Longoosa mu Ssaala Zo ng’Onyiikirira Okusoma Baibuli
“Ai Mukama, nkwegayiridde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw’omuddu wo.”—NEK. 1:11.
1, 2. Lwaki kirungi okwetegereza ezimu ku ssaala eziri mu Baibuli?
OKUSABA n’okusoma Baibuli bintu bikulu nnyo mu kusinza okw’amazima. (1 Bas. 5:17; 2 Tim. 3:16, 17) Wadde nga Baibuli si kitabo kya ssaala, erimu essaala nnyingi, ng’ezimu ku zo zisangibwa mu kitabo kya Zabbuli.
2 Bw’osoma Baibuli osangamu essaala eziyinza okutuukana n’embeera z’oyolekagana nazo. Mu butuufu, okukozesa ebimu ku bigambo ebiri mu ssaala z’omu Byawandiikibwa kikuyamba okulongoosa mu ssaala zo. Kiki ky’oyigira ku bantu abaasaba essaala Katonda n’aziddamu ne ku ebyo bye baayogera?
Noonya Obulagirizi bwa Katonda era Obugoberere
3, 4. Omuddu wa Ibulayimu yatumibwa kukola ki, era tuyiga ki mu ekyo Yakuwa kye yamukolera?
3 Okusoma Baibuli kikuyamba okulaba nti osaanidde bulijjo okusaba Katonda akuwe obulagirizi. Lowooza ku ekyo ekyaliwo nga Ibulayimu atumye omuddu we eyali omukulu mu bonna, nga kirabika ono yali Eryeza, okugenda e Mesopotamiya afunire mutabani we Isaaka omukazi aweereza Katonda. Omuddu oyo bwe yalaba abakazi abaali basena amazzi ku luzzi yasaba nti: “Ai Mukama, . . . kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n’eŋŋamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng’olaze ekisa mukama wange.”—Lub. 24:12-14.
4 Essaala y’omuddu wa Ibulayimu yaddibwamu Lebbeeka bwe yawa eŋŋamira ze amazzi. Oluvannyuma yamutwala e Kanani n’afuuka muka Isaaka. Kino tekitegeeza nti naawe Katonda ajja kukukolera akabonero ak’enjawulo. Naye ajja kukuwa obulagirizi bw’onoomusaba era n’oba mumalirivu okukulemberwa omwoyo gwe.—Bag. 5:18.
Essaala Zituyamba Obuteeraliikira Nnyo
5, 6. Tuyiga ki mu ssaala Yakobo gye yasaba ng’agenda okusisinkana Esawu?
5 Okusaba kutuyamba obuteeraliikirira nnyo. Olw’okutya muganda we Esawu okumukola akabi, Yakobo yasaba nti: “Ai Mukama, . . . sisaanira (newakubadde) akatono mu kusaasira kwonna, n’amazima gonna, bye wagiriranga omuddu wo . . . Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange, mu mukono gwa Esawu: kubanga mmutya, aleme okujja okunzita, ne bannyaabwe n’abaana baabwe. Naawe wayogera nti Siiremenga kukukola bulungi, era n[n]aafuulanga ezzadde lyo ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutabalika olw’obungi.”—Lub. 32:9-12.
6 Wadde nga Yakobo alina kye yakolawo, essaala ye yaddibwamu enkolagana ye ne Esawu bwe yaddawo. (Lub. 33:1-4) Bwe weetegereza essaala eyo ojja kukiraba nti Yakobo teyakoma ku kusaba Katonda kumuyamba naye era yalaga nti yali akkiririza mu Zzadde eryasuubizibwa, era nti ekisa Katonda kye yamulaga kyali tekimugwanira. Naawe muli ‘munda olimu okutya’? (2 Kol. 7:5) Bwe kiba kityo, essaala ya Yakobo ekujjukiza nti okusaba kuyinza okukuyamba obuteeraliikirira nnyo. Kyokka essaala ezo tezirina kubaamu by’oyagala byokka wabula n’ebyo ebiraga okukkiriza kwo.
