-
Ekitundu 1: Abakristaayo Bye BakkirizaTutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
-
-
EBIBUUZO EBIBUUZIBWA ABO ABAAGALA OKUBATIZIBWA
Ekitundu 1: Abakristaayo Bye Bakkiriza
Okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa kikuyambye okumanya amazima. Ebyo by’oyize bikuyambye okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era bikuyambye okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Okukkiriza kw’olina mu Kigambo kya Katonda kweyongedde, era ofunye emikisa mingi olw’okukolagana n’abo abali mu kibiina Ekikristaayo. Ate era, otegedde engeri Yakuwa gy’akolaganamu n’abantu be leero.—Zek. 8:23.
Nga weetekerateekera okubatizibwa, abakadde bajja kukubuuza ebibuuzo bino wammanga ebikwata ku bintu ebisookerwako Abakristaayo bye bakkiriza, era ojja kuganyulwa nnyo. (Beb. 6:1-3) Yakuwa ka yeeyongere okukuyamba okumumanya, era k’akuwe empeera gye yasuubiza.—Yok. 17:3
1. Lwaki oyagala okubatizibwa?
2. Yakuwa y’ani?
• “Yakuwa ye Katonda ow’amazima waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi. Teri mulala.”—Ma. 4:39.
• “Erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”—Zab. 83:18.
3. Lwaki osaanidde okukozesa erinnya lya Katonda?
• “Musabenga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.’”—Mat. 6:9.
• “Buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.”—Bar. 10:13.
4. Ebimu ku bigambo ebikozesebwa mu Bayibuli okunnyonnyola Yakuwa ky’ali bye biruwa?
• “Yakuwa Omutonzi w’ensi yonna ye Katonda ow’emirembe n’emirembe.”—Is. 40:28.
• “Kitaffe ali mu ggulu.”—Mat. 6:9.
• “Katonda kwagala.”—1 Yok. 4:8.
5. Kiki ky’Osobola okuwa Yakuwa Katonda?
• “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.”—Mak. 12:30.
• “Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.”—Luk. 4:8.
6. Lwaki oyagala okuba omwesigwa eri Yakuwa?
• “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange, ndyoke mbeere n’eky’okuddamu eri oyo ansoomooza.”—Nge. 27:11.
7. Ani gw’osaba era osaba mu linnya ly’ani?
• “Mazima ddala [nze Yesu] mbagamba nti bwe musaba Kitange ekintu kyonna, ajja kukibawa mu linnya lyange.”—Yok. 16:23.
8. Ebimu ku bintu by’osobola okusaba Katonda bye biruwa?
• “Kale musabenga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Tuwe emmere yaffe eya leero; tusonyiwe amabanja gaffe nga naffe bwe tusonyiwa be tubanja. Totutwala mu kukemebwa, naye tulokole okuva eri omubi.’”—Mat. 6:9-13.
• “Buno bwe bwesige bwe tulina mu ye, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”—1 Yok. 5:14.
9. Kiki ekiyinza okuviirako Yakuwa obutawuliriza ssaala za muntu?
• “Mulikoowoola Yakuwa abayambe, naye talibaddamu . . . olw’ebintu ebibi bye mukola.”—Mi. 3:4.
• “Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe, naye Yakuwa yeesambira ddala abo abakola ebintu ebibi.”—1 Peet. 3:12.
10. Yesu Kristo y’Ani?
• “Simooni Peetero n’addamu nti: ‘Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.’”—Mat. 16:16.
11. Lwaki Yesu yajja ku nsi?
• “Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”—Mat. 20:28.
• “[Nze Yesu] nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga ekyo kye kyantumya.”—Luk. 4:43.
12. Oyinza otya okulaga nti osiima ssaddaaka Yesu gye yawaayo?
• “Yafiirira bonna, abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiirira era n’azuukira.”—2 Kol. 5:15.
13. Yesu alina buyinza ki?
• “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.”—Mat. 28:18.
• “Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna.”—Baf. 2:9.
