LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr22 Ssebutemba lup. 1-16
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2022
  • Subheadings
  • SSEBUTEMBA 5-11
  • SSEBUTEMBA 12-18
  • SSEBUTEMBA 19-25
  • SSEBUTEMBA 26–OKITOBBA 2
  • OKITOBBA 3-9
  • OKITOBBA 10-16
  • OKITOBBA 17-23
  • OKITOBBA 24-30
  • OKITOBBA 31–NOOVEMBA 6
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2022
mwbr22 Ssebutemba lup. 1-16

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

SSEBUTEMBA 5-11

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 9-10

“Tendereza Yakuwa olw’Amagezi Ge”

w99-E 7/1 lup. 30 ¶6

Okukyala Okwavaamu Emiganyulo

Kabaka omukazi bwe yakyalira Sulemaani, yamubuuza “ebibuuzo ebizibu ennyo.” (1 Bassek. 10:1) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa nga “ebibuuzo ebizibu ennyo” era kiyinza okuvvuunulwa nga “ebikokyo.” Naye ekyo tekitegeeza nti ebibuuzo kabaka oyo bye yabuuza Sulemaani byali bikokyo bukokyo oba ngero bugero. Mu Zabbuli 49:4, omuwandiisi wa zabbuli yakozesa ekigambo kye kimu ekyo ng’ayogera ku bibuuzo ebikulu ebikwata ku kibi, okufa, n’okununulibwa. N’olwekyo, kirabika kabaka omukazi ow’e Seba yayogera ne Sulemaani ku bintu ebikulu ennyo ng’agezesa amagezi ge. Bayibuli egamba nti, ‘yamubuulira byonna ebyamuli ku mutima,’ era nti Sulemaani ‘yamuddamu byonna bye yamubuuza, era tewali na kimu kyazibuwalira Sulemaani kumunnyonnyola.’​—1 Bassek. 10:2b, 3.

w99-E 11/1 lup. 20 ¶6

Omwoyo Omugabi

Kabaka omukazi yeewuunya nnyo olw’ebyo bye yawulira ne bye yalaba era n’agamba nti: “Abaweereza bo abayimirira mu maaso go bulijjo ne bawuliriza amagezi go nabo beesiimye!” (1 Bassek. 10:4-8) Okuba nti abaweereza ba Sulemaani baali beetooloddwa ebintu eby’ebbeeyi si kye kyaleetera kabaka oyo okugamba nti baali beesiimye. Mu kifo ky’ekyo, abaweereza ba Sulemaani baali beesiimye olw’okuba bulijjo baawuliranga ebigambo eby’amagezi Sulemaani bye yayogeranga olw’amagezi amangi Katonda ge yali amuwadde. Ekyo nga kyakulabirako kirungi nnyo kabaka omukazi ow’e Seba kye yateerawo abaweereza ba Yakuwa leero abayiga ebintu eby’amagezi okuva eri Omutonzi, n’Omwana we Yesu Kristo!

w99-E 7/1 lup. 30-31

Okukyala Okwavaamu Emiganyulo

Kabaka omukazi ow’e Seba yeewuunya nnyo olw’amagezi ga Sulemaani n’olw’obugagga bw’obwakabaka bwe ne kiba nti ‘omwoyo gwamuggwaamu.’ (1 Bassek. 10:4, 5, obugambo obuli wansi.) Abamu balowooza nti ebigambo “omwoyo gwamuggwaamu” bitegeeza nti kabaka oyo yatuuka ekiseera n’aba nga takyassa. Omwekenneenya omu yatuuka n’okugamba nti kabaka oyo yazirika! Ka kibe ki ekyaliwo, kabaka oyo yawuniikirira olw’ebyo bye yalaba ne bye yawulira. Yagamba nti abaweereza ba Sulemaani baali beesiimye olw’okuwuliranga ebigambo eby’amagezi Kabaka Sulemaani bye yayogeranga, era yatendereza Yakuwa olw’okulonda Sulemaani okuba kabaka. Oluvannyuma kabaka oyo yawa Sulemaani ebirabo eby’ebbeeyi ennyo omwali ne zzaabu mu kiseera kino abalirirwamu ddoola nga 40,000,000. Sulemaani naye yawa kabaka oyo ebirabo. Mu butuufu, yamuwa “byonna ebyamusanyusa bye yasaba.”​—1 Bassek. 10:6-13.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08-E 11/1 lup. 22 ¶4-6

Obadde Okimanyi?

Zzaabu wa Kabaka Sulemaani Yali Yenkana Wa Obungi?

Ebyawandiikibwa bigamba nti Kiramu kabaka w’e Ttuulo yaweereza Sulemaani kilo za zzaabu 4000, era nti ne kabaka omukazi ow’e Seba naye yawa Sulemaani kilo za zzaabu ze zimu. Ate era ebyombo bya Sulemaani byaleeta kiro za zzaabu ezisukka mu 15,000 okuva e Ofiri. “Zzaabu Sulemaani gwe yafunanga buli mwaka yali azitowa ttalanta 666 eza zzaabu,” oba kiro ezisukka 25,000. (1 Bassek. 9:14, 28; 10:10, 14) Naye ddala ekyo kituufu? Amawanika ga bakabaka b’edda aga zzaabu gaali genkana wa obunene?

Ekiwandiiko ekimu eky’edda abeekenneenya kye bagamba nti kyesigika kigamba nti Falaawo Thutmose III owa Misiri (ekyasa eky’abiri E.E.T.) yawaayo kilo za zzaabu 13,500 mu yeekaalu ya katonda eyali ayitibwa Amun-Ra e Karnak. Mu kyasa eky’omunaana E.E.T., Kabaka Tigulasu-pireseri III owa Bwasuli yafuna kilo za zzaabu ezaali zisukka mu 4,000 ng’omusolo okuva e Busuuli, ate Kabaka Salugoni II yawaayo zzaabu eyali azitowa kilo ze zimu ng’ekirabo eri bakatonda ba Babulooni. Kigambibwa nti Kabaka Firipo II owa Masedoniya (359-336 E.E.T.) buli mwaka yafunanga kilo za zzaabu ezaali zisukka mu 28,000 okuva mu birombe by’e Pangaeum e Thrace.

Kigambibwa nti Alexander Omukulu, mutabani wa Firipo (336-323 E.E.T.), bwe yawamba ekibuga kya Buperusi ekyali kiyitibwa Susa, yatwala kilo za zzaabu nga 1,180,000 okuva mu kibuga ekyo, era nti yatwala kilo za zzaabu ezaali zikunukkiriza mu 7,000,000 okuva mu Buperusi yonna. N’olwekyo, bwe tugeraageranya ebyo ebyogerwa ku bungi bwa zzaabu bakabaka abo gwe baalina n’ebyo Bayibuli by’eyogera ku bungi bwa zzaabu Kabaka Sulemaani gwe yalina, tukiraba nti tesavuwaza.

SSEBUTEMBA 12-18

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 11-12

“Salawo mu Ngeri ey’Amagezi ng’Olonda ow’Okufumbiriganwa Naye”

w18.07 lup. 18 ¶7

“Ani Ali ku Ludda lwa Yakuwa?”

7 Tulina bingi bye tuyinza okuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Kabaka Sulemaani. Bwe yali akyali muvubuka, Sulemaani yanoonyanga obulagirizi bwa Yakuwa. Katonda yamuwa amagezi mangi era n’amukwasa n’obuvunaanyizibwa obw’okuzimba yeekaalu amatiribona mu Yerusaalemi. Naye Sulemaani yafiirwa enkolagana ye ne Yakuwa. (1 Bassek. 3:12; 11:1, 2) Mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, yali yagaana kabaka ‘okuwasa abakazi abangi, omutima gwe guleme okukyuka.’ (Ma. 17:17) Sulemaani yajeemera etteeka eryo n’awasa abakazi 700. Okwo yagattako abazaana 300. (1 Bassek. 11:3) Bangi ku bakazi be tebaali Bayisirayiri era baasinzanga bakatonda ab’obulimba. N’olwekyo, Sulemaani yajeemera n’etteeka lya Katonda eryali ligaana Abayisirayiri okuwasa abakazi ab’amawanga amalala.​—Ma. 7:3, 4.

w19.01 lup. 15 ¶6

Oyinza Otya Okukuuma Omutima Gwo?

