B15
Kalenda y’Abayudaaya
| NISAANI (ABIBU) Maaki—Apuli | 14 Embaga ey’Okuyitako 15-21 Emigaati egitali Mizimbulukuse 16 Ebibala ebibereberye | Omugga Yoludaani gwanjaala olw’enkuba n’omuzira ogusaanuuka | Ssayiri | 
| YIYALI (ZIIVU) Apuli—Maayi | 14 Okuyitako okw’oluvannyuma | Ekiseera eky’omusana kitandika, eggulu teritera kubaako bire | Eŋŋaano | 
| SIVAANI Maayi—Jjuuni | 6 Embaga ey’Amakungula (Pentekooti) | Kiseera kya bbugumu, eggulu teribaako bire | Eŋŋaano, ebibala by’ettiini ebisooka | 
| TAMMUZI Jjuuni—Jjulaayi | Ebbugumu lyeyongera, omusulo gugwa mungi | Ebibala by’ezzabbibu ebisooka | |
| ABU Jjulaayi—Agusito | Ebbugumu lingi nnyo | Ebibala eby’ekyeya | |
| ERULI Agusito—Ssebutemba | Ebbugumu likyali lingi | Entende, ezzabbibu, n’ettiini | |
| TISIRI (ESANIMU) Ssebutemba—Okitobba | 1 Okufuuwa amakondeere 10 Olw’Okutangirirako 15-21 Embaga ey’Ensiisira 22 Olukuŋŋaana olw’enjawulo | Ekiseera eky’omusana kiggwaako, enkuba etandika | Okukabala | 
| KESUVANI (BUULI) Okitobba—Noovemba | Enkuba ntonotono | Ezzeyituuni | |
| KISULEVU Noovemba—Ddesemba | 25 Embaga ey’Okuwaayo | Enkuba yeeyongera, omuzira gugwa, era gukwata ku nsozi | Ebisibo bikuumirwa mu biyumba | 
| TEBESI Ddesemba—Jjanwali | Obutiti, enkuba, ensozi zigwaako omuzira | Omuddo gumera | |
| SEBATI Jjanwali—Febwali | Obunnyogovu bukendeera, enkuba yeeyongera | Emiroozi gimulisa | |
| ADALI Febwali—Maaki | 14, 15 Pulimu | Eggulu libwatuka, enkuba erimu omuzira | Ebigoogwa | 
| VIYADALI Maaki | Guno gwongerwako emirundi musanvu mu myaka 19 |