14. Okkiriza nti Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa ye ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’ Yesu gwe yalonda?
• “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye okubawanga emmere yaabwe mu kiseera ekituufu?”—Mat. 24:45.
15. Omwoyo omutukuvu kye ki?
• “Malayika n’amugamba nti: ‘Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era amaanyi g’Oyo Asingayo Okuba Waggulu galikujjako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.’”—Luk. 1:35.
• “Kale obanga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!”—Luk. 11:13.
16. Yakuwa akozesezza atya omwoyo gwe omutukuvu?
• “Olw’ekigambo kya Yakuwa eggulu lyakolebwa, n’olw’omukka gw’omu kamwa ke byonna ebiririmu byakolebwa.”—Zab. 33:6.
• “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange . . . okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”—Bik. 1:8.
• “Tewali bunnabbi bwonna mu Byawandiikibwa busibuka mu kulowooza kw’abantu. Kubanga tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu, naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.”—2 Peet. 1:20, 21.
17. Obwakabaka bwa Katonda kye ki?
• “Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. Obwakabaka buno tebuliweebwa ggwanga ddala lyonna. Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.”—Dan. 2:44.
18. Obwakabaka bwa Katonda bunaakuganyula butya?
• “Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”—Kub. 21:4.
19. Kiki ekikukakasa nti emikisa gy’Obwakabaka ginaatera okujja?
• “Abayigirizwa be ne bajja w’ali nga bali bokka ne bamugamba nti: ‘Tubuulire, ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo, n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu?’ Yesu n’abagamba nti: ‘. . . Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu. N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.’”—Mat. 24:3, 4, 7, 14.
• “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bintu birungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga baagala eby’amasanyu mu kifo ky’okwagala Katonda, era nga bawa ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko.”—2 Tim. 3:1-5.
20. Okiraga otya nti Obwakabaka obutwala nga bukulu?
• “Musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe.”—Mat. 6:33.
• “Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: ‘Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka, asitule omuti gwe ogw’okubonaabona angobererenga.’”—Mat. 16:24.
21. Sitaani ne badayimooni be baani?
• “Omulyolyomi ye kitammwe . . . Oyo okuva ku lubereberye mussi.”—Yok. 8:44.
• “Ogusota ogunene, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani, alimbalimba ensi yonna, ne gusuulibwa ku nsi ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.”—Kub. 12:9.
22. Biki Sitaani bye yawaayiriza Yakuwa n’abaweereza ba Yakuwa?
• “Omukazi n’agamba omusota nti: ‘Tusobola okulya ku bibala eby’emiti egy’omu lusuku. Naye ku bibala eby’omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yagamba nti, “Temugulyangako wadde okugukwatako. Bwe munaakikola mujja kufa.”’ Omusota ne gugamba omukazi nti: ‘Okufa temujja kufa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe galizibuka ne muba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.’”—Lub. 3:2-5.
• “Sitaani n’addamu Yakuwa nti: ‘Olususu ku lw’olususu. Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe.’”—Yob. 2:4.
23. Oyinza otya okukiraga nti Sitaani bye yayogera bya bulimba?
• ‘Weereza Katonda n’omutima gwo gwonna.’—1 Byom. 28:9.
• “Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!”—Yob. 27:5.
24. Lwaki abantu bafa?
• “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”—Bar. 5:12.
25. Abafu bali mu mbeera ki?
• “Abalamu bamanyi nti balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi.”—Mub. 9:5.
26. Kiki ekinaatuuka ku baafa?
• “Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Bik. 24:15.
27. Bantu bameka abagenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu?
• “Laba! Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku Lusozi Sayuuni, ng’ali wamu ne 144,000, abawandiikiddwako erinnya lye n’erya Kitaawe ku byenyi byabwe.”—Kub. 14:1.
