OLUYIMBA 65
Weeyongere mu Maaso!
- 1. Weeyongere okukulaakulana! - Yamba n’abalala okulaba ’mazima. - Obuweereza bwo bulongoosenga, - Oweebwe emikisa. - ’Mulimu gwaffe kubuulira, - Era ne Yesu yabuulira. - Weesige Katonda oleme kugwa. - Nywerera mu mazima. 
- 2. Yongera ’kubuulira n’obuvumu! - Tuusa obubaka ku bantu buli wamu. - Yakuwa ali naawe; ba mugumu, - Ng’obuulira nju ku nju. - Ka wabeewo abakutiisa, - Toggwaamu maanyi; buuliranga. - Obwakabaka bwa Katonda bujja. - Fub’o kuyamba ’bantu. 
- 3. Weeyongere mu maaso; todda nnyuma. - Eby’okukola bingi; - yongera ’kkuguka. - Katonda musabenga omwoyo gwe. - Taaleme kukuyamba. - Yagala ’bantu b’obuulira; - Yongera okubaddiŋŋana. - Bayambe nabo ’kukulaakulana, - Boolese ’kitangaala. 
(Laba ne Baf. 1:27; 3:16; Beb. 10:39.)