Yakuwa ky’Agamba Kituukirira
“NZE KATONDA so tewali mulala; nze Katonda so tewali anfaanana; alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n’ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby’edda.” (Isaaya 46:9, 10) Bw’atyo bw’ayogera Yakuwa, oyo ayogera ebiribeerawo mu maaso era ne bibaawo.
Kimanyiddwa bulungi nti abantu tebasobola kulagula binaabeerawo mu maaso. Olw’okuba Baibuli erimu obunnabbi, buli ayagala amazima yandigyekenneenyezza okulaba obanga ddala yaluŋŋamizibwa Katonda. Ka twetegereze obunnabbi obumu mu Baibuli obwatuukirira.
Amawanga ag’Edda
Katonda yagamba nti Babulooni kyandizikiriziddwa ddala era nti Edomu, Mowaabu, ne Amoni nago gandizikiriziddwa emirembe n’emirembe. (Yeremiya 48:42; 49:17, 18; 51:24-26; Obadiya 8, 18; Zeffaniya 2:8, 9) Amawanga gano okuba nti tegakyaliwo kiraga nti obunnabbi obuli mu Kigambo kya Katonda butuufu.
Kya lwatu, omuntu yenna asobola okugamba nti eggwanga lyonna, ka libe lya maanyi litya, lijja kutuuka ekiseera liveewo. Kyokka yo Baibuli yayogera bingi okusingako awo. Ng’ekyokulabirako, yawa kalonda akwata ku ngeri Babulooni gye kyandiwambiddwamu. Baibuli yalagula nti ekibuga ekyo kyandiwambiddwa Abameedi, nti amagye gaabwe gandibadde gaduumirwa Kuulo, era nti emigga egyali gikyetoolodde gyandikalidde.—Isaaya 13:17-19; 44:27–45:1.
Si buli ggwanga Baibuli lye yalagula nti lyandiwambiddwa, lyali lyakusaanirawo ddala. Gamba nga Katonda bwe yayogera nti Ababulooni baali ba kuzikiriza Yerusaalemi, yagamba nti ekibuga ekyo kyandizzeemu okuzimbibwa, wadde nga Babulooni yalina enkola ey’obutata bawambe kudda waabwe. (Yeremiya 24:4-7; 29:10; 30:18, 19) Kino kyatuukirizibwa, era na kati eggwanga ly’Abayudaaya weriri.
Ate era, Yakuwa yagamba nti Misiri yandiwambiddwa n’eteddamu kuba nsi kirimaanyi naye nti ‘oluvannyuma yandituuliddwamu nga mu nnaku ez’edda.’ Ekiseera bwe kyandiyiseewo, eggwanga lino lyandifuuse “obwakabaka obwajeezebwa.” (Yeremiya 46:25, 26; Ezeekyeri 29:14, 15) Kino nakyo kyatuukirira. Okugatta ku ekyo, Yakuwa yagamba nti Buyonaani yandiwambiddwa n’eteddamu kuba nsi kirimaanyi, naye teyagamba nti eggwanga eryo lyandiggwereddewo ddala. Kiki kye tuyiga mu kuba nti ensi Yakuwa ze yagamba nti zaali za kuzikirizibwa zaazikirizibwa, ate ng’ezo ze yagamba nti si zakuzikirizibwa zaasigalawo? Ekyo kiraga nti Ekigambo kya Katonda kirimu obunnabbi obutuufu era obwesigika.
Kalonda Eyeewuunyisa
Nga bwe tulabye waggulu, Yakuwa yawa kalonda mungi akwata ku ngeri Babulooni gye kyandiwambiddwamu. Mu ngeri y’emu, ekitabo kya Ezeekyeri bwe kyali kiragula ku kugwa kwa Tuulo, kyagamba nti enfuufu, ebibajje, n’amayinja g’ekibuga ekyo, byanditeekeddwa “wakati mu mazzi.” (Ezeekyeri 26:4, 5, 12) Obunnabbi buno bwatuukirizibwa mu 332 B.C.E., Alexander Omukulu bwe yalagira amagye ge okukozesa ebiyinjayinja eby’ekibuga Tuulo eky’oku lukalu ekyali kyazikirizibwa, okuzimba oluguudo olutuuka ku kibuga Tuulo eky’oku kizinga, nakyo bwe kityo ne kiwambibwa.