-
-
Ekitundu 2: Obulamu bw’OmukristaayoTutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
-
-
EBIBUUZO EBIBUUZIBWA ABO ABAAGALA OKUBATIZIBWA
Ekitundu 2: Obulamu bw’Omukristaayo
Okuyiga Bayibuli kikuyambye okutegeera Yakuwa by’akwetaagisa era ne by’olina okukola okusobola okutuukana n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Ekyo kiyinza okuba nga kikuleetedde okukola enkyukakyuka eziwerako mu nneeyisa yo n’engeri gy’otwalamu obulamu. Kati olw’okuba osazeewo okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, osobola okumuweereza mu ngeri emusanyusa.
Okuyita mu bibuuzo ebiri mu kitundu kino kijja kukuyamba okutegeera obulungi emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu era kijja kukujjukiza ebimu ku bintu by’olina okukola okusobola okusanyusa Katonda. Ate era kijja kukuyamba okulaba obukulu bw’okukolanga ebintu byonna olw’okuweesa Yakuwa ekitiibwa era ng’olina omuntu ow’omunda omulungi.—2 Kol. 1:12; 1 Tim. 1:19; 1 Peet. 3:16, 21.
Kati w’otuuse mu kusoma kwo, oteekwa okuba ng’oyagala nnyo okugondera obufuzi wa Yakuwa n’okwegatta ku kibiina kye. Ebibuuzo n’ebyawandiikibwa ebiweereddwa bijja kukuyamba okulaba obanga otegeera ebizingirwa mu kugondera enteekateeka ya Yakuwa mu kibiina, mu maka, ne bwe kituuka ku b’obuyinza. Tewali kubuusabuusa nti ojja kweyongera okusiima enteekateeka Yakuwa z’ataddewo okuyigiriza abantu be n’okubanyweza mu by’omwoyo. Mu nteekateeka ezo muzingiramu enkuŋŋaana z’ekibiina z’osaanidde okubeerangamu n’okuzeenyigiramu ng’embeera bwe zikusobozesa.
Ate era ekitundu kino kigenda kukuyamba okulaba obukulu bw’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka, okusobola okuyamba abantu okumanya Yakuwa n’ebyo by’akolera abantu. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Era kigenda kukuyamba okulaba obukulu bw’okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa. Ba mukakafu nti Yakuwa asiima ebyo byonna by’okola okulaga nti osiima ekisa eky’ensusso ky’akulaze.
1. Mutindo ki ogukwata ku bufumbo Abakristaayo gwe balina okugoberera? Okusinziira ku Byawandiikibwa, kiki kyokka ekisobola okuviirako abafumbo okugattululwa?
• “Temusomangako nti oyo eyabatonda ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi era n’agamba nti: ‘Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we, era ababiri abo banaabanga omubiri gumu’? Nga tebakyali babiri, wabula nga bali omubiri gumu. N’olwekyo, Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu. . . . Buli agoba mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.”—Mat. 19:4-6, 9.
2. Lwaki omusajja n’omukazi ababeera awamu balina okuba ng’obufumbo bwabwe bukkirizibwa mu mateeka? Bw’oba oli mufumbo, oli mukakafu nti obufumbo bwo buli mu mateeka era nti gavumenti ebukkiriza?
• “Weeyongere okubajjukiza okugondera n’okuwulira abafuzi n’ab’obuyinza.”—Tit. 3:1.
• “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna, era ekitanda ky’abafumbo kibeerenga kirongoofu, kubanga abagwenyufu n’abenzi Katonda ajja kubasalira omusango.”—Beb. 13:4.
3. Obuvunaanyizibwa bwo mu maka bwe buluwa?
• “Mwana wange, wuliriza kitaawo by’akuyigiriza,Era tovanga ku ebyo nnyoko by’akuyigiriza.”—Nge. 1:8.
• “Omwami gwe mutwe gwa mukyala we era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekibiina . . . Abaami mweyongere okwagala bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina.”—Bef. 5:23, 25.
• “Bataata temunyiizanga baana bammwe, naye mubakulize mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.”—Bef. 6:4.
• “Mmwe abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu buli kimu, kubanga kino kisanyusa Mukama waffe.”—Bak. 3:20.
• “Abakazi mugonderenga babbammwe.”—1 Peet. 3:1.
4. Lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu bulamu?
• “[Katonda] y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna. . . . Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli.”—Bik. 17:25, 28.
5. Lwaki tetulina kutta muntu yenna, k’abe omwana atannazaalibwa?
• ‘Abantu bwe balwananga ne balumya omukazi ow’olubuto ne wabaawo afudde, owangayo obulamu olw’obulamu.’—Kuv. 21:22, 23.
• “Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange;ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo,byonna ebikwata ku nnaku lwe byatondebwa, wadde nga tewaali na kimu ku byo ekyaliwo.”—Zab. 139:16.
• ‘Yakuwa akyawa emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango.’—Nge. 6:16, 17.
6. Ekiragiro kya Katonda ekikwata ku musaayi kye kiruwa?
• ‘Mwewalenga omusaayi n’ebitugiddwa.’—Bik. 15:29.
7. Lwaki tulina okwagala bakkiriza bannaffe?
• “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange—bwe munaayagalananga.”—Yok. 13:34, 35.
8. Okusobola okwewala okusiiga abalala obulwadde obuyinza okubatta: (a) Lwaki omuntu alina obulwadde ng’obwo yandyewaze okukola ebintu gamba ng’okugwa abalala mu kifuba oba okubanywegera? (b) Lwaki teyandikitutte bubi singa abalala basalawo obutamukyaza mu maka gaabwe? (c) Lwaki omuntu eyeenyigirako mu bintu omuntu mw’ayinza okufunira obulwadde obukwata yandyekebezza omusaayi nga tannatandika kwogereza? (d) Lwaki omuntu alina obulwadde obukwata yanditegeezezzaako akwanaganya akakiiko k’abakadde nga tannabatizibwa?
• “Temubanga na bbanja eri omuntu yenna, wabula mwagalanenga. . . . ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.’ Omuntu alina okwagala takola munne kibi.”—Bar. 13:8-10.
• ‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’—Baf. 2:4.
9. Lwaki Yakuwa atusuubira okusonyiwa abalala?
• “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.”—Bak. 3:13.
10. Kiki ky’osaanidde okukola singa ow’oluganda akuwaayiriza oba akukumpanya?
• “Muganda wo bw’ayonoona, genda omulage ensobi ye nga muli mmwekka ggwe naye. Bw’akuwuliriza, ojja kuba okomezzaawo muganda wo mu kkubo ettuufu. Naye bw’atakuwuliriza, twalayo omuntu omulala omu oba babiri, buli nsonga eryoke ekakasibwe nga waliwo obujulizi bwa bantu babiri oba basatu. Bw’atabawuliriza, yogera n’ekibiina. Ekibiina nakyo bw’atakiwuliriza, mutwale nga munnaggwanga oba omusolooza w’omusolo.”—Mat. 18:15-17.
11. Yakuwa atunuulira atya ebibi bino?
▪ Ebikolwa eby’obugwenyufu
▪ Okukozesa ebifaananyi mu kusinza
▪ Okulya ebisiyaga
▪ Okubba
▪ Okukuba zzaala
▪ Obutamiivu
• “Temubuzaabuzibwanga. Abagwenyufu, abasinza ebifaananyi, abenzi, abasajja abeewaayo okuliibwa ebisiyaga, abalya ebisiyaga, ababbi, ab’omululu, abatamiivu, abavumi, n’abanyazi, tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.”—1 Kol. 6:9, 10.
12. Bwe kituuka ku bikolwa eby’obugwenyufu, nga muno mwe muli ebikolwa eby’okwegatta ebitali bimu wabweru w’obufumbo, kiki ky’omaliridde okukola?
• “Muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu!”—1 Kol. 6:18.
13. Lwaki tusaanidde okwewala okukozesa ebiragalalagala?
• “[Muweeyo] emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esiimibwa Katonda, musobole okutuukiriza obuweereza obutukuvu nga mukozesa obusobozi bwammwe obw’okulowooza. Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya, mulyoke mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.”—Bar. 12:1, 2.
