LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lff essomo 36
  • Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Emiganyulo Egiri mu Kubeera Omwesigwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Ekintu eky’Omuwendo Okusinga Alimasi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
See More
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 36
Essomo 36. Omusajja ng’assa omukono ku kiwandiiko.

ESSOMO 36

Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna

Printed Edition
Printed Edition
Printed Edition

Buli muntu ayagala okuba n’ab’emikwano abeesigwa. Yakuwa naye ayagala mikwano gye babe beesigwa. Naye si kyangu okubeera omwesigwa, olw’okuba abantu abasinga obungi mu nsi si beesigwa. Miganyulo ki egiri mu kuba abeesigwa mu bintu byonna?

1. Ensonga esinga obukulu lwaki tulina okuba abeesigwa y’eruwa?

Bwe tuba abeesigwa, tuba tulaga Yakuwa nti tumwagala era nti tumussaamu ekitiibwa. Kirowoozeeko: Yakuwa amanyi buli kimu kye tulowooza, era alaba buli kimu kye tukola. (Abebbulaniya 4:13) Bwe tusalawo okuba abeesigwa akiraba era kimusanyusa. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.”​—Engero 3:32.

2. Tuyinza tutya okukiraga nti tuli beesigwa?

Yakuwa ayagala ‘twogere amazima buli omu eri munne.’ (Zekkaliya 8:16, 17) Ekyo kitegeeza ki? Ka tube nga twogera na ba mu maka gaffe, bakozi bannaffe, bakkiriza bannaffe, oba bakungu ba gavumenti, tetulina kubalimba oba kubabuzaabuza. Abantu abeesigwa tebabba era tebakumpanya muntu yenna. (Soma Engero 24:28 ne Abeefeso 4:28.) Era basasula emisolo gyonna gye balina okusasula. (Abaruumi 13:5-7) Mu mbeera ezo n’endala, “twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—Abebbulaniya 13:18.

3. Miganyulo ki egiri mu kubeera abeesigwa?

Bwe tuba nga tumanyiddwa nti tuli beesigwa, abalala batwesiga. Bwe tuba abeesigwa kyongera okuleetawo obumu n’emirembe mu kibiina, era tuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Ate era ‘tulungiya okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda,’ ekiyinza okuviirako abalala okutandika okumuweereza.​—Tito 2:10.

YIGA EBISINGAWO

Laba engeri Yakuwa gy’akwatibwako bw’obeera omwesigwa, era n’engeri gy’oganyulwamu. Era laba engeri gy’oyinza okuba omwesigwa mu mbeera ezitali zimu mu bulamu.

4. Yakuwa ayagala abaweereza be okuba abeesigwa

Soma Zabbuli 44:21 ne Malaki 3:16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Lwaki si kya magezi okulowooza nti tusobola okukweka amazima?

  • Olowooza Yakuwa awulira atya bwe tusalawo okwogera amazima ne bwe kiba nti si kyangu?

Omwana ng’ayogera ne taata we. Eby’okunywa nga biyiise wansi.

Abaana bwe boogera amazima, basanyusa bazadde baabwe. Bwe twogera amazima, tusanyusa Yakuwa

5. Beera mwesigwa ekiseera kyonna

Abantu bangi balowooza nti oluusi tekiba kya magezi kubeera mwesigwa. Naye laba ensonga lwaki tusaanidde okubeera abeesigwa mu mbeera zonna. Laba VIDIYO.

VIDIYO: Ebireeta Essanyu Erya Nnamaddala​—Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omuyonjo (2:32)

Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Ebireeta Essanyu Erya Nnamaddala​—Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omuyonjo.’ Oluvannyuma lwa Ben okwetondera mukama we olw’ensobi gy’akoze, beekwata mu ngalo.

Soma Abebbulaniya 13:18, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye tuyinza okuba abeesigwa . . .

  • mu maka.

  • ku mulimu oba ku ssomero.

  • mu mbeera endala.

6. Bwe tuba abeesigwa tuganyulwa

Oluusi tuyinza okufuna ebizibu olw’okubeera abeesigwa. Naye mu nkomerero, ebivaamu biba birungi. Soma Zabbuli 34:12-16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Okuba omwesigwa kikuganyula kitya mu bulamu?

A. Omwami ne mukyala we banyumya nga bwe banywa caayi. B. Makanika ng’asiimibwa mukama we. C. Omusajja ng’alaga omusirikale wa poliisi ebimwogerako.
  1. Omwami n’omukyala bwe baba abeesigwa buli omu eri munne, obufumbo bwabwe buba bunywevu

  2. Abakozi abeesigwa, bakama baabwe baba babeesiga

  3. Abatuuze abeesigwa baba n’erinnya eddungi eri ab’obuyinza

ABAMU BAGAMBA NTI: “Si kikyamu okulimbako akatono.”

  • Lwaki Yakuwa akyawa obulimba bwonna?

MU BUFUNZE

Yakuwa ayagala mikwano gye babeere beesigwa mu byonna bye boogera ne bye bakola.

Okwejjukanya

  • Ngeri ki ez’enjawulo ze tuyinza okulagamu nti tuli beesigwa?

  • Lwaki si kya magezi okulowooza nti tusobola okukweka amazima?

  • Lwaki oyagala okubeera omwesigwa mu bintu byonna?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Abazadde bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe okubeera abeesigwa?

Beera wa Mazima (1:44)

Miganyulo ki egiri mu kutuukiriza bye tuba tusuubizza?

Tuukiriza by’Osuubiza Ofune Emikisa (9:09)

Laba ensonga lwaki tulina okusasula emisolo, wadde nga giyinza okuba nga tegikozesebwa bulungi.

“Emisolo​—Oteekeddwa Okugisasula?” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 1, 2011)

Kiki ekyaleetera omusajja ataali mwesigwa okukyusa obulamu bwe n’atandika okubeera omwesigwa?

“Nnayiga nti Yakuwa Musaasizi era Asonyiwa” (Omunaala gw’Omukuumi, Maayi 1, 2015)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share