Saba Okufuna Amagezi
7. Lwaki Musa yasaba okumanya amakubo ga Yakuwa?
7 Olw’okuba oyagala okusanyusa Yakuwa, musabe akuwe amagezi. Musa yasaba Katonda amuyambe okumanya amakubo Ge. Yagamba nti: “Laba, ondagira nti Twala abantu bano [okuva e Misiri] . . . Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga n[n]alaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, . . . ndyoke ndabe ekisa mu maaso go.” (Kuv. 33:12, 13) Katonda yaddamu okusaba okwo era yayamba Musa okweyongera okumanya amakubo Ge, ekintu kye yali yeetaaga okusobola okukulembera abantu ba Yakuwa.
8. Oganyulwa otya bw’ofumiitiriza ku 1 Bassekabaka 3:7-14?
8 Dawudi naye yasaba nti: “Ondage amakubo go, ai Mukama.” (Zab. 25:4) Mutabani wa Dawudi Sulemaani yasaba Katonda okumuwa amagezi asobole okutuukiriza emirimu gye nga Kabaka wa Isiraeri. Essaala ya Sulemaani yasanyusa nnyo Yakuwa, era ku bye yasaba yamuweerako obugagga n’ekitiibwa. (Soma 1 Bassekabaka 3:7-14.) Bw’oweebwa enkizo ng’owulira nti togisobola, saba Katonda akuwe amagezi n’omutima omuwombeefu. Bw’okola bw’otyo, Katonda ajja kukuyamba okufuna amagezi osobole okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obukuweereddwa.
Saba Essaala Eziva ku Mutima
9, 10. Kiki kye tuyiga mu ebyo Sulemaani bye yayogera ku mutima bwe yali asaba nga yeekaalu eweebwayo?
9 Essaala zaffe bwe ziba ez’okuddibwamu, zirina okuba nga ziva ku mutima. Essaala eri mu 1 Bassekabaka essuula 8 Sulemaani gye yasaba mu maaso g’abantu abaali bakuŋŋaanye mu Yerusaalemi nga yeekaalu eweebwayo eri Yakuwa mu 1026 E.E.T., yaviira ddala ku mutima. Ssanduuko y’endagaano bwe yayingizibwa mu Awasinga Obutukuvu era ekire kya Yakuwa ne kijjula mu yeekaalu yonna, Sulemaani yatendereza Katonda.
10 Weetegereze essaala ya Sulemaani olabe engeri gy’eyogera ku mutima. Sulemaani yagamba nti Yakuwa yekka y’amanyi ekiba mu mutima gw’omuntu. (1 Bassek. 8:38, 39) Essaala eyo era eraga nti omwonoonyi asonyiyibwa ‘bw’akomawo eri Katonda n’omutima gwe gwonna.’ Katonda yandiwulidde okusaba kw’abantu be bwe bandimukowoodde n’omutima gwabwe gwonna nga bawambiddwa abalabe. (1 Bassek. 8:48, 58, 61) N’olwekyo, essaala zo zisaanye okuba nga ziviira ddala ku mutima.
Zabbuli Zikuyamba Okulongoosa mu Ssaala Zo
11, 12. Kiki ky’oyize mu ssaala y’Omuleevi eyali tasobola kugenda mu yeekaalu ya Katonda?
11 Okusoma Zabbuli kisobola okukuyamba okulongoosa mu ssaala zo n’okuba omugumiikiriza okutuusa Katonda lw’aziddamu. Lowooza ku bugumiikiriza bw’Omuleevi omu eyali mu buwaŋŋanguse. Wadde nga yamala ekiseera nga tasobola kugenda mu yeekaalu ya Yakuwa, yagamba nti: “Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, bwe bulamu obw’amaaso gange, era Katonda wange.”—Zab. 42:5, 11; 43:5.