14. Ebimu ku bikolwa eby’obusamize Katonda by’akyawa bye biruwa?
• “Tewalabikanga mu ggwe omuntu yenna . . . akola eby’obulaguzi, oba akola eby’obufumu, oba anoonya obubonero okulagulwa, oba omusamize, oba omulogo, oba eyeebuuza ku mulubaale, oba alagula ebiribaawo mu maaso, oba eyeebuuza ku bafu.”—Ma. 18:10, 11.
15. Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi era ng’ayagala okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa, kiki ky’alina okukola mu bwangu?
• “Nnakwatulira ekibi kyange, saabikka ku nsobi yange.Nnagamba nti: ‘Nja kwatulira Yakuwa ebyonoono byange.’”—Zab. 32:5.
• “Waliwo omuntu yenna mu mmwe alwadde? Ayite abakadde b’ekibiina, bamusabire era bamusiige amafuta mu linnya lya Yakuwa. Era okusaba okw’okukkiriza kujja kuwonya omulwadde oyo, era Yakuwa ajja kumussuusa. Ate era bw’aba ng’alina ebibi bye yakola bijja kumusonyiyibwa.”—Yak. 5:14, 15.
16. Bw’okimanyaako nti mukkiriza munno akoze ekibi eky’amaanyi, kiki ky’osaanidde okukola?
• “Omuntu bw’ayonoonanga olw’okuba teyayogera ng’awulidde ekirango ekiyita ab’okuwa obujulizi, so nga yali mujulizi oba nga yalaba ekyaliwo oba nga yakitegeerako, omuntu oyo anaavunaanibwanga olw’ensobi ye.”—Leev. 5:1.
17. Ekirango bwe kiyisibwa nti omuntu takyali Mujulirwa wa Yakuwa, tusaanidde kumuyisa tutya?
• “Mbawandiikira obutakolagananga na muntu yenna ayitibwa ow’oluganda kyokka nga mugwenyufu, oba nga wa mululu, oba ng’asinza ebifaananyi, oba nga muvumi, oba nga mutamiivu, oba nga munyazi, n’okulya temulyanga na muntu ng’oyo.”—1 Kol. 5:11.
• “Singa omuntu yenna ajja gye muli n’ataleeta kuyigiriza kuno, temumusembezanga mu maka gammwe era temumulamusanga.”—2 Yok. 10.
18. Lwaki abo b’ofuula mikwano gyo egy’oku lusegere balina kuba abo abaagala Yakuwa?
• “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi, naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.”—Nge. 13:20.
• “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”—1 Kol. 15:33.
19. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu bya bufuzi?
• “Si ba nsi, nga nange [Yesu] bwe siri wa nsi.”—Yok. 17:16.
20. Lwaki tusaanidde okugondera gavumenti?
• “Buli muntu agonderenga ab’obuyinza, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda; ab’obuyinza abaliwo, bali mu bifo byabwe eby’enjawulo ku bwa Katonda.”—Bar. 13:1.
21. Bwe kiba nti etteeka abantu lye bataddewo likontana n’erya Katonda, kiki ky’onookola?
• “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.”—Bik. 5:29.
22. Byawandiikibwa ki ebinaakuyamba okusigala nga toli wa nsi ng’olonda omulimu ogw’okukola?
• “Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo, era tebaliyiga kulwana nate.”—Mi. 4:3.
• “[Babulooni Ekinene] mukifulumemu abantu bange, bwe muba nga temwagala kussa kimu nakyo mu bibi byakyo, era bwe muba nga temwagala kugabana ku bibonyoobonyo byakyo.”—Kub. 18:4.
23. Byakwesanyusaamu ki by’onoolonda, era biruwa by’oneewala?
• “Yakuwa . . . akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.”—Zab. 11:5.
• “Mukyawe ebintu ebibi, munywerere ku birungi.”—Bar. 12:9.
• “Ebintu byonna ebituufu, ebikulu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa, mweyongere okubirowoozangako.”—Baf. 4:8.
24. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebasinziza wamu na madiini malala?