6 Sitaani ayagala naffe tube bajeemu nga ye. Ayagala twerowoozeeko ffekka era tusambajje emitindo gya Yakuwa. Sitaani tasobola kutukaka kuba na ndowooza ng’eyiye n’okweyisa nga ye. N’olwekyo agezaako okutuukiriza ekigendererwa kye ekyo ng’akozesa engeri endala. Ng’ekyokulabirako, afuba okutwetoolooza abantu be yayonoona edda. (1 Yok. 5:19) Asuubira nti tujja kusalawo okumala obudde bungi n’abantu abo wadde nga tukimanyi nti emikwano emibi “gyonoona” endowooza yaffe n’enneeyisa yaffe. (1 Kol. 15:33) Akatego ako kaakola ku Kabaka Sulemaani. Yawasa abakazi bangi abaali batasinza Yakuwa, era ‘mpolampola baakyusa omutima gwe’ ne guva ku Yakuwa.​—1 Bassek. 11:3.

w18.07 lup. 19 ¶9

“Ani Ali ku Ludda lwa Yakuwa?”

9 Naye Yakuwa tabuusa maaso bibi. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa yasunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwali guvudde ku Yakuwa . . . , eyamulabikira emirundi ebiri, era eyali yamulabula obutasinza bakatonda balala. Naye teyakola ekyo Yakuwa kye yali amulagidde.” N’ekyavaamu, Yakuwa yalekera awo okusiima Sulemaani n’okumuyamba. Bakabaka abaddira Sulemaani mu bigere tebaasobola kufuga Isirayiri ng’eri bumu era baafuna ebizibu bingi okumala emyaka mingi.​—1 Bassek. 11:9-13.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w18.06 lup. 14 ¶1-4

Yandibadde Asiimibwa Katonda

Ebika ebyo bwe byewaggula, Lekobowaamu yakuŋŋaanya eggye lye okubirwanyisa. Naye Yakuwa yatuma nnabbi Semaaya agambe Lekobowaamu n’eggye lye nti: “Temugenda kulwanyisa baganda bammwe Abayisirayiri. Buli omu addeyo mu nnyumba ye, kubanga ekyo nze nnakireetedde okuba bwe kityo.”​—1 Bassek. 12:21-24.

Kyali kyangu eri Lekobowaamu okugondera Yakuwa? Kiki abantu kye bandibadde balowooza ku Lekobowaamu? Yali abagambye nti ajja kubakubisa “embooko eziriko obufumita,” kyokka kati yali talina ky’agenda kukolawo nga beewaggudde. (Geraageranya 2 Ebyomumirembe 13:7.) Wadde kyali kityo, Lekobowaamu n’eggye lye baagondera “ekigambo kya Yakuwa ne baddayo ewaabwe nga Yakuwa bwe yabalagira.”

Ekyo kituyigiriza ki? Kya magezi okugondera Katonda ne bwe kiba nti ekyo kiyinza okutuviirako okusekererwa. Bwe tugondera Katonda, atusiima era atuwa emikisa.​—Ma. 28:2.

Biki ebyavaamu Lekobowaamu bwe yawuliriza Yakuwa? Bwe yalekayo eky’okulwanyisa obwakabaka obupya obwali butandikiddwawo, essira yalissa ku kuzimba ebibuga mu kitundu kya Yuda ne Benyamini kye yali afuga. Mu butuufu ebibuga bingi “yabinywereza ddala nnyo.” (2 Byom. 11:5-12) N’ekisinga obukulu, okumala ekiseera, yanywerera ku mateeka ga Yakuwa. Obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi obwali bufugibwa Yerobowaamu bwe bwali bweyongera okwonooneka nga bwenyigira mu kusinza ebifaananyi, bangi okuva mu bwakabaka obwo ‘baawagira Lekobowaamu’ ne bagendanga e Yerusaalemi okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu. (2 Byom. 11:16, 17) N’olwekyo, Lekobowaamu okugondera Yakuwa kyanyweza obwakabaka bwe.

SSEBUTEMBA 19-25

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 13-14

“Lwaki Kikulu Okubeera Omumativu n’Okuba Omwetoowaze?”

w08 8/15 lup. 7 ¶4

Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu

4 Kati Yerobowaamu agamba omusajja wa Katonda ow’amazima nti: “Tugende ffembi eka olye ku mmere era nkuwe n’ekirabo.” (1 Bassek. 13:7) Nnabbi ono akole atya? Akkirize okukyala ewa kabaka oluvannyuma lw’okubuulira kabaka obubaka obw’omusango? (Zab. 119:113) Oba agaane wadde nga kabaka alabika ng’eyeekubye mu kifuba? Tewali kubuusabuusa nti Yerobowaamu asobola okuwa mikwano gye ebirabo eby’omuwendo. Nnabbi wa Katonda ono bw’aba alimu omutima gw’okwagala ebintu, ekisuubizo kya kabaka ekyo kikemo kya maanyi. Kyokka Yakuwa yalagidde nnabbi nti: “Tolya mmere wadde okunywa amazzi, era toddira mu kkubo lye wayiseemu ng’ogendayo.” Bw’atyo nnabbi amuddamu n’obuvumu nti: “Ne bw’onompa ekimu eky’okubiri eky’ebintu byo byonna, sijja kugenda naawe, era sijja kulya mmere wadde okunywa amazzi mu kifo kino.” Era nnabbi akwata ekkubo eddala ng’ava e Beseri. (1 Bassek. 13:8-10) Nnabbi ono ky’asazeewo okukola kituyigiriza ki ku kuba abeesigwa n’omutima gwonna?​—Bar. 15:4.

w08 8/15 lup. 11 ¶15

Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu

15 Kiki ekirala kye tuyigira ku nsobi nnabbi eyava mu Yuda gye yakola? Engero 3:5 wagamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.” Mu kifo ky’okwongera okwesiga Yakuwa, ku mulundi guno nnabbi oyo yasalawo ku lulwe. Kino kyamuviirako okufiirwa obulamu bwe n’erinnya eddungi lye yalina mu maaso ga Katonda. Ekyo nga kiraga bulungi obukulu bw’okuba abeetoowaze era abeesigwa nga tuweereza Yakuwa!

w08 8/15 lup. 7 ¶10

Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu

10 Nnabbi eyava mu Yuda teyandisanze buzibu kukiraba nti nnabbi omukadde yali alimba. Yali asobola okwebuuza, ‘Lwaki Yakuwa yandintumidde malayika okumpa ebiragiro eby’enjawulo ng’ayitira mu muntu omulala?’ Nnabbi oyo yali asobola okusaba Yakuwa atangaaze ku nsonga eyo, naye mu Byawandiikibwa temuli kiraga nti yakikola. Mu kifo ky’ekyo, ‘yaddayo ne nnabbi omukadde n’alya emmere era n’anywa n’amazzi mu nnyumba ye.’ Kino tekyasanyusa Yakuwa. Nnabbi oyo eyalimbibwa bwe yali addayo ewaabwe mu Yuda, yasanga empologoma n’emutta. Ng’obuweereza bwe bwakoma mu ngeri embi ennyo!​—1 Bassek. 13:19-25.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w10-E 7/1 lup. 29 ¶5

Atunoonyaamu Ebirungi

Ekisinga obukulu, ebyo ebiri mu 1 Bassekabaka 14:13 birina ekintu ekirungi kye bituyigiriza ku Yakuwa n’ekyo ky’atunoonyamu. Kijjukire nti Bayibuli egamba nti waliwo ekintu ekirungi ‘ekyalabibwa’ mu Abiya. Yakuwa yanoonyereza mu mutima gwa Abiya okutuusa lwe yazuulamu ekintu ekirungi. Ng’omwekenneenya omu bwe yagamba, Abiya bw’omugeraageranya ku bazadde be ne baganda be, yalinga luulu emu eri “mu ntuumu y’amayinja amangi.” Yakuwa yasiima nnyo ekirungi kye yalaba mu Abiya era n’amulaga ekisa.

SSEBUTEMBA 26–OKITOBBA 2

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 15-16

“Naawe Oyoleka Obuvumu nga Asa?”

w12 8/15 lup. 8 ¶4

“Omulimu Gwammwe Guliweebwa Empeera”

Asa yafuuka kabaka wa Yuda mu mwaka gwa 977 E.E.T. Waali wayise emyaka 20 bukya obwakabaka bwa Isirayiri bugabanyizibwamu ebitundu bibiri. Mu kiseera ekyo obwakabaka bwa Yuda bwali bwonooneddwa nnyo okusinza okw’obulimba. N’abakungu abaali mu lubiri lwa kabaka baali basinza bakatonda b’Abakanani. Naye Bayibuli egamba nti: “Asa yakola ebirungi era ebituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda we.” Asa “Yaggyawo ebyoto bya bakatonda abalala n’ebifo ebigulumivu, n’abetenta empagi ezisinzibwa era n’atemaatema n’ebikondo ebisinzibwa.” (2 Byom. 14:2, 3) Asa era yaggyawo abasajja abaalyanga ebisiyaga, ng’ekyo baakikolanga ng’ekitundu ky’okusinza kwabwe okw’obulimba. Naye okuggyawo okusinza okw’obulimba si kye kintu kyokka Asa kye yakola. Yakubiriza n’abantu “okunoonya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe era n’okukwata Amateeka n’ebiragiro” bya Katonda.​—1 Bassek. 15:12, 13; 2 Byom. 14:4.

w17.03 lup. 19 ¶7

Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!

