OLUYIMBA 41
Wulira Okusaba Kwange
Printed Edition
1. Wuliriza essaala yange
Kubanga ggwe Katonda wange.
Erinnya lyo lisukkulumye.
(CHORUS)
Ai Yakuwa, mpuliriza.
2. Nkwebaza nnyo okumbeesaawo,
N’okunnuŋŋamyanga bulijjo.
Nsiima nnyo nze ’kisa ky’ondaga.
(CHORUS)
Ai Yakuwa, mpuliriza.
3. Njagala nnyo ’kkol’e bigwana
Ntambulire mu kitangaala.
Mpa amaanyi nnyinze ’binnema.
(CHORUS)
Ai Yakuwa, mpuliriza.
(Laba ne Kuv. 22:27; Zab. 106:4; Yak. 5:11.)