Ba Muvumu ng’Oyolekagana n’Ebizibu Ebiriwo Leero
“Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.”—ZAB. 46:1.
1, 2. Bizibu ki abantu bangi bye boolekagana nabyo leero, era kiki ffenna kye twagala?
LEERO, mu nsi mulimu ebizibu bingi. Abantu bangi bakoseddwa obutyabaga, gamba nga musisi, amataba, emiyaga, n’obutyabaga obulala bungi. Ng’oggyeko ekyo, ebizibu ebiri mu maka n’ebizibu abantu bye bafuna kinnoomu nabyo bireetedde abantu okweraliikirira n’ennaku ey’amaanyi. Nga Bayibuli bw’egamba, ebintu ebibi ffenna bisobola okututuukako ekiseera kyonna.—Mub. 9:11.
2 Abaweereza ba Katonda okutwalira awamu beeyongedde okumuweereza n’essanyu mu biseera bino ebizibu. Ffenna twagala okuba abeetegefu okugumira ekizibu kyonna kye tuyinza okufuna ng’enkomerero y’enteekateeka eno egenda esembera. Tuyinza tutya okweyongera okuweereza Yakuwa n’essanyu wadde nga twolekagana n’ebizibu? Era kiki ekinaatuyamba okuba abavumu nga twolekagana n’ebizibu?
YIGIRA KU ABO ABAAYOLEKA OBUVUMU
3. Okusinziira ku Abaruumi 15:4, kiki ekiyinza okutubudaabuda nga twolekagana n’ebizibu?
3 Wadde nga waliwo ebizibu bingi nnyo leero, okuva edda n’edda abantu babaddenga n’ebizibu. Kati ka tulabe ekyo kye tuyinza okuyigira ku bamu ku baweereza ba Katonda abaaliwo mu biseera by’edda abaayoleka obuvumu nga boolekagana n’ebizibu.—Bar. 15:4.
4. Bizibu ki Dawudi bye yafuna, era kiki ekyamuyamba okubigumira?
4 Lowooza ku Dawudi, omusajja eyafuna ebizibu ebingi. Kabaka Sawulo yayagala okumutta, yalumbibwa abalabe, bakyala be baawambibwa, abamu ku mikwano gye n’ab’omu maka ge baamulyamu olukwe, era ebiseera ebimu yennyamiranga nnyo. (1 Sam. 18:8, 9; 30:1-5; 2 Sam. 17:1-3; 24:15, 17; Zab. 38:4-8) Bayibuli eraga nti ebizibu ebyo byaleetera Dawudi ennaku ey’amaanyi, naye tebyamuleetera kulekera awo kwesiga Yakuwa. Dawudi yagamba nti: “Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; anankankanyanga ye ani?”—Zab. 27:1; soma Zabbuli 27:5, 10.
5. Kiki ekyayamba Ibulayimu ne Saala okugumira ebizibu bya baafuna?
5 Ibulayimu ne Saala ebiseera byabwe ebisinga obungi baabimala basula mu weema era nga babeera mu bitundu bye baali batamanyi. Obulamu tebwababeereranga bwangu. Baafuna ebizibu, gamba ng’enjala, n’okuba nti abantu b’amawanga agaali gabeetoolodde baali ba bulabe gye bali. (Lub. 12:10; 14:14-16) Kiki ekyabayamba okugumira ebizibu bye baafuna? Ekigambo kya Katonda kigamba nti Ibulayimu “yali alindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini, era nga eyakizimba era eyakikola ye Katonda.” (Beb. 11:8-10) Ibulayimu ne Saala baakumira ebirowoozo byabwe ku bintu Katonda bye yali abasuubizza mu kifo ky’okubissa ku bizibu bye baafuna.
6. Tuyinza tutya okukoppa Yobu?
6 Yobu yafuna ebizibu eby’amaanyi ennyo. Lowooza ku ngeri gye yawuliramu ng’afunye ebizibu eby’amaanyi eby’omuddiriŋŋanwa. (Yob 3:3, 11) Ng’oggyeko ekyo, yali tamanyi na nsonga lwaki ebizibu ebyo byonna byali bimutuuseeko. Wadde kyali kityo teyaggwamu maanyi. Yakuuma obugolokofu bwe era yeeyongera okwesiga Katonda. (Soma Yobu 27:5.) Yobu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.