7 Buli omu ku ffe asaanidde okwekebera okulaba obanga omutima gwe gwemalidde ku Katonda. Weebuuze, ‘Ndi mumalirivu okusanyusa Yakuwa, okulwanirira okusinza okw’amazima, n’okukuuma abantu be baleme kwonoonebwa bikolwa bibi?’ Lowooza ku buvumu Asa bwe yayoleka okusobola okugoba jjajjaawe Maaka ku bwa “nnamasole.” Oboolyawo tolina muntu yenna gw’omanyi eyeeyisa nga Maaka, naye waliwo embeera mw’oyinza okwetaagira okukoppa Asa. Ng’ekyokulabirako, watya singa omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo akola ekibi eky’amaanyi era n’agaana okwenenya n’agobebwa mu kibiina? Onooba mumalirivu okulekera awo okukolagana n’omuntu oyo? Kiki omutima gwo kye gunaakukubiriza okukola?

it-1-E lup. 184-185

Asa

Wadde ng’ebiseera ebimu Asa yakola ebintu ebitaali bya magezi, engeri ze ennungi n’okuba nti yalwanyisa okusinza okw’obulimba, byasingira wala ensobi ze yakola ne kiba nti ayogerwako ng’omu ku bakabaka ba Yuda abaali abeesigwa. (2By 15:17) Mu kiseera eky’emyaka 41 Asa kye yamala ng’afuga, bakabaka munaana be baafuga mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi era be bano: Yerobowaamu, Nadabu, Baasa, Ela, Zimuli, Omuli, Tibuni (eyafuga ekitundu ekimu eky’obwakabaka obwo ng’ajeemedde Omuli), ne Akabu. (1Sk 15:9, 25, 33; 16:8, 15, 16, 21, 23, 29) Asa bwe yafa, mutabani we Yekosafaati ye yamuddira mu bigere.​—1Sk 15:24.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w98-E 9/15 lup. 21-22

Katonda wa Ddala gy’Oli?

Ng’ekyokulabirako, soma obunnabbi obukwata ku kibonerezo ekyandiweereddwa omuntu eyandizzeemu okuzimba ekibuga Yeriko era olabe engeri gye bwatuukirizibwamu. Yoswa 6:26 wagamba nti: “Yoswa n’alayira ekirayiro kino: ‘Omuntu yenna aligezaako okuddamu okuzimba ekibuga kino Yeriko, akolimirwe mu maaso ga Yakuwa. Bw’alizimba omusingi gwakyo, alifiirwa omwana we omuggulanda, era bw’aliwangamu enzigi zaakyo, alifiirwa omwana we omuggalanda.’” Obunnabbi obwo bwatuukirira nga wayiseewo emyaka nga 500. 1 Bassekabaka 16:34 wagamba nti: “Mu kiseera ky’obufuzi bwa Akabu, Kyeri Omubeseri yazimba Yeriko. Bwe yazimba omusingi gwakyo, yafiirwa Abiraamu mutabani we omuggulanda, ate bwe yawangamu enzigi zaakyo, yafiirwa Segubi mutabani we omuggalanda, nga Yakuwa bwe yayogera ng’ayitira mu Yoswa mutabani wa Nuuni.” Katonda owa ddala yekka y’ayinza okuwa obunnabbi ng’obwo era n’akakasa nti butuukirizibwa.

OKITOBBA 3-9

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 17-18

“Mulituusa Wa Okutta Aga n’Aga?”

w17.03 lup. 14 ¶6

Yoleka Okukkiriza​—Era Salawo mu Ngeri ey’Amagezi!

6 Abayisirayiri bwe baamala okutuuka mu Nsi Ensuubize baalina okusalawo okusinza Yakuwa oba okusinza bakatonda abalala. (Soma Yoswa 24:15.) Ekyo kirabika ng’ekintu ekyali ekyangu okusalawo. Naye ekyo kye bandisazeewo kyandibaviiriddemu okuwonyaawo obulamu bwabwe oba okubufiirwa. Mu kiseera ky’Abalamuzi, enfunda n’enfunda Abayisirayiri baasalangawo bubi. Baavanga ku Yakuwa ne basinza bakatonda ab’obulimba. (Balam. 2:3, 11-23) Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kiseera kya Eriya. Nnabbi Eriya yagamba Abayisirayiri nti baalina okusalawo okuweereza Yakuwa oba okuweereza Bbaali, katonda ow’obulimba. (1 Bassek. 18:21) Eriya yanenya abantu olw’obutasalawo. Oyinza okulowooza nti ekyo tekyali kizibu kusalawo kubanga kyeyoleka lwatu nti kya magezi okuweereza Yakuwa. Mu butuufu, tewali muntu yenna ategeera yandisazeewo kusinza Bbaali. Wadde kyali kityo, Abayisirayiri abo baali ‘batta aga n’aga.’ Eriya yakubiriza Abayisirayiri okusalawo okusinza Yakuwa, Katonda ow’amazima.

ia lup. 88 ¶15

Yalwanirira Okusinza okw’Amazima

15 Bakabona ba Bbaali baatandika ‘okukoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka era ne beesalaasala ebiso n’amafumu ng’akalombolombo kaabwe bwe kaali, okutuusa lwe baatiiriika omusaayi.’ Naye ebyo byonna tebyabayamba! Bayibuli egamba nti: ‘Tewaali kanyego, wadde n’omu abaanukula oba assaayo mwoyo.’ (1 Bassek. 18:28, 29) Mazima ddala, katonda ayitibwa Bbaali teyaliiyo. Sitaani ye yali aleetedde abantu okuloowoza nti eriyo katonda ayitibwa Bbaali, bw’atyo abaggye ku Yakuwa. Nga bwe kyali mu kiseera ekyo, ne leero omuntu bw’aweereza katonda omulala yenna mu kifo ky’okuweereza Yakuwa ebivaamu tebiba birungi n’akamu.​—Soma Zabbuli 25:3; 115:4-8.

ia lup. 90 ¶18

Yalwanirira Okusinza okw’Amazima

18 Nga Eriya tannasaba, abantu bayinza okuba nga baali beebuuza obanga Yakuwa naye yali katonda wa bulimba nga Bbaali. Kyokka Eriya bwe yamala okusaba, baategeera ekituufu. Bayibuli egamba nti: “Awo omuliro gwa Yakuwa ne guva waggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n’enku n’amayinja n’ettaka, era ne gukaliza n’amazzi agaali mu lukonko.” (1 Bassek. 18:38) Yakuwa yaddamu okusaba kwa Eriya mu ngeri eyeewuunyisa! Naye abantu bo baakola ki?

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 7/1 lup. 11, akasanduuku

Yatunula era Yalindirira

Ekyeya ky’Omu Kiseera kya Eriya Kyamala Bbanga Ki?

Eriya nnabbi wa Yakuwa yagamba Kabaka Akabu nti ekyeya ekyali kimaze ebbanga eddene kyali kinaatera okukoma. Ekyeya ekyo kyakoma “mu mwaka ogw’okusatu”​—kirabika ng’obaze okuva ku lunaku Eriya lwe yasooka okulangirira nti ekyeya kijja. (1 Bassek. 18:1) Eriya bwe yamala okulangirira nti enkuba yali egenda kutonnya, waayitawo ekiseera kitono Yakuwa n’atonnyesa enkuba. Abamu bayinza okulowooza nti ekyeya kyakoma ng’omwaka ogwo ogw’okusatu tegunnaggwaako, era nti n’olw’ensonga eyo tekyaweza myaka esatu. Kyokka Yesu ne Yakobo baagamba nti ekyeya kyamala “emyaka esatu n’emyezi mukaaga.” (Luk. 4:25; Yak. 5:17) Kati olwo Bayibuli by’eyogera ku nsonga eno bikontana?

N’akatono. Ekiseera eky’omusana mu Isirayiri ey’edda kyabanga kiwanvu; oluusi kyamalanga n’emyezi omukaaga. Eriya we yagendera eri Akabu okumugamba nti waali wagenda kubaawo ekyeya, omusana guteekwa okuba nga gwali gwakidde ebbanga ddene okusinga ku lya bulijjo. Ekyo kiba kitegeeza nti ekyeya kyali kimaze emyezi nga mukaaga. N’olwekyo, Eriya bwe yalangirira “mu mwaka ogw’okusatu” nti enkuba yali egenda kuddamu okutonnya, ekyeya kyali kimaze emyaka esatu n’ekitundu, ng’obaze okuva ku lunaku we kyatandikira. Abantu bonna okugenda okukuŋŋaanira ku Lusozi Kalumeeri kikakasibwe ddala ani yali Katonda ow’amazima, waali wayise “emyaka esatu n’emyezi mukaaga.”

