OLUYIMBA 28
Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa
Printed Edition
	- 1. Ani mukwano gwo - Gw’osembeza gy’oli? - Ani afuuka mukwano gwo? - Ani akumanyi? - Beebo abeesiga - Ggwe n’Ekigambo kyo. - Be bonna abamaliridde - Obutakuvaako. 
- 2. Ani mukwano gwo - Akutuukirira? - Ani akusanyusa ennyo - Gw’omanyi n’erinnya? - Beebo abafuba - Okukugondera. - Be bonna ’boogera ’mazima, - Abeesimbu ddala. 
- 3. Tukubikkulira - Emitima gyaffe. - Tubudaabudibwa; tunyweza - Omukwano gwaffe. - Tuyaayaanira nnyo - ’Kuba mikwano gyo. - Ow’omukwano asinga ggwe - Tayinza kubaayo. 
(Laba ne Zab. 139:1; 1 Peet. 5:6, 7.)