• “Temuyinza kulya ku ‘mmeeza ya Yakuwa’ ne ku mmeeza ya badayimooni.”—1 Kol. 10:21.
• “‘Mubeeyawuleko,’ bw’atyo Yakuwa bw’agamba, ‘era mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu’; ‘nange nnaabasembeza.’”—2 Kol. 6:17.
25. Misingi ki eginaakuyamba okusalawo obanga oneenyigira mu mukolo ogumu?
• “Beetabika mu b’amawanga ne bayiga empisa zaabwe. Baaweerezanga ebifaananyi byago ne bibafuukira ekyambika.”—Zab. 106:35, 36.
• “Abafu tebaliiko kye bamanyi.”—Mub. 9:5.
• “Si ba nsi, nga nange bwe siri wa nsi.”—Yok. 17:16.
• “Ekiseera ekyayita kyabamala okukola ebyo amawanga bye gaagala, bwe mwatambuliranga mu bikolwa eby’obugwagwa, mu kwegomba okubi awatali kwekomako, mu kwekamirira omwenge, mu binyumu, mu kunywa omwenge mu ngeri ey’okuvuganya, ne mu kusinza ebifaananyi okw’obujeemu.”—1 Peet. 4:3.
26. Ebyokulabirako ebiri mu Bayibuli bituyamba bitya okumanya obanga kituufu okukuza amazaalibwa?
• “Ku lunaku olw’okusatu gaali mazaalibwa ga Falaawo, n’afumbira abaweereza be bonna ekijjulo, era n’aggyayo omusenero omukulu n’omufumbiro omukulu ng’abaweereza be bonna balaba. Era n’azza omusenero omukulu ku mulimu gwe . . . Naye omufumbiro omukulu n’amuwanika.”—Lub. 40:20-22.
• “Ku lunaku lwe baali bakulizaako amazaalibwa ga Kerode, muwala wa Kerodiya yazina n’asanyusa nnyo Kerode. Kerode n’amulayirira okumuwa kyonna kye yandimusabye. Ng’akolera ku magezi nnyina ge yamuwa, omuwala yagamba nti: ‘Mpa omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.’ Awo n’alagira batemeko Yokaana omutwe mu kkomera.”—Mat. 14:6-8, 10.
27. Lwaki osaanidde okukolera ku bulagirizi bw’abakadde?
• “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga, kubanga batunula ku lwammwe ng’abo abaliwoza; kino balyoke bakikole n’essanyu so si na kusinda, kubanga ekyo kiba kya kabi gye muli.”—Beb. 13:17.
28. Lwaki kikulu ggwe n’ab’omu maka go okuteekawo ekiseera okusoma n’okwesomesa Bayibuli obutayosa?
• “Amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa, era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro. Anaabanga ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’emikutu gy’amazzi, ogubala ebibala mu kiseera kyagwo, era ebikoola byagwo tebiwotoka. Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.”—Zab. 1:2, 3.
29. Lwaki oyagala okubeerangawo mu nkuŋŋaana n’okuzeenyigiramu?
• “Nja kulangirira erinnya lyo eri baganda bange; nja kukutendereza wakati mu kibiina.”—Zab. 22:22.
• “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.”—Beb. 10:24, 25.
30. Mulimu ki ogusinga obukulu Yesu gwe yatuwa?
• “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza . . . , nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.”—Mat. 28:19, 20.
31. Okusobola okusanyusa Yakuwa, tusaanidde kuba na ndowooza ki nga tuliko kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka oba nga tuyamba bakkiriza bannaffe?
• “Ossangamu Yakuwa ekitiibwa n’omuwa ku bintu byo eby’omuwendo.”—Nge. 3:9.
• “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”—2 Kol. 9:7.
32. Bizibu ki Abakristaayo bye basuubira okufuna?
• “Balina essanyu abayigganyizibwa olw’obutuukirivu, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe. “Mulina essanyu abantu bwe babavumanga, bwe babayigganyanga, era ne babawaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika ku lwange. Musanyuke era mujaguze, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu; kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaabasookawo.”—Mat. 5:10-12.