Ekiseera Eriya we yategeereza Akabu nti ekyeya kyali kitandise kyali kituukirawo, kubanga abantu baalinga balowooza nti Bbaali ye yali “atambuza ebire,” era nti ye yaleetanga enkuba. Bwe kiba nti omusana gwali gwakidde ekiseera kiwanvu okusinga bwe kyabanga bulijjo, abantu bateekwa okuba nga baali beebuuza nti: ‘Bbaali ali ku ki? Anaatonnyesa ddi enkuba?’ Era kiteekwa okuba nga kyayisa bubi nnyo abasinza ba Bbaali abo Eriya bwe yagamba nti waali tewagenda kubaawo nkuba wadde omusulo okutuusa ng’agambye bibeewo.​—1 Bassek. 17:1.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w14 2/15 lup. 14, 15

Nnamwandu w’e Zalefaasi Yafuna Emikisa olw’Okwoleka Okukkiriza

Nnamwandu yagamba Eriya nti: “Nga Yakuwa Katonda wo bw’ali omulamu, sirina kagaati, wabula obuwunga butono nnyo mu nsumbi ennene n’otufuta tw’ezzeyituuni mu kasumbi akatono. Kaakano nnonderera obuku, nzireyo eka nneefumbire akamere nze n’omwana wange, bwe tunaamala okukalya tufe.” (1 Bassek. 17:12) Ebigambo ebyo biraga ki?

Nnamwandu oyo yakitegeera nti Eriya yali musajja atya Katonda. Ekyo kyeyolekera mu bigambo nnamwandu oyo bye yayogera. Yagamba nti: “Nga Yakuwa Katonda wo bw’ali omulamu.” Wadde nga nnamwandu oyo yali alina ky’amanyi ku Katonda w’Abayisirayiri, yali tannatandika kumutwala nga Katonda we. Yali abeera mu kabuga Zalefaasi, akaali okumpi n’ekibuga Sidoni ekya Foyiniikiya. Kirabika abantu abaali babeera mu kabuga Zalefaasi baali basinza Bbaali. Wadde kyali kityo, Yakuwa alina ekintu ekirungi kye yalaba mu nnamwandu oyo.

Wadde nga nnamwandu w’e Zalefaasi yali abeera mu bantu abasinza ebifaananyi, yayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Yakuwa okutuma Eriya eri nnamwandu oyo, kyandiganyudde nnamwandu oyo era ne kiganyula ne Eriya. Ekyo kituyigiriza ki?

Abantu bonna abaali babeera mu Zalefaasi tebaali babi. Yakuwa okusindika Eriya eri nnamwandu oyo kituyigiriza nti Yakuwa afaayo ku bantu ab’emitima emirungi abatannatandika kumuweereza. Mu butuufu, “mu buli ggwanga omuntu [atya Katonda] n’akola ekituufu amukkiriza.”​—Bik. 10:35.

Mu kitundu mw’obuulira mulimu abantu abalinga nnamwandu w’e Zalefaasi? Wadde ng’abantu abo bali mu madiini ag’obulimba, bayinza okuba nga baagala okuyiga amazima. Bayinza okuba nga bamanyi kitono ku Yakuwa oba nga tebalina kye bamumanyiiko ne kiba nti beetaaga okuyambibwa basobole okwegatta ku kusinza okw’amazima. Ofuba okunoonya abantu ng’abo era n’obayamba?

‘SOOKA ONFUMBIRE AKAGAATI’

Lowooza ku ekyo Eriya kye yagamba nnamwandu okukola. Nnamwandu yali yaakagamba Eriya nti yali agenda kufumba akamere akatono akaali kasigaddewo, ye ne mutabani we bakalye oluvannyuma baffe. Naye Eriya yamugamba nti: “Totya. Genda okole nga bw’ogambye. Naye ku buwunga bw’osigazzaayo sooka onfumbireko akagaati akeetooloovu okandeetere, n’oluvannyuma obeeko kye weefumbira ggwe n’omwana wo. Kubanga bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Ensumbi ennene tejja kuggwaamu buwunga, era n’akasumbi akatono tekajja kuggwaamu mafuta g’ezzeyituuni okutuusa ku lunaku Yakuwa lw’alitonnyesa enkuba ku nsi.”​—1 Bassek. 17:11-14.

Singa ggwe wali mu mbeera eyo, wandikoze ki? Wandiwadde Eriya ku kamere ko akatono k’osigazzaawo? Kiki nnamwandu oyo kye yakola? Wadde nga yali tamanyi nnyo Yakuwa, yakola ekyo Eriya kye yamugamba okukola. Nnamwandu oyo yayoleka okukkiriza okw’amaanyi era n’asalawo mu ngeri ey’amagezi.

Katonda teyayabulira nnamwandu oyo eyali omwavu. Nga Eriya bwe yagamba, Yakuwa yalabirira Eriya, nnamwandu, ne mutabani we okutuusa ekyeya lwe kyaggwaako. Bayibuli egamba nti: “Ensumbi ennene teyaggwaamu buwunga, n’akasumbi akatono tekaggwaamu mafuta g’ezzeyituuni, nga Yakuwa bwe yali ayogedde okuyitira mu Eriya.” (1 Bassek. 17:16; 18:1) Singa nnamwandu oyo teyakola ekyo Eriya kye yamugamba okukola akamere ke ako kandiweddewo. Naye yayoleka okukkiriza, ne yeesiga Yakuwa, era n’asooka awa Eriya emmere.

Kye tuyigira ku kyokulabirako kya nnamwandu oyo kiri nti Katonda awa emikisa abo abooleka okukkiriza. Bw’onooyoleka okukkiriza ng’oli mu mbeera enzibu, Yakuwa ajja kukuyamba. Ajja kukulabirira, ajja kukukuuma, era nga Mukwano gwo, ajja kukuyamba okugumira ebizibu.​—Kuv. 3:13-15.

Mu 1898, magazini ya Zion’s Watch Tower yagamba nti: “Mukama waffe okusobola okuwa nnamwandu emikisa ng’ayitira mu nnabbi Eriya nnamwandu oyo yali alina okwoleka okukkiriza, naye bw’atandyolese kukkiriza, oboolyawo Mukama waffe yandironzeeyo nnamwandu omulala. Bwe kityo bwe kiri ne ku ffe. Ebiseera ebimu, Mukama waffe aleka okukkiriza kwaffe ne kugezesebwa. Bwe twoleka okukkiriza nga tugezesebwa, atuwa emikisa mingi, naye bwe tutayoleka kukkiriza, emikisa egyo tetugifuna.”

Bwe twolekagana n’okugezesebwa, tusaanidde okunoonya obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa. Bwe tufuna obulagirizi obwo, tusaanidde okubukolerako wadde ng’oluusi ekyo kiyinza obutaba kyangu. Katonda ajja kutuwa emikisa singa tukolera ku bigambo bino: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.”​—Nge. 3:5, 6.

‘WAJJA GYE NDI OKUTTA OMWANA WANGE?’

Waliwo ekintu ekirala ekyali kigenda okugezesa okukkiriza kwa nnamwandu. Bayibuli egamba nti: “Oluvannyuma lw’ebyo, mutabani w’omukazi oyo nnannyini nnyumba n’alwala, obulwadde ne bunyiinyiitira, n’alekera awo okussa.” Nga yeebuuza ekyali kiviiriddeko mutabani we oyo okufa, nnamwandu yagamba Eriya nti: “Onnanga ki ggwe omusajja wa Katonda ow’amazima? Wajja kunzijukiza bibi byange na kutta mwana wange?” (1 Bassek. 17:17, 18) Lwaki nnamwandu oyo yayogera ebigambo ebyo?

Kyandiba nti nnamwandu oyo alina ekibi kye yali yakola ekyali kiviirako omuntu we ow’omunda okumulumiriza? Oba kyandiba nti yali alowooza nti okufa kwa mutabani we kyali kibonerezo okuva eri Katonda, era nti Katonda yali akozesezza Eriya okutta omwana we? Ekyo Bayibuli tekyogerako, naye kye tumanyi kiri nti: Nnamwandu oyo teyanenya Katonda olw’ekyo ekyamutuukako.