7. Bizibu ki Pawulo bye yafuna ng’aweereza Katonda, era kiki ekyamuyamba okubigumira?
7 Lowooza ku kyokulabirako ekirungi Pawulo kye yateekawo. Pawulo yagamba nti yayolekagana n’ebizibu mu bibuga, mu ddungu, ne ku nnyanja. Yayogera ku ‘kulumwa enjala n’ennyonta, ku kubeera mu bunnyogovu, ne ku butaba na bya kwambala.’ Pawulo era yagamba nti ‘yasula era n’asiiba mu buziba bw’ennyanja.’ Oboolyawo yali ayogera ku gumu ku mirundi eryato mwe yali lwe lyamenyekamenyeka. (2 Kol. 11:23-27) Wadde nga yayolekana n’ebizibu bingi ng’aweereza Katonda, Pawulo yasigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu. Lumu bwe yabonaabona ennyo n’abulako katono okufa, Pawulo yagamba nti: “Kino kyali bwe kityo tuleme kussa bwesige mu ffe kennyini, wabula mu Katonda azuukiza abafu. Yatuwonya mu mbeera eyo ey’akabi ennyo era ajja kutuwonya.” (2 Kol. 1:8-10) Tuyinza okuba nga tetufunangako bizibu bya maanyi ng’ebyo Pawulo bye yafuna. Wadde kiri kityo, naffe tulina ebizibu bye twolekagana nabyo. Okukimanya nti Pawulo yasobola okugumira ebizibu bye yafuna kisobola okutuzzaamu amaanyi.
BW’OFUNA EBIZIBU TOGGWAMU MAANYI
8. Ebizibu ebiriwo mu nsi leero biyinza kutuleetera kuwulira tutya? Waayo ekyokulabirako.
8 Leero, ensi ejjudde obutyabaga n’ebizibu ebirala eby’amaanyi ebireetedde abantu bangi okuggwamu amaanyi. Abakristaayo abamu nabo bawulira nga baweddemu amaanyi. Lani,a eyali aweereza nga payoniya mu Australia n’omwami we, yagamba nti: ‘Bwe kyazuulibwa nti nnalina kkansa w’amabeere, nnawulira nga mpeddemu amaanyi. Eddagala lye bampa lyannafuya nnyo, era nnawulira nga sikyalina mugaso.’ Ate mu kiseera ky’ekimu yalina n’okulabirira omwami we eyali alongooseddwa enkizi. Singa twesanga mu mbeera ng’eyo, kiki kye tuyinza okukola?
9, 10. (a) Kiki kye tutasaanidde kukkiriza Sitaani kukola? (b) Okusinziira ku Ebikolwa by’Abatume 14:22, kiki ekinaatuyamba okugumira ebizibu?
9 Bulijjo tusaanidde okukijjukira nti Sitaani ayagala okukozesa ebizibu bye tufuna okunafuya okukkiriza kwaffe n’okutumalako essanyu. Naye ekyo tetusaanidde kumukkiriza kukikola. Engero 24:10 wagamba nti: “Bw’ozirika ku lunaku olw’okulabirako obuyinike, amaanyi go nga matono.” Okufumiitiriza ku byokulabirako ebiri mu Bayibuli, gamba ng’ebyo bye tulabye, kijja kutuyamba okuba abavumu nga twolekagana n’ebizibu.
10 Ate era kikulu nnyo okukijjukira nti tetusobola kumalawo bizibu byaffe byonna. Mu butuufu tusuubira okweyongera okufuna ebizibu. (2 Tim. 3:12) Ebikolwa by’Abatume 14:22 wagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Mu kifo ky’okukkiriza ebizibu okutumalamu amaanyi, tusaanidde okubitwala ng’akakisa ke tuba tufunye okulaga nti twesiga Katonda.
11. Kiki ekinaatuyamba obutaggwamu maanyi nga tufunye ebizibu?
11 Tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebirungi. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Omutima ogujaguza gusanyusa amaaso: Naye obuyinike obw’omutima bwe bumenya omwoyo.” (Nge. 15:13) Singa tumalira ebirowoozo byaffe ku bizibu bye tutasobola kugonjoola, ekyo kijja kutumalamu bumazi maanyi. Naye tuli basanyufu nnyo okukimanya nti Yakuwa mwetegefu okutuyamba. Ne bwe tuba mu biseera ebizibu, Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu Kigambo kye, mu bakkiriza bannaffe, ne mu mwoyo gwe omutukuvu. Ebyo bye bintu bye tusaanidde okulowoozaako era ebijja okutuyamba okuba abasanyufu. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byo ku bizibu by’olina, kola kyonna ekisoboka okwaŋŋanga buli kizibu ky’ofuna, era fuba okussa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi by’olina.—Nge. 17:22.