12 Kiki ky’oyigira ku Muleevi oyo? Singa osibibwa mu kkomera olw’okuweereza Katonda n’oba nga tosobola kugenda mu nkuŋŋaana, gumiikiriza okutuusa Katonda lw’anaakuyamba. (Zab. 37:5) Fumiitiriza ku mikisa gy’ofunye ng’oweereza Katonda, era saba osobole okugumiikiriza nga ‘bw’osuubirira mu Katonda’ okutuusa lw’onoddamu okukuŋŋaana n’abantu be.
Ba n’Okukkiriza ng’Osaba
13. Okusinziira ku Yakobo 1:5-8, lwaki osaanidde okuba n’okukkiriza ng’osaba?
13 Ka weesange mu mbeera ki, bulijjo ba n’okukkiriza ng’osaba. Bw’oyolekagana n’embeera ezigezesa okukkiriza kwo, goberera amagezi g’omuyigirizwa Yakobo. Saba Yakuwa nga toliimu kubuusabuusa kwonna nti ajja kukulaga engeri y’okukwatamu ekizibu kyo. (Soma Yakobo 1:5-8.) Katonda amanyi buli ekikweraliikiriza, era asobola okukubudaabuda n’okukuwa obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwe. Mubuulire ekikuli ku mutima ‘nga tobuusabuusa n’akamu,’ era kkiriza obulagirizi bw’akuwa okuyitira mu mwoyo gwe ne mu Kigambo kye.
14, 15. Lwaki tuyinza okugamba nti Kaana yalina okukkiriza ng’asaba?
14 Kaana, omu ku bakazi ba Erukaana Omuleevi ababiri, yasaba era yalaga okukkiriza. Olw’okuba Kaana yali mugumba, muggya we Penina eyalina abaana abawera yamusekereranga. Lumu nga bali mu weema ey’okusisinkaniramu, Kaana yeeyama nti bwe yandizadde omwana ow’obulenzi yandimuwaddeyo eri Yakuwa. Olw’okuba emimwa gye gyali gyenyeenya ng’asaba, Kabona Omukulu Eri yalowooza nti yali atamidde. Bwe yategeera nti si bwe kiri, yamugamba nti: “Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by’omusabye.” Wadde nga Kaana teyamanya buli kimu ekyandivudde mu kusaba kwe, yali mukakafu nti kwandiddiddwamu. Bwe kityo ‘amaaso ge tegaddamu kutokooterera,’ oba kulaga bweraliikirivu. Era teyaddamu kunakuwala.—1 Sam. 1:9-18.
15 Oluvannyuma lw’okuzaala Samwiri era n’amuyonsa okutuusa lwe yava ku mabeere, Kaana yamuwaayo eri Yakuwa aweereze mu weema ey’okusisinkaniramu. (1 Sam. 1:19-28) Okufumiitiriza ku ssaala ye kiyinza okukuyamba okumanya eky’okwogera ng’osaba era n’okukiraba nti bw’oba n’okukkiriza ng’osaba, Yakuwa ajja kukuddamu osobole okugumira ennaku, k’ebe ya maanyi etya.—1 Sam. 2:1-10.
16, 17. Kiki ekyavaamu Nekkemiya bwe yasaba ng’alina okukkiriza?
16 Omusajja omwesigwa Nekkemiya eyaliwo mu kyasa eky’okutaano E.E.T. yalaga okukkiriza ng’asaba. Yagamba nti: “Ai Mukama, nkwegayiridde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw’omuddu wo n’okusaba kw’abaddu bo abasanyuka okutya erinnya lyo: owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g’omusajja ono.” “Omusajja ono” yali ani? Yali Kabaka Alutagizerugizi owa Buperusi, gwe yali aweereza ng’omusenero.—Nek. 1:11.