Eriya ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo okulaba nga mutabani wa nnamwandu oyo afudde era n’okuba nti nnamwandu yali alowooza nti okufa kwa mutabani we kwali kuvudde ku ye. Oluvannyuma lw’okutwala omulambo gw’omulenzi mu kisenge ekya waggulu gye yasulanga, Eriya yakaabirira Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wange, otuusizza akabi ne ku nnamwandu ono ansuza, n’otta omwana we?” Eriya teyayagala kufa kwa mutabani wa nnamwandu oyo kuleete kivume ku linnya lya Katonda. Bwe kityo, yeegayirira Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wange, nkwegayiridde, omwana k’addemu obulamu.”​—1 Bassek. 17:20, 21.

“LABA, OMWANA WO MULAMU”

Yakuwa yawulira okusaba kwa Eriya. Nnamwandu oyo yali alabiridde nnabbi we era yali ayolese okukkiriza okw’amaanyi. Kiyinzika okuba nti Katonda yaleka obulwadde okutta mutabani wa nnamwandu oyo ng’akimanyi nti yali agenda kumuzuukiza. Okwo kwe kuzuukira okwasooka okwogerwako mu Byawandiikibwa, era kwandiyambye abantu bangi okufuna essuubi. Eriya bwe yasaba Yakuwa okuzuukiza omwana oyo, Yakuwa yawulira essaala ye era n’amuzuukiza. Lowooza ku ssanyu nnamwandu oyo lye yawulira Eriya bwe yamugamba nti: “Laba, omwana wo mulamu”! Nnamwandu yagamba Eriya nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nti oli musajja wa Katonda era nti ekigambo kya Yakuwa ky’oyogedde kya mazima.”​—1 Bassek. 17:22-24.

Essuula 17 ey’ekitabo kya Bassekabaka Ekisooka tetubuulira bisingawo bikwata ku nnamwandu w’e Zalefaasi. Kyokka, okuva bwe kiri nti Yesu yamwogerako bulungi, kirabika we yafiira yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa. (Luk. 4:25, 26) Ebyo ebikwata ku nnamwandu oyo biraga nti Katonda awa emikisa abo abakolera abaweereza be ebintu ebirungi. (Mat. 25:34-40) Era biraga nti Katonda alabirira abaweereza be abeesigwa, ne bwe baba mu mbeera enzibu ennyo. (Mat. 6:25-34) Ate era biraga nti Yakuwa asobola okuzuukiza abo abaafa. (Bik. 24:15) Mu butuufu, ebintu ebyo bituleetera okujjukira nnamwandu w’e Zalefaasi.

OKITOBBA 10-16

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 19-20

“Weeyune Yakuwa Akubudeebude”

w19.06 lup. 15 ¶5

Weesige Yakuwa ng’Olina Ebikweraliikiriza

5 Soma 1 Bassekabaka 19:1-4. Kyokka Eriya yatya nnyo, Nnaabakyala Yezebeeri bwe yagamba nti yali agenda kumutta. Bwe kityo yaddukira e Beeru-seba. Yaggwaamu nnyo amaanyi n’atuuka ‘n’okusaba afe.’ Kiki ekyamuleetera okuwulira bw’atyo? Eriya yali tatuukiridde, “yali muntu nga ffe.” (Yak. 5:17) Ayinza okuba nga yeeraliikirira nnyo era nga yali mukoowu nnyo. Kirabika Eriya yalowooza nti yali ateganidde bwereere okukubiriza abantu okudda eri Yakuwa, nti tewaaliwo kyali kikyuse mu Isirayiri, era nti ye muweereza wa Yakuwa yekka eyali asigaddewo. (1 Bassek. 18:3, 4, 13; 19:10, 14) Kiyinza okutwewuunyisa okuba nti nnabbi wa Yakuwa oyo omwesigwa yawulira bw’atyo. Naye Yakuwa yali ategeera bulungi ensonga lwaki yali awulira bw’atyo.

ia lup. 103 ¶13

Katonda We Yamugumya

13 Olowooza Yakuwa yawulira atya bwe yayima mu ggulu n’alaba nnabbi we oyo omwesigwa ng’agalamidde wansi w’akati mu ddungu ng’asaba afe? Tekitwetaagisa na kuteebereza. Otulo nga tumaze okutwala Eriya, Yakuwa yamusindikira malayika. Malayika yakwata ku Eriya n’amugamba nti: “Golokoka olye.” Eriya yagolokoka n’alya. Malayika yali amuleetedde omugaati n’amazzi. Eriya yeebaza malayika oyo? Bayibuli tetubuulira; egamba bugambi nti Eriya yalya n’anywa n’addawo ne yeebaka. Yandiba nga yali talina googera? Ekituufu tetukimanyi, naye malayika yamuzuukusa omulundi ogw’okubiri, oboolyawo ng’obudde bukya, n’amugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lw’ogenda okutambula luwanvu nnyo.”​—1 Bassek. 19:5-7.

ia lup. 106 ¶21

Katonda We Yamugumya

21 Bayibuli etugamba nti Yakuwa teyali mu mbuyaga, teyali mu musisi, era teyali mu muliro. Eriya yali akimanyi nti Yakuwa si Katonda eyeeyolekera mu maanyi g’obutonde, nga Bbaali bwe yatwalibwanga okuba. Abantu abaali basinza Bbaali bamutwalanga okuba nti ye yali “atambuza ebire,” era nti ye yaleetanga enkuba. Yakuwa ye nsibuko y’amaanyi gonna agali mu butonde, naye asingira wala nnyo ebintu bye yakola. Ggwe ate oba n’eggulu taligyamu! (1 Bassek. 8:27) Kati olwo ebyo byonna byayamba bitya Eriya? Kijjukire nti yalimu okutya. Naye ebintu ebyo byonna byakyoleka nti Yakuwa Katonda eyali ku ludda lwe wa maanyi nnyo, n’olwekyo yali tasaanidde kutya Akabu ne Yezeberi!​—Soma Zabbuli 118:6.

ia lup. 106 ¶22

Katonda We Yamugumya

22 Ng’omuliro gumaze okuggwawo, waaliwo akasiriikiriro, era Eriya yawulira “eddoboozi erya wansi era erikkakkamu.” Eddoboozi eryo lyamubuuza ekibuuzo, era n’ayanukula. Ne ku mulundi guno Eriya yayogera ekyamuli ku mutima, era oboolyawo ekyo kyamuleetera okweyongera okuwulira obuweerero. Ebyo “eddoboozi erya wansi era erikkakkamu” bye lyamugamba birina okuba nga byamubudaabuda nnyo. Yakuwa yamukakasa nti yali amutwala nga wa muwendo nnyo. Yamugamba ki? Yamubuulira bye yali agenda okukola okumalawo okusinza kwa Bbaali mu Isirayiri. Ekyo kyalaga nti Eriya bye yali akoze byali tebibadde bya bwereere, kubanga Katonda yali akyagenda mu maaso n’okulwanyisa okusinza kwa Bbaali. Ate era Yakuwa yakiraga nti yali akyakozesa omuweereza we oyo, kubanga alina ebirala bye yamutuma okukola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okumalawo okusinza kwa Bbaali mu Isirayiri.​—1 Bassek. 19:12-17.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w97-E 11/1 lup. 31 ¶2

Ekyokulabirako eky’Okwefiiriza n’Okuba Omwesigwa

Abaweereza ba Katonda bangi leero boolese omwoyo ng’ogwo ogw’okwefiiriza. Abamu baleseeyo emirimu gyabwe ne bagenda okubuulira amawulire amalungi mu bitundu eby’ewala oba okuweereza ku Beseri. Abalala bagenze mu nsi endala okuyambako mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe by’ekibiina. Bangi bakkirizza okukola emirimu egitwalibwa okuba egya wansi. Kyokka emirimu gyonna egikolebwa mu kuweereza Yakuwa tegiba gya wansi. Yakuwa asiima abo bonna abamuweereza kyeyagalire era abawa emikisa olw’okwefiiriza.​—Mak. 10:29, 30.