12, 13. (a) Kiki ekiyambye abaweereza ba Katonda okugumira ebizibu ebivudde mu butyabaga? Waayo ekyokulabirako. (b) Obutyabaga obugwawo butuyamba butya okutegeera ekintu ekisinga obukulu mu bulamu?
12 Gye buvuddeko awo, wabaddewo obutyabaga obw’amaanyi obugudde mu nsi ezitali zimu. Naye bakkiriza bannaffe mu nsi ezo basobodde okugumira ebizibu ebivudde mu butyabaga obwo wadde ng’ekyo tekibadde kyangu. Ku ntandikwa y’omwaka 2010, musisi ow’amaanyi yayita mu Chile era n’ayonoona amayumba g’ab’oluganda awamu n’ebintu byabwe ebirala bingi. Wadde kyali kityo, ab’oluganda baasigala nga banywevu mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda Samuel ennyumba ye yonna yasaanawo. Yagamba nti: “Ne mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, nze ne mukyala wange tetwalekera awo kugenda mu nkuŋŋaana wadde okubuulira. Ekyo kyatuyamba obutaggwamu maanyi.” Samuel ne mukyala we awamu n’ab’oluganda abalala bangi ebirowoozo byabwe tebaabimalira ku katyabaga ako. Baasigala baweereza Yakuwa n’obunyiikivu.
13 Mu Ssebutemba 2009, enkuba ey’amaanyi yatonnya mu kibuga Manila ekya Philippines n’ereeta amataba. Omusajja omu omugagga eyafiirwa ebintu bye bingi yagamba nti, “Amataba ago gaaviirako abagagga n’abaavu okubonaabona.” Ekyo kitujjukiza ebigambo bya Yesu bino: “Mweterekere eby’obugagga mu ggulu gye bitayinza kuliibwa biwuka wadde okwonoonebwa obutalagge era n’ababbi gye batayinza kubibbira.” (Mat. 6:20) Omuntu bw’ateeka obwesige bwe mu bintu ebiyinza okuggwawo essaawa yonna, aba ajja kwejjusa. N’olwekyo, kiba kya magezi okukulembeza Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwaffe kubanga ekyo kijja kutuyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye, ka tube nga tufunye kizibu ki.—Soma Abebbulaniya 13:5, 6.
ENSONGA LWAKI TUSAANIDDE OKUBA ABAVUMU
14. Lwaki tusaanidde okuba abavumu?
14 Yesu yagamba abayigirizwa be nti wandibaddewo ebizibu bingi mu kiseera ky’okubeerawo kwe, naye yabagamba nti: “Temutyanga.” (Luk. 21:9) Tusaanidde okuba abavumu olw’okuba Kabaka waffe Yesu Kristo awamu ne Yakuwa, Omutonzi w’ebintu byonna, batuyamba. Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Katonda teyatuwa mwoyo gwa butiitiizi, wabula ogw’amaanyi, ogw’okwagala, n’ogw’okubeera n’endowooza ennuŋŋamu.”—2 Tim. 1:7.
15. Biki abaweereza ba Katonda abamu bye baayogera ebiraga nti baali bamwesiga, era tuyinza tutya okubakoppa?
15 Lowooza ku ebyo abamu ku baweereza ba Katonda bye baayogera ebiraga nti baali bamwesiga. Dawudi yagamba nti: “Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange; omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa: omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo.” (Zab. 28:7) Pawulo yagamba nti: “Mu bintu bino byonna tuwangula okuyitira mu oyo eyatwagala.” (Bar. 8:37) Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, alina ebigambo bye yayogera ebyalaga nti yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Yagamba abatume be nti: “Siri nzekka, kubanga Kitange ali nange.” (Yok. 16:32) Ebyo abaweereza ba Katonda abo bye baayogera biraga ki? Biraga nti bonna baali beesiga nnyo Yakuwa. Singa naffe twesiga Yakuwa ng’abaweereza be abo, tujja kufuna obuvumu obwetaagisa okwaŋŋanga ekizibu kyonna.—Soma Zabbuli 46:1-3.
