LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 6 lup. 10-11
  • Ka Tugendeko e New Zealand

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ka Tugendeko e New Zealand
  • Zuukuka!—2017
Zuukuka!—2017
g17 Na. 6 lup. 10-11
Milford Sound, New Zealand

Milford Sound

ENSI N’ABANTU

Ka Tugendeko e NEW ZEALAND

New Zealand ku mmaapu y’ensi

KIRABIKA emyaka nga 800 emabega abantu abayitibwa Abamawoli baasaabala olugendo oluwanvu ennyo ku guyanja ne bagenda okubeera mu New Zealand. Bwe baatuuka eyo baalaba ng’ekitundu ekyo kyawukana nnyo ku bizinga by’e Polynesia gye baali bavudde. Ekifo ekipya kye baali bazzeemu kyali kya nsozi, kyalimu agayinja ga bbalaafu, ensulo ez’amazzi agookya, n’omuzira. Nga wayise emyaka nga 500 bukya Abamawoli batuuka, abantu abalala baatuuka mu New Zealand nga bava mu Bulaaya. Leero abantu abasinga obungi mu New Zealand balina obuwangwa bw’abantu ab’omu Bulaaya n’ab’omu Polynesia. Abantu nga 90 ku buli 100 mu nsi eyo babeera mu bibuga. New Zealand ye nsi erina ekibuga ekikulu ekisingayo okuba mu bukiikaddyo, era ekibuga ekyo kiyitibwa Wellington.

Ettosi eritokota ku Kizinga eky’Omu Bukiikakkono ekya New Zealand

Ettosi eritokota ku Kizinga eky’Omu Bukiikakkono

Wadde nga New Zealand nsi eyeesudde, buli mwaka abalambuzi ng’obukadde busatu be bagendayo okulambula ebifo ebirabika obulungi ennyo ebiriyo.

Ekimera ekiyitibwa silver tree ferns

Ekimera ekiyitibwa silver tree fern kisobola okuweza fuuti nga 30 obuwanvu

Ekinyonyi ekitabuuka ekiyitibwa takahe

Kyali kirowoozebwa nti ekika ky’ekinyonyi ekitabuuka ekiyitibwa takahe kyasaanawo naye mu 1948 kyazuulibwa nti kikyaliyo

New Zealand erimu ebika by’ensolo ez’omu nsiko ebitasangikasangika, era y’esinga okubaamu ebika by’ebinyonyi ebitabuuka. Ate era mu nsi eyo eriyo ekika ky’amakonkome agayitibwa tuatara, agawangaala emyaka nga 100! Ensolo eziyonsa eziriyo, mwe muli obuwundo obw’ebika ebitali bimu, lukwata, ne dolphin.

Abajulirwa ba Yakuwa bamaze emyaka nga 120 mu New Zealand. Bayigiriza abantu Bayibuli mu nnimi nga 19, nga muno mwe muli ennimi z’omu Polynesia, gamba ng’Olunuwe, Olularotonga, Olusamowa, n’Olutonga.

Abamawoli nga bayimba

Abamawoli nga bayimbira mu ngoye ez’ekinnansi

OBADDE OKIMANYI?

Erinnya New Zealand lyaggibwa mu kigambo Zeeland, nga kino kifo ekiri mu Netherlands. Erinnya Aotearoa ery’Olumawoli litegeeza “Ensi y’Ekire Ekyeru Ekiwanvu.”

Wadde ng’abantu abasinga obungi mu New Zealand boogera Lungereza, Olumawoli luzzeemu okukozesebwa ennyo mu nsi eyo era luyigirizibwa ne mu masomero. Omukutu gwa Abajulirwa ba Yakuwa omutongole oguyitibwa jw.org, guli ne mu Lumawoli.

  • ABANTU: OBUKADDE 4.7

  • EKIBUGA EKIKULU: WELLINGTON

  • ENKULA Y’ENSI: EKIZINGA EKY’OMU BUKIIKAKKONO KIRIMU ENSOZI EZIWANDULA OMULIRO. EKIZINGA EKY’OMU BUKIIKADDYO KIRIMU AGAYINJA GA BBALAAFU

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share