OKITOBBA 17-23

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 1 BASSEKABAKA 21-22

“Koppa Engeri Yakuwa gy’Akozesaamu Obuyinza Bwe”

it-2-E lup. 21

Yakuwa ow’Eggye

Yoswa bwe yalaba malayika eyali okumpi ne Yeriko era n’amubuuza obanga yali ku ludda lw’Abayisirayiri oba ku lw’abalabe ba Isirayiri, malayika oyo yamuddamu nti: “Nedda, naye nzize ng’omulangira w’eggye lya Yakuwa.” (Yos 5:13-15) Nnabbi Mikaaya yagamba Kabaka Akabu ne Kabaka Yekosafaati nti: “Nnalaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye, ng’eggye lyonna ery’omu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo n’ogwa kkono.” Kya lwatu nti Mikaaya yali ayogera ku baana ba Yakuwa ab’omwoyo. (1Sk 22:19-21) Kituukirawo okuba nti Yakuwa ayogerwako nga Yakuwa ow’eggye, kubanga ng’oggyeeko okuba nti bamalayika boogerwako ng’abali mu biti gamba ng’ekya bakerubi, baseraafi, ne bamalayika, (Is 6:2, 3; Lub 3:24; Kub 5:11) era Bayibuli eraga nti bali mu bibinja ebitegeke obulungi. Eyo ye nsonga lwaki Yesu Kristo yagamba nti yali asobola okusaba n’aweerezebwa ‘liigyoni za bamalayika ezisukka mu kkumi n’ebbiri.’ (Mat 26:53, obugambo obuli wansi.) Keezeekiya bwe yali asaba Yakuwa abayambe, yamuyita “Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu wa bakerubi.” Kirabika Keezeekiya okwogera bw’atyo yalina mu birowoozo essanduuko y’endagaano eyabangako ekibikka ekyabangako ebibumbe bya bakerubi era nga yali ekiikirira entebe ya Yakuwa mu ggulu. (Is 37:16; geraageranya 1Sa 4:4; 2Sa 6:2.) Omuweereza wa Erisa eyali atidde yaggwaamu okutya bwe yalaba mu kwolesebwa ensozi ezaali zeetoolodde ekibuga Erisa mwe yali ekyali kirumbiddwa eggye nga ‘zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro.’ Kya lwatu nti yalaba bamalayika.​—2Sk 6:15-17.

w21.02 lup. 4 ¶9

“Omutwe gwa Buli Musajja Ye Kristo”

9 Obwetoowaze. Yakuwa y’asingayo okuba ow’amagezi; wadde kiri kityo, awuliriza abaweereza be nga baliko kye bamugamba. (Lub. 18:23, 24, 32) Akkiriza abo abali wansi we okuwa endowooza zaabwe. (1 Bassek. 22:19-22) Yakuwa atuukiridde, naye mu kiseera kino tatusuubira kuba batuukiridde. Mu kifo ky’ekyo, ayamba abaweereza be abatatuukiridde okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe. (Zab. 113:6, 7) Mu butuufu, Bayibuli eyita Yakuwa ‘omuyambi.’ (Zab. 27:9; Beb. 13:6) Kabaka Dawudi yagamba nti obwetoowaze bwa Yakuwa bwe bwamusobozesa okukola ebintu byonna eby’amaanyi bye yakola.​—2 Sam. 22:36.

it-2-E lup. 245

Okulimba

Abantu abaagala obulimba, Yakuwa “abaleka okubuzaabuzibwa” ne ‘bakkiriza obulimba’ mu kifo ky’amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo. (2Se 2:9-12) Ekyo tukirabira ku ebyo ebyogerwa ku kabaka wa Isirayiri eyali ayitibwa Akabu. Akabu bwe yali agenda okulumba ekitundu ky’e Lamosi-gireyaadi, bannabbi abaali boogera obulimba baamugamba nti yali agenda kuwangula olutalo olwo, so ng’ate nnabbi wa Yakuwa eyali ayitibwa Mikaaya yamugamba nti ebintu byali tebigenda kumugendera bulungi. Nga Mikaaya bwe yalaba mu kwolesebwa, Yakuwa yakkiriza ekitonde eky’omwoyo okussa “ebigambo eby’obulimba” mu kamwa ka bannabbi ba Akabu. Ekitonde ekyo kyaleetera bannabbi abo okwogera eby’obulimba bye baali baagala okwogera, era Akabu bye yali ayagala okuwulira. Wadde nga Akabu yalabulwa, yasalawo okukkiriza obulimba era ne kimuviirako okufiirwa obulamu bwe.​—1Sk 22:1-38; 2By 18.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w21.10 lup. 3 ¶4-6

Okwenenya mu Bwesimbu Kuzingiramu Ki?

4 Kyaddaaki Yakuwa yabaako ky’akolawo. Yatuma Eriya okutegeeza Akabu ne Yezebeeri omusango gwe yali abasalidde. Bo n’ab’ennyumba yaabwe bonna baali bagenda kuzikirizibwa. Ebigambo bya Eriya byakwata nnyo ku Akabu! Ekyewuunyisa, omusajja oyo eyali ow’amalala ‘yeetoowaza.’​—1 Bassek. 21:19-29.

5 Wadde nga ku mulundi ogwo Akabu yeetoowaza, engeri gye yeeyisaamu oluvannyuma eraga nti teyeenenya mu bwesimbu. Teyagezaako kuggyawo kusinza kwa Bbaali mu bwakabaka bwe, era teyafuba kukubiriza bantu kusinza Yakuwa. Waliwo n’engeri endala eraga nti Akabu yali teyeenenyezza mu bwesimbu.

6 Oluvannyuma Akabu bwe yagamba Kabaka Yekosafaati owa Yuda okumwegattako mu kulwanyisa Abasuuli, Yekosafaati yamugamba nti basooke beebuuze ku nnabbi wa Yakuwa. Mu kusooka ekyo Akabu yakigaana, n’agamba nti: “Waliwo omusajja omulala omu gwe tusobola okuyitiramu okwebuuza ku Yakuwa, naye nze simwagala, kubanga tandagulako birungi wabula bibi byokka.” Wadde kyali kityo, beebuuza ku nnabbi Mikaaya. Era ddala Akabu yali mutuufu, kubanga nnabbi oyo yamugamba nti ebintu byali tebigenda kumugendera bulungi. Mu kifo ky’okwenenya n’asaba Yakuwa amusonyiwe, Akabu yasalawo okusiba nnabbi oyo mu kkomera. (1 Bassek. 22:7-9, 23, 27) Wadde nga Akabu yasobola okusiba nnabbi wa Yakuwa mu kkomera, yali tasobola kulemesa bunnabbi kutuukirira. Akabu yattibwa mu lutalo lwe baagenda okulwana.​—1 Bassek. 22:34-38.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w15 3/15 lup. 10-11 ¶10-12

“Bw’Otyo Bwe Wasiima”

9 Edda, enkola ng’eyo yagobererwanga nnyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo bye tusoma ku Nabosi. Nnaabakyala Yezeberi yalagira Nabosi attibwe, omwami we Akabu, asobole okutwala ennimiro ya Nabosi. (1 Bassek. 21:1-16) Mu mwaka gwa 1932, kyalagibwa nti ebyo ebikwata ku Nabosi birina kye bikiikirira. Kyagambibwa nti Akabu ne Yezeberi bakiikirira Sitaani n’abagoberezi be; Nabosi akiikirira Yesu; era nti okufa kwa Nabosi kukiikirira okufa kwa Yesu. Kyokka, ekitabo ekyafulumizibwa mu 1961 ekyalina omutwe “Let Your Name Be Sanctified,” kyagamba nti Nabosi akiikirira Abakristaayo abaafukibwako amafuta, era nti Yezeberi akiikirira amadiini ga Kristendomu. Era ekitabo ekyo kyagamba nti okuyigganyizibwa kwa Nabosi, kukiikirira okuyigganyizibwa kw’abaafukibwako amafuta mu nnaku ez’enkomerero. Okumala emyaka mingi, okunnyonnyola ebintu ebiri mu Bayibuli mu ngeri eyo kyanywezanga okukkiriza kw’abantu ba Katonda. Naye lwaki kati enkola ng’eyo tekyagobererwa nnyo?

10 Kyokka ekiseera bwe kigenze kiyitawo, Yakuwa ayambye “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okwongera okuba omwegendereza. Kati omuddu omwesigwa yeewala okugamba nti ekintu ekiri mu Bayibuli kirina kye kikiikirira okuggyako nga waliwo obukakafu obw’amaanyi okuva mu Byawandiikibwa obukiraga. Okugatta ku ekyo, kyazuulibwa nti ebintu ebyannyonnyolwanga mu ngeri eyo byabanga bizibu okutegeera n’okujjukira. Ate era essira bwe lyassibwanga ku bintu ne kye bikiikirira, kyaleeteranga omusomi okuwugulibwa n’alemererwa okulaba ebyo by’ayinza okuyigira ku ebyo ebyogerwako mu Bayibuli. N’olwekyo, ennaku zino mu bitabo byaffe, essira lissibwa ku ebyo bye tuyigira ku bintu ebiri mu Bayibuli ebisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe, okugumiikiriza, okwemalira ku Katonda, n’okwoleka engeri endala ennungi.

11 Kati tutegeera tutya ebyo ebikwata ku Nabbosi? Mu ngeri ennyangu tuyinza okugamba nti: Omusajja oyo omutuukirivu yafa, si lwa kuba nti yali akiikirira Yesu oba abaafukibwako amafuta, naye lwa kuba yali musajja mwesigwa. Yanywerera ku Mateeka ga Yakuwa ne bwe yali ng’ayigganyizibwa abo abaali bakozesa obubi obuyinza bwabwe. (Kubal. 36:7; 1 Bassek. 21:3) Ekyokulabirako kya Nabbosi kya muganyulo nnyo gye tuli kubanga ffenna tusobola okwolekagana n’okuyigganyizibwa olw’okunywerera ku mateeka ga Katonda. (Soma 2 Timoseewo 3:12.) Eky’okuyiga ng’ekyo buli omu asobola okukitegeera obulungi, okukijjukira, n’okulaba engeri gye kiyinza okumuyamba okunyweza okukkiriza kwe.

