LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Omulimu Oguzzaamu Amaanyi
    Obuweereza bw’Obwakabaka—2003 | Agusito
    • Omulimu Oguzzaamu Amaanyi

      1 Obubaka obuva mu Baibuli buzzaamu amaanyi abo bonna ababukkiriza era ne babukolerako mu bulamu bwabwe. (Zab. 19:7, 8) Bubayamba okwekutula ku njigiriza ez’obulimba n’emize emibi, era bubawa essuubi eryesigika ery’ebiseera eby’omu maaso. Naye nno, abo abafuna amawulire amalungi si be bokka abaganyulwa. Abo ababuulira abalala amazima agazzaamu amaanyi okuva mu Baibuli, nabo bennyini bazzibwamu amaanyi.​—Nge. 11:25.

      2 Obuweereza Buzzaamu Amaanyi: Yesu yagamba nti abo abakkiriza okwetikka ekikoligo ky’okubeera abayigirizwa be, ekizingiramu omulimu gw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa, ‘balizzibwamu amaanyi mu mmeeme zaabwe.’ (Mat. 11:29, NW) Ye kennyini omulimu gw’okubuulira gwamuzzangamu amaanyi. Gwali nga eky’okulya gy’ali. (Yok. 4:34) Bwe yasindika abayigirizwa 70 okubuulira, baasanyuka bwe baalaba engeri Yakuwa gye yali awagiramu omulimu gwabwe.​—Luk. 10:17.

      3 Mu ngeri y’emu, Abakristaayo bangi leero bazzibwamu amaanyi bwe beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Mwannyinaffe omu yagamba: “Obuweereza buzzaamu amaanyi kubanga bumpadde ekiruubirirwa era n’ekigendererwa mu bulamu. Ebizibu byange mbyerabira bwe nneenyigira mu buweereza.” Omuweereza omulala omunyiikivu yagamba: “Obuweereza . . . bunzijukiza buli lunaku nti Yakuwa wa ddala era bumpa emirembe n’essanyu eritayinza kufunibwa mu ngeri ndala yonna.” Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okubeera “abakolera awamu ne Katonda”!​—1 Kol. 3:9, NW.

      4 Ekikoligo kya Yesu Si Kizibu: Wadde Abakristaayo tukubirizibwa ‘okufubanga,’ Yesu tatusaba ebyo bisukka ku bye tusobola kukola. (Luk. 13:24) Mu butuufu, mu ngeri ey’okwagala atukubiriza ‘okwetikkira awamu naye ekikoligo kye.’ (Mat. 11:29, NW) Abo aboolekaganye n’embeera enzibu, basobola okuba abakakafu nti obuweereza bwabwe obuviira ddala ku mutima, wadde butono butya, busiimibwa Katonda.​—Mak. 14:6-8; Bak. 3:23.

      5 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okuweereza Katonda asiima kyonna kye tukola ku lw’erinnya lye! (Beb. 6:10) Ka tufube bulijjo okumuwa ekisingirayo ddala obulungi.

  • Koppa Obulungi bwa Yakuwa
    Obuweereza bw’Obwakabaka—2003 | Agusito
    • Koppa Obulungi bwa Yakuwa

      1 Oluvannyuma lw’okunyumirwa okulaba enjuba ng’egolooba oba okulya ekijjulo ekiwoomu, muli tekitukubiriza okwebaza Yakuwa, Ensibuko y’ebintu ebirungi? Obulungi bwe butusikiriza okumukoppa. (Zab. 119:66, 68; Bef. 5:1) Tuyinza tutya okwoleka obulungi?

      2 Bulage Abatakkiriza: Engeri emu mwe tuyinza okukoppa obulungi bwa Yakuwa kwe kufaayo ku abo abatali mu nzikiriza yaffe. (Bag. 6:10) Okubakolera ebirungi kirina kinene nnyo kye kikola ku ndowooza gye batulinako ng’Abajulirwa ba Yakuwa n’obubaka bwaffe.

      3 Ng’ekyokulabirako, ng’alinda okulaba omusawo, ow’oluganda omuto akola nga payoniya yalinaana omukyala nnamukadde eyali alabika nga mulwadde nnyo okusinga abalala bonna abaaliwo. Ow’oluganda ono bwe yali ng’atuuse okulaba omusawo, yaleka omukyala ono ajjanjabibwe mu kifo kye. Oluvannyuma yaddamu okusisinkana omukyala oyo mu katale, era ku luno omukyala oyo yamusanyukira nnyo. Wadde ng’emabegako yali tasiima mawulire malungi, yagamba nti kati yali akitegedde nti Abajulirwa ba Yakuwa baagalira ddala baliraanwa baabwe. Baatandika okuyiga naye Baibuli.

      4 Bulage Baganda Baffe: Era tukoppa obulungi bwa Yakuwa bwe tuyamba bakkiriza bannaffe. Mu biseera eby’obutyabaga, tuba bamu ku abo abawoma omutwe mu kudduukirira baganda baffe. Twoleka omwoyo gwe gumu bwe tuyamba abo abeetaga okutwalibwa mu nkuŋŋaana, bwe tukyalira abalina obunafu obw’amaanyi mu mubiri, era bwe tulaga okwagala abo be tutamanyi bulungi mu kibiina.​—2 Kol. 6:11-13; Beb. 13:16.

      5 Engeri endala Yakuwa mwalagira obulungi kwe kuba nti ‘ayanguwa okusonyiwa.’ (Zab. 86:5) Mu kumukoppa, tulaga okwagala kwaffe nga tusonyiwa abalala. (Bef. 4:32) Kino kisobozesa enkolagana yaffe ne bakkirizza bannaffe okuba ‘ennungi era esanyusa.’​—Zab. 133:1-3.

      6 Obulungi bwa Yakuwa obusukkiridde ka butuleetere okumutendereza era n’okubugaana essanyu. Era ka butuleetere okufuba okumukoppa mu buli kye tukola.​—Zab. 145:7; Yer. 31:12.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share