LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 19 lup. 22
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okulaga Omuganyulo
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Ebizimba era Ebizzaamu Amaanyi
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 19 lup. 22

ESSOMO 19

Okufuba Okutuuka ku Mutima

Ekyawandiikibwa

Engero 3:1

MU BUFUNZE: Yamba abakuwuliriza okusiima bye bayiga n’okubikolerako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Yamba abakuwuliriza okwekebera. Buuza ebibuuzo ebiyamba abakuwuliriza okwekebera.

  • Baleetere okwagala okukola ebirungi. Bakubirize okulowooza ku nsonga lwaki bafuba okukola ebintu ebirungi. Bayambe okwagala okweyongera okukola ebintu ebirungi olw’okuba baagala Yakuwa, bantu bannaabwe, n’amazima agali mu Bayibuli. Tobagamba bugambi kya kukola, wabula bayambe okulaba omuganyulo oguli mu kukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Mu kifo ky’okwogera ebibamalamu amaanyi, bazzeemu amaanyi babe bamalirivu okweyongera okufuba okukola ebirungi.

  • Bayambe okulowooza ku Yakuwa. Laga engeri enjigiriza za Bayibuli, emisingi, n’amateeka gye byolekamu engeri za Katonda era ne gye biragamu nti atwagala nnyo. Yamba abakuwuliriza okulowoozanga ku Yakuwa mu bye bakola n’okwagala okumusanyusa.

    Eky’okukola

    Kijjukire nti Yakuwa y’asika abantu okubaleeta gy’ali. Kozesa Ekigambo kye okukubiriza abakuwuliriza okukola ebirungi.

MU BUWEEREZA

Bwe kiba kisoboka buuza omuntu ebibuuzo osobole okumanya ky’akkiririzaamu. Weetegereze endabika ye ey’oku maaso n’eddoboozi ly’akozesa osobole okumanya enneewulira ye. Kyokka beera mugumiikiriza. Omuntu asooka kukwesiga n’alyoka akubuulira ebimuli ku mutima.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share