LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 6 lup. 3
  • Engeri gy’Oyinza Okwewalamu—Endwadde

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri gy’Oyinza Okwewalamu—Endwadde
  • Zuukuka!—2016
  • Similar Material
  • Weekuume Endwadde
    Zuukuka!—2016
Zuukuka!—2016
g16 Na. 6 lup. 3

Omutwe Oguli Kungulu

Engeri gy’Oyinza Okwewalamu Endwadde

Buli lunaku omubiri gwo gulwanagana n’abalabe oluusi nga tokitegedde. Abalabe abo bwe buwuka obusirikitu obuleeta endwadde.a Oluusi oyinza obutamanya nti olumbiddwa abalabe abo kubanga emirundi mingi omubiri gwo gulwanyisa obuwuka obwo obw’obulabe ne gubusaanyaawo nga tokitegedde na ku kitegeera. Kyokka oluusi omubiri gulemererwa okulwanyisa obuwuka obwo n’olwala. Awo kiba kikwetaagisa okuyamba ku mubiri gwo okulwanyisa obuwuka obwo ng’omira eddagala oba ng’ofuna obujjanjabi obulala.

Ebireetera abantu endwadde bizingiramu, okutambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala, obuwuka obusirikitu obw’obulabe, obwavu, obutafaayo ku buyonjo nga bategeka emmere

Okumala emyaka mingi abantu baali tebamanyi nti waliwo obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde. Naye mu kyasa ekya 19 bannassaayansi baakikakasa nti ddala waliwo obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde era ne bongera okumanya engeri y’okubwekuumamu. Abasawo basobodde okukendeeza ku ndwadde, gamba nga kawaali ne pooliyo. Kyokka leero waliwo endwadde ezizzeemu okweyongera. Muno mwe muli enkaka, n’ebika by’omusujja ebirala. Lwaki? Lowooza ku nsonga zino wammanga:

  • Buli mwaka, abantu bukadde na bukadde bava mu bitundu by’ensi ebimu ne bagenda mu birala, era emirundi mingi batambuza obuwuka obuleeta endwadde. Magazini eyitibwa Clinical Infectious Diseases yagamba nti: “Kumpi buli ndwadde esobola okusaasaanyizibwa abantu abava mu nsi emu okugenda mu ndala.’

  • Obuwuka obumu eddagala terikyabutta. Ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna kyagamba nti: “Gye bujja, obuwuka bungi obuleeta endwadde eddagala lijja kuba terikyasobola kubutta.”

  • Entalo n’obwavu emirundi mingi biremesezza kaweefube gavumenti gwe zikola okuziyiza endwadde okusaasaana.

  • Abantu bangi tebamanyi kye basaanidde kukola okusobola okuziyiza endwadde.

Wadde kiri kityo, waliwo bingi by’osobola okukola okwewala endwadde. Ekitundu ekiddako kigenda kulaga ebimu ku ebyo by’osobola okukola okwewala endwadde.

a Obuwuka obusirikitu obusinga obungi tebuleeta ndwadde. Naye ekitundu kino kigenda kussa essira ku buwuka obuleeta endwadde.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share