LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 6 lup. 4-5
  • Bangi Beebuuza Ekibuuzo Ekyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bangi Beebuuza Ekibuuzo Ekyo
  • Zuukuka!—2017
  • Similar Material
  • Abantu Basobola Okuleeta Emirembe n’Obutebenkevu eby’Enkalakkalira?
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
  • Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Zuukuka!—2017
g17 Na. 6 lup. 4-5

OMUTWE OGULI KUNGULU | ENSI EGENDA KUSAANAWO?

Bangi Beebuuza Ekibuuzo Ekyo

BW’OBA nga weeraliikirira olw’amawulire amabi g’owulira mu nsi toli wekka. Mu 2014, Barack Obama, mu kiseera ekyo eyali pulezidenti w’Amerika, yagamba nti amawulire amabi agafulumira ku mikutu gy’amawulire, galeetedde bangi ‘okugamba nti ensi etutabuseeko era nti tewakyali muntu yenna asobola kugitereeza.’

Kyokka oluvannyuma lw’okwogera ebigambo ebyo, yagamba nti waliwo enteekateeka ezeesigika abantu ze bakoze ezijja okutereeza ensi. Ezimu ku nteekateeka ezikoleddwa gavumenti ezitali zimu yaziyita “amawulire amalungi,” era yagamba nti yalina ‘essuubi lya maanyi mu nteekateeka ezo.’ Obama yalaga nti abantu be bagenda okutereeza ensi ereme kusaanawo.

Bangi balina endowooza ng’eyiye. Ng’ekyokulabirako, abamu essuubi lyabwe balitadde mu ssaayansi nga balowooza nti enkulaakulana mu bya tekinologiya y’ejja okuviirako ensi okutereera. Omukugu omu mu bya kompyuta yagamba nti omwaka gwa 2030 we gunaatuukira, “tekinologiya waffe ajja kuba ali ku mutindo gwa waggulu nnyo, ng’akubisaamu ono aliwo emirundi lukumi, ate omwaka 2045 we gunaatuukira, ajja kuba akubisaamu aliwo emirundi akakadde kamu.” Yagattako nti: “Ebintu bitambula bulungi. Wadde ng’ebizibu bye twolekagana nabyo byeyongedde nnyo, obusobozi bwaffe obw’okubigonjoola bweyongedde nnyo n’okusingawo.”

Naye embeera y’ensi mbi kwenkana wa? Ddala wanaatera okubaawo akatyabaga akagenda okusaanyaawo ensi? Wadde nga bannassaayansi abamu ne bannabyabufuzi bagamba nti embeera ejja kutereera, abantu bangi bakyali beeraliikirivu ku bikwata ku biseera eby’omu maaso. Lwaki?

Bbomu y’amaanyi ga nukiriya ng’ebaluse

EBY’OKULWANYISA NNAMUZISA. Wadde ng’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte n’ebibiina ebirala bifubye okulaba ng’amawanga galekera awo okukola eby’okulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya, okufuba okwo kugudde butaka. Abakulembeze b’amawanga agatali gamu tebagondera mateeka gakwata ku bya kulwanyisa ebyo. Amawanga agazze gakola bbomu ez’amaanyi ga nukiriya gongedde bwongezi kuddaabiriza ezo ze gaakola edda era gakozeeyo ne bbomu endala ez’omutawaana ennyo n’okusingawo. Amawanga edda agataalina byakulwanyisa nnamuzisa kati galina eby’okulwanyisa ebisobola okusaanyaawo abantu bangi omulundi gumu.

Okuba nti amawanga galina eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nukiriya bingi, kireetedde ensi okuba mu bulabe ne mu biseera ebirabika ng’eby’emirembe. Magazini eyitibwa Bulletin of the Atomic Scientists yagamba nti: “Eby’okulwanyisa nnamuzisa ebisobola okwebalusa byokka nga tebiriiko muntu ebinasudde, bireeseewo obunkenke obw’amaanyi.”

Omusajja ng’ali ku kitanda mu ddwaliro

ENDWADDE. Ssaayansi tasobola kumalirawo ddala ndwadde. Entunnunsi, omugejjo, okwonoonebwa kw’empewo, n’okukozesa ebiragalalagala, nga bino byonna bireeta endwadde, byeyongera buli lukya. Buli lukya omuwendo gw’abantu abafa kookolo, endwadde z’omutima, ne sukaali, gweyongera. Ate era abantu bangi balwadde endwadde z’obwongo. Okugatta ku ekyo, mu myaka egiyise wabaluseewo endwadde ez’akabi ennyo, gamba nga ebola ne zika. Kyeyolese kaati nti abantu tebasobola kumalawo ndwadde!

Okwonoonebwa kw’empewo n’amazzi

OKWONOONA OBUTONDE. Buli lukya amakolero gongera okwonoona empewo. Buli mwaka abantu bukadde na bukadde bafa olw’okussa empewo eyonooneddwa.

Abantu n’ebitongole bya gavumenti ebitali bimu biyiwa kazambi, eddagala, obuveera, ebicupa, n’ebintu ebirala mu nnyanja. Encyclopedia of Marine Science egamba nti: “Ebintu ebyo bireetedde ebyennyanja n’ebimera ebiri mu nnyanja okubaamu obutwa, era abantu abalya ebyennyanja n’ebimera ebyo bakosebwa obutwa obwo.”

Ate era waliwo ebbula ly’amazzi amayonjo. Munnassaayansi ayitibwa Robin McKie agamba nti: “Ebbula ly’amazzi kizibu kya maanyi era ekiseera kijja kutuuka kibe nga kikosa ebitundu byonna eby’ensi.” Bannabyabufuzi bagamba nti abantu be baviiriddeko ekizibu ky’ebbula ly’amazzi amayonjo era ekizibu ekyo kitadde abantu mu buzibu obw’amaanyi.

Omuyaga

OBUTYABAGA. Nnamutikkwa w’enkuba, emiyaga, ne musisi, bireetawo amataba, biviirako ensozi okubumbulukuka, n’ebizibu ebirala. Omuwendo gw’abantu abafa oba abakosebwa ebintu ebyo gweyongera buli lukya. Okunoonyereza okwakolebwa bannassaayansi mu Amerika kwalaga nti “emiyaga, ebbugumu, n’amataba bijja kweyongera okuba eby’obulabe.” Amaanyi g’obutonde ganaasaanyaawo abantu?

Waliwo n’ebintu ebirala eby’obulabe eri abantu by’oyinza okulowoozaako. Naye okwekenneenya obwekenneenya ebintu ebibi ebiriwo mu nsi tekisobola kukuyamba kumanya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Era abamu bakirabye nti bannabyabufuzi ne bannassaayansi nabo tebasobola kutuyamba kumanya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Naye nga bwe kyogeddwako waggulu, abantu bangi basobodde okumanya ensonga lwaki embeera y’ensi yeeyongedde okwonooneka na ki ekinaatuuka ku nsi n’abantu mu biseera eby’omu maaso. Kiki ekibayambye okumanya ekituufu ku nsonga eyo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share