33. Lwaki nkizo ya maanyi okubatizibwa n’ofuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa?
• “Ebigambo byo nnabifuna ne mbirya; era ekigambo kyo kyafuuka gye ndi okusanyuka n’okujaguza mu mutima gwange, kubanga mpitiddwa erinnya lyo, Ai Yakuwa.”—Yer. 15:16.
-
-
Ebibuuzo Ebisembayo eby’Okukubaganyaako Ebirowoozo n’Abagenda OkubatizibwaTutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
-
-
EBIBUUZO EBIBUUZIBWA ABO ABAAGALA OKUBATIZIBWA
Ebibuuzo Ebisembayo eby’Okukubaganyaako Ebirowoozo n’Abagenda Okubatizibwa
Okubatizibwa kutera kubaawo ku nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa. Omwogezi bw’aba afundikira emboozi ekwata ku kubatizibwa, asaba abo ababa bagenda okubatizibwa bayimirire baddemu ebibuuzo bino wammanga mu ddoboozi ery’omwanguka:
1. Weenenyezza ebibi byo, ne weewaayo eri Yakuwa, era okkiriza nti atununula okuyitira mu Yesu Kristo?
2. Okitegeera nti bw’obatizibwa ofuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu kibiina kye?
Abo ababa bagenda okubatizibwa bwe baddamu nti “yee,” kiba kiraga nti ‘baatudde mu lujjudde’ nti bakkiririza mu kinunulo era nti beewaddeyo eri Yakuwa. (Bar. 10:9, 10) Kiba kirungi ne balowooza ku bibuuzo ebyo n’obwegendereza nga bukyali basobole okubiddamu okuviira ddala ku mitima gyabwe.
Wamala okwewaayo eri Yakuwa mu kusaba n’omusuubiza okusinza ye yekka n’okukulembeza okukola by’ayagala mu bulamu bwo?
Owulira ng’oyagala okubatizibwa amangu ddala nga bwe kisoboka?
Omuntu asaanidde kwambala atya ng’agenda okubatizibwa? (1 Tim. 2:9, 10; Yok. 15:19; Baf. 1:10)
Tusaanidde okwambala ‘ebyambalo ebisaana era ebiraga nti tuli beegendereza’ era nti ‘tuwa Katonda ekitiibwa.’ N’olwekyo abo ababa bagenda okubatizibwa tebasaanidde kwambala ngoye zibakwata oba eziraga ebitundu by’omubiri ebitalina kulagibwa oba eziriko ebigambo oba ebifaananyi. Basaanidde okwambala engoye ennyonjo, eziri mu mbeera ennungi, era ezituukana n’omukolo.
Omuntu asaanidde kweyisa atya ng’abatizibwa? (Luk. 3:21, 22)
Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri Omukristaayo gy’asaanidde okweyisaamu ng’abatizibwa. Yali akimanyi nti okubatizibwa kintu kikulu nnyo, era ekyo yakyoleka mu ngeri gye yeeyisaamu ng’abatizibwa. N’olwekyo, ekifo awabatirizibwa tekiba kifo kya kuleeterawo kusaaga okutasaana, kya kuzannyiramu, kya kuwugiramu, oba okukoleramu ebintu ebirala ebiraga nti omukolo ogwo tetuguwa kitiibwa kigugwanira. Ate era, oyo abatiziddwa tasaanidde kujaganya nnyo nga gy’obeera nti alina obuwanguzi obw’amaanyi ennyo bw’atuuseeko. Wadde ng’okubatizibwa kiba kiseera kya ssanyu, essanyu eryo tusaanidde okulyoleka mu ngeri esaana.
Okubeerangawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu nteekateeka z’ekibiina endala kinaakuyamba kitya okutuukiriza okwewaayo kwo eri Yakuwa?
Oluvannyuma lw’okubatizibwa, lwaki kikulu nnyo okweyongera okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa era n’okuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira?
-