amusaba amusonyiwe. Yamugamba nti omwami we yali musirusiru ng’amakulu g’erinnya lye bwe gaali, era oboolyawo ng’alinga agamba nti Dawudi yandibadde yeeweebuula okubonereza omuntu ng’oyo. Mu bye yayogera yakiraga nti Dawudi yali “alwana ntalo za Yakuwa,” era nti Yakuwa yali amusuubizza obwakabaka, kubanga yamugamba nti: ‘Yakuwa yali agenda kumufuula mukulembeze wa Isirayiri.’ Ate era yeegayirira Dawudi aleme kukola kintu kyonna ekyandimuleetedde okubaako omusango ogw’okuyiwa omusaayi, oba ‘okumulumiriza,’ nga kirabika yali ategeeza okulumirizibwa omuntu we ow’omunda. (Soma 1 Samwiri 25:24-31.) Ebigambo ebyo ddala byali bya magezi!
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Yali Mukazi Mutegeevu
16 Ekyo kitegeeza nti Abbigayiri yali tawa mwami kitiibwa? Nedda; kijjukire nti ekyo Nabbali kye akoze omuweereza wa Yakuwa eyafukibwako amafuta kyali kibi nnyo, era nga kyali kiyinza n’okuviirako abantu bangi ab’omu nnyumba ye abataaliko musango okuttibwa. Singa Abbigayiri yalemererwa okubaako ky’akolawo, naye teyandibaddeko omusango? Mu nsonga eno yalina okugondera Katonda okusinga bba.