EBINTU EBINAATUYAMBA OKUBA ABAVUMU
16. Lwaki kikulu okusoma Ekigambo kya Katonda?
16 Okusobola okuba abavumu twetaaga okumanya Katonda n’okwongera okumwesiga. Kino tusobola okukikola nga tusoma Ekigambo kye, Bayibuli. Mwannyinaffe omu alina obulwadde obw’okwennyamira agamba nti, “Bwe nsoma ebyawandiikibwa ebibudaabuda kinzizaamu nnyo amaanyi.” Tufuba okuba n’okusinza kw’amaka buli wiiki ng’omuddu omwesigwa bw’atukubiriza okukola? Okusoma Ekigambo kya Katonda kijja kutuyamba okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: ‘Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitirizaako okuzibya obudde.’—Zab. 119:97.
17. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abavumu? (b) Yogera ku ngeri okusoma ebitundu ebikwata ku bulamu bw’ab’oluganda gye kyakuyambamu.
17 Ekintu eky’okubiri ekinaatuyamba okuba abavumu bye bitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli ebituyamba okwongera okwesiga Yakuwa. Ebitundu ebikwata ku bulamu bw’ab’oluganda ebifulumira mu magazini zaffe bizizzaamu ab’oluganda bangi amaanyi. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu abeera mu Asiya alina obulwadde bw’okwennyamira yaddamu nnyo amaanyi bwe yasoma ebikwata ku w’oluganda omu eyali aweereza ng’omuminsani eyalina obulwadde obwo naye ne yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Mwannyinaffe oyo agamba nti ebyo bye yasoma byamuyamba okutegeera obulungi obulwadde bwe era byamuzzaamu nnyo amaanyi.
18. Lwaki tusaanidde okunyiikirira okusaba?
18 Ekintu eky’okusatu ekinaatuyamba kwe kusaba. Okusaba kusobola okutuyamba mu mbeera yonna. Omutume Pawulo yalaga nti okusaba kintu kikulu nnyo bwe yagamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Baf. 4:6, 7) Bwe tuba n’ebizibu, tunyiikira okusaba Yakuwa atuyambe okubigumira? Ow’oluganda Alex abeera mu Bungereza, amaze ekiseera ekiwanvu ng’alina obulwadde obw’okwennyamira, agamba nti: “Okusaba Yakuwa n’okusoma Ekigambo kye binnyambye nnyo.”
19. Lwaki kikulu nnyo okubaawo mu nkuŋŋaana?
19 Ekintu eky’okuna ekinaatuyamba okuba abavumu ze nkuŋŋaana zaffe. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti yali ayagala nnyo okubeera mu yeekaalu ya Yakuwa. (Zab. 84:2) Naffe bwe tutyo bwe tuwulira? Mwannyinaffe Lani, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Nnali nkimanyi nti nteekwa okubeerawo mu nkuŋŋaana zonna Yakuwa bw’aba ow’okunnyamba okugumira ebizibu byange.”
20. Okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira kituyamba kitya?
20 Ekintu eky’okutaano ekinaatuyamba okuba abavumu kwe kuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. (1 Tim. 4:16) Mwannyinaffe abeera mu Australia ayolekaganye n’ebizibu ebingi agamba nti: “Nnali sikyayagala kubuulira, naye lumu omukadde mu kibiina yansaba okugendako naye okubuulira. Nnakkiriza okugenda. Mu butuufu Yakuwa yannyamba kubanga buli lwe nnagendanga okubuulira, nnafunanga essanyu lingi.” (Nge. 16:20) Ab’oluganda bangi bakizudde nti bwe bayamba abalala okuzimba okukkiriza kwabwe, nabo kibayamba okunyweza okukkiriza kwabwe. Ekyo kibayamba okussa ebirowoozo byabwe ku bintu ebisinga obukulu mu kifo ky’okubimalira ku bizibu byabwe.—Baf. 1:10, 11.
21. Bwe tufuna ebizibu kiki kye tutasaanidde kwerabira?
21 Yakuwa alina ebintu bingi by’atuteereddewo okutuyamba okugumira ebizibu ebiriwo leero. Bwe tukozesa mu bujjuvu ebintu ebyo era ne tufuba okukoppa ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda abaayoleka obuvumu, tujja kusobola okusigala nga tuli basanyufu ne bwe tuba n’ebizibu. Wadde nga tuyinza okwongera okufuna ebizibu ebirala bingi ng’enkomerero y’enteekateeka eno egenda esembera, tuyinza okuwulira nga Pawulo, eyagamba nti: “Tusuulibwa wansi naye tetuzikirira [era] tetulekulira.” (2 Kol. 4:9, 16) Yakuwa asobola okutuyamba okuba abavumu ne tusobola okugumira ebizibu ebiriwo leero.—Soma 2 Abakkolinso 4:17, 18.
a Amannya agamu gakyusiddwa.