12 Kati olwo tugambe nti ebintu byonna ebiri mu Bayibuli birimu bya kuyiga bye tusobola okukozesa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo mwokka era nti tebisobola kuba na makulu malala gonna? Nedda. Leero bwe kituuka ku bintu ebimu ebyogerwako mu Bayibuli, ebitabo byaffe tebigamba nti birina kye bikiikirira. Mu kifo ky’ekyo, biraga engeri ebintu ebyo gye bikwataganamu n’ebirala. Ng’ekyokulabirako, ebyo bye tusoma ku ngeri Nabosi gye yayigganyizibwamu era n’asigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa, bitujjukiza engeri Kristo gye yayolekamu obwesigwa n’engeri abaafukibwako amafuta gye booleseemu obwesigwa. Ate era bisobola okutujjukiza obwesigwa abagoberezi ba Kristo bangi ‘ab’endiga endala’ bwe boolese. Ekyo kiraga nti Yakuwa atuyigiriza mu ngeri ennyangu.

OKITOBBA 24-30

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 1-2

“Ekyokulabirako Ekirungi Ennyo mu Kutendeka Abalala”

w15 4/15 lup. 13 ¶15

Engeri Abakadde Gye Bayambamu Abalala Okutuukiriza Ebisaanyizo

15 Ebyo bye tusoma ku Erisa bisobola okuyamba ab’oluganda okumanya engeri gye bayinza okukiraga nti bassa ekitiibwa mu bakadde. Oluvannyuma lwa Eriya ne Erisa okugenda mu Yeriko ne balaba bannabbi baayo, baagenda ku Mugga Yoludaani. Nga bali eyo, Eriya yaddira ekyambalo kye n’akizingamu n’akuba ku mazzi ne geeyawulamu. Oluvannyuma lw’okusomoka omugga nga bayita awakalu, baagenda batambula nga bwe banyumya. Erisa teyakitwala nti kati yali ategedde buli kimu. Mu butuufu, Erisa yeeyongera okussaayo omwoyo ku ebyo Eriya bye yali amuyigiriza. Bwe baali bakyatambula, Eriya yatwalibwa mu mbuyaga. Erisa yaddayo ku Mugga Yoludaani, n’akuba ku mazzi ng’akozesa ekyambalo kya Eriya, era n’agamba nti: “Aluwa Yakuwa Katonda wa Eriya?” Ne ku mulundi guno, amazzi gaddamu okweyawulamu.​—2 Bassek. 2:8-14.

w15 4/15 lup. 13 ¶16

Engeri Abakadde Gye Bayambamu Abalala Okutuukiriza Ebisaanyizo

16 Weetegereze nti ekyamagero Erisa kye yasooka okukola kifaananira ddala n’ekyo Eriya kye yasembayo okukola. Ekyo kituyigiriza ki? Erisa teyakitwala nti olw’okuba kati yali akwasiddwa obuyinza, kyali kimwetaagisa okutandikirawo okukola ebintu mu ngeri eyawukana ku ya Eriya. Mu kifo ky’ekyo, yeeyongera okukola ebintu nga Eriya bwe yali abikola, ekyalaga nti yali assa ekitiibwa mu Eriya, era ekyo kyaleetera bannabbi abalala okwesiga Erisa. (2 Bassek. 2:15) Erisa yamala emyaka 60 ng’aweereza nga nnabbi, era Yakuwa yamuwa amaanyi okukola ebyamagero bingi n’okusinga ku ebyo Eriya bye yakola. Kiki abo abatendekebwa kye bayinza okuyigira ku Erisa?

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05 10/1 lup. 19 ¶2

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri

2:11​—‘Embuyaga bwe yasitula Eriya,’ yamutwala mu “ggulu” ki? Eggulu eryogerwako wano si bwe bwengula oba ekifo Katonda ne bamalayika gye babeera. (Ekyamateeka 4:19; Zabbuli 11:4; Matayo 6:9; 18:10) ‘Eggulu,’ embuyaga gye zaatwala Eriya lyali bbanga. (Zabbuli 78:26; Matayo 6:26) Eggaali ery’omuliro lyayisa Eriya mu bbanga, ne limutwala mu kifo ekirala eky’oku nsi, gye yabeera okumala ekiseera. Nga wayiseewo emyaka, Eriya yawandiikira Yekolaamu kabaka wa Yuda ebbaluwa.​—2 Ebyomumirembe 21:1, 12-15.

OKITOBBA 31–NOOVEMBA 6

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 3-4

“Situla Omwana Wo”

w17.12 lup. 4 ¶7

“Mmanyi nti Alizuukira”

7 Okuzuukira okw’okubiri okwogerwako mu Bayibuli kwakolebwa Erisa, oyo eyaddira nnabbi Eriya mu bigere. Omukazi omu Omuyisirayiri eyali abeera mu Sunemu yasembeza Erisa. Okuyitira mu nnabbi Erisa, Katonda yasobozesa omukazi oyo eyali omugumba awamu n’omwami we eyali akaddiye okuzaala omwana ow’obulenzi. Nga wayise emyaka, omwana oyo yafa. Lowooza ku nnyiike omukazi oyo gye yafuna. Omukazi oyo yasaba mwami we amukkirize okubaako gy’agenda era yatindigga olugendo lwa mayiro 19 n’agenda eri Erisa ku Lusozi Kalumeeri. Nnabbi Erisa yagamba omuweereza we Gekazi abakulemberemu agende e Sunemu. Naye Gekazi bwe yatuukayo, teyasobola kuzuukiza mwana oyo. Oluvannyuma omukyala oyo yatuuka awaka ng’ali wamu ne Erisa.​—2 Bassek. 4:8-31.

w17.12 lup. 5 ¶8

“Mmanyi nti Alizuukira”

8 Erisa yagenda awaali omulambo n’asaba Yakuwa. Mu ngeri ey’ekyamagero, omwana yazuukira era Erisa n’amukwasa nnyina era nnyina yasanyuka nnyo! (Soma 2 Bassekabaka 4:32-37.) Omukyala oyo ayinza okuba nga yajjukira ebigambo Kaana eyali omugumba bye yayogera ng’atutte Samwiri okuweereza ku weema. Kaana yagamba nti: “Yakuwa . . . aserengesa emagombe, era azuukiza.” (1 Sam. 2:6) Yakuwa bwe yazuukiza omulenzi oyo ow’omu Sunemu, yakiraga nti alina obusobozi obw’okuzuukiza omuntu aba afudde.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 697 ¶2

Nnabbi

“Abaana ba Bannabbi.” Ng’ekitabo ekiyitibwa Gesenius’ Hebrew Grammar (Oxford, 1952, p. 418) bwe kiraga, ekigambo ky’Olwebbulaniya ben (omwana wa) oba benehʹ (abaana ba), kiyinza okutegeeza “abantu ab’ekiti ekimu oba abalina ekigendererwa kye kimu (oba ab’ekika ekimu).” (Geraageranya Nek 3:8. Mu lunyiriri olwo, “omu ku batabuzi b’amafuta ag’akaloosa” obutereevu ayitibwa “omwana w’abatabuzi b’amafuta ag’akaloosa.”) N’olwekyo, ebigambo “abaana ba bannabbi” biyinza okuba nga bitegeeza essomero abo abaayitibwanga okuweereza nga bannabbi mwe baaweerwanga obulagirizi, oba biyinza okuba nga bitegeeza ekibiina kya bannabbi. Bayibuli eraga nti ebibiina ng’ebyo ebya bannabbi byali e Beseri, e Yeriko, n’e Girugaali. (2Sk 2:3, 5; 4:38; geraageranya 1Sa 10:5, 10.) Samwiri yali akulembera ekibiina kya bannabbi ekyali e Laama (1Sa 19:19, 20), ate kirabika Erisa naye yakulemberako ekibiina kya bannabbi mu kiseera kye. (2Sk 4:38; 6:1-3; geraageranya 1Sk 18:13.) Ebyawandiikibwa byogera ku ky’okuba nti beezimbira ebifo eby’okubeeramu, era byogera ne ku mulundi lwe beeyazika embazzi, ekiraga nti bayinza okuba nga tebaabanga na bintu bingi. Wadde ng’emirundi mingi baasulanga wamu era nga baliira wamu, bayinza okuba nga bwe baatumibwanga ku mirimu egitali gimu egyali gikwata ku buweereza bwabwe nga bannabbi, baagendanga kinnoomu.​—1Sk 20:35-42; 2Sk 4:1, 2, 39; 6:1-7; 9:1, 2.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w13 8/15 lup. 28-29

Erisa Yalaba Amagaali ag’Omuliro​—Naawe Ogalaba?