Obunnabbi obuli mu Danyeri 8:5-8, 21, 22 ne 11:3, 4 nabwo bwayogera bingi ku “kabaka w’e Buyonaani” ow’amaanyi ennyo. Kabaka ono yandifudde ng’ali ku ntikko y’obufuzi bwe, era abantu bana bandigabanye obwakabaka bwe naye nga si ba mu lulyo lwe. Nga wayise emyaka egisoba mu 200 bukya bunnabbi obwo buwandiikibwa, kyeyoleka nti Alexander Omukulu ye yali kabaka oyo ow’amaanyi ennyo. Ebyafaayo biraga nti yafa mangu era nti abagabe be bana bagabana obwakabaka bwe, nga tekuli n’omu ku bo yali wa mu lulyo lwe.
Abamu bagamba nti obunnabbi buno buteekwa okuba nga bwawandiikibwa bino bimaze okubaawo. Naye ddamu weetegereze ebiri mu nnyiriri z’ekitabo kya Danyeri ezo waggulu. Bw’oba obututte ng’obunnabbi obwa nnamaddala, kalonda abulimu yeewuunyisa. Naye bw’ogamba nti obunnabbi obwo bwawandiikibwa ebintu ebyo bimaze okubaawo, tokiraba nti wabaawo kalonda mungi abulamu? Bwe kiba nti omuntu eyaliwo nga Alexander amaze okufa yawandiika ebintu ebyo asobole okulimba abantu nti obwo bunnabbi, lwaki teyayogera ku baana ba Alexander ababiri abaagezaako okwedizza obufuzi bwe nga yaakafa, naye ne battibwa? Lwaki teyakiraga nti wandiyiseewo emyaka mingi ng’abagabe abana tebanatandika kufuga mu bujjuvu mu bitundu by’amatwale ga Alexander eby’enjawulo? Era lwaki teyayogera mannya ga kabaka oyo ow’amaanyi n’ag’abagabe be abana?
Endowooza nti obunnabbi bwa Baibuli bwawandiikibwa ng’ebintu bye bwogerako bimaze kubaawo erudde nga w’eri wadde ng’abo abagiwagira tebalina we basinziira era, awatali kusooka kwetegereza bukakafu buliwo, balowooza nti tekisoboka kulagula binaabaawo mu maaso. Olw’okuba tebakkiriza nti Baibuli Kigambo kya Katonda, buli kintu bakinnyonnyola okusinzira ku magezi gaabwe ag’obuntu. Wadde kiri kityo, kalonda Katonda gwe yateeka mu bunnabbi amala bumazi okulaga nti ye yaluŋŋamya Baibuli.a
Bw’ofumiitiriza ku bunnabbi obuli mu Baibuli n’engeri gye bwatuukirizibwamu, kisobola okunyweza okukkiriza kwo. Lwaki teweekenneenya bunnabbi bwa mu Baibuli? Ebipande ebiri ku lupapula 343 okutuuka ku 346 mu kitabo “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial” biyinza okukuyamba mu kino.b Bw’oba osazeewo okukola bw’otyo, ba n’ekigendererwa eky’okunyweza okukkiriza kwo. Tosoma muwawa, wabula fumiitiriza ku ky’okuba nti buli Yakuwa ky’agamba kituukirira.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebisingawo ebiraga obukyamu bw’endowooza nti obunnabbi bw’omu Baibuli bwawandiikibwa ebintu bimaze kubaawo busange ku lupapula 106-11 mu katabo Is There a Creator Who Cares About You? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
EMISINGI GY’EMPISA
Waliwo ensonga ey’okulowoozaako. Katonda eyalaga engeri obwakabaka kirimaanyi gye bwandizeewo era ne buzikirizibwa, ye Nsibuko y’emisingi gy’empisa egiri mu Baibuli. Egimu ku gyo gye gino:
Ky’osiga ky’okungula.—Abaggalatiya 6:7.
Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.—Ebikolwa 20:35.
Essanyu liva mu kufaayo ku byetaago byaffe eby’eby’omwoyo.—Matayo 5:3.
Singa ossa emisingi gino mu nkola mu bulamu bwo, beera mukakafu nti ojja kuganyulwa.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22, 23]
Ekigambo kya Katonda kyalagula ku kuzikirizibwa kwa . . .
EDOMU
BABULOONI
. . . so si okwa
BUYONAANI
MISIRI
[Ensibuko y’ebifaananyi]
Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.
WHO photo by Edouard Boubat
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Alexander Omukulu