17 Nekkemiya yasaba okumala ennaku eziwera bwe yakitegeera nti Abayudaaya abaali bazzeeyo ku butaka okuva mu buwambe e Babulooni baali ‘mu nnaku nnyingi n’okuvumibwa, era nti bbugwe wa Yerusaalemi yali amenyesemenyese.’ (Nek. 1:3, 4) Essaala za Nekkemiya zaddibwamu, era Kabaka Alutagizerugizi yamukolera kye yali tasuubira bwe yamukkiriza okugenda e Yerusaalemi azimbe ekisenge. (Nek. 2:1-8) Mu bbanga ttono ekisenge kyali kiwedde okuddaabiriza. Katonda yaddamu essaala za Nekkemiya kubanga yasaba ebikwata ku kusinza okw’amazima era yalina okukkiriza. Naawe osaba essaala ng’ezo?
Jjukira Okutendereza n’Okwebaza
18, 19. Lwaki abaweereza ba Yakuwa basaanidde okumutendereza n’okumwebaza?
18 Bw’oba osaba, jjukira okutendereza Yakuwa n’okumwebaza. Waliwo ensonga nnyingi lwaki osaanidde okukikola! Ng’ekyokulabirako, Dawudi yali ayagala nnyo okugulumiza obwakabaka bwa Yakuwa. (Soma Zabbuli 145:10-13.) Naawe mu ssaala zo okiraga nti okulangirira Obwakabaka bwa Yakuwa okitwala nga nkizo ya maanyi? Ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli era biyinza okukukubiriza okusaba Katonda ng’omwebaza olw’enkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene ze tufuna.—Zab. 27:4; 122:1.
19 Enkolagana ennungi gy’olina ne Katonda eyinza okukuleetera okwogera ebigambo nga bino ng’osaba: “Ndikwebaliza ggwe, ai Mukama, mu bantu: ndiyimba eby’okukutendereza ggwe mu mawanga. Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu, n’amazima go gatuuka mu bbanga. Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu; ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.” (Zab. 57:9-11) Ng’ebigambo ebyo birungi nnyo! Tokkiriza nti ebigambo eby’amakulu ng’ebyo ebiri mu Zabbuli bikukwatako era bikuyamba okulongoosa mu ssaala zo?
Wa Katonda Ekitiibwa ng’Osaba
20. Malyamu yalaga atya nti atya Katonda?
20 Essaala zo zirina okulaga nti owa Katonda ekitiibwa. Ebigambo Malyamu bye yayogera bwe yakitegeera nti yali agenda kuzaala Masiya bifaananako ebyo Kaana bye yayogera ng’awaayo Samwiri okuweereza mu weema ey’okusisinkaniramu. Ng’alaga nti yali assaamu Katonda ekitiibwa, Malyamu yagamba nti: “Ngulumiza Yakuwa, era omutima gwange gusanyukira Katonda Omulokozi wange.” (Luk. 1:46, 47) Naawe osobola okulongoosa mu ssaala zo ng’okozesa ebigambo ng’ebyo? Mazima ddala Malyamu yali atya nnyo Katonda era tekyewuunyisa nti yalondebwa okuba nnyina Yesu Masiya!
21. Essaala za Yesu ziraga zitya nti yalina okukkiriza era nti yali awa Katonda ekitiibwa?
21 Essaala za Yesu ziraga nti yalina okukkiriza era nti yali awa Katonda ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, bwe yali agenda okuzuukiza Lazaalo, ‘Yesu yatunula waggulu n’agamba nti “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde. Nkimanyi nti bulijjo ompulira.”’ (Yok. 11:41, 42) Essaala zo ziraga okukkiriza ng’okwo n’okutya Katonda? Bwe weetegereze essaala ya Yesu ey’okulabirako ojja kukiraba nti ekulembeza okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa, okujja kw’Obwakabaka bwe, n’okutuukirizibwa kw’ebyo by’ayagala. (Mat. 6:9, 10) Naawe lowooza ku ssaala z’osaba. Ziraga nti ofaayo ku Bwakabaka bwa Yakuwa, ku ebyo by’ayagala bikolebwe, ne ku kutukuzibwa kw’erinnya lye? Bwe kityo bwe kisaanidde okuba.