Kabaka wa Busuuli yali anoonya nnabbi wa Katonda Erisa ng’ayagala okumukwata. Yakitegeerako nti Erisa yali mu Dosani, ekibuga ekyali waggulu ku lusozi era nga kiriko bbugwe. Ekiro, kabaka wa Busuuli yasindika endogoyi, amagaali, n’abasajja abalwanyi e Dosani. Obudde we bwakeerera, eggye lye lyali lyetoolodde ekibuga.​—2 Bassek. 6:13, 14.

Omuddu wa Erisa bwe yafuluma ebweru, yalaba eggye ly’abalabe. Yatya nnyo era n’agamba nti: “Zitusanze mukama wange! Tukoze tutya?” Naye Erisa yamuddamu nti: “Totya, kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.” Oluvannyuma Erisa yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Yakuwa, zibula amaaso ge alabe.” Bayibuli egamba nti: “Amangu ago Yakuwa n’azibula amaaso g’omuweereza n’alaba, era laba! ekitundu eky’ensozi kyali kijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro, nga byetoolodde Erisa.” (2 Bassek. 6:15-17) Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo ku olwo awamu n’ebintu ebirala ebyaliwo mu bulamu bwa Erisa?

Wadde nga Erisa yali yeetooloddwa eggye lya Busuuli, yasigala nga mukkakkamu olw’okuba yali yeesiga Yakuwa era yali mukakafu nti yali amukuuma. Tetusuubira nti Yakuwa ajja kutukuuma mu ngeri ey’ekyamagero leero, naye tuli bakakafu nti Yakuwa akuuma abantu be ng’ekibiina. Naffe tulinga abeetooloddwa embalaasi n’amagaali ag’omuliro. Bwe ‘tulaba’ ebintu ebyo n’amaaso gaffe ag’okukkiriza era nga twesiga Katonda, tujja kuba mu “mirembe” era Yakuwa ajja kutuwa emikisa. (Zab. 4:8) Kati ka tulabe bye tuyigira ku bintu ebirala ebyaliwo mu bulamu bwa Erisa.

ERISA ATANDIKA OKUWEEREZA ERIYA

Lumu, Erisa bwe yali ng’alima, nnabbi Eriya yajja gy’ali n’amusuulako ekyambalo kye. Erisa yategeera ekyo Eriya kye yali ategeeza. Bwe kityo, Erisa yateekateeka embaga, n’asiibula kitaawe ne nnyina, n’ava awaka waabwe n’agenda okuweereza Eriya. (1 Bassek. 19:16, 19-21) Olw’okuba Erisa yali mwetegefu okuweereza Katonda mu bujjuvu, Yakuwa yamukozesa okukola ebintu bingi era oluvannyuma yamulonda okuba nnabbi eyadda mu bigere bya Eriya.

Erisa yaweereza Eriya, oboolyawo okumala emyaka mukaaga. Mu kiseera ekyo, ye ‘yafukiriranga Eriya amazzi ng’anaaba mu ngalo.’ (2 Bassek. 3:11) Mu biseera by’edda, abantu baaliisanga ngalo. Oluvannyuma lw’okulya emmere, omuweereza yafukiriranga mukama we amazzi mu ngalo. Ekyo kiraga nti emirimu egimu Erisa gye yakolanga gyali gya wansi. Kyokka, Erisa yagitwala nga nkizo okuweereza Eriya.

Okufaananako Eriya, Abakristaayo bangi leero, beetegefu okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna obutali bumu. Ekyo bakikola olw’okuba beesiga Yakuwa era baagala okumuwa ekyo ekisingayo obulungi. Ng’ekyokulabirako, abamu bava ewaabwe okusobola okuweereza ku Beseri n’okuyamba mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, emirimu bangi gye batwala okuba egya wansi. Kyokka tewali Mukristaayo n’omu asaanidde kutwala mirimu ng’egyo okuba egya wansi, kubanga Yakuwa agitwala nga gya muwendo.​—Beb. 6:10.

ERISA YANYWERERA KU BUWEEREZA BWE

Katonda bwe yali ‘tannalinnyisa Eriya mu ggulu,’ yagamba nnabbi oyo okuva e Girugaali agenda e Beseri. Eriya bwe yagamba Erisa okusigala, Erisa yamuddamu nti: “Sijja kukuvaako.” Bwe baali bagenda, emirundi ebiri Eriya yagamba Erisa obutamugoberera naye Erisa n’agaana. (2 Bassek. 2:1-6) Nga Luusi bwe yanywerera ku Nawomi, ne Erisa yanywerera ku Eriya. (Luus. 1:8, 16, 17) Erisa yagitwala nga nkizo ya maanyi okuweereza Eriya, kubanga yali amaanyi nti Katonda ye yali amuwadde omulimu ogwo.

Erisa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Bwe tufuna enkizo yonna mu kibiina, tujja kugitwala nga ya muwendo singa tukijjukira nti tuweereza Yakuwa. Tewali nkizo esinga eyo ey’okuweereza Yakuwa.​—Zab. 65:4; 84:10.

“NSABA KYE MBA NKUKOLERA”

Bwe baali batambula, Eriya yagamba Erisa nti: “Nsaba kye mba nkukolera nga sinnakuggibwako.” Okufaananako Sulemaani, Erisa yasaba ekintu ekyandimuyambye okuweereza obulungi Yakuwa. Yasaba ‘emigabo ebiri ku mwoyo Katonda gwe yawa Eriya.’ (1 Bassek. 3:5, 9; 2 Bassek. 2:9) Mu Isirayiri, omwana ow’obulenzi omubereberye yaweebwanga emigabo ebiri egy’obusika. (Ma. 21:15-17) Bwe kityo, Erisa yali asaba okufuuka omusika wa Eriya oba okudda mu kifo kye nga nnabbi. Ate era, Erisa yali ayagala okuba omuvumu era omunyiikivu nga Eriya.​—1 Bassek. 19:13, 14.

Eriya yaddamu atya omuweereza we oyo? Yamugamba nti: “Ekintu ky’osabye kizibu nnyo. Bw’onondaba nga nkuggibwako kinaaba bwe kityo; naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” (2 Bassek. 2:10) Ebyo Eriya bye yamuddamu biyinza okuba nga byalina amakulu ga mirundi ebiri. Biyinza okuba nga byali bitegeeza nti Katonda yekka ye yali alina okusalawo obanga Erisa aweebwa ekyo kye yali asabye. Oba biyinza okuba nga byali bitegeeza nti Erisa okusobola okufuna ekyo kye yali asabye, yalina okunywerera ku Eriya mu mbeera zonna.

ERISA KYE YALABA

Yakuwa yawa Erisa ekyo kye yali asabye? Bayibuli egamba nti: “Bwe baali batambula nga bagenda banyumya, ne wajja eggaali ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne bibaawula, era Eriya n’atwalibwa embuyaga n’ayambuka mu ggulu,” nga Erisa alaba. Bw’atyo Yakuwa bwe yaddamu okusaba kwa Erisa. Erisa yalaba Eriya ng’atwalibwa, yaweebwa emigabo ebiri egy’omwoyo gwa Eriya, era yadda mu kifo kya Eriya nga nnabbi.​—2 Bassek. 2:11-14.

Erisa yalonda ekyambalo kya Eriya ekyali kimuvuddeko ne kigwa wansi, n’akyambala. Abantu bwe baalaba Erisa ng’ayambadde ekyambalo ekyo, baakitegeera nti yali afuuse nnabbi wa Katonda. Ekirala ekyalaga nti yali alondeddwa okuba nnabbi kwe kuba nti yakuba ku mazzi g’Omugga Yoludaani ne geeyawulamu.

Ebyo Erisa bye yalaba nga Eriya atwalibwa embuyaga, biteekwa okuba nga byamukwatako nnyo. Ekyo kiri kityo, kubanga si kya bulijjo okulaba eggaali ery’olutalo ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro! Yakiraba nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwe. Katonda bw’addamu essaala zaffe, tetulaba ggaali lya lutalo ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro. Naye tulaba obukakafu obw’enkukunala obulaga nti Yakuwa akozesa amaanyi ge amangi okutuyamba n’okukakasa nti ebyo by’ayagala bikolebwa. Ate era bwe tulaba engeri Yakuwa gy’awaamu omukisa ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye, tuba ‘ng’abalaba’ eggaali lye nga litambula.​—Ezk. 10:9-13.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share