OLUYIMBA 130
Sonyiwanga
Printed Edition
1. Yakuwa Katonda
Akoze ’nteekateeka,
Tusonyiyibwe ebibi
N’okufa kuggibwewo.
Singa twenenyeza ddala
Era ne tumusaba
Mu linnya lya Yesu Kristo,
Talema kusonyiwa.
2. Ddala tusaasirwa
Bwe tukoppa Yakuwa
Ne twoleka okwagala,
Nga tusonyiwagana.
Tugumiikirizagane,
Obumu tubukuume;
Tuwaŋŋane ekitiibwa,
Ffenna ng’ab’oluganda.
3. Tugwanidd’o kuba
’Bantu abasaasira,
Abatasiba kiruyi,
Aboolek’o kwagala.
Bwe tunaakoppa Yakuwa
Katonda ’w’okwagala,
Era ne tusonyiwanga,
Tujja kumufaanana.
(Laba ne Mat. 6:12; Bef. 4:32; Bak. 3:13.)