22. Kiki ekiraga nti Yakuwa ajja kukuyamba okuba omuvumu osobole okubuulira amawulire amalungi?
22 Bwe tuba tuyigganyizibwa oba nga tulina ebizibu, tutera okusaba Katonda atuyambe okumuweereza n’obuvumu. Olukiiko Olukulu bwe lwalagira Peetero ne Yokaana obutaddayo ‘kuyigiriza mu linnya lya Yesu,’ abatume abo baakigaana. (Bik. 4:18-20) Bwe baateebwa, baategeeza bakkiriza bannaabwe ebyali bibaddewo era bonna abaaliwo baasaba Katonda abayambe basobole okwogera ekigambo kye n’obuvumu. Nga kyabazzaamu nnyo amaanyi essaala yaabwe bwe yaddibwamu bonna ne “bajjula omwoyo omutukuvu ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu”! (Soma Ebikolwa 4:24-31.) Ekyo kyaleetera abantu bangi okufuuka abasinza ba Yakuwa. Naawe okusaba kusobola okukuyamba okubuulira amawulire amalungi n’obuvumu.
Weeyongere Okulongoosa mu Ssaala Zo
23, 24. (a) Byakulabirako ki ebirala ebiraga nti okusoma Baibuli kikuyamba okulongoosa mu ssaala zo? (b) Kiki ekinaakuyamba okulongoosa mu ssaala zo?
23 Waliwo ebyokulabirako ebirala bingi ebiraga nti okusoma Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola kituyamba okulongoosa mu ssaala zaffe. Ng’ekyokulabirako, osobola okukiraga mu ssaala zo nti ‘obulokozi buva eri Yakuwa,’ nga Yona bwe yakola. (Yon. 2:1-10) Bw’oba wakola ekibi eky’amaanyi naye nga kikyakulumiriza oluvannyuma lw’okuyambibwa abakadde, Dawudi bye yayogera mu ssaala ye bisobola okukuyamba okulaga mu ssaala zo nti weenenyezza. (Zab. 51:1-12) Emirundi egimu oyinza okusaba ng’otendereza Yakuwa nga Yeremiya bwe yakola. (Yer. 32:16-19) Bw’oba onoonya ow’okufumbiriganwa naye, okwekenneenya essaala eri mu Ezera essuula 9 n’okwegayirira Katonda mu kusaba kijja kukuyamba okuba omumalirivu okugondera ekiragiro kya Katonda ‘eky’okufumbirwa mu Mukama waffe mwokka.’—1 Kol. 7:39; Ezer. 9:6, 10-15.
24 Weeyongere okusoma Baibuli, okusoma ebitabo ebiginnyonnyola, n’okunoonyereza. Fuba okulaba biki by’oyinza okuteeka mu ssaala zo. Ebimu oyinza okubikozesa mu kusaba kwo nga weegayirira Katonda, ng’omwebaza oba ng’omutendereza. Awatali kubuusabuusa, ojja kusemberera Yakuwa Katonda bw’onoolongoosa mu ssaala zo ng’onyiikirira okusoma Baibuli.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki osaanidde okunoonya n’okugoberera obulagirizi bwa Katonda?
• Kiki ekyandikukubirizza okusaba okufuna amagezi?
• Ekitabo kya Zabbuli kiyinza kitya okutuyamba okulongoosa mu ssaala zaffe?
• Lwaki tusaanidde okulaga okukkiriza n’okuwa Katonda ekitiibwa nga tusaba?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Omuddu wa Ibulayimu yasaba Katonda okumuwa obulagirizi. Naawe okikola?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Okusinza kw’Amaka kusobola okukuyamba okulongoosa mu ssaala zo