OLUYIMBA 134
Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva eri Katonda
Printed Edition
	- 1. Omwami ne mukyala we - Oluzaala omwana bwe bati, - Baba bakwasiddwa ekintu, - Ekitali kyabwe bokka. - Kirabo ’kuva wa Yakuwa; - Ye nsibuko y’obulamu bwonna. - Ye y’alagirira ’bazadde - Ne bamanya eky’okukola. - (CHORUS) - Kye musigiddwa kitukuvu; - Bulamu obw’omuwendo. - Omwana mumuyigirize - ’Biragiro bya Katonda. 
- 2. Katonda by’abalagira, - Tebivanga ku mitima gyammwe. - Mubitegeezenga abaana; - Mukitwale nga kikulu. - Mukikole nga mutambula, - Bwe mutuula ne bwe muyimuka. - Balibijjukira gye bujja, - Kibayamb’o kuba ’beesigwa. - (CHORUS) - Kye musigiddwa kitukuvu; - Bulamu obw’omuwendo. - Omwana mumuyigirize - ’Biragiro bya Katonda. 
(Laba ne Ma. 6:6, 7; Bef. 6:4; 1 Tim. 4:16.)